New Testament in a Year
Yesu Atuma Abayigirizwa Ekkumi n’Ababiri
10 (A)Awo Yesu n’ayita abayigirizwa be ekkumi n’ababiri, ne bajja gy’ali n’abawa obuyinza okugobanga baddayimooni, n’okuwonyanga buli ndwadde n’okukozimba ebya buli ngeri.
2 Amannya g’abayigirizwa ekkumi n’ababiri ge gano:
Simooni, ayitibwa Peetero; ne Andereya, muganda wa Peetero;
ne Yakobo, omwana wa Zebbedaayo; ne Yokaana, muganda wa Yakobo;
3 Firipo; ne Battolomaayo;
ne Tomasi; ne Matayo, omusolooza w’omusolo;
ne Yakobo, omwana wa Alufaayo; ne Saddayo;
4 (B)ne Simooni, Omukananaayo; ne Yuda Isukalyoti, eyalya mu Yesu olukwe.
5 (C)Abo ekkumi n’ababiri Yesu n’abatuma ng’abalagira nti: “Temugenda eri bannamawanga wadde mu kibuga ky’Abasamaliya. 6 (D)Naye mugende eri abaana ba Isirayiri, endiga za Katonda ezaabula. 7 (E)Mugende mubabuulire nti, ‘Obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.’ 8 Muwonye abalwadde, muzuukize abafu, mulongoose abagenge, era mugobe ne baddayimooni. Muweereddwa buwa nammwe muwenga buwa.
9 (F)“Temubanga na zaabu oba ffeeza wadde ekikomo mu nkoba zammwe, 10 (G)wadde ensawo ey’oku mugongo, wadde essaati ebbiri, wadde omugogo gw’engatto omulala, wadde omuggo. Kubanga omukozi asaanira okuweebwa eby’okumuyamba. 11 Buli kibuga oba kyalo mwe mutuukanga, munoonyengamu amaka g’omuntu asaanidde, musulenga omwo okutuusa lwe mulivaayo. 12 (H)Bwe muyingiranga mu nnyumba mubeeyanjulire, amaka ago mugalagenga okwagala kwammwe. 13 Amaka ago bwe gabanga ag’abantu abasaanidde, emirembe gyammwe ginaabeeranga ku bo, naye bwe gatabanga bwe gatyo emirembe gyammwe ginaabaddiranga. 14 (I)Buli atabasembezenga wadde okuwuliriza ebigambo byammwe, bwe mubanga muva mu kibuga ekyo oba mu nnyumba eyo, mukunkumulanga enfuufu[a] ey’oku bigere byammwe. 15 (J)Ddala ddala mbagamba nti ensi ya Sodomu ne Ggomola ziriweebwa ekibonerezo ku lunaku olw’okusalirako omusango ekirigumiikirizika okukira ekibuga ekyo oba amaka ago.
16 (K)“Laba mbatuma ng’endiga mu misege. Noolwekyo mubeere bagezigezi ng’emisota, era abataliiko kya kunenyezebwa ng’amayiba. 17 (L)Mwekuume abantu! Kubanga balibawaayo eri enkiiko z’Abakadde, ne mu makuŋŋaaniro gaabwe, ne babakuba emigo. 18 (M)Mulitwalibwa mu maaso ga bagavana ne bakabaka ku lwange, okuba abajulirwa eri bo n’abannaggwanga. 19 (N)Bwe muweebwangayo, temweraliikiriranga kye munaawoza, kubanga kinaabaweebwanga mu kiseera ekyo. 20 (O)Kubanga si mmwe mugenda okwogera wabula Omwoyo wa Kitammwe y’alyogerera mu mmwe!
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.