New Testament in a Year
19 (A)Kale kiki kye ngezaako okutegeeza? Mulowooza ŋŋamba nti ebyokulya ebiweebwayo eri bakatonda abalala birimu amakulu? Oba nti bakatonda abalala balina omugaso? 20 (B)Nedda. Kye ŋŋamba kye kino nti abo abawaayo ssaddaaka eri bakatonda abalala bawa eri baddayimooni so si eri Katonda. Saagala mwegatte wamu ne baddayimooni mussekimu nabo. 21 (C)Temuyinza kunywa ku kikompe kya Mukama ate ne munywa ne ku kikompe kya baddayimooni. Era temuyinza kuliira ku mmeeza ya Mukama ate ne ku ya baddayimooni.
22 (D)Oba Mukama tetumukwasa buggya? Tumusinza amaanyi? 23 (E)Byonna bikkirizibwa, naye si byonna ebirimu omugaso. Byonna bikkirizibwa naye si byonna ebizimba. 24 (F)Omuntu yenna alemenga okwefaako yekka, naye afengayo ne ku bya munne.
25 (G)Mwegulire ennyama eya buli ngeri gye batunda mu katale mulye, awatali kusooka kwebuuza olw’omwoyo gwammwe. 26 (H)Kubanga ensi ya Mukama n’okujjula kwayo.
27 (I)Singa omu ku batali bakkiriza abayita ku kijjulo, ne mwagala okugenda, kale mulyenga kyonna kye banaabagabulanga nga temuliiko kye mubuuzizza olw’obulungi bw’omwoyo gwammwe. 28 (J)Kyokka omuntu yenna bw’abategeezanga nti, “Kino kyaweereddwayo eri bakatonda abalala,” temukiryanga olw’oyo abategeezezza n’olw’obulungi bw’omwoyo gwammwe, 29 (K)bwe njogera bwe ntyo, njogera ku mwoyo gwe so si ogw’oli omulala. Kubanga lwaki eddembe lyange lisalirwa omusango omwoyo gw’omulala? 30 (L)Bwe ndya nga neebazizza, lwaki nnenyezebwa olw’ekyo kye ndya nga neebazizza?
31 (M)Kubanga buli kye mukola, oba kulya oba kunywa, mukikole nga mugenderera kugulumiza Katonda. 32 (N)Temukolanga ekyo ekineesittaza Abayudaaya oba Abayonaani wadde ab’ekkanisa ya Katonda. 33 (O)Nange bwe ntyo ngezaako okusanyusa abantu bonna mu byonna bye nkola, nga sinoonya byange, wabula nga nfa ku bulungi bw’abalala balyoke balokolebwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.