Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Read the New Testament in 24 Weeks

A reading plan that walks through the entire New Testament in 24 weeks of daily readings.
Duration: 168 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Abaefeso 5-6

Okubeera mu Musana

Mufubenga okufaanana Katonda kubanga muli baana ba Katonda abaagalwa. (A)Mwagalanenga nga Kristo bwe yatwagala ne yeewaayo ku lwaffe n’afuuka ekiweebwayo era ssaddaaka eri Katonda, eyakawoowo akalungi.

(B)Nga bwe muli abantu ba Katonda abatukuvu, obwenzi, n’obugwagwa bwonna, n’omululu bireme okuwulirwa mu mmwe. Mwewale okwogera eby’ensonyi, n’eby’obusirusiru, n’okubalaata ebitasaana. Mwebazenga bwebaza Katonda. (C)Mukimanye era mukitegeerere ddala nga buli mwenzi, oba omugwagwa, oba eyeegomba, aba asinza bakatonda abalala, talina mugabo mu bwakabaka bwa Kristo ne Katonda. (D)Omuntu yenna tabalimbalimbanga n’ebigambo ebitaliimu. Katonda abonereza buli muntu yenna amujeemera. Noolwekyo temwegattanga n’abafaanana ng’abo.

(E)Edda mwali ng’abantu ab’ekizikiza, naye kaakano muli bantu ba musana mu Mukama waffe. Noolwekyo mutambulenga ng’abaana ab’omusana, (F)ekitangaala kyammwe kirabisibwe. Mubale ebibala eby’omusana nga mweyisa bulungi, nga mubeera abeesimbu era ab’amazima, 10 nga munoonya ekyo ekisanyusa Mukama waffe. 11 Temwenyigiranga mu bikolwa bya kizikiza kubanga tebigasa, wabula munenyenga ababikola. 12 Kubanga kya nsonyi n’okubyogerako ebyo abajeemu bye bakolera mu kyama. 13 (G)Byonna bwe biryatuukirizibwa mu kitangaala, birirabikira ddala nga bwe biri. 14 (H)Ekitangaala kirabisa buli kintu. Kyekiva kigambibwa nti,

“Zuukuka ggwe eyeebase,
    Ozuukire mu bafu,
    Kristo anaakwakira.”

15 Mutunule nga mutambula n’obwegendereza, si ng’abatalina magezi wabula ng’abalina amagezi, 16 (I)nga temwonoona biseera kubanga ennaku zino mbi. 17 (J)Temubanga basirusiru, naye mutegeere Mukama waffe ky’ayagala. 18 (K)Ate temutamiiranga, kubanga mujja kweyonoona, wabula Omwoyo ajjulenga mu bulamu bwammwe. 19 (L)Bwe mukuŋŋananga muzimbaganenga mu Zabbuli ne mu nnyimba, ne mu nnyimba ez’Omwoyo nga muyimbira Mukama era nga mumuyimusiza amaloboozi mu mutima gwammwe. 20 (M)Bulijjo mwebazenga Katonda Kitaffe olwa byonna, mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo.

Abakazi ne ba bbaabwe

21 (N)Mutyenga Kristo, nga muwuliragananga.

22 (O)Abakazi, muwulirenga babbammwe nga bwe muwulira Mukama waffe. 23 (P)Omusajja gwe mutwe gw’omukazi, nga Kristo bw’ali omutwe gw’Ekkanisa. Ekkanisa gwe mubiri gwa Kristo, era ye yennyini ye Mulokozi waagwo. 24 Kale ng’Ekkanisa bw’ewulira Kristo, n’abakazi bwe batyo bwe basaana okuwuliranga ba bbaabwe mu byonna.

25 (Q)Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe nga Kristo bwe yayagala Ekkanisa ne yeewaayo ku lwayo. 26 (R)Yaginaaza n’amazzi, n’agitukuza n’ekigambo kye, 27 (S)alyoke yeefunire Ekkanisa ey’ekitiibwa, eteriiko bbala wadde akamogo oba ekintu kyonna ekikyamu, wabula ebeere entukuvu, etuukiridde. 28 (T)N’abasajja bwe batyo bwe basaana okwagalanga bakazi baabwe, nga bwe baagala emibiri gyabwe gyennyini. Ayagala mukazi we yeeyagala yekka. 29 Tewali n’omu yali akyaye omubiri gwe, wabula aguliisa era agujjanjaba nga Kristo bw’ajjanjaba Ekkanisa ye, 30 (U)kubanga tuli bitundu bya mubiri gwe. 31 (V)“Kale omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omuntu omu.” 32 Ekyama kino kikulu, kyokka nze ndowooza nti kyogera ku Kristo n’Ekkanisa ye. 33 (W)Kale, nammwe buli musajja ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yennyini, era n’omukazi assengamu bba ekitiibwa.

