M’Cheyne Bible Reading Plan
Maanu n’Obukwale
16 (A)Awo abaana ba Isirayiri, nga kibiina kinene, ne basitula okuva mu Erimu; ne batuuka mu ddungu lya Sini, eriri wakati wa Erimu ne Sinaayi, nga baakamala emyezi ebiri n’ennaku kkumi na ttaano kasookedde bava mu nsi y’e Misiri. 2 (B)Nga bali mu ddungu eryo, ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne kyemulugunyiza Musa ne Alooni. 3 (C)Abaana ba Isirayiri ne babagamba nti, “Singa twasigala mu nsi y’e Misiri, Mukama n’atuttira eyo n’omukono gwe! Kubanga eyo twalyanga sefuliya z’ennyama, n’emmere nnyingi nga bwe twayagalanga, ne tukkuta; naye kaakano mutuleese mu ddungu lino, ekibiina kino kyonna kife enjala.”
4 (D)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Nzija kubatonnyeseza emmere ng’eva mu ggulu. Abantu banaakuŋŋaanyanga buli lunaku ekitundu eky’olunaku olwo; ndyoke mbagezese ndabe obanga banaakwatanga amateeka gange, oba tebaagakwatenga. 5 (E)Ku lunaku olw’omukaaga bwe banaabanga bakuŋŋaanya emmere ey’olunaku olwo, bakuŋŋaanyanga eyenkanaankana n’ey’ennaku bbiri.”
6 (F)Awo Musa ne Alooni ne bagamba abaana ba Isirayiri bonna nti, “Obudde nga buwungeera, we munaategeerera nga Mukama ye yabaggya mu nsi y’e Misiri: 7 (G)ate enkya lwe munaalaba ekitiibwa kya Mukama, kubanga awulidde nga mumwemulugunyiza. Kubanga naffe ffe b’ani mmwe okutwemulugunyiza?” 8 (H)Musa n’ayongera okubagamba nti, “Mujja kwongera okutegeera Mukama, olweggulo nga buwungeera bw’anaabawa ennyama ne mulya, ate enkya n’abawa emmere ebamala: kubanga Mukama awulidde nga mumwemulugunyiza. Naffe ffe b’ani? Temwemulugunyiza ffe, wabula Mukama.”
9 Awo Musa n’agamba Alooni nti, “Tegeeza ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri nti, ‘Musembere awali Mukama, kubanga awulidde okwemulungunya kwammwe!’ ”
10 (I)Awo olwatuuka, Alooni bwe yali ng’akyategeeza ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri, ne batunula mu ddungu; era, laba, ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira mu kire. 11 Mukama n’ayogera ne Musa, ng’agamba nti, 12 (J)“Mpulidde okwemulugunya kw’abaana ba Isirayiri. Bagambe nti, ‘Obudde nga buwungeera munaalya ennyama, n’enkya munakkusibwa emmere. Bwe mutyo munaategeera nga nze Mukama Katonda wammwe.’ ”
13 (K)Obudde nga buwungeera enkwale ne zijja ne zijjula olusiisira; ne mu makya ne wabaawo omusulo ku ttaka mu lusiisira. 14 (L)Omusulo nga gwamuse ng’obudde bukaze, laba, ku ttaka ne kulabikako obuntu obutono obwekulungirivu obufaanana ng’omusulo ogukutte olw’obunnyogovu obungi. 15 (M)Abaana ba Isirayiri bwe baabulaba ne beebuzaganya nti, “Kiki kino?” Kubanga baali tebakimanyi. Musa n’abategeeza nti, “Eno ye mmere Mukama gy’abawadde okulya. 16 (N)Mukama alagidde bw’ati nti, ‘Buli muntu akuŋŋaanye gy’anaamalawo. Buli muntu ali mu weema zammwe mumukuŋŋaanyize kilo bbiri.’ ”
17 Abaana ba Isirayiri ne bakola nga bwe baalagirwa; abamu ne bakuŋŋaanya nnyingi, n’abalala ntono. 18 (O)Bwe baagipimiranga mu kabakuli aka oma, ze lita ebbiri, oyo eyali akuŋŋaanyizza ennyingi teyasukkirizanga, n’oyo ow’entono nga teyeeseera. Buli muntu yakuŋŋaanyanga ng’okwetaaga kwe bwe kwabanga.
