Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Olubereberye 47

47 (A)Awo Yusufu n’agenda eri Falaawo n’amugamba nti, “Kitange ne baganda bange n’amagana gaabwe n’ebisibo byabwe ne byonna bye balina bazze nga bava mu Kanani; kaakano bali Goseni.” Yalondako bataano ku baganda be, n’agenda nabo ewa Falaawo.

(B)Falaawo n’ababuuza nti, “Omulimu gwammwe mulimu ki?” Ne bamuddamu nti, “Abaweereza bo tuli balunzi nga bajjajjaffe. (C)Tuzze muno kunoonyeza bisibo byaffe muddo, kubanga abaddu bo tuva mu njala mpitirivu eri mu Kanani; ne kaakano abaddu bo tukusaba tubeere e Goseni.”

Awo Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Kitaawo ne baganda bo bazze gy’oli. (D)Ensi y’e Misiri gw’ogirinako obuyinza, teeka kitaawo ne baganda bo awasinga obulungi; bateeke e Goseni. Era obanga omanyi asobola mu bo muwe akuume ente zange.”

(E)Awo Yusufu n’ayingiza Yakobo, kitaawe n’amwanjula eri Falaawo. Yakobo n’asabira Falaawo omukisa. Falaawo n’abuuza Yakobo nti, “Olina emyaka emeka?” (F)Yakobo n’addamu nti, “Emyaka egy’olugendo lwange mu nsi giri kikumi mu amakumi asatu; emyaka gyange gibadde mitono era mizibu; siwangadde nga bajjajjange.” 10 (G)Olwo Yakobo n’asabira Falaawo omukisa n’ava mu maaso ga Falaawo.

11 (H)Awo Yusufu n’asenza kitaawe ne baganda be e Misiri, n’abawa ekitundu ekyali kisinga obulungi eky’e Goseni, mu Disitulikiti ey’e Lamusesi nga Falaawo bwe yalagira. 12 (I)Yusufu n’awa kitaawe ne baganda be n’ab’ennyumba ya kitaawe emmere ng’omuwendo gw’abaana baabwe bwe gwali.

Yusufu mu Njala

13 (J)Awo emmere n’eggwa mu kitundu ekyo kyonna kubanga enjala yayitirira obungi, ne kireetera ensi y’e Misiri ne Kanani okukosebwa ennyo. 14 (K)Yusufu n’akuŋŋaanya ensimbi zonna ezaali mu Misiri ne mu Kanani ng’abaguza emmere; n’azireeta mu lubiri lwa Falaawo. 15 (L)Awo ensimbi bwe zaggwa ku bantu b’e Misiri ne Kanani ne bajja eri Yusufu ne bamugamba nti, “Tuwe emmere. Ensimbi zituweddeko. Lwaki tufa?”

16 Yusufu n’abagamba nti, “Kale obanga ensimbi zibaweddeko mundeetere ensolo zammwe mbaguze emmere.” 17 (M)Awo ne bamuleetera amagana g’ensolo zaabwe, omwali embalaasi, n’endiga, n’ente, n’endogoyi, okubiwaanyisaamu emmere; emmere eyo n’ebayisa mu mwaka ogwo.

18 Omwaka ogwo bwe gwaggwaako, ne bajja eri Yusufu mu mwaka ogwaddirira ne bamugamba nti, “Tetuukukise mukama waffe, ensimbi zituweddeko n’ensolo zaffe zifuuse zizo tewali kye tusigazza, wabula emibiri gyaffe gino n’ebyalo byaffe. 19 Tufiira ki nga w’oli? Tugule ffe n’ebyalo byaffe otuwe emmere tuleme okufa, naffe tuliba baddu ba Falaawo, ensi yaffe ereme okuzikirira.”

20 Bw’atyo Yusufu n’agulira Falaawo ensi yonna ey’e Misiri. Abamisiri kinoomu, bonna ne batunda ebyalo byabwe kubanga enjala yali mpitirivu, ensi yonna n’efuuka ya Falaawo. 21 Bwe batyo n’abantu baamu okuva ku njuyi zonna ne bafuuka baddu ba Falaawo. 22 (N)Ekitundu kya bakabona kye kyokka ky’ataagula, kubanga bo baasasulwanga Falaawo. Kye yabasasulanga kwe beeguliranga ebyokulya; bo kyebaava batatunda ttaka lyabwe.

