New Testament in a Year
Maliyamu Akyalira Erisabesi
39 (A)Awo mu biro ebyo, Maliyamu n’ayanguwa okugenda mu nsi ya Buyudaaya ey’ensozi, mu kibuga kyayo. 40 N’ayingira mu nnyumba ya Zaakaliya n’alamusa Erisabesi. 41 Naye Maliyamu bwe yalamusa Erisabesi, omwana eyali mu lubuto lwa Erisabesi n’abuukabuuka era n’ajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu. 42 (B)Erisabesi n’alyoka ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Oweereddwa omukisa, ggwe mu bakazi, era n’omwana ali mu lubuto lwo aweereddwa omukisa. 43 Nga nfunye ekitiibwa kinene ggwe nnyina wa Mukama wange okujja okunkyalira! 44 Kubanga bw’oyingidde n’onnamusa, omwana ali mu lubuto lwange oluwulidde ku ddoboozi lyo ne yeekyusakyusa olw’essanyu! 45 Oweereddwa omukisa bw’okkirizza nti ebintu ebyo Mukama bya kwogeddeko birituukirizibwa.”
Oluyimba lwa Maliyamu
46 (C)Maliyamu n’agamba nti,
47 (D)“Emmeeme yange etendereza Mukama.
N’omwoyo gwange gusanyukidde Katonda omulokozi wange,
48 (E)Kubanga alabye
obuwombeefu bw’omuweereza we.
Kubanga laba, okuva kaakano, ab’emirembe gyonna banaampitanga eyaweebwa omukisa.
49 (F)Kubanga Owaamaanyi ankoledde ebikulu;
N’erinnya lye ttukuvu.
50 (G)N’okusaasira kwe kwa mirembe na mirembe
eri abo abamutya.
51 (H)Akoze eby’amaanyi n’omukono gwe.
Asaasaanyizza ab’emitima egy’amalala.
52 Awanudde abafuzi ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka
n’agulumiza abawombeefu.
53 (I)Abali mu kwetaaga abakkusizza ebirungi.
Naye abagagga n’abagoba nga tabawaddeeyo kantu.
54 (J)Adduukiridde omuweereza we Isirayiri,
n’ajjukira okusaasira,
55 (K)nga bwe yayogera ne bajjajjaffe,
eri Ibulayimu n’ezzadde lye emirembe gyonna.”
56 Maliyamu n’amala ewa Erisabesi muganda we, ng’emyezi esatu, n’alyoka addayo ewuwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.