M’Cheyne Bible Reading Plan
Ebibonerezo olw’Ekibi
20 Awo Mukama n’agamba Musa nti, 2 “Tegeeza abaana ba Isirayiri bw’oti nti, Omuyisirayiri yenna, oba omunnaggwanga atuula mu Isirayiri, bw’anaawangayo omwana we ng’ekiweebwayo eri Moleki, kitaawe w’omwana oyo ajjanga kuttibwa. Abantu ab’omu kitundu ekyo mw’abeera banaamukubanga amayinja. 3 (A)Nange kennyini, omuntu oyo nnaamunyiigiranga, era nnaamugobanga ne mmugaana okukolagananga ne banne, kubanga awaddeyo omu ku baana be ng’ekiweebwayo eri Moleki, n’ayonoona Awatukuvu wange era n’avumisa erinnya lyange ettukuvu. 4 (B)Era abantu ab’omu kitundu ekyo mw’abeera, bwe banaamuzibiranga ku liiso, omuntu oyo awaddeyo omwana we eri Moleki, ne batamutta, 5 omuntu oyo nnaamunyiigiranga, ne ku b’omu nnyumba ye, ne mbagoba ne mbagaana okukolagananga ne bannaabwe, ye ne banne abakolaganye naye mu kukuba obwamalaaya ne Moleki.
6 (C)“ ‘Omuntu bw’anaakolagananga n’abasamize, n’abalogo, n’akuba nabo obwamalaaya, nnaamunyiigiranga, era nnaamugobanga ne mugaana okukolagana ne banne.
7 (D)“ ‘Noolwekyo mwetukuze mubeerenga batukuvu, kubanga Nze Mukama Katonda wammwe. 8 (E)Mukwatenga amateeka gange, mugagobererenga. Nze Mukama abatukuza.
9 (F)“ ‘Omuntu yenna anaakolimiranga kitaawe oba nnyina wa kuttibwanga. Noolwekyo akolimidde kitaawe oba nnyina, omusaayi gwe gunaabanga ku mutwe gwe.
10 (G)“ ‘Omusajja bwanaayendanga ku muka omusajja, bombi, omusajja ayenze n’omukazi gw’ayenzeeko banattibwanga.
11 (H)“ ‘Omusajja bw’aneebakanga ne muka kitaawe, anaabanga aweebudde kitaawe. Bombi omusajja n’omukazi banattibwanga; omusaayi gwabwe gunaabanga ku mitwe gyabwe.
12 (I)“ ‘Omusajja bw’aneebakanga ne muka mutabani we, bombi banattibwanga. Kubanga bombi banaabanga bakoze ebyambyone; omusaayi gwabwe gunaabanga ku mitwe gyabwe.
13 (J)“ ‘Omusajja bw’aneebakanga ne musajja munne nga bwe yandyebase n’omukazi, bombi banaabanga bakoze eky’ekivve; era banattibwanga, n’omusaayi gwabwe gunaabanga ku mitwe gyabwe.
14 (K)“ ‘Omusajja bw’anaawasanga omukazi ate n’atwalirako ne nnyina, ekyo kya kivve. Ye n’abakazi bombi banaayokebwanga mu muliro, bwe mutyo ekyonoono ekyo ne mukyegobako.
15 (L)“ ‘Omusajja bw’anaakolanga eby’ensonyi ku nsolo, anattibwanga, era n’ensolo munaagittanga.
16 “ ‘Omukazi bw’anaasembereranga ensolo alyoke akole nayo eby’ensonyi, mumuttanga n’ensolo ne mugitta. Omukazi anattibwanga n’ensolo nettibwa; omusaayi gw’omukazi gunaabanga ku mutwe gwe, n’ogw’ensolo gunaabanga ku mutwe gwayo.
17 (M)“ ‘Omusajja bw’anaawasanga mwannyina, oba nga mwanamuwala wa kitaawe, oba nga mwanamuwala wa nnyina, ne beebaka bombi, kinaabanga kya buwemu. Bombi banaagobwanga mu bannaabwe ne babagaana okukolagananga nabo. Kubanga omusajja oyo anaabanga aweebudde mwannyina, era y’aneetikkanga obuvunaanyizibwa bwonna olw’ekibi ekyo.
18 (N)“ ‘Omusajja bw’aneebakanga n’omukazi mu biseera by’omukazi, ebya buli mwezi ng’empisa y’abakazi bw’eba, anaabanga abikudde ensulo y’omusaayi gw’omukazi oyo, era n’omukazi anaabanga yeebikudde. Bombi banaagobwanga mu bannaabwe ne babagaana okukolagananga nabo.
