Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ebyabaleevi 10

Okufa kwa Nadabu ne Abiku

10 (A)Awo olwatuuka, batabani ba Alooni, Nadabu ne Abiku ne beetwalira buli omu ekyoterezo kye, ne bateekamu omuliro, ne bassaako obubaane, ne bawaayo eri Mukama Katonda omuliro ogutali mutukuvu, ne basobya ekiragiro kye. (B)Omuliro ne guva eri Mukama ne gubookya, ne bafiira awo mu maaso ga Mukama Katonda. (C)Awo Musa n’agamba Alooni nti, Kino Mukama Katonda kye yayogerako bwe yagamba nti,

“ ‘Nzija kweyolekanga nga bwe ndi omutukuvu
    eri abo abansemberera,
era nassibwangamu ekitiibwa
    abantu bonna.’ ”

Alooni n’asirika busirisi.

(D)Awo Musa n’ayita Misayeri ne Erizafani, abaana ba Wuziyeeri kitaawe omuto owa Alooni, n’abagamba nti, “Mujje wano musitule emirambo gya baganda bammwe mugiggye wano awatukuvu mugitwale ebweru w’olusiisira.” (E)Bwe batyo ne bajja ne basitula baganda baabwe abo nga bwe baali bayambadde ne babatwala ebweru w’olusiisira nga Musa bwe yabagamba.

(F)Awo Musa n’agamba Alooni, ne Eriyazaali ne Isamaali, batabani ba Alooni, nti, “Mmwe temusumulula nviiri zammwe okuzita ne zireebeeta era temuyuza byambalo byammwe nga mukungubaga, kubanga muyinza okufa, n’obusungu bwa Mukama Katonda buyinza okubuubuukira abantu bonna. Naye baganda bammwe, ye nnyumba yonna eya Isirayiri, babakaabire abo Mukama Katonda b’azikirizza n’omuliro. (G)Era temuva ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, temulwa kufa; kubanga muliko amafuta ag’omuzeeyituuni ga Mukama Katonda ag’okwawula.” Ne bakola nga Musa bwe yabalagira.

Bakabona bye Basaana Okwegendereza

Awo Mukama Katonda n’agamba Alooni nti, (H)“Ggwe ne batabani bo bwe muyingiranga mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu temunywanga envinnyo oba ekyokunywa ekirala kyonna ekitamiiza; bwe mulikikola temulirema kufa. Eryo linaabanga tteeka ery’enkalakkalira ne mu mirembe gyonna egigenda okujja. 10 (I)Mwawulengamu ebitukuvu n’ebyabulijjo, ebirongoofu n’ebitali birongoofu; 11 (J)era kibasaanidde okuyigirizanga abaana ba Isirayiri amateeka gonna Mukama Katonda g’abawadde ng’agayisa mu Musa.”

Etteeka ery’Okulya Emmere Entukuvu

12 (K)Awo Musa n’agamba Alooni ne Eriyazaali ne Isamaali, batabani ba Alooni abaali basigaddewo, nti, “Mutwale ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekyasigaddewo ku biweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda nga si kizimbulukuse, mukiriire okumpi n’ekyoto kubanga kitukuvu nnyo. 13 Mukiriire mu kifo ekitukuvu, kubanga gwe mugabo gwo, era gwe mugabo gw’abatabani bo, nga guva ku kiweebwayo eri Mukama Katonda ekyokebwa; bwe ntyo bwe ndagiddwa. 14 (L)Naye ekifuba ekiwuubibwa n’ekisambi ekiweebwayo munaabiriira mu kifo kyonna kye munaalaba ekirongoofu; mubirye, ggwe ne batabani bo ne bawala bo b’oli nabo; kubanga bibaweereddwa ng’omugabo gwammwe, ggwe n’abaana bo, nga biva ku biweebwayo olw’emirembe ebiweereddwayo abaana ba Isirayiri. 15 (M)Ekisambi ekiweereddwayo n’ekifuba ekiwuubibwa, binaaleetebwa awamu n’amasavu ag’oku biweebwayo ebyokebwa, ne biwuubibwawuubibwa nga kye kiweebwayo ekiwuubibwa awali Mukama, era kinaabeeranga mugabo gwo awamu ne batabani bo emirembe gyonna; nga Mukama Katonda bw’alagidde.”

