Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ebyabaleevi 11-12

Etteeka ku Bisolo Ebirongoofu

11 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, (A)“Mutegeeze abaana ba Isirayiri nti bino bye biramu bye munaayinzanga okulya mu bisolo byonna eby’oku nsi. Munaayinzanga okulya ensolo yonna erina ekigere ekyaseemu nga kyeyawulidde ddala, era ng’ezza obwenkulumu. Kyokka ezo ezizza obwenkulumu bwokka, oba ezirina ebigere ebyaseemu byokka, temuziryanga. Ggamba eŋŋamira, newaakubadde ng’ezza obwenkulumu naye ebigere byayo si byaseemu; noolwekyo si nnongoofu. N’omusu nagwo guzza obwenkulumu, naye ebigere byagwo si byaseemu; noolwekyo si mulongoofu. Ate n’akamyu ak’omu nsiko, newaakubadde nako kazza obwenkulumu naye ebigere byako si byaseemu, noolwekyo si kalongoofu, era temukalyanga. (B)Ate mulabe embizzi, newaakubadde ng’ekigere kyayo kyaseemu, ate nga kyeyawulidde ddala, naye tezza bwenkulumu; noolwekyo si nnongoofu gye muli. (C)Ebisolo ng’ebyo temulyanga nnyama yaabyo, wadde okukwatako ku mirambo gyabyo; kubanga si birongoofu gye muli.

“Ku biramu ebiri mu mazzi ag’omu nnyanja n’ag’omu migga mulyangako ebyo ebirina amatu awamu n’amagagamba ku mubiri gwabyo. 10 (D)Ebiramu byonna ebyekuluumulira mu nnyanja ne mu migga naye nga tebiriiko matu oba magagamba binaabanga bya muzizo gye muli. 11 Nga bwe binaabanga eby’omuzizo gye muli, temuulyenga ku nnyama yaabyo, era n’emirambo gyabyo ginaabanga gya muzizo. 12 Buli kiramu kyonna ekibeera mu mazzi naye nga tekiriiko matu wadde amagagamba kinaabanga kya muzizo gye muli.

13 “Mu nnyonyi, zino ze z’omuzizo era temuuziryenga: empungu, ensega, makwanzi, 14 kamunye, eddiirawamu erya buli ngeri, 15 ne namuŋŋoona owa buli ngeri; 16 maaya, olubugabuga, olusobe, enkambo eza buli ngeri, 17 ekiwuugulu, enkobyokkobyo, ekkufufu, 18 ekiwuugulu eky’amatu, ne kimbala, ensega, 19 kasida, mpabaana owa buli ngeri, ekkookootezi, n’ekinyira.

20 (E)“Ebiwuka byonna ebirina ebiwaawaatiro nga bitambuza amagulu ana binaabanga bya muzizo gye muli. 21 Naye mu biwuka ebyo ebirina ebiwaawaatiro era nga bitambuza amagulu ana munaalyangamu ebyo ebirina ennyingo ku magulu gaabyo ebigenda nga bibuuka amacco ku ttaka. 22 (F)Mu ebyo bino bye munaalyanga: enzige eza buli ngeri, n’enseenene eza buli ngeri, n’obunyeenyenkule obwa buli ngeri, n’amayanzi aga buli ngeri. 23 Naye ebiwuka ebirala byonna eby’ebiwaawaatiro nga birina amagulu ana binaabanga bya muzizo gye muli.

Etteeka ku Bisolo Ebitali Birongoofu

24 “Bino nabyo binaabafuulanga abatali balongoofu; buli anaakwatanga ku mulambo gw’ensolo nga zino anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 25 (G)Era buli anaasitulanga ekitundu kyonna eky’omulambo gwazo anaateekwanga okwoza engoye ze, kyokka era anaabanga afuuse atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.

26 “Buli nsolo yonna erina ekigere ekyaseemu naye nga tekyeyawulidde ddala, oba nga tezza bwenkulumu, eneebanga ya muzizo gye muli. Buli anaakwatanga ku mulambo gwazo anaabanga afuuse atali mulongoofu. 27 Mu nsolo zonna ezitambulira ku magulu ana, ezo ezitambulira ku bibatu byazo teziibenga nnongoofu gye muli, buli muntu anaakwatanga ku mulambo gwazo anaabanga afuuse atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 28 Era n’oyo anaasitulanga omulambo gwazo anaayozanga engoye ze; naye era anaabanga afuuse atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. Teziibenga nnongoofu gye muli.