19 (O)“ ‘Teweebakanga na mukazi muganda wa nnyoko oba ne mwannyina wa kitaawo n’okola naye eby’ensonyi, kubanga ekyo kiweebuula owooluganda ow’okumpi. Mwembi munaavunaanyizibwanga olw’ekyonoono kyammwe ekyo.
20 (P)“ ‘Omusajja bw’aneebakanga ne muka kitaawe omuto oba ne muka kojjaawe, anaabanga aweebudde bakadde be abo. Omusajja oyo n’omukazi oyo be baneetikkanga obuvunaanyizibwa obw’ekibi ekyo, era balifa nga tebalina baana.
21 (Q)“ ‘Omusajja bw’anaawasanga muka muganda we, kinaabanga ekikolwa ekitali kirongoofu, kubanga aweebudde muganda we. Tebalizaala baana.
Ekiragiro eky’Okubeeranga Abatukuvu
22 (R)“ ‘Kale nno, mukwatenga amateeka gange gonna n’ebiragiro byange byonna, era mubikolerengako, ensi mwe mbatwala okutuulanga eryoke ereme kubasesema. 23 (S)Era temugobereranga mpisa ez’amawanga ge ŋŋenda ngoba mu nsi eyo; kubanga baakola ebintu ebyo byonna, noolwekyo mbakyawa nnyo. 24 (T)Naye nabategeeza nti, “Mulisikira ensi yaabwe, era ndigibawa ne mugirya, ye nsi omukulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.” Nze Mukama Katonda wammwe eyabaawula ku mawanga amalala.
25 (U)“ ‘Noolwekyo mujjanga kwawulamu ensolo ennongoofu n’etali nnongoofu, n’ennyonyi ennongoofu n’etali nnongoofu. Temufuukanga abatali balongoofu olw’ensolo oba ennyonyi, oba ebiramu byonna ebitambula ku ttaka, bye mmaze okwawulako ne mbibategeeza nti si birongoofu. 26 (V)Kibasaanira okubeeranga abatukuvu gye ndi, kubanga Nze, Mukama, ndi mutukuvu, era mbaawudde ku mawanga amalala mubeerenga ggwanga lyange.
27 (W)“ ‘Omusajja oba omukazi mu mmwe anaabeeranga omusamize oba omulogo, wa kuttibwanga. Mubakubanga amayinja; era omusaayi gwabwe gunaabanga ku mitwe gyabwe.’ ”
Zabbuli ya Dawudi.
25 (A)Eri ggwe, Ayi Mukama,
gye ndeeta okusaba kwange.
2 (B)Neesiga ggwe, Ayi Mukama, tondeka kuswala mu maaso g’abalabe bange. Tobaganya kumpangula.
3 (C)Ddala ddala abakwesiga tebaajulirirenga,
naye ab’enkwe baliswazibwa.
4 (D)Njigiriza nga bwe nnaakolanga, Ayi Mukama,
ondage amakubo go mwe nnaatambuliranga.
5 Onjigirizenga okunywerera ku mazima go, era onkulemberenga mu byonna;
kubanga ggwe Katonda, ow’obulokozi bwange
era essuubi lyange liri mu ggwe olunaku lwonna.
6 (E)Jjukira, Ayi Mukama, okusaasira kwo okunene, n’okwagala kwo okungi,
kubanga byava dda.
7 (F)Tojjukira bibi byange
n’obujeemu bwange eby’omu buvubuka bwange.
Onzijukire, Ayi Mukama,
ng’okwagala kwo gye ndi bwe kuli, kubanga oli mulungi.
8 (G)Mukama mulungi, era wa mazima,
noolwekyo ayigiriza aboonoonyi ekkubo lye.
9 (H)Abawombeefu abaluŋŋamya mu kkubo ettuufu
n’abayigiriza ekkubo lye.
10 (I)Amakubo ga Mukama gonna gajjudde okwagala n’amazima
eri abo abagondera endagaano ye n’ebiragiro bye.
11 (J)Olw’erinnya lyo, Ayi Mukama,
onsonyiwe ebibi byange, kubanga bingi.
12 (K)Omuntu wa ngeri ki atya Katonda?
Oyo gw’anaayigirizanga okukwata ekkubo lye yamulondera.
13 (L)Obulamu bwe bunajjuzibwanga emikisa gya Katonda,
era bazzukulu be ensi eriba yaabwe.
14 (M)Mikwano gya Mukama be bo abamugondera;
anaababikkuliranga ekyama eky’endagaano ye.
15 (N)Ntunuulira Mukama buli kiseera,
kubanga yekka y’anzigya mu kabi.
16 (O)Nkyukira, Ayi Mukama, onkwatirwe ekisa,
kubanga nsigadde bw’omu, era ndi munafu.