16 (N)Awo Musa n’abuuliriza ebyali bifudde ku mbuzi ey’ekiweebwayo olw’ekibi, n’avumbula nga baagyokezza dda, n’anyiigira batabani ba Alooni abaali basigaddewo, Eriyazaali ne Isamaali, n’ababuuza nti, 17 (O)“Lwaki ekiweebwayo ekyo olw’ekibi temwakiriiridde, wali awatukuvu? Kitukuvu nnyo. Kyabaweereddwa kiryoke kiggyiseeko abantu bonna ebibi byabwe, nga mmwe mubatangiririra awali Mukama Katonda. 18 (P)Ng’omusaayi gwayo bwe gutaatwaliddwa munda mu Kifo Ekitukuvu, embuzi eyo ddala mwandigiriiridde awo awatukuvu nga bwe nabalagira.”

19 (Q)Awo Alooni n’addamu Musa nti, “Laba, olwa leero bawaddeyo eri Mukama Katonda ekiweebwayo olw’ebibi byabwe n’ekiweebwayo kyabwe ekyokebwa; naye era ebintu nga bino ne bingwako. Mukama Katonda yandisanyuse singa leero ndidde ekiweebwayo olw’ekibi?” 20 Awo Musa bwe yawulira ebigambo ebyo n’amatira.

Zabbuli 11-12

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

11 (A)Mu Mukama mwe neekweka;
    ate muyinza mutya okuŋŋamba nti,
    “Ddukira ku nsozi ng’ebinyonyi?
(B)Kubanga laba ababi baleega emitego gyabwe
    egy’obusaale,
balase abalina omutima
    omulongoofu.
(C)Emisingi nga gizikirizibwa,
    omutuukirivu ayinza kukola ki?”

(D)Mukama ali mu Yeekaalu ye entukuvu;
    Mukama atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka eri mu ggulu.
Amaaso ge gatunuulira
    era geetegereza abaana b’abantu.
(E)Mukama akebera abatuukirivu
    naye omutima gwe gukyawa ababi,
    n’abakola eby’obukambwe.
(F)Ababi alibayiwako
    amanda ag’omuliro;
    n’empewo ezibambula gwe guliba omugabo gwabwe.

(G)Kubanga Mukama mutuukirivu
    era ayagala eby’obutuukirivu;
    abo abalongoofu be balimulaba.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

12 (H)Tuyambe, Ayi Mukama, kubanga tewakyali n’omu amanyi Katonda;
    abantu abeesigwa bonna baweddewo.
(I)Buli muntu alimba munne;
    akamwa kaabwe akawaana koogera bya bulimba.

(J)Mukama, osirise akamwa k’abo bonna abeewaanawaana,
    na buli lulimi olwenyumiriza;
nga boogera nti, “Tujja kuwangula n’olulimi lwaffe, era tufune byonna bye twetaaga n’akamwa kaffe,
    kubanga ani alitukuba ku mukono.”

(K)Mukama ayogera nti, “Olw’okujoogebwa kw’abanafu,
    n’olw’okusinda kw’abali mu bwetaavu,
nnaasituka kaakano
    ne nnwanirira abo abalumbibwa.”
(L)Ebigambo bya Mukama bya bwesigwa era bya mazima.
    Bigeraageranyizibwa n’effeeza
    erongoosebbwa obulungi emirundi musanvu mu kyoto eky’ebbumba.