29 (H)“Mu nsolo ezigenda zisoobera ku ttaka; zino teziibenga nnongoofu gye muli: eggunju, emmese, amakonkome amanene aga buli ngeri; 30 anaka, enswaswa, omunya, ekkonkome, ne nnawolovu. 31 Mu ezo zonna ezisoobera ku ttaka ezo teziibenga nnongoofu gye muli. Era buli anaazikwatangako nga zimaze okufa anaabanga afuuse atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 32 (I)Era emu ku zo bw’eneefanga n’egwa ku kintu eky’engeri yonna ekikozesebwa, ekintu ekyo kinaafuukanga ekitali kirongoofu, obanga ekintu ekyo kyakolebwa mu muti, oba mu lugoye, oba mu ddiba oba mu kkutiya. Kiteekebwenga mu mazzi. Tekiibenga kirongoofu okutuusa akawungeezi; kyokka oluvannyuma kinaalongookanga. 33 (J)Era emu ku zo bw’eneegwanga mu nsaka ey’ebbumba, byonna ebiri mu nsaka omwo binaafuukanga ebitali birongoofu, era ensaka eyo muteekwa buteekwa okugyasanga. 34 Emmere eneebanga egenda okuliibwa naye n’ebaako amazzi agavudde mu nsaka omwo, teebenga nnongoofu, n’amazzi agandinywereddwa okuva mu nsaka omwo tegaabenga malongoofu. 35 Era buli kintu kyonna omulambo gw’ensolo zino kwe gunaabanga gugudde ku masiga okufumbirwa oba mu ntamu, binaayasibwayasibwanga, kubanga si birongoofu; era tebiibenga birongoofu gye muli. 36 Naye bwe gunaagwanga mu luzzi oba mu ppipa y’amazzi, ebyo byo binaasigalanga birongoofu; naye oyo yenna anaakwatanga ku mulambo ogwo taabenga mulongoofu. 37 Singa omulambo gugwa ku nsigo ez’engeri yonna ezigenda okusimbibwa, zinaasigalanga nnongoofu. 38 Naye singa ensigo ziyiyibbwako amazzi, omulambo ne guzigwako, teziibenga nnongoofu gye muli.

39 “Singa ensolo yonna ku ezo ze mukkirizibwa okulya efa, oyo yenna anaakwatanga ku mulambo gwayo anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 40 (K)Oyo anaalyanga ku nnyama y’omulambo kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. Oyo yenna anaasitulanga omulambo, kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, naye taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.

41 “Buli kitonde kyonna ekitambulira ku ttaka kinaabanga kya muzizo, temuukiryenga. 42 Temuulyenga kitonde kyonna ekyekululira ku ttaka, obanga kyewalulira ku lubuto lwakyo, oba nga kitambuza amagulu, oba nga kikozesa ebigere bingi; kinaabanga kya muzizo. 43 (L)Temuganyanga kwonoonebwa bitonde ebyo n’ekimu. Temubikozesanga temulwa kweyonoona, era temubikkirizanga kubafuula abatali balongoofu. 44 (M)Kubanga Nze Mukama Katonda wammwe, kale mwetukuzanga ne mubeera batukuvu, kubanga Nze ndi mutukuvu. Temwesemberezanga ebitonde ebyo ebitambulira ku ttaka ne bibafuula abatali balongoofu. 45 (N)Kubanga Nze Mukama eyabaggya mu nsi ey’e Misiri, okubeera Katonda wammwe; noolwekyo kibasaanira okubeeranga abatukuvu, kubanga Nze ndi mutukuvu.

46 “Ago ge mateeka agakwata ku nsolo, ne ku nnyonyi, ne ku buli kiramu kyonna eky’omu mazzi, ne ku buli kitonde kyonna ekyewalulira ku ttaka. 47 (O)Kibasaaniranga mwawulemu, mu bitonde ebiramu ebirongoofu ebisaana okuliibwanga, ne mu bitonde ebiramu ebitali birongoofu ebitasaana kuliibwanga.”