23 Awo Yusufu n’agamba abantu nti, “Mulabe, olwa leero mbaguze mmwe n’ebyalo byammwe; mbagulidde Falaawo. Kale kaakano ensigo zino zammwe munaazisiga. 24 (O)Bwe mulikungula, muliwa Falaawo ekitundu kimu kyakutaano, ebitundu bina bya kutaano biriba byammwe, okuba ensigo mu nnimiro zammwe, n’emmere ku lwammwe n’ab’ennyumba zammwe n’abaana bammwe.” 25 (P)Ne bamuddamu nti, “Otuwonyezza okufa; mukama waffe bw’anaasiima tuliba baddu ba Falaawo.”

26 (Q)Awo Yusufu n’ateeka etteeka erikwata ku ttaka mu nsi y’e Misiri; weeliri n’okutuusa kaakano, nti ekitundu kimu kyakutaano kiba musolo gwa Falaawo; ettaka ly’abakabona lyokka lye litaafuuka lya Falaawo.

Ekisuubizo kya Yusufu eri Yakobo

27 (R)Bw’atyo Isirayiri n’abantu be ne babeera mu nsi y’e Misiri, mu Goseni, ne bagaggawalira mu kitundu ekyo. Baazaala ne baala nnyo. 28 (S)Yakobo n’amala mu Misiri emyaka kkumi na musanvu. Bw’atyo Yakobo n’awangaala emyaka kikumi mu ana mu musanvu. 29 (T)Ekiseera eky’okufa kwa Isirayiri bwe kyali kisembedde, n’ayita mutabani we Yusufu n’amugamba nti, “Obanga nfunye ekisa mu maaso go teeka omukono gwo wansi w’ekisambi kyange, ondayirire ng’onompulira n’otonkuusakuusa: tonziikanga mu Misiri, 30 (U)onteekanga wamu ne bajjajjange. Olintwala n’onziika ku butaka.”

Yusufu n’amuddamu nti, “Ndikola nga bw’ogambye.”

31 (V)N’amugamba nti, “Ndayirira.” N’amulayirira. Awo Isirayiri n’akoteka omutwe gwe ng’atudde emitwetwe w’ekitanda kye.

Lukka 1:1-38

Abantu bangi bagezezzaako okuwandiika ebyafaayo ebyatuukirizibwa mu ffe, (A)ng’abo abaasooka edda bwe baabitubuulira, nga be baali abajulirwa era abaweereza b’Ekigambo okuviira ddala ku lubereberye. (B)Bwe ntyo bwe mmaze okukakasiza ddala buli kintu n’obwegendereza okuva ku by’olubereberye okutuukira ddala ku byasembayo, ne ndaba nga kirungi okukuwandiikira ggwe Teefiro ow’ekitiibwa ennyo, ndyoke mbikuwandiikire nga bwe byaliraanagana. (C)Olyoke omanye amazima g’ebyo bye wayigirizibwa.

Okulanga Okuzaalibwa kwa Yokaana Omubatiza

(D)Awo mu biro Kabaka Kerode we yafugira Obuyudaaya, waaliwo kabona erinnya lye Zaakaliya, nga wa mu kitongole kya Abiya, nga mukyala we naye yali wa mu kika kya Alooni, erinnya lye Erisabesi. (E)Abantu abo bombi baali batuukirivu mu maaso ga Katonda, era nga batambulira mu mateeka ga Katonda gonna, ne mu biragiro bya Mukama, nga tebaliiko kya kunenyezebwa. Bombi baali bakaddiye nnyo, era tebaalina mwana, kubanga Erisabesi yali mugumba.

(F)Awo lwali lumu, Zaakaliya bwe yali ng’ali ku mulimu gwe ogw’obwakabona mu maaso ga Katonda, kubanga kye kyali ekiseera eky’oluwalo lwe, (G)n’alondebwa okwoteza obubaane mu yeekaalu ya Mukama, ng’emirimu gy’obwakabona bwe gyabanga. 10 (H)Mu ssaawa eyo ey’okwoteza obubaane ekibiina kyonna eky’abantu baali bakuŋŋaanidde mu luggya lwa Yeekaalu.

