Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

New Testament in a Year

Read the New Testament from start to finish, from Matthew to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ebikolwa by’Abatume 4:1-22

Peetero ne Yokaana mu Lukiiko lw’Abayudaaya Olukulu

(A)Awo Peetero ne Yokaana baali bakyayogera eri abantu, bakabona, n’omukulu w’abakuumi ba Yeekaalu n’Abasaddukaayo ne bajja gye bali, (B)nga basunguwadde nnyo okuwulira nga Peetero ne Yokaana bayigiriza abantu, ku bwa Yesu, okuzuukira mu bafu. (C)Ne bakwata Peetero ne Yokaana, naye olwokubanga obudde bwali buyise ne babaggalira mu kkomera okutuusa enkeera. (D)Kyokka abantu bangi ku abo abaali bawuliriza abatume ne bakkiriza, era omuwendo gw’abasajja bokka abakkiriza ne guba ng’enkumi ttaano!

(E)Enkeera, abafuzi n’abakulembeze b’Abayudaaya, n’abannyonnyozi b’amateeka ne bakuŋŋaanira mu Yerusaalemi. (F)Baali ne Ana Kabona Asinga Obukulu, ne Kayaafa, ne Yokaana, ne Alegezanda n’abalala bangi abaalina oluganda ne Kabona Asinga Obukulu. Awo abatume bombi ne baleetebwa ne basimbibwa mu maaso g’Olukiiko. Ne bababuuza nti, “Buyinza ki oba linnya ly’ani kwe musinzidde okukola kino?”

(G)Awo Peetero bwe yajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu n’agamba nti, “Abafuzi, n’abakulembeze b’abantu, (H)obanga tubuuzibwa nsonga ey’omusajja eyawonyezeddwa, 10 (I)mutegeere mmwe mwenna n’abantu bonna mu Isirayiri, omusajja ono ayimiridde mu maaso gammwe mu linnya lya Yesu Kristo Omunnazaaleesi, gwe mwakomerera naye Katonda n’amuzuukiza, era kaakano mulamu.

11 (J)“ ‘Oyo ly’Ejjinja abazimbi lye baagaana,
    lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.’

12 (K)Tewali mu mulala yenna bulokozi, era tewali linnya ddala na limu mu mannya gonna agaaweebwa abantu, wansi w’eggulu, mwetugwanira okulokolebwa.”

13 (L)Awo ab’Olukiiko bwe baalaba obuvumu bwa Peetero ne Yokaana, ate n’okutegeera ne bategeera nga tebaasoma, era nga si batendeke, ne beewuunya nnyo, ne bategeera ng’abasajja abo baabeeranga ne Yesu. 14 Era bwe baalaba omusajja eyawonyezebwa ng’ayimiridde nabo, n’eky’okubaddamu ne kibabula. 15 (M)Ne babalagira okugira nga babeera wabweru Olukiiko lubakubaganyeko ebirowoozo. 16 (N)Ab’olukiiko ne beebuuzaganya nti, “Abasajja bano tubakole tutya? Kubanga tetuyinza kwegaana ekyamagero eky’amaanyi ekikoleddwa mu bo; buli muntu yenna mu Yerusaalemi akitegedde. 17 Naye engeri gye tunaaziyizaamu ebigambo byabwe okwongera okusaasaana kwe kubalabula n’amaanyi baleme kuddayo kwogera na muntu yenna ku linnya lya Yesu.”

18 (O)Ne babayita bakomewo mu Lukiiko, ne babalagira baleme kuddayo nate kwogera ku linnya lya Yesu. 19 (P)Naye Peetero ne Yokaana ne baddamu nti, “Mmwe muba musalawo obanga kituufu mu maaso ga Katonda okuwulira mmwe okusinga okuwulira Katonda. 20 Tetuyinza butayogera ku bintu bye twalaba, n’ebigambo bye twawulira.”

21 (Q)Awo Olukiiko bwe lwamala okwongera okubatiisatiisa ne lubaleka ne bagenda, kubanga baabulwa kwe banaasinziira okubabonereza ne batasasamaza bantu. Kubanga abantu bonna baali bagulumiza Katonda olw’ekyo ekyabaawo. 22 Omusajja eyawonyezebwa yali assussa mu myaka amakumi ana.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.