New Testament in a Year
Okuzaalibwa kwa Yokaana
57 Awo ekiseera kya Erisabesi eky’okuzaala ne kituuka, n’azaala omwana wabulenzi. 58 Baliraanwa ba Erisabesi n’ab’ekika kye ne bawulira nga Mukama bw’amulaze ekisa, ne basanyukira wamu naye.
59 (A)Awo omwana bwe yaweza ennaku omunaana, ne bajja okumukomola, bonna nga balowooza nti ajja kutuumibwa erinnya lya kitaawe Zaakaliya. 60 (B)Naye Erisabesi n’abagamba nti, “Nedda, ajja kutuumibwa Yokaana.”
61 Ne bamuwakanya nga bagamba nti, “Mu kika kyo kyonna tetuwulirangayo yatuumibwa linnya eryo.”
62 (C)Ne babuuza kitaawe w’omwana erinnya ly’ayagala atuumibwe. 63 (D)N’abasaba eky’okuwandiikako, n’awandiikako nti, “Erinnya lye ye Yokaana!” Bonna ne beewuunya nnyo! 64 (E)Amangwago akamwa ka Zaakaliya ne kagguka, n’olulimi lwe ne lusumulukuka, n’atandika okwogera n’okutendereza Katonda. 65 (F)Abantu bonna ab’omu kitundu ekyo ne batya nnyo, era ebigambo ebyo ne bibuna mu nsi yonna ey’e Buyudaaya ey’ensozi. 66 (G)Buli eyawulira ebigambo ebyo n’abirowoozaako nnyo mu mutima gwe, ne yeebuuza nti, “Naye omwana ono bw’alikula aliba atya?” Kubanga awatali kubuusabuusa, omukono gwa Mukama gwali wamu naye.
Oluyimba lwa Zaakaliya
67 (H)Awo Zaakaliya kitaawe, n’ajjula Mwoyo Mutukuvu n’awa obunnabbi nti,
68 (I)“Atenderezebwe Mukama Katonda wa Isirayiri,
kubanga akyalidde abantu be, era abanunudde.
69 (J)Yatuyimusiriza obuyinza obw’obulokozi,
mu nnyumba y’omuddu we Dawudi.
70 (K)Nga bwe yasuubiriza mu bigambo bya bannabbi be abatukuvu ab’edda ennyo,
71 Okulokolebwa mu balabe baffe,
n’okuva mu mukono gw’abo bonna abatukyawa,
72 (L)okulaga bajjajjaffe ekisa,
n’ajjukira n’endagaano ye entukuvu,
73 (M)ekirayiro kye yalayirira jjajjaffe Ibulayimu,
74 (N)okukituukiriza, n’okulokolebwa okuva mu mukono gw’abalabe baffe awatali kutya,
tulyoke tuweereze mu maaso ge,
75 (O)mu butukuvu ne mu butuukirivu ennaku zonna ez’obulamu bwaffe.
76 (P)“Naawe, mwana wange, oliyitibwa nnabbi w’Oyo Ali Waggulu Ennyo;
kubanga gw’olikulembera Mukama okumuteekerateekera amakubo ge.
77 (Q)Okumanyisa abantu be obulokozi,
obw’okusonyiyibwa ebibi byabwe.
78 (R)Byonna birituukirira olw’ekisa kya Katonda waffe ekingi.
Emmambya esala eritukyalira okuva mu ggulu,
79 (S)okwakira abo abatudde mu kizikiza
ne mu kisiikirize eky’okufa,
okuluŋŋamya ebigere byaffe mu kkubo ery’emirembe.”
80 (T)Omwana n’akula n’ayongerwako amaanyi mu mwoyo, n’abeera mu malungu okutuusa ku lunaku lwe yayolesebwa eri Isirayiri.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.