Read the New Testament in 24 Weeks
7 (A)Abaagalwa, nga bwe tulina ebisuubizo ng’ebyo, twetukuze mu buli kintu ekyonoona omubiri n’omwoyo, nga tutuukiriza obutukuvu mu kutya Katonda.
Essanyu lya Pawulo
2 (B)Mutuggulirewo emitima gyammwe, kubanga tewali n’omu gwe twasobya. Tewali n’omu gwe twakyamya. Tewali n’omu gwe twali tulyazaamaanyizza. 3 (C)Bino sibyogera ng’abasalira omusango, kubanga nabategeeza dda nti, Mulina ekifo mu mitima gyaffe, nga tubeera balamu ffenna era nga tufiira wamu nammwe. 4 (D)Mbeesiga nnyo, era mbeenyumiririzamu nnyo; muŋŋumizza nnyo omwoyo ne mundeetera essanyu lingi wakati mu kubonaabona kwange.
5 (E)Bwe twatuuka mu Makedoniya tetwasobola kuwummulako, nga twetooloddwa ebibonoobono ebya buli ngeri, ebweru nga waliyo entalo ate munda mu ffe nga tutidde. 6 (F)Naye Katonda agumya abo ababa batendewereddwa, n’atuzzaamu amaanyi olw’okutuuka kwa Tito. 7 Okujja kwe si kwe kwokka okwatuleetera essanyu, naye n’amawulire agafa gye muli, ge yatuleetera n’engeri ennungi gye mwamwanirizaamu, ne bwe yantegeeza nga bwe mwali mwesunga okujja kwange, n’ennaku gye mwalina bwe mwategeera nga sikyazze, n’obunyiikivu bwammwe, ebyo ne binnyongera essanyu!
8 (G)Kuba bwe kiba nga ddala ebbaluwa gye nnabawandiikira yabanakuwaza, sikyejjusa; wabula ddala nkyejjusa, kubanga ebbaluwa eyo yabanakuwazaamu ekiseera kitono. 9 Kaakano nnina essanyu, si lwa kubanga yabanakuwaza, naye lwa kubanga mwanakuwalira ekibi ne mwenenya, ne Katonda n’alaba okunakuwala kwammwe muleme okufiirwa ekigambo kyonna ku lwaffe. 10 (H)Kubanga okunakuwala okw’okwenenya eri Katonda kuleeta obulokozi, era tekuleeta kwejjusa; naye okunakuwala okw’ensi kuleeta kufa. 11 (I)Kubanga laba okunakuwala okwo Katonda kw’asiima kwabaleetera okwewala bino: okufuba ennyo, n’okwennyonnyolako, n’okusunguwala, n’okutya, n’okwegomba, n’okufuba ennyo okwenenya, n’okuwalana eggwanga. Mwakola kyonna kye musobola okulongoosa ekyasoba. 12 (J)Kale newaakubadde nga nabawandiikira ssawandiika ku lw’oyo eyakola ekibi, newaakubadde oyo gwe bakikola, wabula lwa kunyiikira kwammwe eri Katonda ku lwaffe. 13 (K)Noolwekyo ebyo byatuzzaamu endasi.
Bwe twaddamu endasi, tweyongera nnyo okusanyuka olw’essanyu lya Tito, kubanga omwoyo gwe gwawummuzibwa mmwe mwenna. 14 (L)Obanga nnenyumiriza mu kigambo kyonna ku lwammwe, temwanswaza, naye byonna nga bwe twabibategeeza bwe biri eby’amazima, era n’okwenyumiriza kwaffe ku Tito nakwo ne kuba kwa mazima. 15 (M)N’okwagala kw’alina kweyongera nnyo gye muli ng’ajjukira okugonda kwammwe mwenna, nga bwe mwamusembeza n’okutya n’okumussaamu ekitiibwa. 16 (N)Bino byonna bindeetera essanyu lingi, era mbesigira ddala.
Okugaba kw’Abakristaayo
8 (O)Kaakano tubategeeza abooluganda, ekisa kya Katonda ekyaweebwa ekkanisa z’e Makedoniya. 2 Mu kugezesebwa okw’okubonaabona, baagattika essanyu lyabwe ery’ekitalo n’obwavu bwabwe obungi, ne bafunamu okugaba okwewuunyizibwa ennyo. 3 (P)Tebaagaba kutuuka we basobola wokka, naye nawo baasukkawo, era baagaba lwa kweyagalira. 4 (Q)Baatwegayirira tubatwalire ebirabo byabwe, nabo basanyukire wamu ne bannaabwe abaweerezza obuyambi eri abatukuvu. 5 Ate era kye twali tutasuubidde, baasooka kwewaayo eri Mukama, n’oluvannyuma gye tuli olw’okwagala kwa Katonda. 6 (R)Kyatugwanira okusaba Tito, nga bwe yasooka okubaweereza, ajje atuukirize n’ekikolwa ekyo eky’ekisa. 7 (S)Naye nga bwe musukirira mu bintu byonna, mu kukkiriza, ne mu kigambo, ne mu kutegeera, ne mu kunyiikira kwonna, twagala okulaba nga ne mu kisa kino musukirira.
8 (T)Sibawa kiragiro, wabula olw’okunyiikira kw’abalala n’okugezesa okwagala kwammwe nga kw’amazima. 9 (U)Kubanga mumanyi ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo nga bwe yafuka omwavu ku lwammwe, mwe mulyoke mugaggawale.
