Read the New Testament in 24 Weeks
Pawulo awolereza omulimu gwe
10 (A)Kaakano nze kennyini, Pawulo, mbeegayirira mu buwombeefu n’obukkakkamu bwa Kristo bwe mba nabwo nga neetoowazizza nga ndi nammwe, naye bwe mba nga siri nammwe ne mba muvumu gye muli; 2 (B)mbegayirira wadde ssiriiwo, bwe ndijja nneme kwogeza maanyi nga bwe nkola eri abantu abamu abatulowooleza okuba nga tugoberera bya mubiri. 3 Newaakubadde nga tutambulira mu mubiri, tetulwana ng’ab’omubiri, 4 (C)kubanga ebyokulwanyisa byaffe eby’olutalo, si bya mubiri wabula bya maanyi mu Katonda olw’okuwangula ebigo, n’olw’okuwangula endowooza, 5 (D)na buli kintu ekigulumivu ekyekuluntaza okusinga amagezi ga Katonda, era nga tujeemulula buli kirowoozo, kigondere Kristo, 6 (E)era nga tweteeseteese okuwalana eggwanga ku bujeemu bwonna, bwe munaagonderanga ddala.
7 (F)Mutunuulira ebintu nga bwe birabika kungulu. Omuntu yenna bw’alowooza munda mu ye okuba owa Kristo, ekyo akirowooza ku ye yekka, nti nga naffe tuli ba Kristo nga ye. 8 (G)Kubanga ne bwe ndisukkirira okwenyumiriza olw’obuyinza bwe tulina, Mukama bwe yatuwa olw’okubazimba so si lwa kubassa wansi, sirikwatibwa nsonyi, 9 nneme kufaanana ng’abatiisa mu bbaluwa zange. 10 (H)Kubanga agamba nti, “Ebbaluwa ze ddala nzito era z’amaanyi, naye okubaawo kwe mu mubiri kunafu, n’okwogera kwe kunyoomebwa.” 11 Alowooza bw’atyo ategeere nga bye twogerako mu bbaluwa nga tetuli nammwe, era bye tukola nga tuli nammwe.
12 (I)Ffe tetwaŋŋanga kwebalira wadde okwegeraageranya n’abamu ku abo abeetendereza, naye bo bwe beepimamu bokka na bokka, ne beegeraageranya bokka na bokka tebaba na kutegeera. 13 (J)Naye ffe tetujja kwenyumiriza kusukka ku kigera kyaffe, naye tujja kwenyumiriza ng’ekigera ekyo ekyatuweebwa Katonda bwe kiri, ne tusobola n’okubatuukako mmwe. 14 (K)Kubanga tetukununkiriza kusinga kigera kye tulina, kubanga nammwe twabatuusaako Enjiri ya Kristo, 15 (L)nga tetwenyumiriza kusinga omulimu abalala gwe baakola, naye nga tulina essuubi nti ng’okukkiriza kwammwe bwe kugenda kweyongera, n’omulimu gwaffe gugenda gweyongera, 16 (M)era nga tubuulira Enjiri ne mu bitundu ebibali ewala, naye so si mu kitundu eky’omulala omwakolebwa edda omulimu waleme okubaawo eyeenyumiriza. 17 (N)Naye eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu Mukama waffe; 18 (O)kubanga eyeetenda yekka, oyo si ye asiimibwa, wabula oyo Mukama gw’atenda.
Pawulo n’abatume ab’obulimba
11 (P)Mbasaba mungumiikirizeeko mu busirusiru bwange obutono, weewaawo mungumiikirize. 2 (Q)Mbakwatirwa obuggya, obuggya bwa Katonda, kubanga naboogereza omusajja omu, nga muli mbeerera zennyini, ne mbawaayo eri Kristo; 3 (R)kyokka neeraliikirira nnyo nga ntya nti si kulwa nga mulimbibwa nga Kaawa bwe yalimbibwa omusota ne muwaba mu birowoozo byammwe okuva mu bwetoowaze n’obutukuvu obuli mu Kristo. 4 (S)Bwe wabaawo omuntu ajja n’ababuulira Yesu omulala gwe tutabuulira, oba ne mufuna omwoyo omulala, gwe mutafunanga, oba ne mubuulirwa Enjiri endala gye mutabuulirwanga, mubigumiikiriza. 5 Kubanga ndowooza ng’abatume abakulu ennyo tebalina kye bansinza. 6 (T)Kubanga newaakubadde nga siri mumanyirivu mu kwogera, naye si mu kutegeera, wabula mu ngeri yonna twaboolesa ebintu byonna.
