New Testament in a Year
Yesu Atwalibwa eri Piraato
15 (A)Amangwago mu makya olukiiko lwa bakabona abakulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya, n’abannyonnyozi b’amateeka lwe Lukiiko Olukulu lwonna, ne bakuŋŋaana ne basiba Yesu, ne bamuweereza ewa Piraato.
2 (B)Piraato n’abuuza Yesu nti, “Ggwe Kabaka w’Abayudaaya?”
Yesu n’amuddamu nti, “Oyogedde.”
3 Awo bakabona abakulu ne bamulumiriza ebintu bingi. 4 Naye Piraato n’addamu n’amubuuza nti, “Lwaki toliiko ky’oddamu? Laba bakulumiriza ebintu bingi.”
5 (C)Naye Yesu n’asirika busirisi, era Piraato n’amwewuunya nnyo.
6 Ku buli mbaga, Piraato yabateeranga omusibe omu gwe baabanga bamusabye. 7 Omu ku basibe mu kiseera ekyo yali ayitibwa Balaba, eyali asibiddwa ne bajeemu banne olw’okutta abantu nga bakola obwegugungo. 8 Awo Piraato n’agenda eri ekibiina n’ababuuza nga bwe yateranga okukola.
9 (D)N’ababuuza nti, “Mwandyagadde mbasumululire kabaka w’Abayudaaya?” 10 Kubanga yamanya nga bakabona abakulu bamuwaddeyo lwa buggya. 11 (E)Naye bakabona abakulu ne bafukuutirira ekibiina babateere Balaba sso ssi Yesu.
12 Naye Piraato n’addamu n’ababuuza nti, “Omuntu ono gwe muyita kabaka w’Abayudaaya mwandyagadde mmukole ntya?”
13 Ne bawowoggana nti, “Mukomerere!”
14 Piraato n’ababuuza nti, “Lwaki? Azziza musango ki?” Naye bo ne beeyongera bweyongezi okuleekaana nti, “Mukomerere.”
15 (F)Awo Piraato okusanyusa ekibiina, n’abasumululira Balaba. N’awaayo Yesu akomererwe ng’amaze okumukuba.
Abaserikale baduulira Yesu
16 (G)Awo Abaserikale ne batwala Yesu mu luggya lw’olubiri, oluyitibwa Pulayitoliyo, ne bayita bannaabwe bonna abakuuma olubiri, ne bakuŋŋaana. 17 Ne bamwambaza ekyambalo ekya ffulungu, ne bakola engule mu maggwa ne bagissa ku mutwe gwe. 18 (H)Ne balyoka bamulamusa nga bwe bagamba nti, “Mirembe! Kabaka w’Abayudaaya!” 19 Ne bamukuba omuggo ku mutwe, ne bamuwandulira amalusu, ne bamufukaamirira nga bwe bamuvuunamira. 20 (I)Bwe baamala okumuduulira, ne bamwambulamu ekyambalo ekya ffulungu ne bamwambaza engoye ze, ne bamutwala okumukomerera.
Yesu akomererwa ku musaalaba
21 (J)Bwe baali bagenda ne basanga omusajja erinnya lye Simooni ow’e Kuleene,[a] kitaawe wa Alegezanda ne Luufo eyali ava mu kyalo, ne bamuwaliriza yeetikke omusaalaba gwa Yesu. 22 Awo ne batwala Yesu ne bamutuusa mu kifo ekiyitibwa Gologoosa, amakulu gaakyo nti Ekifo ky’Ekiwanga. 23 (K)Ne baddira wayini atabuddwamu envumbo ne bamuwa anyweko, naye n’amugaana.[b] 24 (L)Awo ne bamukomerera ku musaalaba.
Ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu. 25 Baamukomerera ku ssaawa ssatu ez’enkya.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.