New Testament in a Year
Kristo yeewaayo omulundi gumu ku lwa bonna
10 (A)Amateeka kisiikirize busiikirize eky’ebirungi ebigenda okujja, go ku bwagwo tegamala, kubanga ssaddaaka ezo ze zimu eza buli mwaka ze bawaayo obutayosa ezitayinza kutukuza abo abaziwaayo. 2 Ssaddaaka ezo zandibadde tezikyaweebwayo, kubanga abaaziwaayo, omulundi ogumu gwandibamaze okubatukuza, ne bataddayo kweraliikirira olw’ebibi byabwe. 3 (B)Naye ssaddaaka eza buli mwaka zaabajjukizanga ebibi byabwe. 4 (C)Kubanga omusaayi gw’ente ennume n’embuzi tegusobola kuggyawo bibi.
5 (D)Noolwekyo Kristo bwe yali ng’ajja mu nsi kyeyava agamba nti,
“Ssaddaaka n’ebiweebwayo tewabyagala.
Naye wanteekerateekera omubiri.
6 Ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’ekibi,
tewabisiima.
7 (E)Kyennava njogera nti, ‘Nzuno, nga bwe kyawandiikibwa mu mizingo gy’ebyawandiikibwa:
Nzize okukola by’oyagala, ng’Ebyawandiikibwa bwe binjogerako.’ ”
8 (F)Nga bwe kyogera waggulu nti, Ssaddaaka n’ebiweebwayo, n’ebiweebwayo ebiramba ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’ebibi tewabyagala so tewabisiima, so nga biweebwayo ng’amateeka bwe galagira, 9 (G)n’alyoka agamba nti, “Nzuuno nzize okukola by’oyagala.” Noolwekyo aggyawo enkola esooka alyoke anyweze enkola eyookubiri. 10 (H)Twatukuzibwa olw’okwagala kwe, omubiri gwa Yesu Kristo bwe gwaweebwayo omulundi ogumu ku lwaffe ffenna.
11 (I)Buli kabona ayimirira buli lunaku ng’aweereza, n’awaayo ssaddaaka mu ngeri y’emu, ezitayinza kuggyawo bibi, 12 naye Kristo bwe yamala okuwaayo ssaddaaka ey’emirembe gyonna, olw’ebibi, n’alyoka atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. 13 (J)Okuva mu kiseera kino alindirira abalabe be bafuulibwe entebe y’ebigere bye. 14 (K)Kubanga olw’ekiweebwayo ekyo ekimu, abaatukuzibwa yabawa obutuukirivu obw’emirembe gyonna.
15 (L)Mwoyo Mutukuvu naye akikakasa bw’ayogera nti,
16 (M)“Eno y’endagaano gye ndikola nabo,
oluvannyuma lw’ennaku ezo, bw’ayogera Mukama.
Nditeeka amateeka gange ku mitima gyabwe,
era ndiwandiika amateeka gange mu myoyo gyabwe.”
17 (N)Ayongerako kino nti,
“Sirijjukira nate bibi byabwe
newaakubadde obujeemu bwabwe.”
18 Naye kaakano awali okusonyiyibwa ebintu ebyo, waba tewakyali kyetaagisa kuwaayo kiweebwayo olw’ebibi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.