New Testament in a Year
Obulongoofu n’Obutali Bulongoofu
15 Awo Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne bava e Yerusaalemi ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti: 2 (A)“Abayigirizwa bo lwaki banyoomoola obulombolombo bw’Abakadde? Kubanga tebanaaba mu ngalo nga bagenda okulya emmere.”
3 Naye Yesu naye n’ababuuza nti, “Lwaki mumenya amateeka ga Katonda, nga mwerimbika mu bulombolombo bwammwe? 4 (B)Katonda yagamba nti, ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa. Oyo anaavumanga kitaawe ne nnyina battanga mutte,’ 5 Naye mmwe mugamba nti, Buli agamba kitaawe oba nnyina nti, ‘Ekirabo kye nandikuwadde nkiwaddeyo eri Katonda,’ omuntu oyo teyeetaaga kussaamu kitaawe kitiibwa. 6 Noolwekyo tassaamu kitaawe oba nnyina kitiibwa. Bwe mutyo ne mudibya etteeka lya Katonda olw’obulombolombo bwammwe. 7 Mmwe bannanfuusi! Nnabbi Isaaya yayogera bulungi ebyobunnabbi ebibakwatako bwe yagamba nti,
8 “ ‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa.’
Naye emitima gyabwe gindi wala.
9 (C)‘Okusinza kwabwe kwa bwereere.
Kubanga bayigiriza amateeka abantu ge beekoledde.’ ”
10 Yesu n’ayita ekibiina n’abagamba nti, “Mumpulirize era mutegeere. 11 (D)Omuntu ky’alya si kye kimwonoonyesa, wabula ekyo ekiva mu kamwa ke, kye kimwonoonyesa.”
12 Abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamugamba nti, “Omanyi ebigambo byo nga bwe binyiizizza Abafalisaayo?”
13 (E)Naye Yesu n’addamu nti, “Buli kisimbe Kitange ali mu ggulu ky’ataasimba kigenda kusimbulwa. 14 (F)Noolwekyo mubaleke. Bakulembeze abazibe b’amaaso. Bafaanana omuzibe w’amaaso akulembera muzibe munne, kubanga bombi bagenda kugwa mu kinnya.”
15 (G)Peetero n’amugamba nti, “Tunnyonnyole olugero olwo.”
16 (H)Yesu n’abagamba nti, “Nammwe era temunnategeera? 17 Temumanyi nti buli muntu ky’alya kigenda mu lubuto mwe kiva n’akifulumiza mu kiyigo? 18 (I)Naye ebintu ebiva mu kamwa, biva mu mutima ne byonoona omuntu. 19 (J)Kubanga mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obussi, n’obwenzi, eby’obukaba, n’obubbi, n’okuwaayiriza, n’okuvvoola. 20 (K)Ebyo bye byonoona omuntu, naye okulya nga tonaabye mu ngalo, tekwonoona muntu.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.