10 (V)Amagezi ge mbawa ge gano nti mumalirize ekyo kye mwatandikako mu mwaka ogwayita, kubanga si mmwe mwasooka okuleeta ekirowoozo ekyo ate era si mmwe mwali ababereberye mu kutandika okukikolerako. 11 (W)Naye kaakano mu bumalirivu bwammwe mu kwagala okukikola, mumalirize omulimu ogwo, okusinziira kw’ekyo kye mulina. 12 (X)Kuba obanga mulina obumalirivu nga buli muntu bw’alina, buli muntu aweeyo okusinziira ku ekyo ky’alina so si ky’atalina.
13 Abalala baleme kuyambibwa ate nga mmwe munyigirizibwa, walyoke wabeewo, okwenkanankana. 14 (Y)Kaakano bye mulina ebingi biyambe abo abali mu kwetaaga, ate ebyabwe bye baliba nabyo ebingi biribayamba nga muli mu kwetaaga. 15 (Z)Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Oyo eyakuŋŋaanyanga ennyingi teyasigazangawo, n’eyakuŋŋaanyanga entono ng’emumala bumazi.”
Tito atumibwa e Kkolinso ne banne
16 (AA)Kyokka Katonda yeebazibwe eyassa obunyiikivu bwe bumu mu mutima gwa Tito ku lwammwe. 17 (AB)Olw’okuzzibwamu amaanyi kwe yafuna, n’olw’okufuba kwe, yajja gye muli. 18 (AC)Era tutumye wamu naye owooluganda atenderezebwa olw’enjiri mu kkanisa zonna, 19 (AD)naye si ekyo kyokka wabula yalondebwa okutambulanga naffe olw’ekisa kye tuweereza ffe olwa Mukama waffe yennyini n’olw’okugulumiza n’okulaga nga bwe twetegese okuyamba, 20 nga twewala omuntu yenna okutunenya olw’ekirabo kino kye tuweereza. 21 (AE)Kubanga kye tugenderera kwe kukola ebirungi, si mu maaso ga Katonda yekka wabula ne mu maaso g’abantu.
22 Era awamu nabo twabatumira owooluganda gwe tukakasizza nga munyiikivu mu bintu bingi era nga ne kaakano munyiikivu nnyo olw’obwesige bw’abalinamu. 23 (AF)Singa wabaawo ayagala okumanya ebifa ku Tito, tukolagana, mukozi munnange; abooluganda, bo batume ba kkanisa, olw’ekitiibwa kya Kristo. 24 (AG)Noolwekyo okwagala kwammwe n’okwenyumiriza kwammwe byeyoleke gye bali.
Okuyamba Bakristaayo bannaabwe
9 (AH)Mmanyi bulungi nga tekinneetaagisa kubawandiikira ku nsonga y’okuweereza abatukuvu; 2 (AI)kubanga mmanyi nga bwe mwagala ennyo okuyamba, ne mikwano gyaffe wano mu Makedoniya nabategeezaako nga nnenyumiriza ku lwammwe nti ab’omu Akaya babadde beetegefu okuviira ddala mu mwaka ogwayita, era obumalirivu bwammwe bwakubiriza bangi. 3 (AJ)Nabatumira abooluganda okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe kuleme kuba kwa bwereere mu nsonga eyo, mube beetegefu nga bwe nagamba. 4 (AK)Si kulwa ng’ab’e Makedoniya bajja nange ne babasanga nga temwetegese, ne tuswala, ne bwe tutaboogerako nti ye mmwe, mu kubeesiga mmwe. 5 (AL)Kyenvudde ndowooza nga kiŋŋwanidde okubagumya abooluganda, bano babasookeyo, bateeketeeke ekirabo kye mwasuubiza, ekirabo ekyo kitegekebwe kibeere omukisa so si ekintu eky’okuwalirizibwa.
6 (AM)Naye mujjukire nti, “Asiga ekitono alikungula kitono, naye asiga ekinene alikungula kinene.” 7 (AN)Buli omu akola nga bw’asazeewo mu mutima gwe, si lwa nnaku, newaakubadde olw’okuwalirizibwa, kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu. 8 (AO)Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye muli, bulijjo mubeerenga n’ebibamala byonna mu buli kintu nga musukkirira mu mulimu gwonna omulungi, 9 (AP)nga bwe kyawandiikibwa nti,
“Yasaasaanya, yagabira abaavu.
Obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna.”
10 (AQ)Kubanga oyo awa omulimi ensigo okusiga, ate n’amuwa n’emmere ey’okulya, anaayazanga ensigo yammwe era n’agyongerako, era anaayongeranga ebibala eby’obutuukirivu. 11 (AR)Anaabagaggawazanga mu buli kintu, ekyebazisa Katonda mu ffe.
12 (AS)Kubanga omulimu gw’obuweereza buno tegukoma ku kuyamba batukuvu abali mu kwetaaga kyokka, kusukkirira mu kwebaza okungi eri Katonda. 13 (AT)Olw’obukakafu obuvudde mu buweereza obwo, Katonda agulumizibwa olw’okugonda okw’okwatula kwammwe eri Enjiri ya Kristo, ne mu kugaba kwe mwalaga mu bye mwabawa, n’eri abantu bonna, 14 era n’okubasabira kwe babasabira kubanga babaagala nnyo olw’ekisa kya Katonda eky’ekitalo kye mulina; 15 (AU)Katonda yeebazibwe olw’ekirabo ekitayogerekeka.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.