Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

New Testament in a Year

Read the New Testament from start to finish, from Matthew to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Matayo 12:1-23

Mukama wa Ssabbiiti

12 (A)Awo mu kiseera ekyo Yesu n’ayita mu nnimiro y’emmere ey’empeke ku lunaku lwa Ssabbiiti. Abayigirizwa be ne balumwa enjala ne batandika okunoga ebirimba by’eŋŋaano ne babirya. (B)Naye Abafalisaayo bwe baalaba kino ne bagamba Yesu nti, “Laba abayigirizwa bo bakola ekitakkirizibwa kukolebwa ku Ssabbiiti.”

(C)Naye Yesu n’abaddamu nti, “Temusomanga ku Dawudi kye yakola bwe yalumwa enjala ne be yali nabo? (D)Yayingira mu nnyumba ya Katonda n’alya emigaati egy’okulaga, egikkirizibwa bakabona bokka okulya. (E)Oba temusomanga mu mateeka nti bakabona ababeera mu luwalo lw’okuweereza mu Yeekaalu ne basobya ku Ssabbiiti tebaliiko musango? (F)Naye mbagamba nti ekisinga Yeekaalu kiri wano. (G)Naye singa mumanyi amakulu ga kino nti, ‘Njagala mubeerenga ba kisa okusinga okuwangayo ssaddaaka,’ temwandinenyezza bataliiko musango. (H)Kubanga Omwana w’Omuntu ye Mukama wa Ssabbiiti.”

N’avaayo n’ajja mu kuŋŋaaniro lyabwe. 10 (I)Laba mwalimu omusajja eyalina omukono ogwakala. Ne babuuza Yesu obanga kikkirizibwa okuwonya ku Ssabbiiti.[a] Baali basuubira nti anaddamu nti kituufu, balyoke bamuwawaabire.

11 (J)Naye n’abaddamu nti, “Singa wabaddewo omuntu mu mmwe ng’alina endiga emu, n’egwa mu bunnya ku lunaku lwa Ssabbiiti, tagiggyamu? 12 (K)Kale, omuntu tasinga nnyo endiga omuwendo? Noolwekyo kikkirizibwa okukola ekirungi ku Ssabbiiti.”

13 Bw’atyo n’agamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” N’agugolola ne guwona, ne guba mulamu nga gunnaagwo! 14 (L)Awo Abafalisaayo ne bafuluma ne bateesa nga bwe banaazikiriza Yesu.

Omuweereza wa Katonda

15 (M)Naye Yesu bwe yakimanya n’afuluma mu kuŋŋaaniro, abantu bangi nnyo ne bamugoberera, n’awonya abaali abalwadde bonna, 16 (N)kyokka n’abakomako baleme okumwatuukiriza. 17 Ebyayogerwa Nnabbi Isaaya biryoke bituukirire nti:

18 (O)“Laba Omuweereza wange, ggwe neerondera,
    gwe njagala ennyo asanyusa emmeeme yange.
Ndimuteekako Omwoyo wange
    era Alisalira amawanga gonna emisango.
19 Taliyomba so talireekaana,
    era tewaliba n’omu aliwulira eddoboozi lye mu nguudo.
20 Talimenya lumuli lunafu,
    wadde okuzikiriza
olutambi lw’ettaala olunyooka.
21     (P)Era abamawanga baliba n’essuubi mu linnya lye.”

Yesu ne Beeruzebuli

22 (Q)Awo Yesu ne bamuleetera omusajja eyaliko dayimooni, nga muzibe w’amaaso era nga tayogera. N’amuwonya, omusajja eyali tasobola kwogera n’asobola okwogera n’okulaba. 23 (R)Abantu bonna ne beewuunya ne boogera nti, “Ddala ddala ono si mwana wa Dawudi?”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.