New Testament in a Year
21 (A)Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’alumwa nnyo mu mwoyo, n’agamba nti, “Ddala ddala mbagamba, omu ku mmwe anandyamu olukwe.”
22 Abayigirizwa ne batunulaganako, nga tebamanyidde ddala gw’ayogerako. 23 (B)Omu ku bayigirizwa, Yesu gwe yayagalanga, yali agalamidde okumpi n’ekifuba kya Yesu, 24 Simooni Peetero n’amutemyako ng’amugamba nti, “Mutubuulize gw’ayogerako.”
25 (C)Kale bwe yaddayo okugalamira ng’aliraanye ekifuba kya Yesu, n’amubuuza nti, “Mukama waffe, gw’oyogerako ye ani?” 26 Yesu n’addamu nti, “Gwe nnaakoleza ekitole ne nkimuwa nga ye wuuyo.” Awo n’akwata ekitole, n’akikoza n’akiwa Yuda Isukalyoti omwana wa Simooni. 27 (D)Yuda bwe yamala okuweebwa ekitole ekyo, Setaani n’amuyingiramu.
Awo Yesu n’amugamba nti, “Ky’okola kikole mangu!” 28 Ku baali balya tewaali n’omu eyategeera kyeyava amugamba bw’atyo. 29 (E)Abamu baalowooza nti nga Yuda bwe yali atereka ensimbi, Yesu amugambye agende agule bye beetaaga ku mbaga, oba nti abeeko by’agabira abaavu. 30 (F)Yuda olwafuna ekitole, amangwago n’afuluma ebweru; obudde bwali kiro.
31 (G)Yuda olwafuluma, Yesu n’agamba nti, “Kaakano Omwana w’Omuntu agulumizibbwa ne Katonda agulumizibbwa mu ye. 32 (H)Era obanga Katonda agulumizibbwa mu ye, Katonda yeegulumiza ye yennyini, era amangwago ajja kumugulumiza.
33 (I)“Baana bange, akaseera katono ke nkyali nammwe. Mulinnoonya era nga bwe nagamba Abayudaaya nti, ‘Gye ŋŋenda mmwe temuyinza kujjayo,’ era nammwe bwe mbagamba kaakano.
34 (J)“Mbawa ekiragiro ekiggya: Mwagalanenga nga nze bwe mbaagala. 35 (K)Bwe munaayagalananga abantu bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange.”
36 (L)Awo Simooni Peetero n’amubuuza nti, “Mukama waffe olaga wa?”
Yesu n’amuddamu nti, “Tosobola kugenda nange kaakano, wabula olingoberera oluvannyuma.”
37 Peetero n’amubuuza nti, “Mukama wange, lwaki siyinza kukugoberera kaakano? Nnaawaayo obulamu bwange ku lulwo.”
38 (M)Yesu n’amuddamu nti, “Onoowaayo obulamu bwo ku lwange? Ddala ddala nkugamba nti, Enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.