11 (I)Awo malayika wa Mukama n’alabikira Zaakaliya, n’ayimirira ku luuyi olwa ddyo olw’ekyoto okwoterezebwa obubaane! 12 (J)Zaakaliya n’atya nnyo bwe yalaba malayika, entiisa n’emukwata. 13 (K)Naye malayika n’amugamba nti, “Totya Zaakaliya! Kubanga okusaba kwo kuwuliddwa, era mukazi wo Erisabesi ajja kukuzaalira omwana wabulenzi. Olimutuuma erinnya Yokaana. 14 (L)Mwembi mulisanyuka nnyo ne mujaguza. Era bangi abalibasanyukirako olw’okuzaalibwa kwe. 15 (M)Kubanga aliba mukulu mu maaso ga Katonda. Talinywa mwenge wadde ekitamiiza kyonna. Era alijjuzibwa Mwoyo Mutukuvu ng’akyali mu lubuto lwa nnyina. 16 Era alireetera abaana ba Isirayiri bangi okudda eri Mukama Katonda waabwe. 17 (N)Aliweerereza mu mwoyo ne mu maanyi aga nnabbi Eriya, n’akyusa emitima gy’aba kitaabwe okudda eri abaana baabwe, n’okukyusa emitima gy’abajeemu okudda eri amagezi g’abatuukirivu alyoke ateeketeeke abantu okulindirira Mukama.”

18 (O)Zaakaliya n’agamba malayika nti, “Ekyo nnaakimanya ntya? Kubanga nze ndi mukadde, ne mukazi wange naye akaddiya nnyo.”

19 (P)Malayika n’amugamba nti, “Nze Gabulyeri ayimirira mu maaso ga Katonda, era y’antumye okwogera naawe n’okukuleetera amawulire gano. 20 (Q)Naye olw’okuba nga tokkirizza bigambo byange, ojja kuziba omumwa, era togenda kuddamu kwogera okutuusa ng’ebintu ebyo bimaze okubaawo. Kubanga ebigambo byange byonna birimala kutuukirira mu kiseera kyabyo.”

21 Abantu abaali balindirira ebweru wa Yeekaalu okulaba Zaakaliya ne beewuunya nnyo ekyamulwisaayo ennyo bw’atyo. 22 (R)Oluvannyuma ennyo bwe yavaayo, yali tasobola kwogera nabo, ne bategeera nga mu Yeekaalu afuniddeyo okwolesebwa. N’asigala ng’azibye omumwa naye ng’abategeeza mu bubonero.

23 N’abeera mu Yeekaalu okutuusa ennaku ze ez’oluwalo lwe zaggwaako n’alyoka addayo eka. 24 Ennaku ezo bwe zaayitawo, mukazi we Erisabesi n’aba olubuto, ne yeekwekera ebbanga lya myezi etaano. 25 (S)N’agamba nti, “Mukama nga wa kisa kingi, kubanga anziggyeeko ensonyi olw’obutaba na mwana.”

Okuzaalibwa kwa Yesu Kulangibwa

26 (T)Awo mu mwezi ogw’omukaaga, Katonda n’atuma malayika Gabulyeri mu kibuga Nazaaleesi eky’omu Ggaliraaya 27 (U)eri omuwala erinnya lye Maliyamu, nga tamanyi musajja, eyali ayogerezebwa omusajja erinnya lye Yusufu, ow’omu lulyo lwa Dawudi. 28 Awo Gabulyeri n’alabikira Maliyamu n’amulamusa nti, “Mirembe! Ggwe aweereddwa omukisa! Mukama ali naawe!”

29 Maliyamu n’atya, n’abulwa n’ekyokwogera, ng’okulamusa okwo kumutabudde, nga n’amakulu gaakwo tagategeera. 30 (V)Awo malayika n’amugamba nti, “Totya, Maliyamu, kubanga olabye ekisa mu maaso ga Katonda. 31 (W)Kubanga, laba, olibeera olubuto, olizaala omwana wabulenzi era olimutuuma erinnya, Yesu. 32 (X)Agenda kuba mukulu, wa kitiibwa, era aliyitibwa Omwana w’Oyo Ali Waggulu Ennyo, era Mukama Katonda alimuwa entebe ey’obwakabaka eya jjajjaawe Dawudi. 33 (Y)Alifuga ennyumba ya Yakobo emirembe gyonna, era n’obwakabaka bwe tebulikoma.”

34 Awo Maliyamu n’abuuza malayika nti, “Ekyo kiriba kitya? Kubanga simanyi musajja.”

35 (Z)Malayika n’amuddamu nti, “Mwoyo Mutukuvu alikukkako, n’amaanyi g’Oyo Ali Waggulu Ennyo galikubuutikira, n’omwana alizaalibwa aliba mutukuvu, Omwana wa Katonda. 36 Laba, muganda wo Erisabesi eyayitibwanga omugumba, kati ali lubuto lwa myezi mukaaga mu bukadde bwe. 37 (AA)Kubanga buli kigambo kiyinzika eri Katonda.”