Abazadde n’abaana baabwe

(X)Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu Mukama waffe, kubanga bwe mukola mutyo, mukola kituufu. “Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa,” eryo lye tteeka erisooka eririmu okusuubiza nti: (Y)Bw’onoobanga obulungi, era n’owangaala ku nsi. (Z)Nammwe abazadde, temunyigirizanga baana bammwe, wabula mubakuze nga mubagunjula era nga mubayigiriza ebya Mukama waffe.

Abaddu ne bakama baabwe

(AA)Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab’omu mubiri nga mubatya era nga mubawa ekitiibwa ng’omutima gwammwe mumalirivu, nga bwe mwamalirira mu Kristo. Ekyo temukikola lwa kulabibwa, abantu balyoke babasiime, wabula mukolenga ng’abaddu ba Kristo nga mukola n’omutima gwammwe gwonna, nga Katonda bw’ayagala. (AB)Muweerezenga n’omutima omulungi ng’abakolera Mukama waffe so si ng’abakolera abantu, (AC)nga mumanyi ng’ekirungi kyonna omuntu ky’akola, oba muddu oba wa ddembe, Mukama alimusasula empeera ennungi. (AD)Era nammwe bakama b’abaddu, muyisenga bulungi abaddu bammwe nga temubatiisatiisa, nga mumanyi nti Mukama waabwe, ye Mukama wammwe, ali mu ggulu era ye tasosola mu bantu.

Ebyokulwanyisa bya Katonda

10 (AE)Eky’enkomerero, mubenga n’amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obw’amaanyi ge. 11 (AF)Mwambale ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwolekera enkwe za Setaani. 12 (AG)Kubanga tetumeggana na mubiri wadde musaayi, wabula tulwanyisa abafuzi, n’ab’obuyinza, n’amaanyi ag’ensi ag’ekizikiza, n’emyoyo emibi egy’omu bifo ebya waggulu. 13 Noolwekyo mwambalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwaŋŋanga omulabe ku lunaku olw’akabi, era bwe mulimala okukola byonna, mulyoke musigale nga muli banywevu. 14 (AH)Muyimirire nga muli banywevu, ng’amazima lwe lukoba lwammwe lwe mwesibye mu kiwato kyammwe, ate ng’obutuukirivu kye ky’omu kifuba, 15 (AI)nga mwambadde n’engatto mu bigere byammwe nga mugenda okubuulira Enjiri ey’emirembe. 16 (AJ)Era ku ebyo byonna okukkiriza kwammwe kubeerenga engabo eneebasobozesanga okuzikiza obusaale bwonna obw’omuliro obulasibwa omubi. 17 (AK)Obulokozi bubafuukire enkuufiira gye mwambadde, n’ekigambo kya Katonda kibabeerere ekitala eky’Omwoyo, 18 (AL)nga musabiririranga mu ssaala zonna nga mwegayiririranga mu mwoyo buli kiseera. Mwekuumenga nga mugumiikirizanga, era nga mwegayiririranga abatukuvu, be bantu bonna aba Katonda.

19 (AM)Era nange munsabirenga bwe nnaabanga njogera mpeebwe eby’okwogera, era mbyogerenga n’obuvumu nga ntegeeza abantu ekyama ky’Enjiri. 20 Ndi mubaka wa Njiri ali mu njegere. Munsabire ndyoke ngibuulire abantu n’obuvumu nga bwe kinsaanira.

21 (AN)Tukiko, owooluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa mu Mukama waffe, alibategeeza byonna mulyoke mutegeere ebinfaako ne bye nkola. 22 (AO)Mmutumye gye muli, mulyoke mumanye nga bwe tuli era abagumye emitima gyammwe.

23 (AP)Emirembe n’okwagala awamu n’okukkiriza ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, bibeerenga n’abooluganda.

24 Ekisa kya Katonda kibeerenga n’abo bonna abaagala Mukama waffe Yesu Kristo n’okwagala okutaggwaawo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.