19 (P)Musa n’abagamba nti, “Tewabaawo omuntu n’omu agifissaako okutuusa enkeera.” 20 Kyokka abamu Musa tebaamufaako; ne beeterekerako okutuusa enkeera; n’ezaala envunyu, era n’ewunya. Musa n’abasunguwalira.
21 Buli nkya ne bakuŋŋaanyanga buli omu gye yayinzanga okulya nga anaagimalawo; naye akasana bwe kaayakanga nga kakazizza, n’esaanuuka.
Emmere y’oku Ssabbiiti
22 (Q)Awo ku lunaku olw’omukaaga ne bakuŋŋaanya emmere ya mirundi ebiri, ze kilo nnya buli muntu; abakulembeze bonna mu kibiina ne bajja ne bategeeza Musa. 23 (R)N’abagamba nti, “Mukama yalagidde bw’ati nti, ‘Enkya lunaaba lunaku lwa kuwummula, ye Ssabbiiti ya Mukama Entukuvu. Leero mwokye emmere yammwe gye mwetaaga okwokya, era mufumbe gye mwagala okufumba; eneeba esigaddewo mugyeterekere okutuusa enkya.’ ”
24 Bwe batyo ne bagyeterekera okutuusa enkeera, nga Musa bwe yabalagira; n’etewunya wadde okuzaala envunyu. 25 Musa n’abagamba nti, “Eyo mugirye leero, kubanga leero ye Ssabbiiti ya Mukama, ku ttaka temujja kusangako mmere. 26 (S)Mu nnaku omukaaga mujjanga kugikuŋŋaanya, naye ku lunaku olw’omusanvu, olwa Ssabbiiti, emmere teebeerengawo.”
27 Naye era abamu ku bantu baafuluma ku lunaku olw’omusanvu bagikuŋŋaanye, naye tebaasangayo kantu. 28 (T)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Mulituusa ddi nga mukyajeemera ebiragiro byange? 29 Mutegeere nga Mukama abawadde Ssabbiiti; ku lunaku olw’omukaaga kyava abawa emmere ya nnaku bbiri. Buli muntu abeerenga mu maka ge nga tafulumye n’akatono ku lunaku olw’omusanvu.” 30 Abantu bwe batyo ne bawummula ku lunaku olw’omusanvu.
31 (U)Ab’omu nnyumba ya Isirayiri, emmere eyo ne bagiyitanga maanu. Yali efaanana ng’akasigo ka koliyanda, nga njeru; ng’ewoomerera ng’obusukuuti obufumbiddwa n’omubisi gw’enjuki. 32 Musa n’agamba nti, “Mukama alagidde bw’ati nti, ‘Muddire akabakuli aka kilo bbiri mukajjuze maanu mugiterekere ab’emirembe egigenda okujja; balyoke balabe ku mmere gye nabaliisanga mu ddungu, bwe nabaggya mu nsi y’e Misiri.’ ”
33 (V)Musa n’agamba Alooni nti, “Ddira akabakuli osseemu maanu ejjuza oma, ze lita bbiri, obungi, ogisse awali Mukama, eterekerwe ab’emirembe egigenda okujja.”
34 (W)Bw’atyo Alooni n’ateeka maanu awali Endagaano, ekuumirwe awo, nga Mukama bwe yalagira Musa. 35 (X)Abaana ba Isirayiri ne balya maanu okumala emyaka amakumi ana, okutuusa lwe baatuuka mu nsi omuli abantu. Baalya maanu[a] okutuusa lwe baatuuka ku nsalo ya Kanani.
Zaakayo Omusolooza w’Omusolo
19 (A)Awo Yesu n’atuuka mu kibuga Yeriko, n’ayitamu. 2 Mu kibuga omwo mwalimu omusajja erinnya lye Zaakayo; yali mukulu wa bawooza, era yali mugagga nnyo. 3 N’afuba okulaba Yesu, naye n’atasobola ng’ali mu kibiina ky’abantu kubanga yali mumpi. 4 (B)Kyeyava adduka ne yeesooka ekibiina mu maaso, n’alinnya omuti omusukamooli asobole okulaba Yesu ng’ayitawo.
