M’Cheyne Bible Reading Plan
Ebyambalo by’Obwakabona
28 (A)“Muganda wo Alooni muyiteyo mu baana ba Isirayiri, awamu ne batabani be: Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali, ne Isamaali, bajje bampeereze nga be bakabona. 2 (B)Muganda wo Alooni mutungire ebyambalo ebitukuvu, nga bya kitiibwa era nga birabika bulungi. 3 (C)Yogera n’abo bonna abasobola, be nawa ekirabo eky’amagezi mu mirimu egyo, bakolere Alooni ebyambalo mw’anaayawulirwa okubeera kabona wange. 4 (D)Bino bye byambalo bye banaakola: eky’omu kifuba, ekkanzu ey’obwakabona okutali mikono ennyimpi eyitibwa ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi; ng’ekoma mu ntumbwe; omunagiro; ekkooti erimu obusaze obw’obusimba n’obw’obukiika; ekitambaala; n’olukoba. Bakolere Alooni ne batabani be ebyambalo ebitukuvu balyoke bampeereze nga be bakabona. 5 Abakozi baweebwe ewuzi eza zaabu, ne bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu omulange.
Ekkanzu eyitibwa Efodi
6 “Abakozi abakugu bakole ekkanzu ey’obwakabona ennyimpi etaliiko mikono n’ewuzi eza zaabu, ne bbululu, ne myufu, ne linena omulebevu omulange. 7 Ebeere n’eby’okubibegabega bibiri nga bitungiddwa w’ekoma, eryoke egattibwe bulungi. 8 Omusipi gwayo mu kiwato gukolebwe n’amagezi mangi nga aganaakola ekkanzu ey’obwakabona, era n’ebinaakola bifaanagane, ng’ewuzi za zaabu, ne bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu alangiddwa.
9 “Oddire amayinja ga onuku abiri, ogalambeko amannya ga batabani ba Isirayiri, 10 amannya mukaaga ku jjinja erimu, n’amannya g’abasigaddewo omukaaga ku jjinja eryokubiri, ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kugenda kuddiriragana. 11 Olambe amannya ga batabani ba Isirayiri ku mayinja ago abiri ng’omusazi w’amayinja bw’ayola akabonero ku jjinja; ogateeke mu fuleemu ogeetoolooze n’emikugiro egya zaabu. 12 Amayinja ago ojja gakwasiza ku by’okubibegabega eby’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, ng’amayinja ag’ekijjukizo ky’abaana ba Isirayiri. Alooni asitulenga amannya gaabwe awali Mukama ng’ekijjukizo. 13 Okole fuleemu eza zaabu, 14 n’enjegere bbiri eza zaabu omuka, ozirange ng’emiguwa; olyoke osibire enjegere ez’oku fuleemu.
Ekyomukifuba
15 “Kola ekyomukifuba eky’okutereezanga ensonga, nga mulimu gwa kikugu ng’ogw’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, n’ewuzi eza zaabu, ne bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu omulange. 16 Kijja kwenkanankana, buli ludda sentimita amakumi abiri mu bbiri, okiwetemu wakati. 17 Otungireko ennyiriri nnya ez’amayinja ag’omuwendo omungi. Mu lunyiriri olusooka osseemu amayinja saasiyo, ne topazi, ne kaabankulo; 18 ne mu lunyiriri olwokubiri osseemu emalada, ne safiro ne dayamandi; 19 ne mu lunyiriri olwokusatu osseemu jasinta; ne ageti, ne ametisita, 20 ne mu lunyiriri olwokuna osseemu berulo, ne onuku, ne yasipero, ogateeke mu fuleemu ya zaabu. 21 Wabeerewo amayinja kkumi n’abiri, n’amannya gaago ng’amannya g’abatabani ba Isirayiri. Gasalibwe bulungi ng’obubonero obuwoolebwa, nga ku buli limu kulambiddwako erinnya lyako okumalirayo ddala amannya g’ebika ekkumi n’ebibiri.
