New Testament in a Year
Yesu Atuma Abayigirizwa Ensanvu
10 (A)Awo oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’alonda abayigirizwa abalala nsanvu mu babiri[a], n’abatuma babiri babiri bamukulembere bagende mu buli kibuga ekinene, na buli kifo mwe yali anaatera okutuuka. 2 (B)N’abagamba nti, “Eby’okukungula bingi, naye abakozi abakungula batono. Noolwekyo musabe nannyini nnimiro, aweereze abakozi mu nnimiro ye. 3 (C)Kale, mugende. Kyokka mbatuma ng’abaana b’endiga mu misege. 4 Temugenda na nsimbi era temutwala nsawo ya kusabiriza wadde omugogo gw’engatto, ate temubaako gwe mulamusa mu kkubo.
5 “Buli nnyumba gye muyingirangamu musookanga kugamba nti, ‘Emirembe gibeere mu nnyumba eno.’ 6 Ennyumba eyo bw’eneebangamu omuntu ow’emirembe, emirembe gyammwe ginaabeeranga ku ye, bwe kitaabenga bwe kityo, emirembe gyammwe ginaabaddiranga. 7 (D)Mu nnyumba omwo, mwe musookedde, munaalyanga era ne munywa nabo, kubanga omukozi asaanira empeera ye. Temuvanga mu nnyumba emu ne mudda mu ndala.
8 (E)“Buli kibuga kye mutuukangamu ne babaaniriza, mulyenga ebyo bye babawadde okulya. 9 (F)Muwonyenga abalwadde abalimu, era mugambenga abantu abo nti, ‘Obwakabaka bwa Katonda bubasemberedde.’ 10 Naye bwe muyingiranga mu kibuga kyonna ne batabaaniriza, mulaganga mu nguudo zaakyo ne mugamba nti, 11 (G)‘N’enfuufu ekwatidde ku bigere byaffe tugibakunkumulira. Naye mumanye kino nti obwakabaka bwa Katonda busembedde.’ 12 (H)Mbategeeza nti ku lunaku luli, Sodomu kigenda kugumiikirizika okusinga ekibuga ekyo.
13 (I)“Zikusanze, ggwe Kolaziini! Naawe zikusanze, Besusayida! Kubanga ebyamagero ekyakolerwa mu mmwe, singa byakolerwa mu Ttuulo ne mu Sidoni, abantu baamu bandibadde beenenya dda, nga bambadde n’ebibukutu nga batudde mu vvu okulaga nti beenenyezza. 14 Naye Ttuulo ne Sidoni birisaasirwa okusinga mmwe ku lunaku olw’okusalirako omusango. 15 (J)Ate ggwe Kaperunawumu, oligulumizibwa okutuuka mu ggulu? Nedda, ogenda kuserengesebwa wansi emagombe.
16 (K)“Buli abawuliriza mmwe aba awulirizza Nze, na buli abanyooma aba anyoomye Nze, n’oyo anyooma Nze aba anyoomye eyantuma.”
17 (L)Awo abayigirizwa ensavu mu ababiri bwe baakomawo, nga basanyuka ne bategeeza Yesu nti, “Mukama waffe, ne baddayimooni baatugondera mu linnya lyo.”
18 (M)Yesu n’abagamba nti, “Nalaba Setaani ng’agwa okuva mu ggulu ng’okumyansa kw’eraddu! 19 (N)Laba mbawadde obuyinza okulinnya ku misota ne ku njaba ez’obusagwa n’okuwangula amaanyi gonna ag’omulabe. Era tewali kigenda kubakola kabi. 20 (O)Naye temusanyuka nnyo kubanga baddayimooni babagondera, wabula mujaguze nti amannya gammwe gawandiikiddwa mu ggulu.”
21 (P)Mu kiseera ekyo Yesu n’ajjula essanyu ku bwa Mwoyo Mutukuvu n’agamba nti, “Nkutendereza Kitange, Mukama w’eggulu n’ensi, kubanga wakweka ebintu bino abagezi n’abayivu, naye n’obibikkulira abaana abato. Weewaawo Kitange, bw’otyo bwe wasiima.
22 (Q)“Kitange yankwasa ebintu byonna. Tewali amanyi Mwana wabula Kitange, era tewali amanyi Kitange wabula Omwana awamu n’abo Omwana b’asiima okubamubikkulira.”
23 Awo n’akyukira abayigirizwa be n’abagamba mu kyama nti, “Mulina omukisa mmwe okulaba bino bye mulaba. 24 (R)Kubanga mbagamba nti, bannabbi bangi ne bakabaka bangi abaayagala okulaba bye mulaba n’okuwulira bye muwulira naye tekyasoboka.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.