Okutukuzibwa Oluvannyuma lw’Okuzaala

12 Mukama n’agamba Musa nti, (P)“Abaana ba Isirayiri bagambe nti, ‘Omukazi bw’anaabanga olubuto, n’azaala omwana nga wabulenzi, omukazi oyo taabenga mulongoofu okumala ennaku musanvu, okufaanana nga bw’atabeera mulongoofu ng’ali mu kiseera ky’okulwala kw’abakazi okwa buli mwezi. (Q)Ku lunaku olw’omunaana omwana oyo omulenzi anaakomolebwanga. Ate omukazi anaalindanga ne wayitawo ennaku amakumi asatu mu ssatu alyoke atukuzibwe olw’omusaayi ogwamuvaamu ng’azaala. Taakwatenga ku kintu ekitukuvu wadde okuyingiranga mu watukuvu okutuusa ng’ennaku z’okutukuzibwa kwe ziweddeko. Naye bw’anaabanga azadde omwana wabuwala, omukazi taabenga mulongoofu okumala wiiki bbiri, nga bw’abeera ng’ali mu kiseera kye eky’okulwala kw’abakazi okwa buli mwezi. Ate anaalindanga ennaku nkaaga mu mukaaga alyoke alongoosebwe olw’omusaayi ogwamuvaamu ng’azaala.

(R)“ ‘Ennaku z’omukazi oyo ez’okutukuzibwa bwe zinaggwangako, bw’anaabanga azadde omwana mulenzi oba muwala, anaaleetanga eri kabona ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, omwana gw’endiga oguwezezza omwaka gumu obukulu okuguwaayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa, ng’enjiibwa ento oba ejjiba ng’ekiweebwayo olw’ekibi. Kabona anaabiwangayo eri Mukama okutangirira omukazi oyo; bw’atyo anaabeeranga mulongoofu olw’omusaayi ogwamuvaamu ng’amaze okuzaala.

“ ‘Ago ge mateeka agakwata ku mukazi anaazaalanga omwana owoobulenzi oba owoobuwala. (S)Bw’anaabanga tasobola kuwaayo mwana gwa ndiga, anaaleetanga bibiri bibiri ku bino: enjiibwa ento bbiri oba amayiba abiri, ekimu nga ky’ekiweebwayo ekyokebwa n’ekirala nga ky’ekiweebwayo olw’ekibi. Mu ngeri eno kabona anaamutangiririranga, bw’atyo n’afuuka mulongoofu.’ ”

Zabbuli 13-14

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

13 (A)Olinneerabira kutuusa ddi, Ayi Mukama? Okutuusa emirembe gyonna?
    Olikomya ddi okunkweka amaaso go?
(B)Okulumwa mu mmeeme yange kulikoma ddi,
    n’okunyolwa okwa buli lunaku mu mutima gwange kuliggwaamu ddi?
    Abalabe bange balikomya ddi okumpangulanga nga beegulumiza?

(C)Onnyanukule, Ayi Mukama Katonda wange;
    onzizeemu amaanyi nneme okufa.
(D)Si kulwa ng’omulabe wange yeewaana nti, “Mmuwangudde;”
    abalabe bange ne bajaguza nga ngudde.

(E)Naye nze neesiga okwagala kwo okutajjulukuka;
    era omutima gwange gunaasanyukiranga mu bulokozi bwo.
(F)Nnaayimbiranga Mukama,
    kubanga ankoledde ebirungi.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

14 (G)Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti,
    “Tewali Katonda.”
Aboogera bwe batyo boonoonefu,
    bakola ebitasaana tekuli n’omu ku bo akola kirungi.

(H)Mukama atunuulira abantu bonna mu nsi
    ng’asinziira mu ggulu,
okulaba obanga mulimu mu bo ategeera,
    era abanoonya Katonda.
(I)Naye bonna bakyamye
    boonoonese;
teri akola kirungi,
    era teri n’omu.

