New Testament in a Year
Omusamaliya Omulungi
25 (A)Kale laba omunnyonnyozi w’amateeka n’asituka, ng’ayagala okugezesa Yesu, n’amubuuza nti, “Omuyigiriza, nsaana nkole ki okusikira obulamu obutaggwaawo?”
26 Yesu n’amuddamu nti, “Kyawandiikibwa kitya mu mateeka? Gagamba gatya?”
27 (B)Omunnyonnyozi w’amateeka n’addamu nti, “ ‘Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna, n’amaanyi go gonna, n’amagezi go gonna.’ Era ‘yagalanga muliraanwa wo nga naawe bwe weeyagala.’ ”
28 (C)Yesu n’amugamba nti, “Ozzeemu bulungi. Kale kolanga bw’otyo oliba mulamu.”
29 (D)Naye omunnyonnyozi w’amateeka okwagala okulaga nga bw’ali omutuufu n’agamba Yesu nti, “Muliraanwa wange ye ani?”
30 Yesu n’amuddamu nti, “Waaliwo omuntu eyali ava e Yerusaalemi ng’aserengeta e Yeriko, n’agwa mu banyazi, ne bamukwata ne bamwambulamu engoye ze ne bazimutwalako, ne bamukuba nnyo, ne bamuleka awo ku kkubo ng’abulako katono okufa. 31 (E)Awo kabona eyali tategedde n’ajjira mu kkubo eryo, naye bwe yatuuka ku musajja ng’agudde awo ku kkubo n’amwebalama bwebalami n’amuyitako. 32 Omuleevi naye yamutuukako n’amulaba, n’adda ku ludda olulala olw’oluguudo, n’amuyitako buyisi 33 (F)Naye Omusamaliya bwe yali ng’ali ku lugendo lwe mu kkubo eryo, n’atuuka omusajja we yali; bwe yamulaba n’amukwatirwa ekisa, 34 n’ajja w’ali, n’amunyiga ebiwundu ng’ayiwako amafuta, ne wayini ebiwundu n’abisibako ebiwero. Awo n’ateeka omusajja ku nsolo ye n’amutwala mu nnyumba esulwamu abatambuze, n’amujjanjaba. 35 Enkeera Omusamaliya n’addira ddinaali bbiri n’aziwa nannyini nnyumba. N’amugamba nti, ‘Nkusaba omujjanjabe, era ensimbi ezizo zonna z’olikozesa nga zino ze nkulekedde ziweddewo, ndizikuddizaawo nga nkomyewo.’ ”
36 “Kale olowooza, ku bantu abo abasatu aluwa eyali muliraanwa w’omusajja oli eyagwa mu banyazi?”
37 Omunnyonnyozi w’amateeka n’addamu nti, “Oyo eyamukolera ebyekisa.”
Yesu n’amugamba nti, “Naawe genda okole bw’otyo.”
Yesu Akyalira Maliza ne Maliyamu
38 (G)Awo Yesu n’abayigirizwa be nga bali ku lugendo lwabwe, ne batuuka mu kabuga akamu, omukazi erinnya lye Maliza n’asembeza Yesu mu maka ge. 39 (H)Yalina muganda we erinnya lye Maliyamu. N’atuula awo wansi ku bigere bya Yesu, ng’awuliriza ebigambo Yesu bye yali ayogera. 40 (I)Naye Maliza yali yeetawula mu mirimu ng’ategekera abagenyi, n’ajja awali Yesu n’amugamba nti, “Mukama wange, tofaayo ng’olaba muganda wange andekedde emirimu nzekka?”
41 (J)Naye Mukama waffe n’amuddamu nti, “Maliza, Maliza, ebintu ebikutawaanya bingi, 42 (K)naye waliwo ekintu kimu kyokka ekyetaagibwa, Maliyamu alonze omugabo omulungi ogutagenda kumuggyibwako.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.