22 “Ekyomukifuba kikolere enjegere ennange ng’emiguwa gya zaabu omuka. 23 Era ekyomukifuba kikolere empeta za zaabu bbiri, oteeke empeta ezo zombi ku mikugiro ebiri egy’ekyomu kifuba. 24 Oyise enjegere ebbiri eza zaabu mu mpeta ebbiri eziri ku mikugiro gy’eky’omu kifuba. 25 Oddire enjuuyi ebbiri ezisigaddewo ez’enjegere ozikwasize ku fuleemu ebbiri, ozinywereze mu maaso g’eby’oku bibegabega byombi eby’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi. 26 Era okole empeta bbiri eza zaabu, ozitunge ku mikugiro gy’eky’omu kifuba ku luuyi olw’omunda oluliraanye ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi. 27 Era okole empeta bbiri eza zaabu oziteeke mu maaso, mu bitundu ebya wansi eby’eby’okubibegabega byombi eby’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, wagguluko okumpi n’oluzizi lw’omusipi olw’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi. 28 Empeta ez’oku kyomukifuba zisibwe wamu n’empeta z’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi n’akaguwa aka bbululu, kagattibwe n’olukoba, olw’omu kifuba luleme kutaggulukuka ku kkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi.
29 (E)“Buli kiseera Alooni lw’anaayingiranga mu Kifo Ekitukuvu, anaabanga ayambadde amannya ga batabani ba Isirayiri ku kyomukifuba eky’okumala ensonga, nga kiri ku mutima gwe, kibeerenga ekijjukizo awali Mukama. 30 (F)Mu ky’omu kifuba eky’okumala ensonga, onooteekamu Ulimu ne Sumimu[a], era binaabeeranga ku mutima gwa Alooni buli lw’anaayingiranga awali Mukama. Bw’atyo Alooni anaasitulanga ekkubo omuyitwa okumala ensonga z’abaana ba Isirayiri okumpi n’omutima gwe buli lw’anaagendanga awali Mukama.
Ebyambalo eby’Obwakabona ebirala
31 “Onookola ekyambalo ekiri ng’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, nga kyonna kya bbululu. 32 Waggulu mu makkati gaakyo munaabaamu ekituli omw’okuyisa omutwe; okwetooloola ekituli ekyo kunaabaako omuge omuyonde obulungi ng’omuleera ku kituli ky’omutwe eky’ekkanzu ey’obwakabona, kireme okuyulika. 33 Okwetooloola ebirenge wansi onootungayo amajjolobera mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu; nga mu makkati ga buli langi eziriraanye otobekamu obude obwa zaabu. 34 Ng’otunga amajjolobera n’ozzaako akade, ate n’oddiriza amajjolobera n’ozzaako akade; bw’otyo okwetooloola ebirenge by’ekyambalo ekyo. 35 Gunaabanga mulimu gwa Alooni okwambala ekyambalo ekyo ng’agenda okuweereza. Obude obwo bunaawulirwanga ng’ayingira mu Kifo Ekitukuvu awali Mukama, ne bw’anaabanga afuluma, aleme okufa.
36 (G)“Onookola akapande aka zaabu omuka ennyo, okayoleko, nga bwe bayola akabonero, nti,
Mutukuvu wa Mukama.
37 Akapande okasibeko akaguwa aka bbululu, okanywereze ku kitambaala ky’oku mutwe ku ludda olw’omu maaso olw’ekitambaala. 38 (H)Akapande ako kanaabeeranga mu kyenyi kya Alooni, era Alooni y’anaabangako obuvunaanyizibwa nga wabaddewo ebitatuuse mu biweebwayo ebitukuvu abaana ba Isirayiri bye banaaleetanga nga bamaze okubyawula ng’ebirabo byabwe ebitukuvu; kanaabeeranga ku kyenyi kye bulijjo, Mukama alyoke akkirize ebirabo ebyo.
39 “Luka ekkooti erimu obusaze obw’obusimba n’obw’obukiika mu wuzi eza linena omulebevu, era okole n’ekitambaala eky’oku mutwe mu linena omulebevu, era okole olukoba ng’olutunzeemu amajjolobera. 40 (I)Batabani ba Alooni bakolere amakooti, n’emisipi, n’enkuufiira; nga byonna bya kitiibwa era nga birabika bulungi nnyo. 41 (J)Alooni muganda wo mwambaze ebyambalo ebyo, ne batabani be nabo bw’otyo; olyoke obafukeko amafuta ag’omuzeeyituuni, obaawule, obatukuze, bampeerezenga nga be bakabona.
42 (K)“Bakolere empale ez’omunda eza linena, nga ziva mu kiwato okukoma mu bisambi, zibikke omubiri gwabwe. 43 (L)Alooni ne batabani be banaazambalanga nga bajja mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu oba bwe banaasembereranga Ekyoto okuweereza mu Kifo Ekitukuvu, baleme okwereetako omusango ne bafa.
