Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Read the New Testament in 24 Weeks

A reading plan that walks through the entire New Testament in 24 weeks of daily readings.
Duration: 168 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Abaggalatiya 3-4

Kukkiriza Oba Kukuuma Mateeka

(A)Mmwe Abaggalatiya abatalina magezi ani eyabaloga, so nga nabannyonnyola bulungi Yesu Kristo eyakomererwa ku musaalaba ne mukitegeera? (B)Kino kyokka kye njagala muntegeeze; mwaweebwa Mwoyo lwa bikolwa eby’amateeka, nantiki lwa kuwulira kwa kukkiriza? Muyinza mutya obutaba na magezi kutuuka awo, abaatandikira mu Mwoyo, kaakano mutuukirizibwa mu mubiri? Okubonaabona kwonna kwe mwabonaabona kwali kwa bwereere? Bwe kuba nga ddala kwa bwereere. (C)Abawa Omwoyo n’abawa n’okukola eby’amaanyi mu mmwe, akola lwa bikolwa by’amateeka oba lwa kuwulira olw’okukkiriza? (D)Ibulayimu yakkiriza Katonda ne kimubalirwa okuba obutuukirivu.

(E)Kale mumanye nti abo abakkiriza be baana ba Ibulayimu. (F)Olw’okuba nga baategeera ebiribaawo n’ekyawandiikibwa, ng’olw’okukkiriza, Katonda aliwa amawanga obutuukirivu, Enjiri kyeyava ebuulirwa Ibulayimu edda nti, “Mu ggwe amawanga gonna mwe galiweerwa omukisa.” (G)Noolwekyo abo abakkiriza bagabanira wamu omukisa ne Ibulayimu eyakkiriza.

10 (H)Naye abo abafugibwa ebikolwa eby’amateeka, bafugibwa kikolimo; kubanga kyawandiikibwa nti, “Buli ataagobererenga byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo ky’amateeka, akolimiddwa.” 11 (I)Kimanyiddwa bulungi nti tewali n’omu Katonda gw’awa butuukirivu olw’okukuuma amateeka, kubanga abatuukirivu banaabeeranga balamu lwa kukkiriza, 12 (J)naye amateeka tegeesigama ku kukkiriza, naye anaagagobereranga anaabeeranga mulamu mu go. 13 (K)Kristo yatununula okuva mu kikolimo ky’amateeka, bwe yafuuka ekikolimo ku lwaffe, kubanga kyawandiikibwa nti, “Akolimiddwa buli awanikiddwa ku muti.” 14 (L)Kale kaakano amawanga gaweebwe omukisa gwa Ibulayimu, mu Kristo Yesu, tulyoke tuweebwe ekyasuubizibwa eky’Omwoyo olw’okukkiriza.

Etteeka n’Ekisuubizo

15 Abooluganda njogera mu buntu; endagaano bw’eba ng’ekakasibbwa, tewabaawo agiggyawo newaakubadde agyongerako. 16 (M)Katonda yasuubiza Ibulayimu n’Omwana we, naye tekigamba nti n’abaana be ng’abangi, naye yayogera ku omu, oyo ye Kristo. 17 (N)Kye ŋŋamba kye kino: endagaano eyakakasibwa Katonda nga wayiseewo emyaka ebikumi bina mu asatu n’efuuka etteeka, teyadibya ekyo ekyasuubizibwa. 18 (O)Kuba oba ng’obusika bwesigamye ku mateeka, buba tebukyali bwa kisuubizo; naye yabuwa Ibulayimu olw’okusuubiza.

19 (P)Kale lwaki amateeka gaateekebwawo? Gaagattibwa ku kisuubizo olw’aboonoonyi okutuusa ezzadde eryasuubizibwa lwe lirikomawo, nga lyawulibbwa mu bamalayika olw’omukono gw’omutabaganya. 20 (Q)Naye omutabaganya si w’omu, naye Katonda ali omu.

21 (R)Amateeka galwanagana n’ebyo Katonda bye yasuubiza? Kikafuuwe. Kubanga singa amateeka gaali galeeta obulamu, ddala ddala amateeka gandituwadde obutuukirivu. 22 (S)Naye ebyawandiikibwa bitegeeza nti ebintu byonna bifugibwa kibi, ekyasuubizibwa kiryoke kiweebwe abakkiriza olw’okukkiriza mu Yesu Kristo.

23 (T)Naye okukkiriza nga tekunnajja, twafugibwanga mateeka, nga tusibibwa olw’okukkiriza okugenda okubikkulwa; 24 (U)ge gaali gatukuuma, amateeka galyoke gatutuuse eri Kristo, tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw’okumukkiriza. 25 Naye okukkiriza bwe kwajja, ng’olwo tetukyetaaga mateeka kutukuuma.

Baana ba Katonda

26 (V)Kubanga kaakano mwenna muli baana ba Katonda olw’okukkiriza Yesu Kristo, 27 (W)kubanga abaabatizibwa bonna mu Kristo, baayambala Kristo. 28 (X)Tewakyali kusosola wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, wakati wa muddu na wa ddembe, wakati wa musajja na mukazi, kubanga mwenna muli omu mu Kristo Yesu. 29 Kale kaakano nga bwe muli aba Kristo, muli zadde lya Ibulayimu, ng’ekisuubizo ky’abasika bwe kiri.

