Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

New Testament in a Year

Read the New Testament from start to finish, from Matthew to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Matayo 25:1-30

Olugero lw’Abawala Ekkumi

25 (A)“Obwakabaka obw’omu ggulu bufaananyizibwa n’abawala embeerera ekkumi, abaatwala ettaala zaabwe ne bagenda okusisinkana anaawasa omugole. (B)Abataano tebaalina magezi, abataano abalala ne baba b’amagezi. Abataalina magezi, ne batatwala mafuta gamala mu ttaala zaabwe. Naye abagezi baatwala amafuta mu macupa gaabwe ag’okweyambisa wamu n’ettaala zaabwe. (C)Naye anaawasa omugole bwe yalwawo okutuuka otulo ne tubakwata bonna, ne beebaka.

“Obudde bwe bwatuuka mu ttumbi oluyoogaano ne lubazuukusa, abantu nga baleekaana nti, ‘Awasa omugole atuuse! Mujje mumwanirize!’

“Abawala embeerera bonna ne bazuukuka ne baseesa ettaala zaabwe. (D)Awo abawala abataano abataalina magezi ne bagamba nti, ‘Mutuwe ku mafuta gammwe, kubanga ettaala zaffe zaagala kuzikira ziggweerera.’

“Naye bannaabwe ne babaddamu nti, ‘Amafuta ge tulinawo gatumala bumazi. Mugende mu maduuka mwegulireyo.’

10 (E)“Naye baali baakagenda anaawasa omugole n’atuuka, abo abaali beeteeseteese ne bayingira ku mbaga, oluggi ne luggalwawo. 11 Oluvannyuma abawala bali abataano ne bakomawo ne bayita nti, ‘Ssebo, tuggulirewo!’ 12 Naye n’abaddamu nti, ‘Ddala ddala mbagamba nti, sibamanyi!’

13 (F)“Kale mutunule mweteeketeeke, kubanga temumanyi kiseera wadde olunaku.”

Olugero lw’Ettalanta

14 (G)“Obwakabaka bwa Katonda, ate bufaananyizibwa n’olugero lw’omusajja eyali agenda olugendo, n’ayita abaddu be n’abalekera ebintu bye. 15 (H)Eyasooka yamuwa ttalanta ttaano, owookubiri bbiri n’owookusatu emu, ng’ageraageranya ng’okusobola kwa buli omu bwe kwali. Bw’atyo ne yeetambulira. 16 Omusajja eyafuna ttalanta ettaano n’azisuubuzisa n’afunamu ttalanta ttaano endala. 17 N’oyo eyalekerwa ttalanta ebiri naye n’aviisaamu endala biri. 18 Naye eyaweebwa ttalanta emu, bwe yagifuna n’agenda n’aziika ttalanta ya mukama we mu ttaka.

19 (I)“Awo nga wayiseewo ekiseera kiwanvu, mukama w’abaddu abo n’akomawo. N’ayita abaddu be bamutegeeze ebyafa ku ttalanta ze yabalekera. 20 Omusajja gwe yalekera ttalanta ettaano n’ajja n’amuleetera ttalanta endala ttaano ng’agamba nti, ‘Mukama wange wampa ttalanta ttaano, nviisizaamu ttalanta endala ttaano.’

21 (J)“Mukama we n’amugamba nti, ‘Weebale, oli muddu mulungi era mwesigwa, obadde mwesigwa mu bintu ebitono, ndikusigira ebintu ebingi. Yingira sanyukira wamu ne mukama wo.’

22 “Eyalekerwa ttalanta ebiri naye n’ajja, n’ategeeza mukama we nti, ‘Ssebo, wandekera ttalanta bbiri, era ne nziviisaamu ttalanta endala bbiri.’

23 (K)“Mukama we n’amugamba nti, ‘Weebale, oli muddu mulungi era mwesigwa, obadde mwesigwa mu bintu ebitono, ndikusigira ebintu ebingi. Yingira osanyukire wamu ne mukama wo.’

24 “Omusajja eyalekerwa ttalanta emu n’ajja, n’agamba nti, ‘Ssebo, nakumanya nga bw’oli omuntu omuzibu, okungulira gy’otaasigira era okuŋŋaanyiza gy’otaasaasaanyiza. 25 Olw’okutya bwe wagenda ne nkweka ttalanta yo mu ttaka era yiino ttalanta yo.’

26 “Naye mukama we n’amugamba nti, ‘Ggwe omuddu omubi era omugayaavu! Obanga wamanya nti ndi muntu akungulira gye ssaasigira, 27 wanditadde ensimbi zange mu bbanka gye bandimpaddemu amagoba nga nkomyewo.’

28 “N’alagira nti, ‘Mumuggyeeko ettalanta eyo mugiwe oli alina ttalanta ekkumi. 29 (L)Kubanga alina aliweebwa abe na bingi naye atalina, n’ebyo by’alina ebitono birimuggyibwako. 30 (M)N’omuddu oyo ataliiko ky’agasa mumusuule ebweru mu kizikiza eri okukaaba n’okuluma obujiji.’

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.