“Alooni ne batabani be ne bazzukulu be abalimuddirira banaakuumanga etteeka lino nga lya nkalakkalira.”
Yesu ne Baganda be
7 (A)Oluvannyuma lw’ebyo, Yesu n’alaga e Ggaliraaya, kubanga teyayagala kubeera mu Buyudaaya, kubanga Abayudaaya baali bamunoonya okumutta. 2 (B)Naye embaga y’Abayudaaya eyitibwa ey’Ensiisira yali eneetera okutuuka. 3 (C)Baganda ba Yesu ne bamugamba nti, “Vva wano, olage mu Buyudaaya, abayigirizwa bo balabe ebyamagero by’okola. 4 Tosobola kwatiikirira nga weekwese. Kale obanga, okola ebintu ebyo, weerage eri ensi.” 5 (D)Baganda be nabo tebaamukkiriza. 6 (E)Yesu n’abaddamu nti, “Ekiseera kyange eky’okugenda tekinnatuuka. Naye mmwe muyinza okugenda mu kiseera kyonna we mwagalira. 7 (F)Mmwe ensi teyinza kubakyawa, naye Nze enkyawa kubanga ngitegeeza ebikolwa byayo ebibi. 8 (G)Mmwe mwambuke ku mbaga. Nze sijja kwambuka ku mbaga eno, kubanga ekiseera kyange tekinnatuuka.” 9 Bwe yamala okubagamba ebyo n’asigala mu Ggaliraaya.
Yesu ku Mbaga ey’Ensiisira
10 Baganda be bwe bamala okwambuka ku mbaga naye n’ayambuka, mu kyama so si mu lwatu. 11 (H)Awo Abayudaaya ne bamunoonya ku mbaga nga beebuuza nti, “Omusajja oli, ali ludda wa?”
12 (I)Ne wabaawo oluvuuvuumo lungi mu bantu. Abamu ne bagamba nti, “Mulungi.” Naye abalala nga bagamba nti, “Nedda, alimba abantu.” 13 (J)Kyokka olw’okutya Abayudaaya, tewaaliwo amwogerako mu lwatu.
Yesu Ayigiriza ku Mbaga
14 (K)Awo mu makkati g’embaga Yesu n’ayambuka mu Yeekaalu n’ayigiriza. 15 (L)Abakulembeze b’Abayudaaya ne beewuunya nga bagamba nti, “Omuntu ono ayinza atya okumanya okusoma so nga tasomangako?”
16 (M)Awo Yesu kwe kubaddamu nti, “Nze sibayigiriza byange ku bwange, wabula eby’oyo eyantuma. 17 (N)Buli ayagala okukola Katonda by’ayagala, ategeera obanga bye njigiriza byange ku bwange oba bya Katonda. 18 (O)Ayogera ku bubwe anoonya kitiibwa kye, naye oyo anoonya ekitiibwa ky’oyo eyantuma wa mazima so n’obutali butuukirivu tebuba mu ye. Musa teyabawa amateeka? 19 (P)Ku mmwe tekuliiko n’omu akwata mateeka. Kale lwaki musala amagezi okunzita?”
20 (Q)Ekibiina ky’abantu ne baddamu nti, “Oliko dayimooni! Ani asala amagezi okukutta?” 21 Yesu n’addamu nti, “Nakola ekikolwa kimu ku Ssabbiiti buli muntu ne yeewuunya. 22 (R)Musa kyeyava abalagira okukomolebwa, okukomolebwa tekwatandikira ku Musa wabula kwatandikira ku bajjajjammwe; ne ku Ssabbiiti mukomola omuntu. 23 Obanga mukomola ku Ssabbiiti etteeka lya Musa lireme okumenyebwa, kale lwaki Nze munsunguwalira olw’okuwonya omuntu ku Ssabbiiti, n’aba mulamu ddala? 24 (S)Temusalanga musango okusinziira ku ndabika, naye musalenga omusango ogw’ensonga.”
Yesu ye Kristo
25 Awo abantu abamu ab’omu Yerusaalemi ne beebuuzaganya nga bagamba nti, “Ono si ye muntu gwe banoonya okutta? 26 (T)Kale wuuno ayigiriza lwatu, ate tebaliiko kye bamugambako. Osanga abakulembeze bategedde nti omuntu ono ye Kristo! 27 (U)Naye tumanyi omuntu ono gy’ava; so nga Kristo bw’alijja tewaliba n’omu amanya gy’ava.”
