Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

New Testament in a Year

Read the New Testament from start to finish, from Matthew to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ebikolwa by’Abatume 15:22-41

Ebbaluwa y’Olukiiko eri Abaamawanga Abakkiriza

22 (A)Awo abatume n’abakadde b’Ekkanisa n’abooluganda bonna mu Kkanisa ne bateesa okutuma ababaka bagende ne Pawulo ne Balunabba mu Antiyokiya okubategeeza kye basazeewo. Abasajja abaalondebwa nga bakulembeze mu Kkanisa baali: Yuda (era gwe bayita Balusaba) ne Siira. 23 (B)Ne baweebwa ebbaluwa gye baatwala ng’esoma bw’eti:

Ffe abatume, n’abakadde b’ekkanisa,

Eri abooluganda, mu Antiyokiya yonna ne Siriya ne Kirukiya:

Abooluganda tubalamusizza.

24 (C)Tuwulidde nti abamu ku booluganda baava wano ne bajja eyo nga si ffe tubatumye, ne boogera nammwe ebigambo ebyabatabulatabula mu kukkiriza kwammwe ne bibakeŋŋentereza emitima. 25 Kyetuvudde tuteesa ffenna, era ne tukkiriziganya bumu, okubatumira ababaka baffe bajjire wamu n’abaagalwa baffe, Balunabba ne Pawulo, 26 (D)abasajja abeewaddeyo okuweereza Mukama waffe Yesu Kristo nga tebabalirira bulamu bwabwe. 27 Tubatumidde Yuda ne Siira bongere okubannyonnyola n’akamwa ebyo ebiri mu bbaluwa eno. 28 (E)Kubanga kwe kuteesa kwa Mwoyo Mutukuvu, era naffe, nga tekisaanira kubatikka migugu gya bwereere egiteetaagibwa, wabula musaana okugoberera bino: 29 (F)Mwewalenga ennyama ettiddwa olw’okuweebwayo eri bakatonda abalala, mwewalenga n’okulya omusaayi, era n’ennyama ey’ebisolo ebitugiddwa, era mwewalenga obwenzi. Bwe muneegendereza ne mwewala ebintu ebyo, munaaba mukoze bulungi.

Mweraba.

30 Awo abaatumibwa ne basitula ne bagenda mu Antiyokiya, ne bakuŋŋaanya ekibiina ky’abakkiriza ne babakwasa ebbaluwa eyo. 31 Bwe baagisoma, essanyu ne liba jjitirivu mu Kkanisa yonna olw’ebyo ebyagirimu. 32 Awo Yuda ne Siira, olwokubanga baali bannabbi, ne boogerera ebbanga ggwanvu nga bakubiriza abooluganda okunyweza okukkiriza kwabwe. 33 (G)Awo Yuda ne Siira ne bamalayo ennaku ntonotono ne basiibula okuddayo eri abaabatuma. Abooluganda ne babatuma okulamusa abali mu Yerusaalemi n’okubeebaza olw’obubaka bwe baabaweereza. 34 Naye Siira n’asalawo okusigalayo. 35 (H)Pawulo ne Balunabba ne babeera mu Antiyokiya okumala ebbanga nga bakolera wamu n’abalala nga babuuliira Enjiri era n’okuyigiriza.

Pawulo ne Balunabba Baawukana

36 (I)Awo nga wayiseewo ennaku Pawulo n’agamba Balunabba baddeyo mu bibuga gye baabuulira Enjiri, bagende nga bakyalira abooluganda, balabe nga bwe bali. 37 (J)Balunabba n’akkiriza, wabula n’ayagala ne Yokaana Makko agende nabo. 38 (K)Naye Pawulo ekyo n’atakyagala, kubanga Makko yabaawukanako n’abaleka e Panfuliya ng’omulimu ogwabatwala tebannagumaliriza. 39 Ne balemwa okukkiriziganya mu nsonga eyo, n’ekyavaamu kwe kwawukana. Balunabba n’atwala Makko ne basaabala ku nnyanja okulaga mu Kupulo. 40 (L)Pawulo n’alonda Siira, abooluganda ne bamusabira ekisa kya Mukama mu lugendo lwe. 41 Ne bayita mu Siriya ne mu Kirukiya nga bagenda bagumya ekkanisa.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.