New Testament in a Year
16 (A)Noolwekyo tekiva ku ebyo omuntu by’ayagala newaakubadde by’akola, wabula ku kusaasira kwa Katonda. 17 (B)Ebyawandiikibwa kyebyava byogera ku Falaawo nti, “Kyennava nkuyimusa, ndyoke njolese amaanyi gange mu ggwe, erinnya lyange liryoke litegeezebwe mu nsi zonna.” 18 (C)Noolwekyo Katonda asaasira oyo gw’ayagala okusaasira, ate n’akakanyaza omutima gw’oyo gw’ayagala okukakanyaza.
19 (D)Omu akyayinza okumbuuza nti, Lwaki Katonda atunenya, obanga y’atuleetera okukola nga bw’asiima? 20 (E)Naye ggwe omuntu obuntu, ggwe ani addamu ng’owakanya Katonda? Ekibumbe kiyinza okubuuza eyakibumba nti, “Lwaki wammumba bw’oti?” 21 (F)Oba omubumbi talina buyinza ku bbumba, okubumbamu ekibya eky’omugaso, oba okubumbamu ekitali kya mugaso?
22 (G)Katonda yayagala okulaga obusungu bwe, n’amaanyi ge eri abo bonna abaali basaanira okuzikirizibwa, kyokka n’abalaga obugumiikiriza. 23 (H)Ekyo yakikola alyoke amanyise obugagga bw’ekitiibwa kye, eri abo bonna be yeerondera okugabanira awamu ekitiibwa kye. 24 (I)Naffe yatuyita, si Bayudaaya bokka naye n’Abaamawanga. 25 (J)Ne mu Koseya agamba nti,
“Abataali bantu bange ndibayita abantu bange,
Ne gwe nnali ssaagala, ndimwagala.”
26 (K)Mu kifo omwo mwe baayitirwa nti,
“Temuli bantu bange,
mwe baliyitirwa abaana ba Katonda omulamu.”
27 (L)Isaaya ayogera eri Isirayiri mu ddoboozi ery’omwanguka nti,
“Omuwendo gw’abaana ba Isirayiri ne bwe gulyenkana ng’omusenyu gw’ennyanja,
ekitundu ekirisigalawo kye kirirokolebwa.
28 (M)Kubanga Mukama alisalawo
era alituukiriza mangu ekyo kye yagamba okukola ku nsi.”
29 (N)Era nga Isaaya bwe yayogera edda nti,
“Singa Mukama ow’Eggye
teyatulekerawo zzadde,
twandifuuse nga Sodomu,
era twandifaananye nga Ggomola.”
Obutakkiriza bw’Abayudaaya
30 (O)Kale tunaagamba ki? Tugambe nti Abaamawanga abataagobereranga butuukirivu, baafuna obutuukirivu, bwe butuukirivu obuva mu kukkiriza, 31 (P)naye Isirayiri mu kugobereranga amateeka ag’obutuukirivu, teyafuna butuukirivu obwo? 32 (Q)Lwaki? Ekyo baalema okukituukako kubanga tebaagoberera butuukirivu mu kukkiriza wabula mu bikolwa. Beesittala ku jjinja eryo eryesittalwako, 33 (R)nga bwe kyawandiikibwa nti,
“Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja eryesittalwako[a]
n’olwazi olulibasuula.
Oyo amukkiriza taliswazibwa.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.