Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

New Testament in a Year

Read the New Testament from start to finish, from Matthew to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Abakkolinso 7:20-40

20 (A)Buli omu abeerenga mu kuyitibwa Katonda kwe yamuyitiramu. 21 Oba nga wayitibwa ng’oli muddu ekyo kireme okuba ekikulu; naye bw’oba ng’ofunye omukisa okufuuka ow’eddembe, gukozese. 22 (B)Kubanga eyayitibwa Mukama nga muddu, Mukama yamufuula wa ddembe, n’oyo eyali ow’eddembe yafuuka muddu wa Kristo. 23 (C)Mwagulibwa na muwendo noolwekyo temufuukanga baddu ba bantu. 24 (D)Kale abooluganda, buli kifo kyonna omuntu yenna ky’alimu, mwe yayitirwa abeere mu ekyo.

Abatali bafumbo ne bannamwandu

25 (E)Naye ku ky’abatafumbirwanga wadde okuwasa, sirina kiragiro kiva eri Mukama wabula Mukama mu kusaasira kwe yampa amagezi agayinza okwesigibwa kwe nnaasinziira okubawa ekirowoozo kyange. 26 (F)Kino nkirowooza nga kirungi, olw’embeera eya kaakano, nga kirungi omuntu okusigala nga bw’ali. 27 Obanga oli mufumbo tosaanye kwawukana na munno. Naye obanga wayawukana n’omukazi, tonoonya wa kuwasa. 28 Kyokka omusajja bw’awasa aba tayonoonye, era n’embeerera bw’afumbirwa naye aba tayonoonye. Wabula abafumbo, obufumbo bujja kubaleetera emitawaana gye nandiyagadde mwewale.

29 (G)Naye kino kye mbategeeza abooluganda nti ekiseera kiyimpawadde. Noolwekyo abo abalina abakazi babe ng’abatabalina. 30 N’abo abakaaba babe ng’abatakaaba, n’abo abasanyuka babe ng’abatasanyuka. N’abo abagula ebintu babe ng’abatalina kintu kye bayita kyabwe. 31 (H)Era n’abo abakozesa eby’oku nsi kuno bireme okubamalamu ennyo, kubanga ensi eya kaakano eggwaawo.

32 (I)Naye kye mbagaliza mmwe bwe buteraliikirira. Omusajja atali mufumbo yeemalira ku bya Mukama, engeri gy’asanyusa Mukama. 33 Naye omufumbo yeeraliikirira bya nsi, nga bw’anaasanyusa mukazi we; 34 (J)aba yeesazeemu, ng’atta aga n’aga. N’omukazi atali mufumbo n’embeerera bafaayo ku bintu bya Mukama, babeerenga batukuvu mu mubiri ne mu mwoyo. Naye omukazi omufumbo yeeraliikirira bya mu nsi, engeri gy’anaasanyusaamu bba. 35 (K)Bino mbyogera olw’okubagasa, so si kubaziyiza kuwasa na kufumbirwa. Kubanga njagala musobole okuweereza Mukama nga tewali birala bibaziyiza okweweerayo ddala.

36 (L)Omusajja bw’alowooza nti aba teyeeyisizza bulungi eri omuwala oyo gw’ayogereza bw’atamuwasa, bwe bafumbiriganwa, aba tayonoonye. 37 Naye oyo asobola okwefuga ng’alina omutima omunywevu, n’asalawo awatali kuwalirizibwa nti omuwala tajja kumuwasa, aba asazeewo bulungi. 38 (M)Kale oyo awasa omuwala gw’ayogereza aba akoze bulungi, naye oyo atamuwasa y’aba asinze okukola obulungi.

39 (N)Omukazi omufumbo abeera kitundu kya bba, bba bw’aba akyali mulamu. Naye bba bw’afa olwo ayinza okufumbirwa omusajja omulala gw’ayagala, kyokka omusajja oyo ateekwa kuba mu Mukama waffe yekka. 40 (O)Naye nze ndowooza nti alina omukisa oyo singa taddayo kufumbirwa. Era ndowooza nga nange nnina Omwoyo wa Katonda.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.