28 (V)Awo Yesu bwe yali ng’akyayigiriza mu Yeekaalu n’akangula ku ddoboozi n’agamba nti, “Ddala mummanyi ne gye nva mumanyiiyo. Sajja ku bwange wabula ekituufu nti oyo eyantuma gwe mutamanyi. 29 (W)Nze mmumanyi, kubanga nava gy’ali, era ye yantuma.”
30 (X)Awo ne basala amagezi okumukwata, kyokka tewaali amukwatako, kubanga ekiseera kye kyali tekinnaba kutuuka. 31 (Y)Naye bangi mu bibiina by’abantu ne bamukkiriza, ne bagamba nti, “Kale Kristo bw’alijja, alikola eby’amagero ebisinga eby’ono byakoze?”
32 Awo Abafalisaayo ne bawulira abantu nga boogera ku Yesu mu bwama. Awo bakabona abakulu n’Abafalisaayo ne batuma abaweereza baabwe okumukwata. 33 (Z)Awo Yesu n’agamba nti, “Nzija kumala nammwe ebbanga ttono, ndyoke nzireyo eri oyo eyantuma. 34 (AA)Mulinnoonya, naye temugenda kundaba, nga gye ndi, mmwe temuyinza kutuukayo.”
35 (AB)Awo Abayudaaya ne beebuuzaganya nti, “Omuntu ono alaga wa gye tutalimulabira? Ayagala kugenda eri abo abaasaasaanira mu Buyonaani, ayigirize Abayonaani? 36 Ategeeza ki bw’agamba nti, ‘Mulinnoonya, naye temulindaba?’ Era nti, ‘Gye ndaga temuyinza kutuukayo?’ ”
Ensulo z’Amazzi amalamu
37 (AC)Awo ku lunaku olw’embaga olusembayo, olusingira ddala obukulu, Yesu n’ayimirira n’ayogera n’eddoboozi ery’omwanguka n’agamba nti, “Buli alina ennyonta, ajje gye ndi anywe! 38 (AD)Ng’Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti buli akkiriza Nze emigga egy’amazzi amalamu girikulukuta nga gifuluma mu mutima gwe!” 39 (AE)Yesu yali ayogera ku Mwoyo Mutukuvu, abamukkiriza gwe baali bagenda okufuna, kubanga Mwoyo oyo yali tannagabibwa, kubanga Yesu yali tannaba kugulumizibwa.
40 (AF)Abantu abamu mu kibiina bwe baawulira ng’ayogera bw’atyo, ne bagamba nti, “Ddala omuntu ono ye Nnabbi.” 41 (AG)Abalala ne bagamba nti, “Omuntu ono ye Kristo.” Naye abalala ne bagamba nti, “Nedda, Kristo tayinza kuba ng’ava mu Ggaliraaya.” 42 (AH)Kubanga Ekyawandiikibwa kigamba nti: Kristo wa kuva mu zzadde lya Dawudi, era nga wa kuzaalibwa mu Besirekemu, ekibuga kya Dawudi mwe yali. 43 (AI)Awo ekibiina ne kyesalamu olwa Yesu. 44 (AJ)Abamu ne baagala okumukwata, kyokka ne wabulawo amukwatako.
Obutakkiriza bw’Abakulembeze b’Abayudaaya
45 Awo abaweereza b’abakabona abakulu n’Abafalisaayo ne baddayo eri bakabona abakulu n’Abafalisaayo. Abakulembeze Ne bababuuza nti, “Lwaki temumuleese?” 46 (AK)Abaweereza ne baddamu nti, “Ebigambo by’ayogera bya kitalo, tetubiwulirangako.” 47 (AL)Abafalisaayo ne babagamba nti, “Era nammwe abakyamizza? 48 (AM)Waliwo n’omu ku bakulembeze wadde ku Bafalisaayo eyali akkiririzza mu muntu oyo? 49 Naye ekibiina ky’abantu bano abatamanyi mateeka, bakolimiddwa!”
50 (AN)Awo Nikodemo, omu ku bo eddako eyagenda eri Yesu, n’abuuza nti, 51 “Amateeka gaffe gakkiriza okusalira omuntu omusango nga tannaba kuwozesebwa okutegeera ky’akoze?” 52 (AO)Ne bamuddamu nti, “Naawe wava Ggaliraaya? Nnoonyereza, ojja kulaba nti e Ggaliraaya teva nnabbi.”