(J)Abo bonna abakola ebibi tebaliyiga?
    Kubanga basaanyaawo abantu bange ng’abalya emmere;
    so tebakoowoola Mukama.
Balitya nnyo!
    Kubanga Katonda abeera wamu n’abatuukirivu.
(K)Mulemesa entegeka z’omwavu,
    songa Mukama kye kiddukiro kye.

(L)Singa obulokozi bwa Isirayiri butuuse mu kiseera kino nga buva mu Sayuuni!
    Mukama bw’alirokola abantu be,
    Yakobo alijaguza ne Isirayiri alisanyuka.

Engero 26

Omusirusiru n’Obusirusiru bwe

26 (A)Ng’omuzira bwe gutasaana mu biseera bya kusiga oba enkuba mu makungula,
    n’ekitiibwa bwe kitasaanira musirusiru.

(B)Ng’enkazaluggya ewabye, ng’akataayi akabuukabuuka,
    ekikolimo ekitasaanidde tekibaako kye kikola.

(C)Embooko ya mbalaasi, n’olukoba lwa ndogoyi,
    n’omuggo gusaanira migongo gya basirusirusiru.

(D)Toyanukulanga musirusiru ng’obusirusiru bwe, bwe buli,
    oleme kubeera nga ye.

(E)Omusirusiru omuddangamu ng’obusirusiru bwe, bwe buli,
    si kulwa nga yeerowooza nti mugezi.

(F)Omuntu atuma omusirusiru,
    aba ng’eyeetemyeko ebigere n’anywa obusungu.

(G)Ng’amagulu g’omulema bwe galengejja obulengezzi,
    bwe lutyo n’olugero bwe lubeera mu kamwa k’omusirusiru.

(H)Ng’atadde ejjinja mu nvuumuulo bw’aba,
    n’oyo awa omusirusiru ekitiibwa bw’atyo bw’abeera.

(I)Ng’eriggwa bwe lifumita mu mukono gw’omutamiivu,
    bwe lutyo n’olugero bwe lubeera mu kamwa k’abasirusiru.

10 Ng’omulasi w’akasaale, amala galasa buli gw’asanze,
    bw’abeera bw’atyo apangisa omusirusiru oba omuyise yenna gw’asanze.

11 (J)Ng’embwa bw’eddira ebisesemye by’ayo,
    bw’atyo bw’abeera omusirusiru adda mu nsobi ze.

12 (K)Olaba omuntu omugezi mu maaso ge ye?
    Omusirusiru alina essuubi okumusinga.

13 (L)Omugayaavu agamba nti, “Mu kkubo eriyo empologoma,
    empologoma enkambwe eyita mu luguudo!”

14 (M)Ng’oluggi bwe lukyukira ku ppata zaalwo,
    bw’atyo omugayaavu bw’akyukira ku kitanda kye.

15 (N)Omugayaavu akoza n’engalo ze mu kibya,
    naye olw’obunafu bwe n’atasobola kuzizza mu kamwa.

16 Omugayaavu alowooza nti mugezi,
    okusinga abantu omusanvu abaddamu ebibuuzo mu butuufu.

17 Ng’asika embwa amatu,
    omuyise bw’abeera eyeeyingiza mu luyombo olutali lulwe.

18 Ng’omulalu akasuka
    emmuli ez’omuliro oba obusaale obutta,
19 bw’abeera omuntu alimba munne,
    n’agamba nti, “Mbadde nsaaga busaazi.”

20 (O)Enku bwe zibula omuliro guzikira,
    awatali lugambo ennyombo ziggwaawo.

21 (P)Ng’amanda ku gannaago agaliko omuliro, oba enku ku muliro,
    bw’abeera omusajja omuyombi mu kuwakula entalo.

22 (Q)Ebigambo by’omuntu ageya biri ng’emmere ewoomerera,
    bigenda mu bitundu by’omubiri eby’ewala.

23 Ng’ekintu eky’ebbumba ekibikkiddwako amasengere,
    bwe gibeera emimwa eminyiikivu egisibuka ku mutima omubi.

24 (R)Omuntu ow’enkwe alimbalimba n’emimwa gye
    naye ng’aterese obulimba mu mutima gwe.
25 (S)Wadde nga by’ayogera bisanyusa, tomukkiririzaamu
    kubanga eby’emizizo musanvu bijjuza mu mutima gwe.
26 Enkwe ze ziyinza okubikkibwa mu kubuzaabuuza,
    naye obutali butuukirivu bwe buliggyibwayo mu lukuŋŋaana.

