Read the New Testament in 24 Weeks
Okusaba Yesu Akabonero
16 (A)Awo Abafalisaayo n’Abasaddukaayo ne bajja eri Yesu okumugezesa nga bamusaba akabonero akava mu ggulu.
2 Naye Yesu n’abaddamu nti, “Obudde bwe buwungeera mugamba nti, obudde bujja kuba bulungi kubanga eggulu limyuse nnyo. 3 (B)Ate eggulu bwe limyuka ku nkya mumanya nti olunaku lwonna obudde bujja kwefuukuula. Mumanyi bulungi endabika y’eggulu n’okwawula ebiseera, naye lwaki temusobola kutegeera bubonero bwa biro? 4 (C)Mmwe ab’omulembe omwonoonefu era omwenzi musaba akabonero naye temuliweebwa kabonero okuggyako aka Yona.” Yesu n’abaviira n’agenda.
Ekizimbulukusa ky’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo
5 Abayigirizwa bwe baasomoka okuva emitala w’eri ne beerabira okuleeta emigaati. 6 (D)Naye Yesu n’abagamba nti, “Mwekuume ekizimbulukusa ky’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo.”
7 Naye Abayigirizwa ne boogeraganya bokka ne bokka nti, “Ayogedde bw’atyo kubanga tetwaleese migaati.”
8 (E)Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe n’abagamba nti, “Mmwe abalina okukkiriza okutono lwaki mweraliikirira nga mugamba nti, ‘temulina mmere?’ 9 (F)Era temunnategeera wadde okujjukira emigaati etaano abantu enkumi ettaano gye baalya, n’ebisero bye mwakuŋŋaanya ebyafikkawo? 10 (G)Era n’emigaati omusanvu abantu enkumi ennya gye baalya n’ebisero bye mwakuŋŋaanya ebyafikkawo? 11 Kale lwaki temutegeera nti mbadde ssoogera ku migaati? Naye mwekuume ekizimbulukusa eky’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo.” 12 (H)Ne balyoka bategeera nti yali tayogera ku kizimbulukusa kya migaati naye yali ayogera ku njigiriza y’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo.
Peetero Ayatula Kristo
13 Awo Yesu bwe yatuuka mu kitundu kya Kayisaliya ekya Firipo n’abuuza abayigirizwa be nti, “Abantu Omwana w’Omuntu bagamba nti ye ani?”
14 (I)Ne bamuddamu nti, “Yokaana Omubatiza, abalala nti Eriya, n’abalala nti Yeremiya oba omu ku bannabbi.”
15 Awo Yesu n’ababuuza nti, “Mmwe mundowooza kuba ani?”
16 (J)Simooni Peetero n’addamu nti, “Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda omulamu.”
17 (K)Yesu n’amugamba nti, “Olina omukisa Simooni, omwana wa Yona, kubanga ekyo Kitange ali mu ggulu y’akikubikkulidde, so tokiggye mu bantu. 18 (L)Era nkutegeeza nti, Ggwe Peetero, olwazi, era ku lwazi okwo kwe ndizimba Ekkanisa yange, n’amaanyi gonna aga Setaani tegaligiwangula. 19 (M)Era ndikuwa ebisumuluzo by’obwakabaka obw’omu ggulu; era kyonna ky’onoosibanga ku nsi, ne mu ggulu kinaasibwanga, na buli ky’onoosumululanga ku nsi, ne mu ggulu kinaasumululwanga.” 20 (N)Awo n’akuutira abayigirizwa be baleme kubuulirako muntu n’omu nti Ye Kristo.
21 (O)Okuva mu kiseera ekyo Yesu n’atandika okunnyonnyola abayigirizwa be nga bwe kimugwanidde okugenda e Yerusaalemi, abakulembeze b’Abayudaaya ne bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka bamubonyeebonye, era bamutte; naye ku lunaku olwokusatu azuukire.
22 Peetero n’amuzza ebbali n’atandika okumunenya ng’amugamba nti, “Katonda akulage ekisa Mukama waffe. Bino tebirikutuukako.”
23 (P)Naye Yesu n’akyukira Peetero n’amugamba nti, “Dda ennyuma wange Setaani. Oli kyesittaza gye ndi, kubanga tolowoozeza bintu bya Katonda wabula olowooza bintu bya bantu.”
24 (Q)Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Omuntu bw’ayagala okungoberera asaana yeefiirize yekka, yeetikke omusaalaba gwe alyoke angoberere. 25 (R)Kubanga buli agezaako okuwonya obulamu bwe alibufiirwa, oyo alifiirwa obulamu bwe ku lwange alibuwonya. 26 Kigasa ki omuntu okufuna ensi yonna naye n’afiirwa obulamu bwe? Oba kiki omuntu kyayinza okuwaayo olw’obulamu bwe? 27 (S)Kubanga Omwana w’Omuntu anaatera okujja mu kitiibwa kya Kitange ne bamalayika be alyoke asasule buli muntu ng’ebikolwa bye bwe byali.
28 “Ddala ddala mbagamba nti ku mmwe abali wano kuliko abatalirega ku kufa okutuusa lwe baliraba Omwana w’Omuntu ng’ajja n’obwakabaka bwe.”
