New Testament in a Year
Yesu alabikira Abayigirizwa be
36 (A)Awo bwe baali bakyayogera ebyo Yesu n’ayimirira mu makkati gaabwe n’abalamusa nti, “Emirembe gibeere nammwe!” 37 (B)Naye bonna ne bakankana nga batidde nnyo, nga balowooza nti balaba muzimu! 38 Yesu n’ababuuza nti, “Lwaki mutidde bwe mutyo? Lwaki mubuusabuusa mu mitima gyammwe? 39 (C)Mulaba ebibatu byange. Mutunule ne ku bigere byange! Kaakano mutegeere nga ye Nze kennyini. Munkwateko mukakasize ddala nti ssiri muzimu, kubanga omuzimu tegubeera na mubiri na magumba nga Nze bye nnina.”
40 Bwe yali ng’ayogera n’abalaga ebibatu bye n’ebigere bye. 41 Naye nga bakyabuusabuusa kyokka nga balina essanyu era nga basamaaliridde n’alyoka ababuuza nti, “Mulinawo wano ekyokulya?” 42 Ne bamuwa ekitundu ky’ekyennyanja ekyokye, 43 (D)n’akitoola n’akiriira mu maaso gaabwe nga bamutunuulira!
44 (E)N’abagamba nti, “Nabategeeza nga nkyali nammwe nti ebintu byonna ebyampandiikibwako mu mateeka ga Musa, ne mu bya bannabbi, ne mu Zabbuli, byali biteekwa okutuukirira.”
45 N’alyoka asumulula emitima gyabwe, ne bategeera ebyawandiikibwa. 46 N’abagamba nti, “Kyawandiikibwa dda nnyo nti Kristo kimugwanira okubonaabona, n’okufa era ku lunaku olwokusatu azuukire mu bafu. 47 (F)Era mu linnya lye Enjiri ey’okwenenya n’okusonyiyibwa ebibi eribuulirwa amawanga gonna okutandikira mu Yerusaalemi. 48 (G)Muli bajulirwa b’ebyo, 49 (H)Laba mbaweereza ekisuubizo kya Kitange. Mubeere mu kibuga okutuusa lwe mulyambazibwa amaanyi agava mu ggulu.”
Okugenda mu Ggulu
50 (I)Awo Yesu n’abakulembera ne balaga e Besaniya. N’ayimusa emikono gye waggulu, n’abawa omukisa. 51 (J)Bwe yali ng’akyabawa omukisa, n’abavaako, n’asitulibwa, n’atwalibwa mu ggulu. 52 Ne bamusinza, ne baddayo mu Yerusaalemi nga bajjudde essanyu lingi. 53 (K)Ne babeeranga mu Yeekaalu bulijjo nga batendereza Katonda.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.