53 Awo ne baabuka, buli omu n’addayo eka.
Amagezi ge gali ku Ntikko
4 (A)Muwulirize baana bange okuyigiriza kwange ng’okwa kitammwe,
era musseeyo omwoyo mufune okutegeera.
2 Kubanga mbawa okuyigiriza okulungi;
temulekanga biragiro byange.
3 Bwe nnali omuvubuka nga ndi ne kitange,
omwana omu yekka omwagalwa, owa mmange,
4 (B)yanjigiriza n’aŋŋamba nti, “Ebigambo byange bikuumenga ku mutima gwo,
kuuma ebiragiro byange obeere mulamu.
5 (C)Funa amagezi; funa okutegeera,
teweerabiranga era tovanga ku bigambo bya mu kamwa kange.
6 (D)Togalekanga, nago ganaakukuumanga,
gaagale nago ganaakulabiriranga.
7 (E)Ddala amagezi kye kintu ekisingira ddala obukulu;
noolwekyo fuba ofune amagezi, era fubira ddala nnyo ofune okutegeera.
8 (F)Amagezi gagulumize, nago gajja kukuyimusa,
gaanirize, nago gajja kukuweesa ekitiibwa.
9 (G)Amagezi gajja kukutikkira engule ey’ekisa,
era gakuwe n’engule ey’ekitiibwa.”
Enjawulo wakati w’Ab’amagezi n’Abagwenyufu
10 (H)Wuliriza ggwe, mutabani, era okkirize ebigambo byange
olyoke owangaalire ku nsi n’essanyu eringi.
11 (I)Nkuluŋŋamya mu kkubo ery’amagezi,
ne nkukulembera mu makubo ag’obutuukirivu.
12 (J)Bw’onootambulanga, ekigere kyo kireme okuziyizibwa;
era bw’onoddukanga, tojjanga kwesittala.
13 (K)Nywerezanga ddala okuyigirizibwa, tokutanga:
kukuumenga kubanga bwe bulamu bwo.
14 (L)Toyingiranga mu kkubo ly’abakozi b’ebibi,
wadde okutambulira mu kkubo ly’abantu aboonoonyi.
15 Lyewalenga, tolitambulirangamu,
liveeko okwate ekkubo lyo.
16 (M)Kubanga abakozi b’ebibi tebayinza kwebaka okuggyako nga bakoze ebibi,
era otulo tubabulira ddala bwe baba tebalina gwe bakozeeko bulabe.
17 Okukola ebibi y’emmere yaabwe,
n’okukozesa eryanyi kye kyokunywa kyabwe.
18 (N)Ekkubo ly’abatuukirivu liri ng’enjuba eyakavaayo,
eyeeyongera okwaka okutuusa obudde lwe butangaalira ddala.
19 (O)Naye ekkubo ly’ababi liri ng’ekizikiza ekikutte,
tebamanyi kibaleetera kwesittala.
20 (P)Mutabani wange wuliriza n’obwegendereza ebigambo byange;
osseeyo omwoyo eri bye nkutegeeza;
21 (Q)ebigambo bino tebikuvangako,
bikuumire ddala mu mutima gwo,
22 (R)kubanga bya bulamu eri abo ababifuna,
era biwonya omubiri gwabwe gwonna.
23 (S)Ekisinga byonna kuuma omutima gwo,
kubanga y’ensulo y’obulamu bwo.
24 Weewalire ddala eby’obubambavu
era n’okwogera ebya swakaba.
25 Amaaso go gatunulenga butereevu,
era otunulenga n’obumalirivu eyo gy’olaga.
26 (T)Ttereeza bulungi amakubo go;
okwate amakubo ageesigika gokka.
27 (U)Tokyamanga ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono;
ebigere byo byewalenga ekkubo ekyamu.
Kukkiriza Oba Kukuuma Mateeka
3 (A)Mmwe Abaggalatiya abatalina magezi ani eyabaloga, so nga nabannyonnyola bulungi Yesu Kristo eyakomererwa ku musaalaba ne mukitegeera? 2 (B)Kino kyokka kye njagala muntegeeze; mwaweebwa Mwoyo lwa bikolwa eby’amateeka, nantiki lwa kuwulira kwa kukkiriza? 3 Muyinza mutya obutaba na magezi kutuuka awo, abaatandikira mu Mwoyo, kaakano mutuukirizibwa mu mubiri? 4 Okubonaabona kwonna kwe mwabonaabona kwali kwa bwereere? Bwe kuba nga ddala kwa bwereere. 5 (C)Abawa Omwoyo n’abawa n’okukola eby’amaanyi mu mmwe, akola lwa bikolwa by’amateeka oba lwa kuwulira olw’okukkiriza? 6 (D)Ibulayimu yakkiriza Katonda ne kimubalirwa okuba obutuukirivu.
