New Testament in a Year
17 (A)Temubanga basirusiru, naye mutegeere Mukama waffe ky’ayagala. 18 (B)Ate temutamiiranga, kubanga mujja kweyonoona, wabula Omwoyo ajjulenga mu bulamu bwammwe. 19 (C)Bwe mukuŋŋananga muzimbaganenga mu Zabbuli ne mu nnyimba, ne mu nnyimba ez’Omwoyo nga muyimbira Mukama era nga mumuyimusiza amaloboozi mu mutima gwammwe. 20 (D)Bulijjo mwebazenga Katonda Kitaffe olwa byonna, mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo.
Abakazi ne ba bbaabwe
21 (E)Mutyenga Kristo, nga muwuliragananga.
22 (F)Abakazi, muwulirenga babbammwe nga bwe muwulira Mukama waffe. 23 (G)Omusajja gwe mutwe gw’omukazi, nga Kristo bw’ali omutwe gw’Ekkanisa. Ekkanisa gwe mubiri gwa Kristo, era ye yennyini ye Mulokozi waagwo. 24 Kale ng’Ekkanisa bw’ewulira Kristo, n’abakazi bwe batyo bwe basaana okuwuliranga ba bbaabwe mu byonna.
25 (H)Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe nga Kristo bwe yayagala Ekkanisa ne yeewaayo ku lwayo. 26 (I)Yaginaaza n’amazzi, n’agitukuza n’ekigambo kye, 27 (J)alyoke yeefunire Ekkanisa ey’ekitiibwa, eteriiko bbala wadde akamogo oba ekintu kyonna ekikyamu, wabula ebeere entukuvu, etuukiridde. 28 (K)N’abasajja bwe batyo bwe basaana okwagalanga bakazi baabwe, nga bwe baagala emibiri gyabwe gyennyini. Ayagala mukazi we yeeyagala yekka. 29 Tewali n’omu yali akyaye omubiri gwe, wabula aguliisa era agujjanjaba nga Kristo bw’ajjanjaba Ekkanisa ye, 30 (L)kubanga tuli bitundu bya mubiri gwe. 31 (M)“Kale omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omuntu omu.” 32 Ekyama kino kikulu, kyokka nze ndowooza nti kyogera ku Kristo n’Ekkanisa ye. 33 (N)Kale, nammwe buli musajja ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yennyini, era n’omukazi assengamu bba ekitiibwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.