Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

New Testament in a Year

Read the New Testament from start to finish, from Matthew to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Abakkolinso 11:17-34

Ekyekiro kya Mukama waffe

17 (A)Mu bino bye ŋŋenda okubalagira temuli kya kubatenda, kubanga enkuŋŋaana zammwe zivaamu bibi okusinga ebirungi. 18 (B)Ekisooka bwe mukuŋŋaana ng’ekibiina, mwesalaasalamu ebitundu, era nzikiriza ng’ebimu ku ebyo bituufu. 19 (C)Naye okwesalaasalamu okwo kusaana kubeewo abatuufu balyoke bategeerekeke. 20 Bwe mukuŋŋaana ekyo kye mulya si kye kyekiro kya Mukama waffe. 21 (D)Kubanga bwe muba mulya buli omu alya ku lulwe, talinda banne. Abamu basigala bakyali bayala, ng’abalala bo batamidde.

22 (E)Temulina wammwe gye muyinza okuliira n’okunywera? Oba munyooma ekkanisa ya Katonda, ne muswaza abaavu? Mbagambe ki? Mbatende olw’ekyo? Nedda na katono, sijja kubatenda. 23 (F)Kubanga Mukama yennyini kye yampa ky’ekyo kye nabayigiriza nti, Mukama waffe Yesu, mu kiro kiri kye baamuliiramu olukwe, yaddira omugaati, 24 ne yeebaza Katonda, n’agumenyaamenyamu, n’agamba nti, “Guno mubiri gwange, oguweebwayo ku lwammwe, mugutoole mulye, mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga.” 25 (G)Era mu ngeri y’emu bwe baamala okulya, yaddira ekikompe n’agamba nti, “Ekikompe kino y’endagaano empya ekoleddwa Katonda nammwe, ekakasiddwa n’omusaayi gwange, mutoole munywe, mukolenga bwe mutyo buli lwe munaakinywangako okunzijukiranga.” 26 Kubanga buli lwe munaalyanga omugaati guno ne buli lwe munaanywanga ku kikompe, munaategeezanga abantu okufa kwa Mukama waffe okutuusa Lw’alijja.

27 (H)Noolwekyo buli alya omugaati guno oba anywa ku kikompe kya Mukama waffe nga tasaanidde, azza omusango ku mubiri gwa Mukama waffe, ne ku musaayi gwe. 28 (I)Noolwekyo omuntu amalenga kwekebera, alyoke alye ku mugaati n’okunywa ku kikompe. 29 Kubanga buli alya era anywa nga tafaayo kutegeera makulu ga mubiri gwa Mukama waffe, aba yeesalidde yekka omusango okumusinga. 30 Mu mmwe kyemuvudde mubaamu abanafu n’abalwadde, era bangi bafudde. 31 (J)Naye singa tusooka okwekebera, tetwandisaliddwa musango kutusinga. 32 (K)Kyokka Mukama bw’atusalira omusango aba atukangavvula tuleme kusalirwa musango awamu n’ensi. 33 Kale baganda bange, bwe mukuŋŋaananga awamu okulya, buli omu alinde munne. 34 (L)Era singa wabaawo alumwa enjala amale okulya eka, bwe mukuŋŋaana muleme kwereetako musango. N’ebirala ndibirongoosa, we ndijjira wonna.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.