Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okuva 17

Amazzi Agaava mu Lwazi

17 (A)Awo ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne kisitula okuva mu ddungu lya Sini, ne batambula ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali. Ne bakuba eweema zaabwe mu Lefidimu, naye nga tewaliiwo mazzi bantu ge banaanywa. (B)Abantu ne bayombesa Musa nga bagamba nti, “Tuwe amazzi tunywe.” Musa n’abaddamu nti, “Lwaki munnyombesa? Lwaki mugezesa Mukama?”

(C)Naye abantu ennyonta y’amazzi n’ebaluma, ne beemulugunyiza Musa. Ne bagamba nti, “Lwaki watuggya mu Misiri, ennyonta okututtira wano, ffe n’abaana baffe n’ebisibo byaffe?”

(D)Musa n’akaabira Mukama nti, “Abantu bano mbakole ntya? Baabano baagala kunkuba mayinja.”

(E)Mukama n’addamu Musa nti, “Abantu abo bakulembere, otwale ne ku bakulembeze ba Isirayiri; n’omuggo gwo gwe wakubisa ku mugga genda nagwo ng’ogukutte mu mukono gwo, mutambule. (F)Nange nzija kukwesooka mu maaso nyimirire ku lwazi e Kolebu, onookuba olwazi ne muvaamu amazzi abantu banywe.” Musa n’akola bw’atyo nga n’abakulembeze ba Isirayiri balaba. (G)Ekifo ekyo n’akituuma erinnya Masa ne Meriba, olw’okuyomba kw’abaana ba Isirayiri, n’olw’okugezesa Mukama nga bagamba nti, “Mukama waali mu ffe oba taliiwo?”

Olutalo Abayisirayiri lwe Baasooka Okulwana

(H)Awo Abamaleki[a] ne bajja balwane ne Isirayiri mu Lefidimu. (I)Musa n’agamba Yoswa nti, “Tuyunguliremu abasajja bagende balwanyise Abamaleki. Enkya nzija kuyimirira ku ntikko y’olusozi nga nkutte omuggo gwa Katonda mu mukono gwange.”

10 (J)Yoswa n’akola nga Musa bwe yamulagira, n’alwana n’Abamaleki. Musa ne Alooni ne Kuli ne bambuka ku ntikko y’olusozi. 11 (K)Musa bwe yawanikanga emikono gye, Abayisirayiri nga bagoba, naye bwe yagissanga, nga Abamaleki bagoba. 12 Emikono gya Musa ne gitandika okumufuuyirira. Alooni ne Kuli ne bamuleetera ejjinja, n’atuula okwo; ne bawanirira emikono gye, omu ng’ali ku ludda olumu, ne munne ku ludda olulala, emikono gye olwo ne ginywerera waggulu okutuusa enjuba lwe yagwa. 13 Yoswa n’awangula Abamaleki ng’akozesa obwogi bw’ekitala.

14 (L)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Kino kiwandiike mu kitabo kiryoke kijjukirwenga ennaku zonna, era Yoswa asaana akimanye, kubanga Abamaleki ŋŋenda kubasangulirawo ddala ku nsi.”

15 Musa n’azimbawo ekyoto n’akituuma erinnya Mukama ye Bendera Yange. 16 N’agamba nti, “Kubanga Mukama alayidde okulwanyisa Abamaleki emirembe gyonna.”

Lukka 20

Yesu Bamubuuza Obuyinza gy’Abuggya

20 (A)Awo Yesu bwe yali ng’ayigiriza era ng’abuulira Enjiri mu luggya lwa Yeekaalu, bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka n’abakulembeze b’Abayudaaya ne bajja gy’ali. (B)Ne bamubuuza nti, “Tubuulire, buyinza ki obukukozesa bino? Era ani eyakuwa obuyinza obwo?”

Yesu n’addamu nti, “Nange ka mbabuuze ekibuuzo kino. (C)Okubatiza kwa Yokaana kwava eri Katonda nandiki kwava mu bantu?”

Ne basooka okwogeraganyaamu bokka ne bokka nga bagamba nti, “Bwe tunaagamba nti, ‘Kwava mu ggulu,’ ajja kutubuuza nti, ‘Kale, lwaki temwamukkiriza?’ (D)Naye ate bwe tunaddamu nti, ‘Kwava mu bantu,’ abantu bonna bajja kutukuba amayinja, kubanga bamatizibwa nti Yokaana yali nnabbi.”