38 Maliyamu n’addamu nti, “Nze ndi muweereza wa Mukama, kibe ku nze nga bw’ogambye.” Malayika n’ava w’ali, n’agenda.

Yobu 13

13 “Laba, eriiso lyange lyalaba ebyo byonna,
    n’okutu kwange ne kuwulira ne mbitegeera.
(A)Kye mumanyi nange kye mmanyi;
    siri wa wansi ku mmwe.
(B)Naye neegomba okwogera n’oyo Ayinzabyonna,
    era n’okuleeta ensonga zange mu maaso ga Katonda.
(C)Naye mmwe mumpayiriza;
    muli basawo abatagasa mmwe mwenna!
(D)Kale singa musirika!
    Olwo lwe mwandibadde n’amagezi.
Muwulire kaakano endowooza yange,
    muwulirize okwegayirira kw’emimwa gyange.
(E)Katonda munaamwogerera nga mwogera ebitali bya butuukirivu?
    Munaamwogerera eby’obulimba?
(F)Munaamulaga ng’ataliiko luuyi,
    munaamuwoleza ensonga ze.
(G)Singa akukebera, anaakusanga oli bulungi?
    Oyinza okumulimba nga bw’oyinza okulimba abantu?
10 Tayinza butakunenya,
    singa osaliriza mu bubba.
11 (H)Ekitiibwa kye ekisukiridde tekyandikutiisizza?
    Entiisa ye teyandikuguddeko?
12 Ebigambo byammwe ebijjukirwa ngero za vvu,
    n’okwewolereza kwammwe kwa bbumba.
13 Musirike nze njogere;
    kyonna ekinantukako kale kintuukeko.
14 Lwaki neeteeka mu mitawaana,
    obulamu bwange ne mbutwalira mu mikono gyange?
15 (I)Ne bw’anzita, mu ye mwe nnina essuubi,
    ddala ddala nditwala ensonga zange mu maaso ge.
16 (J)Ddala kino kinaavaamu okusumululwa kwange,
    kubanga teri muntu atatya Katonda ayinza kwetantala kujja mu maaso ge!
17 (K)Muwulirize ebigambo byange n’obwegendereza;
    amatu gammwe gawulire bye ŋŋamba.
18 (L)Kaakano nga bwe ntegese empoza yange,
    mmanyi nti nzija kwejeerera.
19 (M)Waliwo ayinza okuleeta emisango gye nvunaanibwa?
    Bwe kiba bwe kityo, nzija kusirika nfe.
20 Ebintu ebyo ebibiri byokka by’oba ompa, Ayi Katonda,
    awo sijja kukwekweka.
21 (N)Nzigyako omukono gwo,
    olekere awo okuntiisatiisa n’okunkangakanga.
22 (O)Kale nno ompite nzija kukuddamu,
    oba leka njogere ggwe onziremu.
23 (P)Nsobi meka era bibi bimeka bye nkoze?
    Ndaga ekibi kyange era n’omusango gwange.
24 (Q)Lwaki okweka amaaso go,
    n’onfuula omulabe wo?
25 (R)Onoobonyaabonya ekikoola ekifuuyiddwa omuyaga?
    Onooyigga ebisasiro ebikaze?
26 (S)Kubanga ompadiikako ebintu ebiruma,
    n’ondeetera okuddamu okwetikka ebibi byange eby’omu buvubuka.
27 (T)Oteeka ebigere byange mu nvuba,
    era okuuma butiribiri amakubo gange mwe mpita
    ng’oteeka obubonero ku bisinziiro by’ebigere byange.
28 (U)Bw’atyo omuntu bw’aggwaawo ng’ekintu ekivundu,
    ng’olugoye oluliiriddwa ennyenje.”

1 Abakkolinso 1

(A)Nze Pawulo eyayitibwa okuba omutume wa Yesu Kristo olw’okwagala kwa Katonda, ne Sossene[a] owooluganda[b], (B)tuwandiikira ekkanisa ya Katonda eri mu Kkolinso n’eri abo abaatukuzibwa mu Kristo Yesu, abayitibwa abatukuvu, n’abo bonna abakoowoola erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo mu buli kifo, owaabwe era owaffe; (C)ekisa kibe ku mmwe n’emirembe egiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Kristo.