Naye ŋŋamba nti omusika bw’aba ng’akyali mwana muto, tayawulwa na muddu, newaakubadde nga ye mukama wa byonna. Afugibwa abasigire n’abawanika okutuusa lw’akula n’atuuka ku kigero kitaawe, kye yategeka. (Y)Era naffe bwe tutyo bwe twali tukyali bato, twafugibwanga obulombolombo obw’ensi. (Z)Naye ekiseera bwe kyatuuka, Katonda n’atuma Omwana we (AA)eyazaalibwa omukazi ng’afugibwa amateeka, tulyoke tufuuke abaana. (AB)Era kubanga tuli baana, Katonda yatuma Omwoyo w’Omwana we okubeera mu mitima gyaffe, era kaakano tuyinza okwogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Aba, Kitaffe.” (AC)Kale kaakano tokyali muddu, wabula oli mwana; era nga bw’oli omwana oli musika ku bwa Katonda.

Pawulo Alowooza ku Baggalatiya

(AD)Mmwe bwe mwali temunnamanya Katonda mwabanga baddu ba bitali Katonda. (AE)Naye kaakano mutegedde Katonda era naye abategedde, kale muyinza mutya okukyuka, ne mugoberera obulombolombo obunafu obutalina maanyi ne mwagala okufuuka abaddu baabwo? 10 (AF)Mukwata ennaku, n’emyezi, n’ebiro, n’emyaka; 11 (AG)neeraliikirira si kulwa ng’omulimu omunene gwe nakola mu mmwe gwali gwa bwereere.

12 Abooluganda, mbeegayirira mubeere nga nze, kubanga nange ndi nga mmwe. Temulina kabi ke mwankola; 13 (AH)era mumanyi nga mu bunafu obw’omubiri, mmwe be nasooka okubuulira Enjiri. 14 Naye newaakubadde nga mwandinnyomye olw’obulwadde bwange, temwangobaganya, wabula mwansembeza nga malayika wa Katonda, nga Yesu Kristo. 15 Kale essanyu lyammwe lyadda wa? Kubanga ndi mujulirwa wammwe nti, mwali musobola okuggyamu amaaso gammwe ne mugampa okunnyamba singa kyali kyetaagisa. 16 (AI)Kale kaakano nfuuse omulabe wammwe olw’okubategeeza amazima?

17 Abo abalabika ng’abaabassaako ennyo omwoyo tebabaagaliza birungi, okuggyako okwagala okubaggalira ebweru, mulyoke mudde ku luuyi lwabwe. 18 (AJ)Naye kirungi okunyiikiranga okukola ebirungi bulijjo, naye si lwe mbeera nammwe lwokka. 19 (AK)Baana bange be nnumirwa nate ng’alumwa okuzaala, okutuusa Kristo lw’alibumbibwa mu mmwe, 20 nandyagadde okubeera nammwe kaakano, n’okukyusa eddoboozi lyange kubanga ndi mweraliikirivu ku lwammwe.

Agali ne Saala

21 Mumbulire, mmwe abaagala okufugibwa amateeka, lwaki temuwulira mateeka? 22 (AL)Kubanga kyawandiikibwa nti Ibulayimu yazaala abaana babiri aboobulenzi, omu yamuzaala mu mukazi omuddu, n’omulala n’amuzaala mu mukazi ow’eddembe. 23 (AM)Omwana ow’omukazi omuddu yazaalibwa nga wa mubiri, naye omwana ow’omukazi ow’eddembe yazaalibwa lwa kusuubiza.

24 Ebyo biri nga bya lugero; kubanga ezo ndagaano bbiri. Emu yava ku Lusozi Sinaayi, ye yazaala abaana ab’obuddu, ye yava mu Agali. 25 Agali lwe Lusozi Sinaayi oluli mu Buwalabu, era afaananyirizibwa ne Yerusaalemi eya kaakano kubanga ye ne bazzukulu be bali mu buddu. 26 (AN)Naye Yerusaalemi eky’omu ggulu ye mukazi ow’eddembe, era ye nnyaffe. 27 (AO)Kubanga kyawandiikibwa nti,

“Sanyuka
    ggwe omugumba atazaala.
Leekaanira waggulu mu ddoboozi ery’omwanguka
    newaakubadde nga tozaalanga ku mwana.
Kubanga ndikuwa abaana bangi,
    abaana abangi okusinga omukazi alina omusajja b’alina.”

28 Naye mmwe abooluganda muli baana abaasuubizibwa, nga Isaaka bwe yali. 29 (AP)Naye mu biro biri ng’eyazaalibwa omubiri bwe yayigganya oyo eyazaalibwa Omwoyo, ne kaakano bwe kiri. 30 (AQ)Naye Ebyawandiikibwa bigamba bitya? Bigamba nti, “Goba omukazi omuddu n’omwana we, kubanga omwana w’omukazi omuddu talisikira wamu n’omwana w’omukazi ow’eddembe.” 31 Noolwekyo abooluganda tetuli baana ba mukazi omuddu naye tuli baana ab’omukazi ow’eddembe.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.