5 Yesu bwe yatuuka awo n’atunula waggulu, n’amuyita nti, “Zaakayo! Yanguwa okke wansi! Kubanga olwa leero ŋŋenda kuba mugenyi wo mu maka go.” 6 Awo Zaakayo n’akka mangu okuva ku muti n’atwala Yesu mu nnyumba ye ng’ajjudde essanyu.
7 (C)Abantu bonna abaakiraba ne batandika okwemulugunya nga bagamba nti, “Agenze okukyalira omuntu alina ebibi.”
8 (D)Awo Zaakayo n’ayimirira n’agamba Mukama waffe nti, “Mukama wange! Mpuliriza! Ebintu byange nnaabigabanyaamu wakati, ekitundu ne nkiwa abaavu; era obanga waliwo omuntu gwe nnali ndyazaamaanyizza, nnaamuliyira emirundi ena.”
9 (E)Yesu n’amugamba nti, “Olwa leero obulokozi buzze mu nnyumba muno, kubanga omusajja ono naye muzzukulu wa Ibulayimu. 10 (F)Kubanga Omwana w’Omuntu, yajjirira kunoonya n’okulokola abaabula.”
Olugero lw’Ensimbi
11 (G)Awo nga bakyawuliriza ebyo, Yesu n’abagerera olugero olulala. Mu kiseera ebyo yali asemberedde nnyo Yerusaalemi, era abantu ne balowooza nti obwakabaka bwa Katonda bugenda kutandika mu kiseera ekyo. 12 N’abagamba nti, “Waaliwo omukungu omu eyalaga mu nsi ey’ewala alye obwakabaka alyoke akomewo. 13 (H)Bwe yali asitula n’ayita abaddu be kkumi n’abalekera mina[a] kkumi n’abagamba nti, ‘Muzisuubuzise okutuusa lwe ndidda.’
14 “Naye abantu be baali tebamwagala ne batuma ababaka baabwe mu nsi gye yalaga, nga bagamba nti, ‘Ffe tetwagala musajja ono kubeera kabaka waffe.’
15 “Naye n’afuulibwa kabaka, n’addayo mu kitundu ky’ewaabwe. Bwe yatuuka n’ayita abaddu be, be yali alekedde ensimbi, bamutegeeze amagoba ge baggyamu.
16 “Eyasooka n’ajja n’agamba nti, ‘Ssebo, mina gye wandekera navisaamu mina kkumi.’
17 (I)“Mukama we n’amwebaza, n’amugamba nti, ‘Oli muddu mulungi nnyo. Kubanga obadde mwesigwa mu kintu ekitono ennyo, nkuwadde okufuga ebibuga kkumi.’
18 “Omuddu owookubiri n’ajja, n’agamba mukama we nti, ‘Ssebo, mina gye wandekera navisaamu mina ttaano.’
19 “Oyo naye n’amugamba nti, ‘Onoofuga ebibuga bitaano.’
20 “Awo omuddu omulala n’ajja, n’agamba mukama we nti, ‘Mina gye wandekera yiino, nagitereka bulungi. 21 (J)Nakutya, kuba, nga bw’oli omuntu omukakanyavu, otwala ebitali bibyo, n’okungula n’ebibala by’otaasiga.’
22 (K)“Mukama we n’amuddamu nti, ‘Oli musajja mubi nnyo! Nzija kukusalira omusango ng’ebigambo byo by’oyogedde bwe biri. Wamanya nga ndi muntu mukalubo, nga ntwala ebitali byange, era nga nkungula bye saasiga, 23 kale, lwaki ensimbi zange tewazissa mu banka, bwe nandikomyewo nandizisanzeeyo nga zizadde n’amagoba?’
24 “N’alyoka agamba abaali bayimiridde awo nti, ‘Mumuggyeeko mina eyo mugiwe oli alina ekkumi.’
25 “Ne bamugamba nti, ‘Naye ssebo, oli alina mina kkumi!’
