New Testament in a Year
Omukazi Eyakwatibwa ng’Ayenda
8 (A)Awo Yesu n’alaga ku lusozi olwa Zeyituuni. 2 (B)Ku makya ennyo n’akomawo mu Yeekaalu, abantu bonna ne bajja gy’ali, n’atuula n’abayigiriza. 3 Awo abannyonnyozi b’amateeka n’Abafalisaayo ne baleeta omukazi gwe baakwata ng’ayenda, ne bamuteeka wakati mu maaso g’ekibiina. 4 Ne bagamba Yesu nti, “Omuyigiriza, omukazi ono akwatibbwa ng’ayenda. 5 (C)Amateeka Musa ge yatulagira gagamba kubakuba mayinja abali ng’ono. Noolwekyo ggwe ogamba otya ku nsonga eyo?” 6 (D)Ekyo baakyogera nga bamugezesa, bafune kye banaasinziirako okumuwawaabira.
Naye Yesu n’akutama n’awandiika ku ttaka n’olunwe. 7 (E)Bwe beeyongera okumubuuza, n’akutaamulukuka, n’agamba nti, “Mu mmwe atayonoonangako y’aba asooka okumukuba ejjinja.” 8 N’addamu okukutama, era n’awandiika ku ttaka n’olunwe. 9 Bwe baawulira ebyo, ne baseebulukuka kinnoomu, abasinga obukulu nga be basoose, okutuusa Yesu n’omukazi bwe baasigalawo bokka mu maaso g’ekibiina. 10 Awo Yesu n’akutaamulukuka ate, n’abuuza omukazi nti, “Abakuwawaabira baluwa?”
11 (F)Omukazi n’amuddamu nti, “Mukama wange, tewali n’omu.”
Yesu n’amugamba nti, “Nange sikusalira musango kukusinga. Genda, naye toddangayo okwonoona.”
Yesu gwe Musana gw’Ensi
12 (G)Awo Yesu n’ayongera okwogera n’ekibiina, n’agamba nti, “Nze Musana gw’ensi. Angoberera taatambulirenga mu kizikiza, wabula anaabeeranga n’omusana ogw’obulamu.”
13 (H)Abafalisaayo ne bamugamba nti, “Weeyogerako naye by’oyogera bya bulimba.”
14 (I)Yesu n’abaddamu nti, “Newaakubadde neeyogerako, bye njogera bituufu, kubanga mmanyi gye nava ne gye ndaga. Naye mmwe temumanyi gye nva wadde gye ndaga. 15 (J)Mmwe musala omusango ng’abantu obuntu. Nze siriiko gwe nsalira musango. 16 (K)Naye singa mbadde nsala omusango, ensala yange ya mazima, kubanga siri nzekka, naye ndi ne Kitange eyantuma. 17 (L)Amateeka gammwe gagamba nti ssinga abajulirwa babiri bakkiriziganya ku kintu, obujulirwa bwabwe buba bwa mazima. 18 (M)Kale Nze nneyogerako era n’oyo eyantuma ategeeza ebyange.”
19 (N)Awo ne bamubuuza nti, “Kitaawo ali ludda wa?” Yesu n’abaddamu nti, “Nze temuntegeera ne Kitange temumutegeera. Singa muntegeera ne Kitange mwandimutegedde.”
20 (O)Ebigambo ebyo Yesu yabyogerera mu kifo omuteekebwa ebirabo, bwe yali ng’ayigiriza mu Yeekaalu. Naye ne wataba amukwata, kubanga ekiseera kye kyali tekinnatuuka. 21 (P)Awo Yesu ne yeeyongera, n’abagamba nate nti, “Nze ŋŋenda, mulinnoonya, naye mulifiira mu bibi byammwe. Gye ŋŋenda mmwe temuyinza kujjayo.”
22 Awo Abayudaaya ne bagamba nti, “Agenda kwetta kyava agamba nti, ‘Nze gye ndaga, mmwe temuyinza kujjayo?’ ” 23 (Q)Yesu n’abagamba nti, “Mmwe muli ba ku nsi, naye Nze ndi wa mu ggulu. Mmwe muli ba ku nsi kuno, Nze siri wa ku nsi kuno. 24 (R)Kyenvudde mbagamba nti mulifiira mu bibi byammwe, kubanga bwe mutakkiriza nti nze wuuyo, Omwana wa Katonda, mulifiira mu bibi byammwe.”
25 Ne bamubuuza nti, “Ggwe ani?”
Yesu n’abaddamu nti, “Lwaki mbategeeza? 26 (S)Nnina bingi eby’okuboogerako n’okubasalira omusango okubasinga, kyokka eyantuma wa mazima, era ebyo bye nawulira okuva gy’ali bye ntegeeza ensi.”
27 Kyokka tebaategeera Kitaawe gw’ayogerako.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.