Kyebaava baddamu nti, “Tetumanyi gye kwava.”

Yesu n’abagamba nti, “Nange sijja kubabuulira gye nzigya obuyinza obunkozesa bino.”

Olugero lw’Abalimi

(E)Awo Yesu n’akyukira abantu n’abagerera olugero luno nti, “Waaliwo omusajja eyalina ennimiro ey’emizabbibu, n’agipangisa abalimi, n’agenda olugendo, n’amalayo ebbanga ddene. 10 Awo ekiseera eky’amakungula bwe kyatuuka, n’atuma omu ku baddu be eri abalimi bamuwe ku bibala eby’emizabbibu gye. Naye abalimi abapangisa ne bamukuba ne bamugoba n’addayo ngalo nsa eri mukama we. 11 N’abatumira omuddu we omulala, n’oyo ne bamukuba ne bamuswaza nnyo, n’addayo ngalo nsa. 12 N’abatumira omuddu owookusatu, naye ne bamukuba ne bamussaako n’ebiwundu ne bamugoba mu nnimiro.

13 (F)“Nannyini nnimiro ne yeebuuza nti, ‘Nkole ntya? Ka mbatumire omwana wange gwe njagala ennyo, oboolyawo banaamussaamu ekitiibwa.’

14 “Omwana oyo bwe baamulengera ne bateesa nti, ‘Ono y’agenda okusikira ennimiro eno nga kitaawe afudde. Ka tumutte, ebyobusika tubyesigalize.’ 15 Ne bamuggya mu nnimiro nga bamukulula ne bamutta.

“Mulowooza nannyini nnimiro abalimi abo alibakola atya? 16 (G)Agenda kujja abazikirize bonna, n’ennimiro agiwe abalala.”

Awo bwe baabiwulira ebyo ne bagamba nti, “Ekintu ng’ekyo kireme kubaawo!”

17 (H)Yesu n’abatunuulira n’abagamba nti, “Kale ekyawandiikibwa kino kitegeeza ki? Ekigamba nti,

“ ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana,
    lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.’

18 (I)Omuntu yenna agwa ku jjinja eryo alibetentebwa, na buli gwe lirigwako lirimubetenta.”

19 (J)Awo abannyonnyozi b’amateeka ne bakabona abakulu bwe baawulira ebigambo ebyo, ne baagala bamukwatirewo mangwago, kubanga baamanya ng’olugero lwali lukwata ku bo. Naye ne batya abantu.

Okuwa Omusolo

20 (K)Ne balinda okutuusa lwe banaafuna akaagaanya babeeko kye bakola. Ne batuma abakessi eri Yesu nga beefudde ng’abantu abalungi abaagala okumanya. Baasuubira nti mu ebyo by’anaddamu, nga bamubuuzizza ebibuuzo ebirimu emitego, munaabaamu kwe banaasinziira okumukwata ne bamuwaayo ewa gavana. 21 (L)Abakessi ne babuuza Yesu nti, “Omuyigiriza, tumanyi nga By’oyogera n’ebyo by’oyigiriza bya mazima, era nga tofaayo ku bigambo eby’abantu obuntu wabula oyigiriza ebyo Katonda by’ayagala. 22 Kyetuva tukubuuza nti kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba si kituufu?”

23 Yesu n’ategeera mangu obukuusa bwabwe, n’abagamba nti, 24 “Mundage ensimbi eya ffeeza. Ekifaananyi kino ekiriko ky’ani? N’erinnya lino ly’ani?” Ne baddamu nti, “Bya Kayisaali.” 25 (M)N’abagamba nti, “Kale ebya Kayisaali mubiwenga Kayisaali, n’ebya Katonda mubiwenga Katonda.” 26 Ne balemwa okumukwasa mu ebyo bye yaddamu ng’abantu bonna bali awo. Bye yaddamu ne bibeewuunyisa nnyo, ne basirika busirisi.

Okuzuukira n’Okuwasa

27 (N)Awo abamu ku Basaddukaayo abatakkiririza mu kuzuukira, ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti, 28 (O)“Omuyigiriza, amateeka ga Musa gagamba nti ssinga omusajja omufumbo afa nga tazadde baana, muganda we awasenga nnamwandu alyoke afunire muganda we omufu ezzadde. 29 Waaliwo abooluganda musanvu, asinga obukulu n’awasa, kyokka n’afa nga talese mwana. 30 Adda ku mufu n’awasa nnamwandu; kyokka naye n’afa nga tazadde mwana. 31 Okutuusa abooluganda bonna lwe baafa ne baggwaawo nga buli omu awasizza ku nnamwandu oyo, kyokka nga tewali alese mwana. 32 Oluvannyuma n’omukazi naye n’afa. 33 Kale mu kuzuukira omukazi oyo aliba muka ani? Kubanga abooluganda bonna omusanvu yabafumbirwako!”

