New Testament in a Year
Okukemebwa kwa Yesu
4 (A)Awo Yesu, ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu, n’avaayo ku mugga Yoludaani, Omwoyo n’amutwala mu ddungu, 2 (B)n’akemebwa Setaani okumala ennaku amakumi ana. Ebbanga eryo lyonna yalimala nga talidde ku mmere, bwe lyaggwaako enjala n’emuluma.
3 Setaani n’agamba Yesu nti, “Obanga oli, Mwana wa Katonda, gamba ejjinja lino lifuuke emmere.”
4 (C)Naye Yesu n’amuddamu nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Omuntu taabenga mulamu lwa mmere yokka.’ ”
5 (D)Awo Setaani n’amulinnyisa waggulu, mu kaseera katono n’amulaga obwakabaka bwonna obw’omu nsi. 6 (E)Setaani n’amugamba nti, “Nzija kukuwa obuyinza ku obwo bwonna n’ekitiibwa kyabwo, kubanga bwonna bwa mpeebwa era nnyinza okubuwa omuntu yenna gwe njagala. 7 Bw’onoofukamira n’onsinza byonna ebyo bijja kuba bibyo.”
8 (F)Naye Yesu n’addamu nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Osinzanga Mukama Katonda wo, era gw’oweerezanga yekka.’ ”
9 Ate Setaani n’amutwala mu Yerusaalemi, n’amulinnyisa waggulu ku kasolya ka Yeekaalu awasingira ddala obutumbiivu, n’amugamba nti, “Obanga oli Mwana wa Katonda, buuka weesuule wansi. 10 Kubanga kyawandiikibwa nti,
“ ‘Katonda aliragira bamalayika be
bakukuume.
11 (G)Era balikuwanirira mu mikono gyabwe,
oleme okwerumya nga weekonye ekigere kyo ku jjinja.’ ”
12 (H)Yesu n’addamu nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Tokemanga Mukama Katonda wo.’ ”
13 (I)Awo Setaani bwe yamaliriza okukema Yesu mu buli ngeri yonna, n’amuviira okutuusa ekiseera ekirala.
Yesu Atandika Omulimu gwe mu Ggaliraaya
14 (J)Awo Yesu n’akomawo mu Ggaliraaya ng’ajjudde amaanyi aga Mwoyo Mutukuvu, n’ayogerwako mu bitundu byonna ebyetoolodde mu byalo. 15 (K)N’ayigirizanga mu makuŋŋaaniro gaabwe, era bonna ne bamutendereza.
16 (L)Bwe yatuuka e Nazaaleesi, ekibuga mwe yakulira, n’agenda mu kkuŋŋaaniro ku Ssabbiiti, nga bwe yali empisa ye. N’ayimuka okusoma. 17 Ne bamuwa ekitabo kya nnabbi Isaaya, n’abikkula omuzingo gw’empapula n’alaba awagamba nti,
18 (M)“Omwoyo wa Mukama ali ku nze.
Anfuseeko amafuta okubuulira abaavu Enjiri.
Antumye okubuulira abasibe okuteebwa,
n’abazibe b’amaaso okuzibulwa amaaso balabe,
n’abanyigirizibwa okufuna eddembe,
19 (N)n’okulangirira ekiseera kya Mukama eky’okulagiramu ekisa kye.”
20 (O)N’azingako omuzingo n’aguddiza omuweereza, n’atuula. Abantu bonna mu kkuŋŋaaniro ne bamusimba amaaso. 21 N’atandika okubategeeza nti, “Olwa leero, Ebyawandiikibwa bino bye muwulidde bituukiridde!”
22 (P)Bonna abaaliwo ne bamutenda nga beewuunya ebigambo bye ebyekisa ebyava mu kamwa ke, nga bwe beebuuza nti, “Ono si ye mutabani wa Yusufu?”
23 (Q)Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala muliyinza n’okuŋŋamba mu lugero luno nti, ‘Omusawo, weewonye,’ nga mugamba nti, ‘Buli kye twawulira mu Kaperunawumu, kikolere na wano mu kyalo kyo.’ ”
24 (R)Naye n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Tewali nnabbi ayanirizibwa mu kyalo ky’ewaabwe! 25 (S)Naye mazima mbagamba nti, waaliwo bannamwandu bangi mu biseera bya nnabbi Eriya, mu Isirayiri enkuba bwe yamala emyaka esatu n’ekitundu nga tetonnya, n’enjala n’egwa mu nsi yonna. 26 (T)Naye nnabbi Eriya teyatumibwa eri omu ku bannamwandu abo, wabula yatumibwa eri nnamwandu ow’e Zalefaasi mu Sidoni. 27 (U)Ne mu biseera bya nnabbi Erisa waaliwo abagenge[a] bangi mu Isirayiri, naye tewali n’omu ku bo eyalongoosebwa okuggyako Naamani Omusuuli.”
28 Bonna abaali mu kuŋŋaaniro ne bakwatibwa obusungu olw’ebigambo ebyo, 29 (V)ne basituka, ne bamusindiikiriza okumutuusa ebweru w’ekibuga ku bbangabanga ly’olusozi ekibuga kyabwe kwe kyazimbibwa, bamusindike agwe eri wansi. 30 (W)Naye n’abayitamu wakati ne yeetambulira.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.