(M)Ayi Mukama, tukwesiga ng’onootukuumanga,
    n’otuwonya abantu abali ng’abo emirembe gyonna.
(N)Ababi beeyisaayisa
    nga bagulumiza ebitaliimu nsa.

Engero 25

Engero Endala Eza Sulemaani

25 (A)Zino nazo ngero za Sulemaani abasajja ba Keezeekiya kabaka wa Yuda ze baakoppolola.

(B)Okukisa ensonga kitiibwa kya Katonda,
    naye okunoonyereza ensonga kitiibwa kya bakabaka.

Ng’eggulu bwe lyewanise waggulu ennyo n’ensi bw’ekka ennyo wansi,
    bwe gityo n’emitima gya bakabaka bwe gitategeerekeka.

Effeeza giggyeemu ebisejja,
    olyoke ofune omuweesi ky’anaakozesa.
(C)Ggyawo abakozi b’ebibi mu maaso ga kabaka,
    entebe ye ey’obwakabaka eryoke enywezebwe mu butuukirivu.

Teweekuzanga mu maaso ga kabaka,
    wadde okwewa ekifo mu bantu ab’ekitiibwa.
(D)Kubanga okukugamba nti, “Jjangu wano mu maaso,”
    kisingako okukuswaza mu maaso g’ow’ekitiibwa.

(E)Amaaso go bye galabye
    tobyanguyirizanga kubireeta mu mbuga,
kubanga oluvannyuma onookola otya
    munno bw’anaakuswaza?

Bw’owozanga ne muliraanwa wo,
    tobikkulanga kyama kya muntu mulala,
10 akiwulira aleme okukuswaza;
    n’onyoomebwa ebbanga lyonna.

11 (F)Ekigambo ekyogere nga bwe kisaanidde,
    kiba kya muwendo nnyo nga zaabu gwe batonye mu bintu bye bakoze mu ffeeza.

12 (G)Ng’empeta ey’omu kutu eya zaabu, oba akakomo aka zaabu ennungi,
    bw’atyo omuntu ow’amagezi anenya, bw’abeera eri okutu okuwuliriza.

13 (H)Ng’obunnyogovu bw’omuzira bwe bubeera mu biseera eby’okukunguliramu,
    bw’atyo bw’abeera omubaka omwesigwa eri abo abamutuma,
    aweweeza emmeeme ya bakama be.

14 Ng’ebire n’empewo omutali nkuba,
    omuntu asuubiza ebirabo by’atagaba bw’abeera.

Muliraanwa n’Omulabe

15 (I)Okugumiikiriza okungi kuyinza okukkirizisa omufuzi,
    n’olulimi olw’eggonjebwa lumenya eggumba.

16 (J)Bw’ozuula omubisi gw’enjuki, lyako ogwo gwokka ogukumala,
    si kulwa ng’ogukkuta nnyo n’ogusesema.
17 Tokyalanga lunye ewa muliraanwa wo,
    si kulwa ng’akwetamwa n’akukyawa.

18 (K)Omuntu awa obujulizi obw’obulimba ku muliraanwa we,
    ali ng’embuukuuli, oba ekitala, oba akasaale akoogi.

19 Okwesiga omuntu ateesigika,
    kiri ng’oli alina erinnyo eddwadde oba ekigere ekirema.

20 Ng’omuntu eyeeyambula engoye mu kiseera eky’obutiti,
    era ng’omwenge omukaatuufu bwe guteekebwako oluvu,
    bw’atyo bw’abeera ayimbira oyo ali mu buyinike.

21 Omulabe wo bw’aba alumwa enjala, muwe emmere alye,
    bw’aba alumwa ennyonta muwe amazzi anywe.
22 (L)Kubanga oliba otuuma amanda g’omuliro ku mutwe gwe,
    era Mukama alikuwa empeera.