34 Yesu n’addamu nti, “Obufumbo buli kuno ku nsi, abantu kwe bawasiza era ne bafumbirwa. 35 (P)Naye abo abasaanyizibwa okuzuukira mu bafu bwe batuuka mu ggulu tebawasa wadde okufumbirwa, 36 (Q)era tebaddayo kufa nate, kubanga baba nga bamalayika. Era baba baana ba Katonda kubanga baba bazuukizibbwa mu bulamu obuggya, 37 (R)Naye nti abafu bazuukizibwa, ne Musa yannyonnyola bye yalaba ku kisaka, bwe yayita Mukama Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo. 38 Kino kitegeeza nti ssi Katonda wa bafu wabula Katonda wa balamu, kubanga bonna balamu gy’ali.” 39 Abamu ku bannyonnyozi b’amateeka ne bagamba nti, “Omuyigiriza, ozzeemu bulungi!” 40 (S)Ne watabaawo ayaŋŋanga kwongera kumubuuza bibuuzo birala.

Kristo Mwana w’ani?

41 (T)Awo Yesu n’ababuuza nti, “Lwaki Kristo ayitibwa Omwana wa Dawudi? 42 Songa Dawudi amwogerako mu Zabbuli nti,

“ ‘Katonda yagamba Mukama wange nti,
    Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo
43 (U)okutuusa lwe ndifuula abalabe bo
    entebe y’ebigere byo.’

44 Noolwekyo obanga Dawudi amuyita Mukama we, kale ayinza atya okuba omwana we?”

45 Awo abantu bonna nga bawulira, Yesu n’akyukira abayigirizwa be n’abagamba nti, 46 (V)“Mwekuume abannyonnyozi b’amateeka. Baagala nnyo okutambula nga bambadde amaganduula agagenda gakweya, n’abantu okugenda nga babalamusa mu butale, era baagala nnyo okutuula mu bifo eby’ekitiibwa mu makuŋŋaaniro ne ku mbaga! 47 Balimbalimba nga basaba essaala empanvu, ng’eno bwe basala enkwe okunyaga ebintu bya bannamwandu. Noolwekyo bagenda kufuna ekibonerezo ekisingira ddala obunene.”

Yobu 35

35 Eriku n’ayongera okwogera nti,

“Olowooza kiba kituufu ggwe okugamba nti, Katonda ananziggyako omusango.
    Oyogera nti, obutuukirivu bwange businga obwa Katonda.
(A)Ate obuuza nti, ‘Nganyulwa ntya?’
    Kirungi ki kye nfuna mu kwonoona kwange?

“Nandyagadde okukuddamu
    ne mikwano gyo egyo gy’oli nagyo.
(B)Tunula eri eggulu olabe;
    tunuulira ebire, ebiri waggulu ennyo okukusinga.
(C)Singa oyonoona ekyo kimukwatako kitya?
    Ebyonoono byo bwe byeyongera, ekyo kimukolako ki?
(D)Bw’oba omutuukirivu, kiki ky’oba omuwadde,
    oba kiki ky’aba afunye okuva mu ngalo zo?
Okwonoona kwo kukosa muntu nga ggwe,
    era n’obutuukirivu bwo bukwata ku baana b’abantu.
(E)Abantu bakaaba olw’okunyigirizibwa okw’amaanyi,
    balaajaanira ab’omukono ogw’amaanyi.
10 (F)Naye tewali n’omu agamba nti, Aluwa Mukama Omutonzi wange
    atuwa ennyimba ekiro,
11 (G)atuyigiriza ebingi okusinga ensolo ez’omu nsiko,
    era n’atufuula bagezi okusinga ebinyonyi eby’omu nsiko?
12 (H)Newaakubadde nga bakaaba, tayinza kuwulira
    n’addamu kukaaba kw’abasajja ab’amalala abakozi b’ebibi.
13 (I)Ddala ddala Katonda tawuliriza kukoowoola kwabwe okwo okutaliimu;
    Ayinzabyonna takufaako.
14 (J)Kale kiba kitya
    bw’ogamba nti tomulaba,
era nti, Omusango gwo guli mu maaso ge
    era oteekwa okumulindirira;
15 oba nti, ne bw’asunguwala tabonereza
    era tafaayo nnyo ku butali butuukirivu.
16 (K)Kale nno Yobu ayasamya akamwa ke okwogera ebitaliimu;
    obutamanya bumwogeza ebigambo olukunkumuli.”

