Read the New Testament in 24 Weeks
Abalabirizi b’Ekkanisa
3 (A)Ekigambo kyesigwa. Omuntu yenna bw’ayagalanga okuba Omulabirizi aba yeegombye omulimu omulungi. 2 (B)Noolwekyo Omulabirizi kimugwanira okuba nga taliiko kya kunenyezebwa, nga musajja wa mukazi omu, nga muntu eyeefuga, nga mwegendereza, nga mukwata mpola, ayaniriza abagenyi, era ng’amanyi okuyigiriza. 3 (C)Tateekwa kuba mutamiivu, era nga si mukambwe, wabula omuwombeefu, nga si muyombi era nga talulunkanira nsimbi. 4 (D)Ateekwa kuba ng’afuga bulungi amaka ge, abaana be nga bamuwulira, era nga bamussaamu ekitiibwa. 5 (E)Kubanga omuntu atasobola kufuga maka ge, alisobola atya okulabirira ekkanisa ya Katonda? 6 (F)Omulabirizi tateekwa kuba muntu eyaakakkiriza Kristo, si kulwa nga yeekuluntaza, n’asalirwa omusango nga Setaani bwe yagusalirwa. 7 (G)Asaanira okuba ng’assibwamu ekitiibwa abo abatali ba Kkanisa, si kulwa nga yeereetako ekivume.
Abadiikoni
8 (H)Abadiikoni nabo kibagwanira okuba abantu abassibwamu ekitiibwa abatataaganaaga mu bigambo byabwe, abatatamiira, era abatalulunkanira bintu, 9 (I)nga bakuuma ekyama ky’okukkiriza n’omutima omulongoofu. 10 Basookanga kugezesebwa balyoke baweereze mu budiikooni nga tebaliiko kya kunenyezebwa. 11 (J)N’abakazi Abadiikoni bwe batyo nabo kibagwanidde okubeeranga abassibwamu ekitiibwa, abatawaayiriza, abeegendereza, era abeesigwa mu buli kintu. 12 (K)Omudiikoni ateekwa okuba n’omukazi omu yekka, era ng’asobola okufuga obulungi abaana be, n’amaka ge. 13 Kubanga abaweereza obulungi bafuna ekifo ekya waggulu era baba n’obuvumu bungi mu kukkiriza okuli mu Kristo.
Ekyama Ekikulu
14 Nkuwandiikidde ebintu ebyo nga nsuubira okujja gy’oli mangu; 15 (L)kyokka bwe ndirwa omanye by’osaana okukola mu nnyumba ya Katonda, ye Ekkanisa ya Katonda omulamu, empagi n’omusingi eby’amazima. 16 (M)Tewali kubuusabuusa ekyama ky’okutya Katonda kikulu ddala, era kigamba nti:
“Yalabisibwa mu mubiri,
n’akakasibwa Omwoyo nga bw’atuukiridde,
n’alabibwa bamalayika,
n’alangibwa mu mawanga,
n’akkirizibwa mu nsi,
era n’atwalibwa n’ekitiibwa mu ggulu.”
Abayigiriza ab’Obulimba
4 (N)Mwoyo Mutukuvu ayogera lwatu nti mu nnaku ez’oluvannyuma walibaawo abaliva mu kukkiriza, nga bagoberera emyoyo egiwubisa, n’enjigiriza ya baddayimooni, 2 (O)nga bawubisibwa obukuusa bw’abantu abalimba, ab’emitima egiri ng’egyasiriizibwa ekyuma ekyengeredde. 3 (P)Abo be baziyiza abantu okufumbiriganwa, era abagaana okulya ebyokulya ebimu Katonda bye yawa abakkiriza era abamanyi amazima, okubiryanga nga bamwebaza. 4 (Q)Kubanga buli kitonde kya Katonda kyonna kirungi, era tekizira, kasita kiriirwa mu kwebaza, 5 kubanga kitukuzibwa na kigambo kya Katonda, n’okukisabira.
Omuweereza Omulungi owa Kristo Yesu
6 (R)Bw’onootuusa ebigambo ebyo ku booluganda, onooba muweereza mulungi owa Kristo Yesu, ng’oliisibwa n’ebigambo eby’okukkiriza, n’enjigiriza ennungi gye wagoberera. 7 (S)Naye enfumo ezitaliimu, ezitasaana kunyumizibwa, zeewalenga. Weemanyiizenga okutya Katonda. 8 (T)Kubanga okumanyiiza omubiri kigasa katono, naye okutya Katonda kugasa mu byonna, kubanga kuleeta essuubi ery’omu bulamu buno era n’ery’obwo obugenda okujja. 9 (U)Ekigambo ekyo kyesigwa era kisaana okukkiririza ddala. 10 Era kyetuva tutegana ne tufuba, kubanga essuubi lyaffe liri mu Katonda omulamu, Omulokozi w’abantu bonna, na ddala abakkiriza.
11 (V)Lagiranga ebyo, era obiyigirizenga. 12 (W)Waleme kubaawo muntu n’omu akunyooma olw’obuvubuka bwo, naye mu kwogera ne mu bikolwa, ne mu kwagala, ne mu kukkiriza, ne mu bulongoofu beeranga kyakulabirako eri abakkiriza. 13 Nyiikiranga okusomera abantu Ebyawandiikibwa mu lwatu n’okubuuliriranga, n’okuyigiriza okutuusa lwe ndijja. 14 (X)Togayaaliriranga ekirabo ekiri mu ggwe, kye waweebwa mu bunnabbi abakadde bwe baakussaako emikono gyabwe.
15 Ebyo biteeke mu nkola, era bissengako omwoyo, bonna balyoke balabe bwe weeyongera okukola obulungi. 16 Weekuumenga mu mpisa zo, ne mu by’oyigiriza era obinywerereko. Bw’onookola bw’otyo olyerokola ggwe wennyini, era n’abo abakuwulira.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.