26 (L)“N’abaddamu nti, ‘Mbagamba nti oyo yenna alina, alyongerwako; ate oyo atalina, n’akatono k’alina kalimuggibwako. 27 Kaakano njagala abo bonna abalabe bange, abaajeema nga tebaagala mbeere kabaka waabwe, mubandeetere wano, mubattire mu maaso gange.’ ”
Yesu Ayingira mu Yerusaalemi n’Ekitiibwa
28 (M)Awo Yesu bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, n’atambula ng’akulembedde abayigirizwa be okwolekera Yerusaalemi. 29 (N)Bwe yali asemberera ebibuga Besufaage ne Besaniya ng’ali ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni, n’atuma abayigirizwa be babiri n’abagamba nti, 30 “Mugende mu kabuga akatuli mu maaso bwe munaaba mwakakayingira, munaalaba omwana gw’endogoyi, oguteebagalwangako, nga gusibiddwa awo. Mugusumulule, muguleete wano. 31 Singa wabaawo ababuuza nti, ‘Lwaki mugusumulula?’ Mumuddamu nti, ‘Mukama waffe agwetaaga.’ ”
32 (O)Awo abaatumibwa ne bagenda ne basanga omwana gw’endogoyi nga Yesu bwe yabagamba. 33 Era bwe baali nga bagusumulula bannannyini gwo ne bababuuza nti, “Lwaki musumulula omwana gw’endogoyi ogwo?”
34 Ne baddamu nti, “Mukama waffe agwetaaga.”
35 Omwana gw’endogoyi ne baguleeta eri Yesu, ne bagwaliirako eminagiro gyabwe, Yesu n’agwebagala. 36 (P)Bwe yali ng’agenda, abantu ne baaliira ebyambalo byabwe mu luguudo.
37 (Q)Awo bwe yatuuka oluguudo we luserengetera olusozi olwa Zeyituuni, ekibiina kyonna eky’abayigirizwa, ne batandika okutendereza Katonda, mu ddoboozi ery’omwanguka olw’ebyamagero bye yali akoze nga boogera nti,
38 (R)“Aweereddwa omukisa Kabaka ajja mu linnya lya Mukama!”
“Emirembe gibe mu ggulu, n’ekitiibwa kibeere waggulu ennyo!”
39 (S)Naye abamu ku Bafalisaayo abaali mu kibiina ne bagamba Yesu nti, “Omuyigiriza, lagira abayigirizwa bo basirike!”
40 (T)Yesu n’abaddamu nti, “Mbategeeza nti ssinga bo basirika, amayinja gano ganaaleekaana!”
Yesu Akaabira Yerusaalemi
41 (U)Awo Yesu bwe yali ng’asemberera ekibuga Yerusaalemi, bwe yakirengera, n’akikaabira. 42 N’agamba nti, “Singa otegedde leero ebireeta emirembe ebyakulagirwa! Naye kaakano bikukwekeddwa, amaaso go tegayinza kubiraba. 43 (V)Ekiseera kigenda kutuuka abalabe bo lwe balikuzimbako ekigo okukwetooloola ne bakuzinda, 44 (W)ne bakumerengulira ku ttaka munda mu bisenge byo ggwe n’abaana bo. Abalabe bo tebalirekawo jjinja na limu nga litudde ku linnaalyo, kubanga omukisa Katonda gwe yakuwa ogw’okulokolebwa wagaana okugukozesa.”
Yesu mu Yeekaalu
45 Awo Yesu n’ayingira mu Yeekaalu n’agobamu abaali batundiramu. 46 (X)N’abagamba nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Ennyumba yange eneebanga ya kusinzizangamu,’ naye mmwe mugifudde ‘empuku y’abanyazi.’ ”
47 (Y)Okuva mu kiseera ekyo Yesu n’ayigirizanga mu Yeekaalu buli lunaku. Naye bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka, n’abakulembeze b’Abayudaaya ne bagezaako okufuna akaagaanya we banaamuttira. 48 Naye ne balemwa kubanga abantu bonna baamussaako nnyo omwoyo nga bamuwuliriza.
34 Awo Eriku ne yeeyongera okwogera nti,
2 “Muwulire ebigambo byange, mmwe abasajja ab’amagezi;
mumpulirize mmwe abayivu.
3 (A)Kubanga okutu kugezesa ebigambo
ng’olulimi bwe lugezesa emmere.