2 Abakkolinso 5

(A)Kubanga tumanyi ng’ennyumba yaffe ey’ensiisira ey’oku nsi bw’erisaanyizibwawo, tulina ennyumba okuva eri Katonda, ennyumba etaakolebwa na mikono, ey’olubeerera ey’omu ggulu. (B)Kubanga tusindira mu nnyumba eno, nga twegomba okwambazibwa ennyumba yaffe eriva mu ggulu. Kubanga bwe tulyambazibwa, tetulisangibwa nga tuli bwereere. (C)Kubanga ffe abali mu nsiisira eno tusinda, nga tuzitoowererwa, nga tetwagala kusangibwa nga tetwambadde, wabula nga twambadde, omubiri ogufa gumiribwe obulamu. (D)Oyo eyatuteekerateekera ekintu ekyo kyennyini ye Katonda oyo eyatuwa amazima g’Omwoyo.

Noolwekyo tulina obwesige bulijjo nga tumanyi nti bwe tuba mu mubiri guno, tetuba waffe, olwo nga tetuli na Mukama waffe. (E)Kubanga tutambula lwa kukkiriza so si lw’amaaso gaffe bye galaba. (F)Noolwekyo tuli bagumu era tuli basanyufu, wakiri okuva mu mibiri guno ne tubeera ewaffe mu ggulu ne Mukama waffe. (G)Noolwekyo kyetuva tunoonya oba nga tuli ewaffe oba nga tetuli waffe, tumusanyuse. 10 (H)Kubanga ffe ffenna kitugwanira okulabika mu maaso g’entebe ya Kristo ey’okusalirako omusango, buli muntu asalirwe olw’ebyo bye yakola ng’akyali mulamu, okusinziira ku ebyo bye yakola oba birungi oba bibi.

Omukwano ne Katonda nga guyita mu Kristo

11 (I)Noolwekyo bwe tumanya entiisa ya Katonda, kyetuva tukola obutaweera okuleeta abantu eri Kristo, era kye tuli kimanyiddwa eri Katonda, era nsuubira nga bwe kiri ne mu mitima gyammwe. 12 (J)Tetugezaako kuddamu kubeenyumiririzaako, naye tubawa omukisa okwenyumiriza ku lwaffe, musobole okuba n’eky’okuddamu abo ababeewaanirako kyokka nga mu mitima gyabwe si ba mazima. 13 (K)Bwe tuwulikika ng’abagudde eddalu olw’ebyo bye tweyogerako, tukikoze ku bwammwe. 14 (L)Kubanga okwagala kwa Katonda kutuwaliriza, ng’omu bwe yafiirira bonna, bonna kyebaava bafa. 15 (M)Yafiirira abantu bonna; abalamu balemenga okubeera abalamu ku bwabwe bokka, wabula ku bw’oyo eyabafiirira era n’azuukira, 16 (N)okuva kaakano, tuleme okumanya omuntu yenna mu mubiri, bwe tuba nga ddala twamanya Kristo mu mubiri. Naye kaakano tetukyamumanyi bwe tutyo. 17 (O)Noolwekyo omuntu yenna bw’abeera mu Kristo, aba kitonde kiggya; eby’edda nga bigenze, laba ng’afuuse muggya. 18 (P)Ebintu byonna biva eri Katonda eyatukomyawo gy’ali nga tuyita mu Kristo, era ne tuweebwa obuweereza obw’okutabaganya. 19 (Q)Kubanga Katonda yali mu Kristo, ng’atabagana n’abantu, nga tababalira, bibi byabwe, n’atuteresa ffe obubaka obw’okutabaganya. 20 (R)Noolwekyo ku bwa Kristo tuli babaka, era Katonda atuma ffe okwogera nammwe. Kyetuva tubeegayirira, ku bwa Kristo, mutabagane ne Katonda. 21 (S)Kubanga oyo ataamanya kibi, yafuuka ekibi ku lwaffe, tulyoke tufune obutuukirivu obuva eri Katonda mu Yesu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.