New Testament in a Year
Pawulo Agenda e Yerusaalemi
21 (A)Awo bwe twamala okusiibulagana ne tuseeyeeya butereevu okutuuka e Koosi. Olunaku olwaddirira ne tutuuka e Rodise, we twava okulaga e Patala. 2 (B)Okuva awo twagendera mu kyombo ekyali kigenda mu Foyiniikiya. 3 Ne tulengera ekizinga Kupulo, ne tukiyitako nga tukirese ku mukono gwaffe ogwa kkono, ne tuseeyeeya ne tugoba ku mwalo gw’e Ttuulo mu Siriya, kubanga ekyombo we kyali kigenda okutikkulirwa ebintu. 4 (C)Bwe twava mu kyombo ne tunoonya abayigirizwa ne tubeera nabo ennaku musanvu. Mwoyo Mutukuvu n’ayogerera mu bayigirizwa abo ne balabula Pawulo aleme kugenda Yerusaalemi. 5 (D)Ennaku ezo bwe zaggwaako ne tusitula. Abayigirizwa ne bakyala baabwe n’abaana baabwe ne batuwerekerako okutuggya mu kibuga okututuusiza ddala ku mwalo. Awo ffenna ne tufukamira ne tusaba. 6 Bwe twamala okusaba ne tusiibulagana. Ffe ne tuyingira ekyombo kyaffe, ne bannaffe ne baddayo ewaabwe.
7 (E)Bwe twava e Ttuulo ne tugoba e Potolemaayi, ne tulamusaganya n’abakkiriza, ne tumala nabo olunaku lumu. 8 (F)Enkeera ne tweyongerayo okutuuka e Kayisaliya, ne tubeera mu maka ga Firipo Omubuulizi w’Enjiri, eyali omu ku badiikoni omusanvu abaasooka. 9 (G)Yalina abaana be abawala abaali batannafumbirwa bana nga balina ekirabo eky’obunnabbi.
10 (H)Ne tumalawo ennaku eziwerako, ne wajja nnabbi erinnya lye Agabo ng’ava Buyudaaya. 11 (I)Bwe yajja okutulaba, n’addira olukoba lwa Pawulo ne yeesiba amagulu n’emikono, n’agamba nti, “Mwoyo Mutukuvu ayogera nti, ‘Bw’ati nannyini lukoba luno bw’alisibwa Abayudaaya mu Yerusaalemi ne bamuwaayo mu mikono gy’Abamawanga.’ ”
12 Bwe twawulira ebigambo ebyo ffenna awamu n’abatuuze b’omu kitundu ekyo ne twegayirira Pawulo aleme kugenda Yerusaalemi. 13 (J)Naye Pawulo n’addamu nti, “Lwaki mukaaba n’okwagala okunnafuya omutima? Kubanga seeteeseteese kusibibwa kyokka, naye neetegese n’okufiira mu Yerusaalemi olw’erinnya lya Mukama waffe Yesu.” 14 Bwe twalaba nga tekisoboka kumukkirizisa butagenda, ne tubivaako, ne tugamba nti, “Mukama ky’ayagala kye kiba kikolebwa.”
15 Bwe waayitawo ennaku ntono ne tusiba ebintu byaffe, ne tusitula okulaga mu Yerusaalemi. 16 (K)Abamu ku bayigirizwa ab’e Kayisaliya ne batuwerekerako, bwe twatuuka ne tubeera mu maka ga Munasoni, edda eyabeeranga e Kupulo era nga yali omu ku bantu abaasooka okukkiriza. 17 (L)Bwe twatuuka mu Yerusaalemi abooluganda ne batwaniriza n’essanyu lingi nnyo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.