Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

New Testament in a Year

Read the New Testament from start to finish, from Matthew to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Matayo 27:27-50

27 (A)Naye abaserikale baasooka kumutwala mu luggya lw’olubiri, oluyitibwa Pulayitoliyo ne bakuŋŋaanira eyo, ne bayita bannaabwe bonna. 28 (B)Awo ne bamwambulamu engoye ze, ne bamwambaza ekyambalo ekimyufu, 29 (C)ne bakola engule mu maggwa ne bagimutikkira, ne bamukwasa olumuli mu mukono gwe ogwa ddyo. Ne bamufukaamirira nga bamuduulira nti, “Mirembe, Kabaka w’Abayudaaya!” 30 (D)Ne bamuwandira amalusu, ne bamusikako olumuli ne balumukubya ku mutwe. 31 (E)Eby’okumuduulira bwe byaggwa, ne bamwambulamu ekyambalo ekimyufu, ne bamwambaza ekyambalo kye ekya bulijjo, ne balyoka bamufulumya okumutwala okumukomerera.

Okukomererwa kwa Yesu

32 (F)Bwe baali nga bagenda gye banaamukomerera, ne basisinkana omusajja omukuleene, erinnya lye nga ye Simooni, ne bamulagira lwa maanyi yeetikke omusaalaba gwa Yesu. 33 (G)Bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Gologoosa, amakulu nti, “Akasozi k’Ekiwanga,” 34 (H)ne bawa Yesu wayini atabuddwamu omususa, naye bwe yakombako n’amugaana. 35 (I)Bwe baamala okumukomerera, abaserikale ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu. 36 (J)Bwe batyo ne batuula awo nga bamukuuma. 37 Ne bawanika ekipande waggulu w’omutwe gwe ku musaalaba okuwandiikiddwa nti,

“Ono ye Yesu, Kabaka w’Abayudaaya.”

38 (K)Waaliwo n’abanyazi babiri abaakomererwa naye omu ku ddyo, n’omulala ku kkono. 39 (L)Awo abantu abaali bayitawo, ne bamuvuma nga bamunyeenyeza emitwe 40 (M)nga bwe bagamba nti, “Wagamba okumenya Yeekaalu, ate ogizimbe mu nnaku ssatu! Weerokole okke wansi okuva ku musaalaba, obanga ggwe Mwana wa Katonda.”

41 Bakabona abakulu n’abawandiisi, n’abakulembeze abalala ne bamuduulira, nga bagamba nti, 42 (N)“Yalokolanga balala, naye ye tasobola kwerokola! Kale nga bw’ali Kabaka wa Isirayiri, ave ku musaalaba akke wansi, naffe tunaamukkiriza! 43 (O)Yeesiga Katonda, kale amuggye ku musaalaba obanga Katonda amwagala. Yagamba nti, ‘Ndi Mwana wa Katonda.’ ” 44 N’abanyazi ababiri abaakomererwa awamu naye nabo ne bamuvuma.

Okufa kwa Yesu

45 (P)Okuviira ddala ku ssaawa mukaaga mu ttuntu okutuusiza ddala essaawa mwenda ez’olweggulo ensi yonna yabikkibwa ekizikiza. 46 (Q)Ku ssaawa nga mwenda Yesu n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ery’omwanguka nti, “Eri, Eri lama sabakusaani,” ekitegeeza nti, “Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?”

47 Naye abamu ku baali bayimiridde awo bwe baakiwulira ne bagamba nti, “Ayita Eriya.”

48 (R)Amangwago omu n’adduka n’addira ekyangwe n’akinnyika mu mwenge omukaatuufu n’akiteeka ku muti, n’akimuwa anuuneko. 49 Naye abalala ne bagamba nti, “Mumuleke. Ka tulabe obanga Eriya anajja n’amulokola.”

50 (S)Awo Yesu ne yeeyongera okwogerera waggulu n’eddoboozi eddene, n’awaayo omwoyo gwe.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.