Okwebaza

(D)Nneebaza Katonda wange bulijjo ku lwammwe, olw’ekisa kya Katonda ekyabaweebwa mu Kristo Yesu, (E)mu ye mwagaggawazibwa mu buli kintu, ne mu kwogera kwonna, era ne mu kutegeera kwonna, (F)era ng’obujulirwa bwa Kristo bwe bwakakasibwa mu mmwe, (G)muleme kubaako kye mwetaaga mu kirabo kyonna, nga mulindirira okubikkulirwa kwa Mukama waffe Yesu Kristo. (H)Era oyo y’alibanyweza ku nkomerero, nga temuliiko kya kunenyezebwa ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu Kristo. (I)Katonda mwesigwa, oyo eyabayita mu kussekimu okw’Omwana we Yesu Kristo Mukama waffe.

10 Kaakano mbeegayirira abooluganda, mu Iinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mukkiriziganyenga mwekka na mwekka muleme okwawukananga. Naye mube n’omutima gumu n’endowooza emu. 11 Abooluganda, ab’ewa Kuloowe bannyinnyonnyola nti mu mmwe mulimu ennyombo. 12 (J)Kye ŋŋamba kye kino nti buli omu ku mmwe agamba nti nze ndi wa Pawulo, nze ndi wa Apolo, nze ndi wa Keefa, nze ndi wa Kristo.

13 (K)Kale Kristo ayawuliddwamu? Pawulo yakomererwa ku musaalaba ku lwammwe? Oba mwabatizibwa mu linnya lya Pawulo? 14 (L)Neebaza Katonda kubanga nze sibatizanga muntu n’omu ku mmwe okuggyako Kulisupo ne Gaayo. 15 Noolwekyo si kulwa nga wabaawo agamba nti mwabatizibwa mu linnya lyange. 16 (M)Naye nzijukira nga nabatiza ab’omu nnyumba ya Suteefana, naye sirowooza nga nabatiza omuntu omulala yenna. 17 (N)Kristo teyantuma kubatiza wabula yantuma kubuulira Njiri. Era sigibuulira mu magezi ga bigambo bugambo, si kulwa ng’omusaalaba gwa Kristo gumalibwamu amaanyi gaagwo.

Kristo amagezi n’amaanyi ga Katonda

18 (O)Ekigambo ky’omusaalaba kya busirusiru eri abo abazikirira naye eri ffe abaalokolebwa ge maanyi ga Katonda. 19 (P)Kubanga kyawandiikibwa nti,

“Ndizikiriza amagezi g’abagezi,
    ne nzigyawo okumanya kw’abayivu.”

20 (Q)Kale omugezi aluwa? N’omuwandiisi aluwa? Omuwakanyi w’omulembe guno aluwa? Katonda teyafuula amagezi ag’ensi eno okuba obusirusiru? 21 Kubanga Katonda, mu magezi ge, yalaba ng’ensi teyinza kumumanya ng’eyita mu kutegeera kwayo. Katonda kyeyava asiima okuyita mu busirusiru bw’okubuulira Enjiri okulokola abakkiriza. 22 (R)Kubanga Abayudaaya banoonya bubonero, Abayonaani bo ne banoonya amagezi, 23 (S)naye ffe tubuulira Kristo eyakomererwa. Eri Abayudaaya nkonge, eri Abaamawanga busirusiru, 24 (T)naye eri abaayitibwa, Abayudaaya n’Abamawanga, Kristo ge maanyi ga Katonda, era amagezi ga Katonda. 25 (U)Kubanga obusirusiru bwa Katonda businga amagezi g’abantu, n’obunafu bwa Katonda businga abantu amaanyi.

26 Kubanga mulabe okuyitibwa kwammwe abooluganda, bangi ku mmwe temwali bagezi mu mubiri, era nga bangi temuli b’amaanyi, era nga bangi temwazaalibwa nga muli ba kitiibwa. 27 (V)Naye Katonda yalonda ebisirusiru eby’ensi, akwase abagezi ensonyi; era Katonda yalonda ebinafu eby’ensi, akwase ab’amaanyi ensonyi, 28 (W)era n’alonda abakopi ab’ensi n’abo abanyoomebwa; era n’ebitaliiwo alyoke aggyewo ebiriwo, 29 (X)waleme kubaawo muntu n’omu eyeenyumiriza mu maaso ga Katonda. 30 (Y)Kyokka ku bw’oyo muli mu Kristo Yesu, eyafuuka amagezi gye tuli okuva eri Katonda, bwe butuukirivu, n’okutukuzibwa, n’okununulibwa, 31 (Z)nga bwe kyawandiikibwa nti eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu Mukama waffe.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.