New Testament in a Year
Akabonero ka Yona
29 (A)Awo abantu bwe beeyongera okukuŋŋaana abangi, Yesu n’abayigiriza ng’agamba nti, “Omulembe guno mulembe mubi. Gunoonya akabonero, naye tegujja kukaweebwa okuggyako akabonero aka Yona. 30 Kubanga Yona nga bwe yali akabonero eri abantu b’e Nineeve, n’Omwana w’Omuntu, bw’ajja okuba eri ab’omulembe guno. 31 (B)Era ku lunaku olw’okusalirako omusango, kabaka omukazi ow’omu bukiikaddyo alisaliza abantu ab’omulembe guno omusango okubasinga, kubanga yava ku nkomerero y’ensi okujja okuwuliriza amagezi ga Sulemaani, naye oyo asinga Sulemaani ali wano. 32 (C)Abantu b’e Nineeve baliyimirira ne basaliza abantu b’omulembe guno omusango okubasinga, kubanga beenenya bwe baawulira okubuulira kwa Yona Naye laba asinga Yona ali wano.”
Ettaala y’Omubiri
33 (D)“Omuntu takoleeza ttaala n’agikweka, oba n’agivuunikako ekibbo! Naye agiwanika ku kikondo ky’ettaala n’emulisiza bonna abayingira basobole okulaba. 34 Eriiso y’ettabaaza y’omubiri gwo. Eriiso bwe liba eddamu, n’omubiri gwo gwonna guba gujjudde omusana. Naye eriiso bwe liba eddwadde, omubiri gwo gujjula ekizikiza. 35 Noolwekyo weekuume ekizikiza kireme kugoba musana oguli mu ggwe. 36 Singa omubiri gwo gwonna gujjula omusana, ne gutabaamu kizikiza n’akatono gujja kwakaayakana nga gwe bamulisizzaamu ettaala.”
37 (E)Awo Yesu bwe yali ng’akyayogera, Omufalisaayo n’amuyita okulya emmere mu maka ge, bw’atyo n’agenda n’ayingira n’atuula okulya. 38 (F)Naye Omufalisaayo eyamuyita bwe yalaba nga Yesu atandise okulya nga tasoose kunaaba mu ngalo, ne yeewuunya.
39 (G)Awo Mukama waffe n’amugamba nti, “Mmwe Abafalisaayo, munaaza kungulu ku kikopo ne ku ssowaani, naye nga munda wammwe mujjudde omululu n’ebitali bya butuukirivu. 40 (H)Basirusiru mmwe eyakola ebweru si ye yakola ne munda? 41 (I)Naye singa munaddira ebiri munda ne mubiwaayo ng’ekiweebwayo, olwo buli kintu kinaaba kirongoofu eri Katonda.
42 (J)“Zibasanze mmwe Abafalisaayo! Kubanga muwaayo ekimu eky’ekkumi ku buli kyonna kye mufuna, ne ku buli kika kya muddo oguwunyisa obulungi era oguwoomesa enva, naye ne mutassaayo mwoyo ku bwenkanya n’okwagala Katonda. Kirungi okukola ebyo byonna, naye era n’ebirala temusaanye kubiragajjalira.
43 (K)“Zibasanze mmwe Abafalisaayo! Kubanga mwagala nnyo okutuula ku ntebe ez’ekitiibwa mu makuŋŋaaniro, era n’okulamusibwa mu butale ng’abantu babawa ekitiibwa.
44 (L)“Zibasanze! Kubanga muli ng’amalaalo, agatalabika abantu kwe batambulira ng’ekiri munda tebakimanyi.”
45 (M)Omu ku bannyonnyozi b’amateeka n’amwanukula nti, “Omuyigiriza bw’oyogera bw’otyo naffe oba ng’atuvumiddemu.”
46 (N)Yesu n’amuddamu nti, “Nammwe zibasanze abannyonnyozi b’amateeka! Kubanga mutikka abantu emigugu emizito egy’amateeka g’eddiini, so nga mmwe temusobola na kukwata na lugalo lwammwe ku migugu egyo.
47 “Zibasanze! Kubanga muzimbira bannabbi ebijjukizo, so nga bajjajjammwe be baabatta. 48 (O)Noolwekyo mulaga nga bwe muwagira ebikolwa bya bajjajjammwe eby’obutemu. Bo batta ate mmwe ne muzimba ebijjukizo. 49 (P)Noolwekyo Katonda mu magezi ge, kyeyava agamba nti, ‘Ndibaweereza bannabbi n’abatume, abamu balibatta n’abalala balibayigganya.’ 50 Era ab’omulembe guno kyemuliva muvunaanibwa olw’omusaayi gwa bannabbi bonna okuviira ddala ku kutondebwa kw’ensi, 51 (Q)okuva ku musaayi gwa Aberi okutuuka ku musaayi gwa Zaakaliya, eyattirwa wakati w’ekyoto ky’ebiweebwayo ne yeekaalu. Mmwe ab’omulembe guno mbategeeza nti mugenda kuvunaanibwa olw’ebyo byonna.
52 (R)“Zibasanze, mmwe abannyonnyozi b’amateeka! Kubanga mwafuna ekisumuluzo eky’amagezi naye mmwe bennyini ne mutayingira, ate ne muziyiza n’abalala okuyingira.”
53 Yesu bwe yava mu nnyumba eyo, Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne batandika okumuteganya n’okumukambuwalira ennyo n’okumubuuza ebibuuzo bingi awatali kusalako, 54 (S)nga bamutega bamukwase mu bigambo kwe banaasinziira okumukwata.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.