New Testament in a Year
Peetero Ayatula nti Yesu ye Kristo
18 (A)Lwali lumu Yesu bwe yali ng’asaba yekka kyokka nga n’abayigirizwa be bali awo, n’ababuuza nti, “Ebibiina bimpita ani?” 19 (B)Ne baddamu nti, “Abamu bagamba nti Yokaana Omubatiza, abalala nti Eriya, ate nga waliwo abagamba nti omu ku bannabbi ab’edda y’azuukidde.”
20 (C)Yesu kwe kubabuuza nti, “Naye mmwe mumpita ani?”
Peetero n’addamu nti, “Ggwe Kristo wa Katonda.”
21 (D)Awo Yesu n’abakuutira, ng’abalagira obutakitegeezaako muntu yenna, 22 (E)n’abategeeza nti, “Kigwanidde, Omwana w’Omuntu, okubonaabona ennyo, n’okugaanibwa abakulembeze b’Abayudaaya, ne bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka, n’okuttibwa, naye ku lunaku olwokusatu okuzuukizibwa!”
23 (F)Era bonna n’abagamba nti, “Omuntu yenna ayagala okungoberera asaana yeefiirize yekka yeetikke omusaalaba gwe buli lunaku, angoberere! 24 (G)Kubanga buli ayagala okulokola obulamu bwe, alibufiirwa. Na buli alifiirwa obulamu bwe ku lwange alibulokola. 25 Kubanga omuntu kirimugasa ki okulya ensi yonna, naye n’afiirwa obulamu bwe? 26 (H)Buli alinkwatirwa ensonyi, nze n’ebigambo byange, n’Omwana w’Omuntu, alimukwatirwa ensonyi, bw’alijja mu kitiibwa kye ne mu kya Kitaawe ne mu kya bamalayika abatukuvu.
27 “Naye ddala ddala mbagamba nti abamu ku abo abayimiridde wano waliwo abatalirega ku kufa okutuusa nga bamaze okulaba obwakabaka bwa Katonda.”
Okufuusibwa
28 (I)Awo nga wayiseewo ng’ennaku munaana, Yesu n’atwala Peetero ne Yokaana ne Yakobo ne bambuka ku lusozi okusaba. 29 Bwe yali ng’asaba endabika y’amaaso ge n’ekyusibwa, ebyambalo bye ne byeruka ne bitukula nnyo era ne byakaayakana. 30 Awo abantu babiri ne balabika nga banyumya ne Yesu, omu yali Musa n’omulala Eriya, 31 (J)abaali bamasamasa mu kitiibwa kyabwe nga boogera ku kufa kwa Yesu, kwe yali agenda okutuukiriza mu Yerusaalemi. 32 (K)Peetero ne banne otulo twali tubakutte era nga beebase, Bwe baazuukuka ne balaba ekitiibwa kya Yesu n’abantu ababiri abaali bayimiridde naye. 33 (L)Awo Musa ne Eriya bwe baali bagenda, Peetero nga tamanyi ne kyayogera, n’agamba nti, “Mukama wange kirungi ffe okubeera wano. Ka tuzimbe wano ensiisira ssatu, emu yiyo, endala ya Musa n’endala ya Eriya!”
34 Naye yali akyayogera ebyo ekire ne kibabikka, abayigirizwa ne bajjula okutya nga kibasaanikidde. 35 (M)Eddoboozi ne liva mu kire ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange, gwe nneeroboza, mumuwulirize!” 36 (N)Eddoboozi bwe lyasiriikirira, Yesu n’asigalawo yekka. Abayigirizwa abo bye baalaba ne bye baawulira ne babikuuma mu mitima gyabwe, ne batabibuulirako muntu yenna mu kiseera ekyo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.