4 (B)Leka twesalirewo ekituufu;
muleke tulondewo ekisaanidde.
5 (C)“Yobu agamba nti, ‘Siriiko musango,
naye Katonda agaanye okusala omusango gwange mu mazima.
6 (D)Wadde nga ndi mutuufu,
ntwalibwa okuba omulimba,
wadde nga siriiko musango,
akasaale ke kanteseeko ekiwundu ekitawonyezeka.’
7 (E)Musajja ki ali nga Yobu,
anywa okunyoomebwa ng’anywa amazzi?
8 (F)Atambula n’abakozi b’ebibi,
mukwano gw’abo abakola ebitali bya butuukirivu.
9 (G)Kubanga agambye nti, ‘Omuntu talina kyaganyulwa
bw’agezaako okusanyusa Katonda.’
10 (H)Noolwekyo mumpulirize mmwe abasajja abalina okutegeera.
Kikafuuwe Katonda okukola ebibi,
wadde Ayinzabyonna okukola ebikyamu.
11 (I)Asasula omuntu olw’ekyo ky’aba akoze;
n’amutuusaako ebyo ebimusaanidde olw’empisa ze.
12 (J)Weewaawo amazima gali nti, Katonda tasobya.
Ayinzabyonna tasaliriza musango.
13 (K)Obuyinza yabuggya eri ani okukulembera ensi?
Ani eyamuwa olukusa okufuga ensi yonna?
14 (L)Singa asalawo n’atwala omwoyo gw’omuntu
awamu n’omukka gwe,
15 (M)abantu bonna bandizikiriridde wamu,
era omuntu yandizzeeyo mu nfuufu.
16 “Bw’oba olina okutegeera, wuliriza kino;
wuliriza kye ŋŋamba.
17 (N)Oyo atayagala bwenkanya asobola okufuga?
Onoosalira abatuukirivu n’oyo ow’amaanyi omusango?
18 (O)Oyo si ye agamba bakabaka nti, ‘Tolina mugaso,’
n’abakungu nti, ‘Oli mukozi wa bibi,’
19 (P)atattira balangira ku liiso
era nga tafa ku bagagga kusinga bw’afa ku baavu,
kubanga egyo gye mirimu gy’emikono gye?
20 (Q)Mu kaseera buseera baba bafiiridde wakati mu ttumbi.
Abantu banyeenyezebwa ne baggyibwawo.
Abo ab’amaanyi batwalibwa n’omukono ogutali gw’abantu.
21 (R)“Amaaso ge gatunuulira amakubo g’abantu;
atunuulira buli kigere kye batambula.
22 (S)Teri kifo kikwafu wadde ekisiikirize eky’amaanyi,
ababi gye bayinza okwekweka.
23 (T)Katonda teyeetaaga kwongera kwekebejja bantu
okulabika mu maaso ge okusalirwa omusango.
24 (U)Awatali kwebuuza ku muntu yenna, amenyaamenya ab’amaanyi
n’ateekawo abalala mu kifo kyabwe.
25 Olw’okubanga amanyi ebikolwa byabwe,
abamalamu amaanyi ekiro ne babetentebwa.
26 Ababonereza olw’ebikolwa byabwe ebibi
abantu bonna nga balaba,
27 (V)kubanga baamuvaako ne balekeraawo okumugoberera
ne bataddayo kufaayo n’akatono ku makubo ge gonna.
28 (W)Baleetera abaavu okukaaba, ne kumutuukako
era n’awulira okukaaba kw’abanyigirizibwa.
29 Naye bw’asalawo obutabaako ky’ayogera, ani ayinza okumunenya?
Bwakweka amaaso ge ani ayinza okumulaba?
Eggwanga n’omuntu abalinako obuyinza bwe bumu;
30 (X)aziyiza omuntu atatya Katonda okufuga,
aleme okutega abantu emitego.
31 “Singa omuntu agamba Katonda nti,
gunsinze, sikyaddayo kwonoona,
32 (Y)kye sitegeera kinjigirize,
bwe mba nga nsobezza sikyaddayo kukikola,
33 (Z)olwo Katonda akuddemu nga bw’oyagala,
akuleke ng’ogaanye okwenenya?
