New Testament in a Year
Yesu ayingira n’Ekitiibwa mu Yerusaalemi
21 (A)Awo Yesu n’abayigirizwa be bwe baali basemberera Yerusaalemi nga batuuse kumpi n’ekibuga Besufaage ku lusozi lwa Zeyituuni, Yesu n’atuma babiri ku bayigirizwa be. 2 N’abagamba nti, “Mugende mu kibuga ekiri mu maaso, bwe munaaba mwakakiyingira mujja kulaba endogoyi ng’esibiddwa awo wamu n’omwana gwayo. Muzisumulule muzireete wano. 3 Naye omuntu yenna bw’anaabaako ky’abagamba, mumuddamu nti, ‘Mukama waffe y’azeetaaga,’ amangwago ajja kuziweereza.”
4 Kino kyabaawo okutuukiriza ebigambo nnabbi bye yayogera nti,
5 (B)“Mubuulire omuwala wa Sayuuni nti,
‘Laba Kabaka wammwe ajja gye muli
nga muwombeefu,
nga yeebagadde omwana gw’endogoyi.’ ”
6 Awo abayigirizwa ababiri ne bagenda ne bakola nga Yesu bwe yabalagira. 7 Ne baleeta endogoyi n’omwana gwayo, ne baaliirako eminagiro gyabwe ku ndogoyi, n’agyebagala. 8 (C)Abantu bangi ne baaliira engoye zaabwe mu luguudo n’abalala ne batema amatabi g’emiti ne bagaalira mu luguudo. 9 (D)Ebibiina ebyamukulembera, n’ebyo ebyamuva emabega ne bireekaana nti,
“Ozaana Omwana wa Dawudi!”
“Aweereddwa omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.”
“Ozaana waggulu ennyo!”
10 Awo Yesu bwe yayingira mu Yerusaalemi, ne wabaawo oluyoogaano mu kibuga kyonna nga beebuuza nti, “Ono ye ani?”
11 (E)Abaali mu kibiina ne baddamu nti, “Ono ye Yesu Nnabbi ava mu Nazaaleesi eky’omu Ggaliraaya.”
Yesu mu Yeekaalu
12 (F)Awo Yesu n’ayingira mu Yeekaalu n’agobamu abasuubuzi bonna n’avuunika emmeeza z’abaali bawaanyisa ensimbi n’entebe z’abaali batunda amayiba. 13 (G)N’abagamba nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu,’ naye mmwe mugifudde ‘empuku y’abanyazi.’[a]”
14 (H)Awo abazibe b’amaaso n’abalema ne bajja gy’ali mu Yeekaalu n’abawonya. 15 (I)Naye bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka bwe baalaba eby’ekitalo bye yakola, n’abaana abato abaali mu Yeekaalu nga baleekaanira waggulu nti, “Ozaana Omwana wa Dawudi!” ne banyiiga.
16 (J)Ne bamubuuza nti, “Owulira bano bye bagamba?”
Yesu n’abaddamu nti, “Mpulira. Temusomangako nti,
“ ‘Abaana abato n’abawere abayonka
balimutendereza!’ ”
17 (K)N’abaviira, n’afuluma mu kibuga n’agenda e Besaniya, n’asula eyo.
Omuti Ogwawotoka
18 Awo enkeera bwe yali ng’addayo mu kibuga n’alumwa enjala, 19 (L)n’alengera omutiini ku mabbali g’ekkubo, n’agutuukako n’atasangako ttiini okuggyako amakoola ameereere. N’agugamba nti, “Toddangayo okubala ebibala.” Amangwago omuti ne guwotoka.
20 Abayigirizwa bwe baakiraba ne beewuunya ne beebuuza nti, “Omutiini guwotose gutya amangu?”
21 (M)Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti bw’oba n’okukkiriza nga tobuusabuusa, oyinza okukola ekiri nga kino n’ebisingawo. Oyinza n’okulagira olusozi luno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ ne kibaawo. 22 (N)Buli kye munaasabanga nga mukkiriza, munaakiweebwanga.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.