17 (P)Obuyinike bweyongedde mu mutima gwange;
mponya okweraliikirira kwange.
18 (Q)Tunuulira ennaku endiko, weetegereze obulumi bwange;
onzigyeko ebibi byange byonna.
19 (R)Laba abalabe bange nga bwe beeyongedde obungi
n’okunkyawa kwe bankyawamu!
20 (S)Labiriranga obulamu bwange, obamponye;
tondekanga mu buswavu,
kubanga ggwe kiddukiro kyange.
21 (T)Amazima n’obulongoofu bindabirirenga,
essubi lyange liri mu ggwe.
22 (U)Nunula Isirayiri, Ayi Katonda,
omuwonye emitawaana gye gyonna.
Buli Kintu Kirina Ekiseera Kyakyo
3 (A)Buli kintu kirina ekiseera kyakyo,
na buli ekikolebwa wansi w’eggulu kirina ekiseera kyakyo.
2 Waliwo ekiseera eky’okuzaalibwa n’ekiseera eky’okufa;
ekiseera eky’okusimba ate n’ekiseera eky’okukungula ebyo ebyasimbibwa;
3 ekiseera eky’okutta n’ekiseera eky’okuwonya;
ekiseera eky’okumenya n’ekiseera eky’okuzimba;
4 ekiseera eky’okukaabiramu n’ekiseera eky’okusekeramu;
ekiseera eky’okukungubaga n’ekiseera eky’okuzina;
5 ekiseera eky’okusaasaanyizaamu amayinja, n’ekiseera eky’okugakuŋŋaanyizaamu;
ekiseera eky’okugwiramu mu kifuba n’ekiseera eky’okukyewaliramu;
6 waliwo ekiseera eky’okunoonyezaamu n’ekiseera eky’okulekeraawo okunoonya;
ekiseera eky’okukuumiramu ekintu n’ekiseera eky’okukisuuliramu;
7 (B)n’ekiseera eky’okuyulizaamu n’ekiseera eky’okuddabiririzaamu;
ekiseera eky’okusirikiramu n’ekiseera eky’okwogereramu;
8 waliwo ekiseera eky’okwagaliramu n’ekiseera eky’okukyayiramu;
ekiseera eky’entalo n’ekiseera eky’eddembe.
9 (C)Ddala omuntu kiki ky’afuna mu kutegana kwe? 10 (D)Ndabye omugugu Katonda gw’atadde ku bantu. 11 (E)Buli kimu yakikola nga kirungi mu kiseera kyakyo. Kyokka newaakubadde nga Katonda yateeka mu mitima gy’abantu okutegeera obulamu obutaggwaawo, omuntu tayinza kuteebereza mulimu gwa Katonda gwonna, we gutandikira oba we gukoma. 12 Mmanyi nga tewali kisingira bantu kusanyuka na kukola bulungi nga balamu. 13 (F)Buli muntu alyoke alye, anywe afune okwesiima olw’ebyo ebiva mu kutegana kwe, kubanga ekyo kirabo kya Katonda. 14 (G)Mmanyi nga buli Katonda ky’akola kya lubeerera; tekyongerwako, era tewali kikijjibwako. Katonda yakikola bw’atyo, abantu balyoke bamutye.
15 (H)Ekyo ekiriwo ky’amala dda okubaawo;
n’ekyo ekinaaberawo kyabaawo dda;
era Katonda alagira ebyali bibaddewo, ne byongera okubaawo.
16 Ate era nalaba nga wansi w’enjuba,
mu kifo ky’okusala amazima waliwo kusaliriza;
ne mu kifo ky’obutuukirivu waliwo bwonoonyi.
17 (I)Ne njogera munda yange nti,
“Katonda aliramula
abatuukirivu n’aboonoonyi;
kubanga yateekawo ekiseera ekya buli kimu;
era na buli mulimu.”
18 (J)Ne ndowooza nti, “Katonda agezesa abaana b’abantu era bajjukire nti nsolo busolo. 19 (K)Kubanga ekituuka ku baana b’abantu kye kituuka ne ku nsolo; omuntu afa, n’ensolo n’efa. Bonna bassa omukka gwe gumu; omuntu talina nkizo ku nsolo. Byonna butaliimu. 20 (L)Bonna bagenda mu kifo kye kimu, bonna bava mu nfuufu era mu nfuufu mwe badda. 21 (M)Ani amanyi obanga omwoyo gw’omuntu gwambuka waggulu, ogw’ensolo gwo ne gukka mu ttaka?”