27 (T)Buli asima ekinnya y’alikigwamu,
    n’oyo aliyiringisa ejjinja gwe liriddira.

28 (U)Olulimi olulimba lukyawa abo be lufumita,
    n’akamwa akawaanawaana kaleeta okuzikirira.

1 Basessaloniika 5

(A)Naye ku bikwata ku by’entuuko n’ebiro, abooluganda, ssetaaga kwongera kubawandiikira. (B)Kubanga mmwe mwennyini mumanyi bulungi nti olunaku lwa Mukama waffe lulijja ng’omubbi bw’ajja ekiro. Abantu balirowooza mu mitima gyabwe nti, “Tulina emirembe era tulina obukuumi,” amangwango okuzikirira ne kulyoka kubajjira, ng’okulumwa bwe kujjira omukazi agenda okuzaala omwana; ne batawona n’akatono.

(C)Naye mmwe, abooluganda abaagalwa temuli mu kizikiza ku nsonga zino, era temugenda kwekanga lunaku olwo ng’abayingiriddwa omubbi; Kubanga mmwe mwenna muli baana ba musana era baana ba butangaavu. Tetuli ba kiro yadde ab’ekizikiza. (D)Noolwekyo tuleme kwebaka ng’abalala naye tutunulenga okwegomba kuleme okutufuga. (E)Kubanga abeebaka beebaka kiro, n’abatamiira batamiira kiro. (F)Naye ffe, kubanga tuli ba musana, tulemenga okutamiira. Twambale okukkiriza n’okwagala ng’ekyomu kifuba, era tube n’essuubi ery’obulokozi nga ye nkufiira yaffe. (G)Kubanga ffe Katonda teyatulondera kufukibwako kiruyi kya busungu, wabula okutulokola ng’ayita mu Mukama waffe Yesu Kristo, 10 (H)eyatufiirira ka tube nga tuli balamu oba nga tufudde, tulyoke tubeere balamu wamu naye. 11 Kale mugumyaganenga era muzimbaganenga nga bwe mubadde mukola.

Ebiragiro Ebisembayo

12 (I)Kaakano tubeegayirira abooluganda, mumanye abafuba okukola emirimu mu mmwe era ababakulembera mu Mukama waffe era abababuulirira, 13 (J)mubassengamu nnyo ekitiibwa mu kwagala olw’omulimu gwabwe. Mubenga bantu ba mirembe. 14 (K)Tubakuutira abooluganda, mubuulirirenga abagayaavu, mugumyenga abo abalimu okutya, muyambenga abatalina maanyi, mubenga bagumiikiriza eri abantu bonna. 15 (L)Mulabenga nga mu mmwe temuli muntu asasula ekibi olw’ekibi, naye bulijjo mukolenga obulungi buli muntu ne munne, era n’eri abantu bonna. 16 (M)Musanyukenga ennaku zonna.

Musabenga

17 Musabenga obutayosa. 18 Mwebazenga olwa buli kintu kyonna, kubanga ekyo Katonda ky’abaagaliza mmwe abali mu Kristo Yesu. 19 (N)Temuzikizanga Mwoyo Mutukuvu, 20 (O)era temunyoomanga abo aboogera eby’obunnabbi, 21 (P)naye mwekenneenyenga ebintu byonna, kale bwe bibanga ebirungi mubinywezenga. 22 Mwewalenga buli ngeri ya kibi.

23 (Q)Katonda ow’emirembe abatukulize ddala, era omwoyo gwammwe gwonna, n’emmeeme yammwe n’omubiri gwammwe, bikuumibwenga nga tebiriiko kya kunenyezebwa okutuusa ku lunaku olw’okujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo. 24 (R)Oyo eyabayita mwesigwa era alikituukiriza.

25 (S)Abooluganda, naffe, mutusabirenga.

26 Mulamuse abooluganda bonna mu kulamusa okutukuvu.

27 Mbalagira mu linnya lya Mukama waffe ebbaluwa eno mugisomere abooluganda bonna.

28 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.