23 Ng’empewo ey’obukiikakkono bwereeta enkuba,
    n’olulimi oluyomba bwe luleetera omuntu obusungu.

24 (M)Okusulanga mu kasonda waggulu ku nnyumba,
    kisinga okubeera n’omukazi omuyombi mu nnyumba.

25 (N)Ng’amazzi amannyogovu bwe gaba eri emmeeme erumwa ennyonta,
    bwe gatyo bwe gaba amawulire amalungi agava mu nsi ey’ewala.

26 Ng’oluzzi olusiikuuse, oba ensulo eyonoonese,
    bw’atyo bw’abeera omutuukirivu eyeewaayo eri omukozi w’ebibi.

27 (O)Si kirungi kulya mubisi gwa njuki mungi,
    bwe kityo si kirungi omuntu okwenoonyeza ekitiibwa.

28 Omuntu ateefuga
    ali ng’ekibuga ekimenyeemenye ne kirekebwa nga tekirina bbugwe.

1 Basessaloniika 4

Obulamu obusanyusa Katonda

(A)Noolwekyo abooluganda, ekisembayo, tubeegayirira nga tubazzaamu amaanyi mu Mukama waffe Yesu, nti nga bwe twababuulirira bwe kibagwanira okutambula n’okusanyusa Katonda, era nga bwe mukola bwe mutyo, mugende mu maaso okukolanga bwe mutyo n’okusingawo. Kubanga mumanyi ebiragiro bye twabawa mu Mukama waffe Yesu.

(B)Kubanga Katonda ayagala mutukuzibwe, era mwewalenga obwenzi, (C)buli omu ku mmwe amanyenga okufuga omubiri gwe mu butukuvu n’ekitiibwa, (D)so si mu kwegomba okw’obukaba ng’abamawanga abatamanyi Katonda bwe bakola. (E)Mu nsonga eyo walemenga okubaawo ayingirira muganda we, newaakubadde amusobyako, kubanga Mukama yawoolera eggwanga mu nsonga zino. Ebintu bino byonna twabibagamba dda era ne tubawa n’obujulirwa. (F)Kubanga Katonda teyatuyitira bugwenyufu wabula yatuyitira kutukuzibwa. (G)Noolwekyo anyooma bino aba tanyoomye muntu wabula Katonda, atuwa Omwoyo we Omutukuvu.

(H)Kaakano ku bikwata ku kwagalana kw’abooluganda sseetaaga kubibawandiikirako, kubanga mmwe mwennyini mwayigirizibwa Katonda okwagalananga. 10 (I)Kubanga ddala bwe mutyo bwe mwagala abooluganda bonna ab’omu Makedoniya, naye era abooluganda, tubakuutira mweyongere okubaagalanga. 11 (J)Mubeerenga bakkakkamu, nga temweyingiza mu by’abalala, era mukolenga emirimu gyammwe nga bwe twabakuutira, 12 mutambule nga mwegendereza eri abatakkiriza, mube nga mwemalirira mu buli nsonga.

Okujja kwa Mukama waffe

13 Kaakano, abooluganda tetwagala mmwe obutategeera eby’abo abafu, ne munakuwala ng’abalala abatalina ssuubi. 14 (K)Kubanga bwe tukkiriza nti Yesu yafa era n’azuukira mu bafu bwe tutyo tukkiriza nti Katonda alikomyawo wamu naye abo abaafira mu Yesu. 15 (L)Kubanga ekyo kye tubategeeza mu kigambo kya Mukama waffe, nga ffe abalamu, abaasigalawo okutuusa okujja kwa Mukama waffe tetulisooka abaafa. 16 (M)Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n’eddoboozi ery’omwanguka, eddoboozi lya malayika omukulu nga liwulirwa, n’ekkondeere lya Katonda, n’abo abaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira, 17 (N)naffe abalamu abaasigalawo ne tulyoka tubeegattako, ne tusitulibwa mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga; bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna. 18 Kale buli omu agumyenga munne n’ebigambo ebyo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.