Kaakano ggwe olina okusalawo, so sinze;
noolwekyo mbuulira ggwe ky’omanyi.
34 “Abantu abalina okutegeera mumbuulire,
abasajja abagezi abawulira muntegeeze,
35 (AA)‘Yobu ayogeza butamanya
ebigambo bye tebiriimu kwolesebwa.’
36 (AB)Singa Yobu agezesebbwa okutuusa ku nkomerero,
olw’okwogera ng’abasajja abakozi b’ebibi!
37 (AC)Kubanga ku kibi kye ayongeddeko obujeemu,
n’akuba mu ngalo wakati mu ffe,
n’ayongera okwogera ng’awakanya Katonda.”
Eby’obugagga eby’omuwendo mu bibya eby’ebbumba
4 (A)Noolwekyo nga bwe tulina obuweereza buno bwe twaweebwa olw’okusaasirwa, tuleme kuddirira. 2 (B)Twaleka ebikisibwa eby’ensonyi, nga tetutambulira mu bukuusa, wadde okukyamya ekigambo kya Katonda, wabula okuggyayo amazima nga bwe gali, nga tweraga eri buli ndowooza y’omuntu mu maaso ga Katonda. 3 (C)Naye obanga ddala Enjiri yaffe ekwekeddwa, ekwekeddwa eri abo ababula. 4 (D)Katonda w’emirembe gino yazibikira ebirowoozo by’abo abatakkiriza, obutabamulisiza njiri ey’ekitiibwa kya Kristo, ye nga kye kifaananyi kya Katonda. 5 (E)Kubanga tetweyogerako wabula Kristo Yesu Mukama, naffe tuli baddu bammwe ku lwa Yesu. 6 (F)Kubanga Katonda oyo ye yagamba nti, “Omusana gwake mu kizikiza,” ye yayaka mu mitima gyaffe, okuleetera abantu ekitangaala eky’okumanya ekitiibwa kya Katonda ekirabikira mu Yesu Kristo.
7 (G)Naye kaakano tulina ekyobugagga kino mu bibya eby’ebbumba, okulaga nti obuyinza bwonna bwa Katonda, so si bwaffe. 8 Tunyigirizibwa erudda n’erudda, naye ne tutabetenteka. Ne tweraliikirira, naye ne tutazirika. 9 (H)Tuyigganyizibwa, naye Katonda tatuleka. Tusuulibwa wansi, naye ne tutabetentuka, 10 nga tulaga okufa kwa Yesu bulijjo mu mibiri gyaffe, okufa kwa Yesu kulyoke kulabisibwe mu mibiri gyaffe. 11 Kubanga ffe abalamu tuweebwayo eri okufa olwa Yesu, obulamu bwa Yesu bulyoke bulabisibwe mu mibiri gyaffe. 12 Kale nno okufa kukolera mu ffe, naye obulamu bukolera mu mmwe.
13 (I)Bwe tuba n’omwoyo omu ow’okukkiriza, ng’ekyawandiikibwa bwe kigamba nti, “Nakkiriza noolwekyo kyennava njogera,” naffe tukkiriza, noolwekyo kyetuva twogera. 14 (J)Tumanyi ng’oyo eyazuukiza Mukama waffe Yesu, naffe agenda kutuzuukiza ne Yesu, era alitwanjulira wamu nammwe. 15 (K)Kubanga byonna biri bwe bityo ku bwammwe, okusiimibwa okwo bwe kweyongera okuyita mu bangi, n’okwebaza ne kulyoka kweyongera, Katonda n’agulumizibwa.
Okuba abalamu olw’okukkiriza
16 (L)Noolwekyo tetuterebuka, kubanga newaakubadde ng’emibiri gyaffe gifa, naye omuntu waffe ow’omunda adda buggya bulijjo. 17 (M)Kubanga okubonaabona kwaffe okutono okw’ekiseera ekya kaakano, kwongerayongera nnyo okututeekerateekera ekitiibwa eky’amaanyi eky’emirembe n’emirembe. 18 Noolwekyo tetutunuulira bintu ebirabika naye ebintu ebitalabika, kubanga ebintu ebirabika bya kiseera buseera, naye ebyo ebitalabika bya mirembe na mirembe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.