Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

New Testament in a Year

Read the New Testament from start to finish, from Matthew to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yokaana 18:1-18

Yesu Akwatibwa

18 (A)Awo Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’afuluma n’abayigirizwa be, ne balaga emitala w’akagga Kidulooni. Mu kifo ekyo mwalimu ennimiro y’emizeeyituuni, Yesu n’abayigirizwa be ne bayingira omwo.

(B)Yuda, eyamulyamu olukwe, ekifo ekyo yali akimanyi, kubanga Yesu yagendangayo emirundi mingi ng’ali n’abayigirizwa be. (C)Awo Yuda n’ajja mu kifo ekyo ng’ali n’ekibinja ky’abaserikale, n’abaweereza ba Bakabona abakulu n’ab’Abafalisaayo. Bajja nga balina ettaala n’emimuli n’ebyokulwanyisa.

(D)Yesu bwe yamanya byonna ebyali bigenda okumubaako, n’avaayo n’ababuuza nti, “Munoonya ani?” Ne baddamu nti, “Tunoonya Yesu Omunnazaaleesi.” Yesu n’abaddamu nti, “Ye Nze,” Yuda, eyamulyamu olukwe, yali ayimiridde nabo. Yesu bwe yabagamba nti, “Ye Nze” ne badda emabega ne bagwa wansi. (E)Yesu n’ababuuza omulundi ogwokubiri nti, “Munoonya ani?” Ne baddamu nti, “Yesu Omunnazaaleesi.” Yesu n’abaddamu nti, “Mbabuulidde nti, Ye Nze. Kale obanga munoonya Nze, bano mubaleke bagende.” (F)Yakola kino, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire ekigamba nti, “Abo be wampa saabuzaako n’omu.”

10 Awo Simooni Peetero, eyalina ekitala, n’akisowolayo, n’atema omuddu wa Kabona Asinga Obukulu n’amusalako okutu okwa ddyo. Erinnya ly’omuddu oyo nga ye Maluko. 11 (G)Yesu n’alagira Peetero nti, “Zza ekitala mu kiraato kyakyo. Ekikompe Kitange ky’ampadde, siikinywe?”

12 (H)Awo ekibinja ky’abaserikale n’omuduumizi waabwe n’abaweereza b’Abayudaaya, ne bakwata Yesu ne bamusiba. 13 (I)Ne bamutwala ewa Ana, eyali mukoddomi wa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu mu mwaka ogwo.[a] 14 (J)Kayaafa oyo, y’oli eyawa Abayudaaya amagezi nti, “Kirungi omuntu omu afiirire bonna.”

Peetero Yeegaana Yesu Omulundi Ogusooka

15 (K)Simooni Peetero n’omuyigirizwa omulala eyali amanyiddwa Kabona Asinga Obukulu, ne bagoberera Yesu. Omuyigirizwa oyo eyali amanyiddwa n’agoberera Yesu mu luggya lwa Kabona Asinga Obukulu, 16 nga Peetero ye ayimiridde wabweru ku mulyango; omuyigirizwa oyo omulala bwe yayogera n’omuggazi w’oluggi n’ayingiza Peetero.

17 (L)Omuwala omuggazi n’abuuza Peetero nti, “Naawe oli omu ku bayigirizwa b’omuntu oyo?”

Peetero n’addamu nti, “Nedda.”

18 (M)Obudde bwali bwa mpewo, abaddu n’abaweereza baali bakumye omuliro nga boota, ne Peetero naye ng’ayimiridde nabo ng’ayota omuliro.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.