22 (N)Bwe ntyo nalaba nga tewali kisinga muntu kusanyukira mulimu gwe, kubanga ekyo gwe mugabo gwe. Anti tewali asobola kumukomyawo alabe ebyo ebiribaawo oluvannyuma lwe.
Obuvunaanyizibwa bw’abakkiriza
5 (A)Tokambuwaliranga musajja mukulu, wabula omubuuliriranga nga kitaawo. Abavubuka bayisenga nga baganda bo, 2 abakazi abakadde bayisenga ng’abazadde bo, abato nga bannyoko, ng’omutima gwo mulongoofu ddala.
3 (B)Bannamwandu ddala, bassengamu ekitiibwa. 4 (C)Nnamwandu bw’abanga n’abaana oba abazzukulu basookenga okuyiga ebyo ebikolebwa mu maka ge waabwe, nga bassaayo omwoyo ku bazadde baabwe era n’okubalabirira. Kubanga ekyo kisanyusa Katonda. 5 (D)Oyo aba nnamwandu ddala, asigadde yekka, essuubi lye aba alitadde mu Katonda, era anyiikire okwegayirira n’okusaba Katonda emisana n’ekiro. 6 (E)Kyokka oyo nnamwandu eyeemalira mu masanyu, aba ng’afudde, newaakubadde ng’akyali mulamu. 7 (F)Ebyo bibalagire, baleme kubaako kya kunenyezebwa. 8 (G)Naye omuntu yenna bw’atalabirira bantu be, na ddala ab’omu nnyumba ye, aba yeegaanyi okukkiriza, era aba mubi okusinga atakkiriza.
9 Nnamwandu awezezza emyaka enkaaga ye yekka anaawandiikibwanga ku lukalala lwa bannamwandu. Era ateekwa kuba nga yafumbirwa omusajja omu, 10 (H)nga yakolanga ebikolwa ebirungi, oba nga yaleranga abaana, oba nga yayanirizanga abagenyi, oba nga yanaazanga abatukuvu ebigere, oba nga yayambanga abanyigirizibwa, era oba nga yeewangayo nnyo okukola obulungi mu buli ngeri.
11 Naye bannamwandu abakyali abato, tokkirizanga okubateeka ku lukalala lwa bannamwandu, kubanga omubiri bwe gulibalemesa okweweerayo ddala eri Kristo, balyagala okufumbirwa, 12 bwe batyo ne bessaako omusango olw’obutatuukiriza ekyo kye baasooka okusuubiza. 13 (I)N’ekirala bayiga okubeera abagayaavu ne batambulatambula mu buli nnyumba, so si bugayaavu kyokka, naye era balina olugambo, era beeyingiza mu bitali byabwe ne boogera n’ebitasaana. 14 (J)Kyenva njagala bannamwandu abato bafumbirwenga, bazaale abaana, era balabirire amaka gaabwe, baleme kuwa mulabe kkubo lya kutwogerako kibi. 15 (K)Kubanga bannamwandu abamu bakyamye ne bagoberera Setaani.
16 (L)Naye bwe wabaawo omukkiriza alina bannamwandu ab’olulyo lwe abalabirirenga, Ekkanisa ereme okuzitoowererwa, kiryoke kisoboke okulabirira bannamwandu abataliiko abayamba.
17 (M)Abakulembeze abafuga basaanidde okuweebwanga ekitiibwa kingi, na ddala abo abanyiikira ennyo mu kubuulira n’okuyigiriza ekigambo kya Katonda. 18 (N)Kubanga Ekyawandiikibwa kigamba nti, “Ente ng’ewuula eŋŋaano, togisibanga mumwa.” Era nti, “Omukozi asaanira okusasulwa empeera ye.” 19 (O)Tokkirizanga ebyo bye bavunaana omukulembeze okuggyako nga biriko abajulirwa babiri oba basatu. 20 (P)Kyokka abo aboonoona banenyezenga mu lwatu, abalala balyoke batye. 21 (Q)Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, ne bamalayika abalonde okugobereranga ebyo, nga teweekubira wadde okusaliriza.
22 (R)Toyanguyirizanga kussaako mikono ku muntu yenna, so tossanga kimu na bibi by’abalala; weekuumenga ng’oli mulongoofu.
23 (S)Lekeraawo okunywanga amazzi gokka, naye nywanga ne ku wayini mutono olw’olubuto lwo, n’olw’okulwalalwala kwo.
24 Ebibi by’abantu abamu birabika lwatu nga tebannasalirwa musango kubasinga, naye eby’abalala birabika luvannyuma. 25 N’ebikolwa ebirungi nabyo bwe bityo birabika lwatu; ne bwe biba tebirabise lwatu, tebiyinza kukwekebwa bbanga lyonna.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.