7 (E)Kale mumanye nti abo abakkiriza be baana ba Ibulayimu. 8 (F)Olw’okuba nga baategeera ebiribaawo n’ekyawandiikibwa, ng’olw’okukkiriza, Katonda aliwa amawanga obutuukirivu, Enjiri kyeyava ebuulirwa Ibulayimu edda nti, “Mu ggwe amawanga gonna mwe galiweerwa omukisa.” 9 (G)Noolwekyo abo abakkiriza bagabanira wamu omukisa ne Ibulayimu eyakkiriza.
10 (H)Naye abo abafugibwa ebikolwa eby’amateeka, bafugibwa kikolimo; kubanga kyawandiikibwa nti, “Buli ataagobererenga byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo ky’amateeka, akolimiddwa.” 11 (I)Kimanyiddwa bulungi nti tewali n’omu Katonda gw’awa butuukirivu olw’okukuuma amateeka, kubanga abatuukirivu banaabeeranga balamu lwa kukkiriza, 12 (J)naye amateeka tegeesigama ku kukkiriza, naye anaagagobereranga anaabeeranga mulamu mu go. 13 (K)Kristo yatununula okuva mu kikolimo ky’amateeka, bwe yafuuka ekikolimo ku lwaffe, kubanga kyawandiikibwa nti, “Akolimiddwa buli awanikiddwa ku muti.” 14 (L)Kale kaakano amawanga gaweebwe omukisa gwa Ibulayimu, mu Kristo Yesu, tulyoke tuweebwe ekyasuubizibwa eky’Omwoyo olw’okukkiriza.
Etteeka n’Ekisuubizo
15 Abooluganda njogera mu buntu; endagaano bw’eba ng’ekakasibbwa, tewabaawo agiggyawo newaakubadde agyongerako. 16 (M)Katonda yasuubiza Ibulayimu n’Omwana we, naye tekigamba nti n’abaana be ng’abangi, naye yayogera ku omu, oyo ye Kristo. 17 (N)Kye ŋŋamba kye kino: endagaano eyakakasibwa Katonda nga wayiseewo emyaka ebikumi bina mu asatu n’efuuka etteeka, teyadibya ekyo ekyasuubizibwa. 18 (O)Kuba oba ng’obusika bwesigamye ku mateeka, buba tebukyali bwa kisuubizo; naye yabuwa Ibulayimu olw’okusuubiza.
19 (P)Kale lwaki amateeka gaateekebwawo? Gaagattibwa ku kisuubizo olw’aboonoonyi okutuusa ezzadde eryasuubizibwa lwe lirikomawo, nga lyawulibbwa mu bamalayika olw’omukono gw’omutabaganya. 20 (Q)Naye omutabaganya si w’omu, naye Katonda ali omu.
21 (R)Amateeka galwanagana n’ebyo Katonda bye yasuubiza? Kikafuuwe. Kubanga singa amateeka gaali galeeta obulamu, ddala ddala amateeka gandituwadde obutuukirivu. 22 (S)Naye ebyawandiikibwa bitegeeza nti ebintu byonna bifugibwa kibi, ekyasuubizibwa kiryoke kiweebwe abakkiriza olw’okukkiriza mu Yesu Kristo.
23 (T)Naye okukkiriza nga tekunnajja, twafugibwanga mateeka, nga tusibibwa olw’okukkiriza okugenda okubikkulwa; 24 (U)ge gaali gatukuuma, amateeka galyoke gatutuuse eri Kristo, tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw’okumukkiriza. 25 Naye okukkiriza bwe kwajja, ng’olwo tetukyetaaga mateeka kutukuuma.
Baana ba Katonda
26 (V)Kubanga kaakano mwenna muli baana ba Katonda olw’okukkiriza Yesu Kristo, 27 (W)kubanga abaabatizibwa bonna mu Kristo, baayambala Kristo. 28 (X)Tewakyali kusosola wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, wakati wa muddu na wa ddembe, wakati wa musajja na mukazi, kubanga mwenna muli omu mu Kristo Yesu. 29 Kale kaakano nga bwe muli aba Kristo, muli zadde lya Ibulayimu, ng’ekisuubizo ky’abasika bwe kiri.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.