Okufuusibwa kwa Yesu
17 Oluvannyuma lw’ennaku mukaaga Yesu n’atwala Peetero, ne Yakobo ne Yokaana muganda we, n’abalinnyisa ku lusozi oluwanvu. 2 N’afuusibwa nga balaba, amaaso ge ne gamasamasa ng’enjuba n’ebyambalo bye ne byeruka ne byakaayakana. 3 Laba Musa ne Eriya ne balabika, ne boogera ne Yesu.
4 Peetero n’agamba Yesu nti, “Mukama waffe, nga kya kitalo nnyo ffe okubeera wano! Bw’oba ng’osiimye, nzimbe wano ensiisira ssatu, emu yiyo endala ya Musa n’endala ya Eriya.”
5 (T)Bwe yali akyayogera ebyo ekire ekimasamasa ne kiva waggulu ne kibabuutikira eddoboozi ne liva mu kire ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange gwe njagala ennyo, era gwe nsanyukira ennyo. Mumuwulirenga.”
6 Abayigirizwa bwe baakiwulira ne bagwa wansi ne beevuunika nga batidde nnyo. 7 (U)Yesu n’ajja gye bali n’abakwatako n’abagamba nti, “Mugolokoke temutya.” 8 Bwe babbulula amaaso, baalabawo Yesu yekka!
9 (V)Bwe baali baserengeta olusozi, Yesu n’abakuutira nti, “Ebyo bye mulabye temubibuulirako omuntu n’omu okutuusa Omwana w’Omuntu lw’alimala okuzuukira mu bafu.”
10 Abayigirizwa ne bamubuuza nti, “Kale lwaki abannyonnyozi b’amateeka bagamba nti, Eriya kimugwanira okumala okujja?”
11 (W)Yesu n’abaddamu nti, “Weewaawo, Eriya alijja n’azzaawo ebintu byonna. 12 (X)Naye mbagamba nti, Eriya yajja dda, naye tebaamutegeera, era naye ne bamukola buli kye baayagala. Bw’atyo n’Omwana w’Omuntu anaatera okubonyaabonyezebwa.” 13 Awo abayigirizwa be ne bategeera nti yali ayogera ku Yokaana Omubatiza.
Omusimbu Awonyezebwa
14 Awo bwe yatuuka awaali ekibiina, omusajja n’ajja gy’ali n’afukamira we yali, n’amugamba nti, 15 (Y)“Mukama wange, ssaasira mutabani wange, kubanga mulwadde agwa ensimbu, era zimubonyaabonya nnyo kubanga emirundi mingi zimusuula mu muliro ne mu mazzi. 16 Bwe namuleese eri abayigirizwa bo tebasobodde kumuwonya.”
17 Yesu n’addamu nti, “Mmwe omulembe ogutalina kukkiriza omubi. Ndituusa ddi okubeera nammwe? Ndibagumiikiriza kutuusa ddi? Kale mumundeetere wano.” 18 Yesu n’aboggolera dayimooni, n’ava ku mulenzi, omulenzi n’awona mu kiseera ekyo.
19 Awo oluvannyuma abayigirizwa ne bajja eri Yesu mu kyama ne bamubuuza nti, “Lwaki ffe tetwasobodde kugoba dayimooni oyo?”
20 (Z)Yesu n’abaddamu nti, “Olw’okukkiriza kwammwe okutono. Kubanga ddala ddala mbagamba nti, bwe muba n’okukkiriza okufaanana ng’akaweke ka kaladaali, mwandiyinzizza okugamba olusozi luno nti, ‘Vvaawo wano,’ era ne luvaawo era tewandibaddewo kye mulemwa. 21 Naye kyokka dayimooni ow’engeri eno tagobeka awatali kusaba na kusiiba.”
22 (AA)Ne bakuŋŋaanira mu Ggaliraaya, Yesu n’abagamba nti, “Omwana w’Omuntu anaatera okuliibwamu olukwe aweebweyo mu mikono gy’abantu 23 (AB)abalimutta, kyokka ku lunaku olwokusatu alizuukizibwa.” Abayigirizwa be ne banakuwala nnyo.
Omusolo gwa Yeekaalu
24 (AC)Bwe baatuuka e Kaperunawumu abasolooza b’omusolo gwa Yeekaalu babiri ne bajja eri Peetero ne bamubuuza nti, “Mukama wammwe tawa musolo?”
25 (AD)Peetero n’abaddamu nti, “Awa!”
Peetero n’ayingira mu nnyumba. Naye Yesu n’amwesooka n’amubuuza nti, “Olowooza otya Simooni, bakabaka b’ensi basolooza omusolo ku bantu baabwe abatuuze oba ku bannamawanga be baba bawangudde?”
26 Peetero n’addamu nti, “Basolooza ku bannamawanga.”
Yesu n’amugamba nti, “Kale bannansi bo ba ddembe.” 27 (AE)“Naye obutabanyiiza, genda ku nnyanja osuulemu eddobo, ekyennyanja ky’onoosooka okukwasa okyasamye akamwa. Mu kamwa kaakyo onoolabamu esutateri,[a] ozitwale oziweeyo osasule omusolo gwange n’ogugwo.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.