7 (U)Oba nasobya bwe netoowaza mulyoke mugulumizibwe, bwe nabuulira Enjiri ya Katonda ey’obwereere? 8 (V)Nanyaga ekkanisa endala, kubanga zampeerezanga ensimbi ne nzikozesa nga ndi nammwe ndyoke mbaweereze, 9 (W)era bwe nnali nammwe ne mbaako bye neetaaga, ssaazitoowerera muntu yenna kubanga abooluganda abaava e Makedoniya bampanga byonna bye nnali neetaaga, ne neekuuma nnyo obutabazitoowerera mu buli kintu, era nzija kwongera okwekuuma bwe ntyo. 10 (X)Ng’amazirna ga Kristo bwe gali mu nze, okwenyumiriza kuno tekujja kuziyizibwa mu nze mu bitundu bya Akaya. 11 (Y)Lwaki? Olw’okubanga sibaagala? Katonda amanyi nga mbaagala. 12 Naye nzija kweyongera okukola nga bwe nkola ndyoke nziggyewo omukisa eri abo abaagala okukozesa omukisa ogwo abaagala okulabika nga ffe mu kwenyumiriza kwabwe. 13 (Z)Abantu ng’abo batume baabulimba, era bakozi baabukuusa, nga beefuula abatume ba Kristo. 14 Naye ekyo tekyewuunyisa, kubanga Setaani yeefuula nga malayika ow’omusana. 15 (AA)Noolwekyo abamuweereza bwe beefuula ng’abaweereza b’obutuukirivu tekitwewuunyisa. Ku nkomerero bagenda kubonerezebwa ng’ebikolwa byabwe biri.
Okubonaabona kwa Pawulo
16 (AB)Nziramu okubagamba nti omuntu yenna aleme kundowooza kuba musirusiru; kyokka ne bwe mundowooza okuba omusirusiru, munsembeze, nange neenyumirizeeko katono. 17 (AC)Kaakano bye njogera Mukama si yandagidde okubyogera, wabula neeyisa ng’omusirusiru mu buvumu buno obw’okwenyumiriza. 18 (AD)Naye obanga bano beenyumiriza mu by’omubiri nange ka nneenyumirize. 19 (AE)Mmwe muli bagezi, kyemuva mugumiikiriza abasirusiru. 20 Omuntu yenna bw’abafuula abaddu, oba n’abanyaga, oba n’abalyazaamanya, oba ne yeegulumiza, oba n’abakuba empi, mukigumiikiriza. 21 (AF)Ekyo kinswaza okukyogera kubanga tubadde banafu mu ekyo. Naye omuntu yenna kye yeewaayo okukola, nga njogera mu busirusiru, nange neewaayo okukikola. 22 (AG)Bo Baebbulaniya? Nange bwe ndi. Bagamba nti Bayisirayiri? Nange bwe ntyo. Bazzukulu ba Ibulayimu? Nange bwe ndi. 23 (AH)Bagamba nti baweereza ba Kristo? Nga njogera ng’agudde eddalu, nze mbasinga; Mbasinga okukola ennyo, era nsibiddwa mu kkomera emirundi mingi okubasinga, n’emirundi gye nkubiddwa mingi okusingawo, era emirundi mingi ne mba kumpi n’okufa. 24 Abayudaaya bankuba embooko amakumi asatu mu mwenda ku mirundi egy’enjawulo etaano. 25 (AI)Nakubwa emiggo emirundi esatu. Omulundi gumu nakubwa amayinja. Emirundi esatu ekyombo kye nalingamu kyamenyeka. Olulala ne nsula era ne nsiiba mu buziba. 26 (AJ)Ntambudde nnyo, era emirundi mingi ne mpona akabi k’omujjuzo gw’emigga, ne mpona n’akabi ak’abanyazi, n’empona ab’eggwanga lyange, era n’Abamawanga abalala. Nayolekera obubenje obw’omu kibuga, ne mpona n’okufiira mu ddungu ne mu muyaga ogw’oku nnyanja, ne mpona n’akabi ak’abantu abeeyita abooluganda; 27 (AK)mu kukola ennyo ne mu kufuba nga seebaka, mu kulumwa enjala ne mu kufuuyibwa empewo ne mu kubeera obwereere. 28 Ebirala bye simenye nga nabyo bikyali awo, neeraliikirira buli lunaku nga ndowooza ku Kkanisa zonna nga bwe ziri. 29 Bwe wabaawo anafuye, nange nzigwamu amaanyi, omulala bw’agwa mu kibi, nange njaka munda yange.
30 (AL)Naye obanga kiŋŋwanidde okwenyumiriza, ka neenyumirize olw’ebyo ebiraga obunafu bwange! 31 (AM)Katonda, era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu, atenderezebwa emirembe n’emirembe, amanyi nga ssirimba. 32 (AN)Bwe nnali mu Damasiko, Kabaka Aleta yalagira gavana alagire abakuumi b’ekibuga, nkwatibwe, 33 (AO)naye ne mpisibwa mu ddirisa, eryali mu kisenge kya bbugwe w’ekibuga, nga ndi mu kisero kye baaleebeesa ku miguwa okuntuusa ebweru wansi, bwe ntyo abo ne mbawona.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.