M’Cheyne Bible Reading Plan
Ekiweebwayo olwa Bakabona
9 (A)Ku lunaku olw’omunaana Musa n’ayita Alooni ne batabani be n’abakulembeze ba Isirayiri. 2 N’agamba Alooni nti, “Ddira ennyana eya sseddume eweebwayo olw’ekibi, n’endiga ennume olw’ekiweebwayo ekyokebwa, nga zombi teziriiko kamogo, oziweeyo ng’ekiweebwayo eri Mukama Katonda. 3 Ogambe abaana ba Isirayiri nti, ‘Muddire embuzi ennume eweebwayo olw’ekibi, n’ennyana n’omwana gw’endiga, nga zino zombi zaakamala omwaka gumu obukulu era nga teziriiko kamogo, nga za kiweebwayo ekyokebwa; 4 (B)era n’ente eya sseddume n’endiga ennume eby’ebiweebwayo olw’emirembe, n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke nga mulimu amafuta ag’omuzeeyituuni, byonna mubiweeyo nga kye kiweebwayo eri Mukama Katonda; kubanga ku lunaku lwa leero Mukama Katonda ajja kubalabikira.’ ” 5 Bwe batyo ne baleeta byonna Musa bye yabalagira okuleeta mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Abantu bonna, kye kibiina ekinene, ne basembera ne bayimirira awali Mukama Katonda. 6 (C)Musa n’alyoka abagamba nti, “Kino kye kyo Mukama Katonda kye yabagambye okukola, era ekitiibwa kya Mukama kijja kubalabikira.” 7 (D)Awo Musa n’agamba Alooni nti, “Sembera ku kyoto oweeyo ekiweebwayo kyo olw’ebyonoono byo, n’ekiweebwayo kyo ekyokebwa, olyoke weetangiririre awamu n’abantu era oleete ekiweebwayo eky’abantu; obatangiririre; nga Mukama Katonda bwe yalagidde.”
8 (E)Awo Alooni n’asembera ku kyoto, n’atta ennyana ey’ekiweebwayo kye olw’ebyonoono bye. 9 (F)Batabani ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, n’annyika olunwe lwe mu musaayi n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto, n’afuka omusaayi ku ntobo y’ekyoto. 10 N’addira amasavu n’ensigo n’ebibikka ku kibumba eby’omu kiweebwayo olw’ekibi, n’abyokera ku kyoto, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa. 11 (G)Ennyama n’eddiba n’abyokera mu muliro ebweru w’olusiisira.
12 Alooni n’atta ekiweebwayo ekyokebwa; batabani be ne bamuleetera omusaayi, n’agumansira ku kyoto okukyebungulula. 13 (H)Ne bamuleetera ebifi eby’ekiweebwayo ekyokebwa nga n’omutwe kweguli; byonna n’abyokera ku kyoto. 14 N’ayoza ebyenda n’amagulu, n’abyokera wamu n’ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto.
Ekiweebwayo olw’Abantu
15 (I)Awo Alooni n’aleeta ekiweebwayo olw’abantu. Yaddira embuzi ey’ekiweebwayo olw’ebibi by’abantu n’agitta, n’agiwaayo ng’ekiweebwayo kye olw’ekibi, kye yasooka olw’ebibi bye. 16 (J)N’aleeta ekiweebwayo ekyokebwa n’akiwaayo ng’etteeka bwe liragira. 17 (K)N’aleeta ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, n’ayoolamu olubatu, n’akyokya ku kyoto okuliraana n’ekiweebwayo ekyokebwa eky’omu makya.
18 (L)Ente ya sseddume n’endiga ennume nazo n’azitta, nga bye biweebwayo olw’emirembe eby’abantu; batabani ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, n’agumansira ku kyoto okukyebungulula enjuuyi zonna. 19 Naye amasavu ag’ente eya sseddume n’ago ag’endiga ennume, n’amasavu ag’oku mukira, n’ago agabikka ku byenda, n’ensigo, n’agabikka ku kibumba, 20 ne bateeka amasavu gaabyo ku bifuba by’ensolo ezo, n’ayokya amasavu ago ku kyoto; 21 (M)naye ebifuba n’ekisambi ekya ddyo, Alooni n’abiwuubawuuba mu maaso ga Mukama Katonda nga kye kiweebwayo ekiwuubibwa eri Mukama Katonda, nga Musa bwe yalagira.
22 (N)Awo Alooni n’awanikira abantu emikono gye, n’abasabira omukisa. Bw’atyo Alooni ng’amaze okuwaayo ekiweebwayo olw’ekibi, n’ekiweebwayo ekyokebwa, n’ekiweebwayo olw’emirembe, n’avaayo ku kyoto. 23 (O)Musa ne Alooni ne bayingira mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Bwe baafuluma ne basabira abantu omukisa, era ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kirabikira abantu bonna. 24 (P)Omuliro ne gujja nga guva eri Mukama Katonda ne gumalirawo ddala ekiweebwayo ekyokebwa n’amasavu ebyali ku kyoto. Awo abantu bonna bwe baakiraba ne baleekaana ne bagalamira wansi ng’amaaso gaabwe gali ku ttaka.
10 (A)Lwaki otwekwese, Ayi Mukama?
Lwaki otwekwese mu biseera eby’emitawaana?
2 Omubi, mu malala ge, ayigganya abanafu;
muleke agwe mu nkwe ezo z’asaze.
3 (B)Kubanga omubi yeewaana ng’anyumya ku bibi ebiri mu mutima gwe,
agabula aboomululu n’avuma Mukama.
4 (C)Omubi mu malala ge
tanoonya Katonda.
5 Buli ky’akola kimugendera bulungi.
Amateeka go tagafaako,
era n’abalabe be abanyooma.
6 (D)Ayogera mu mutima gwe nti, “Sikangibwa,
nzija kusanyuka emirembe gyonna.”
7 (E)Mu kamwa ke mujjudde okukolima n’obulimba awamu n’okutiisatiisa;
ebigambo bye bya mutawaana era bibi.
8 (F)Yeekukuma mu byalo
okutemula abantu abataliiko musango.
Yeekweka ng’aliimisa b’anatta.
9 (G)Asooba mu kyama ng’empologoma,
ng’alindirira okuzinduukiriza abateesobola.
Abakwasa n’abatwalira mu kitimba kye.
10 B’abonyaabonya bagwa wansi
ne babetentebwa ng’amaanyi g’omubi gabasukkiridde.
11 (H)Ayogera mu mutima gwe nti, “Katonda yeerabidde, amaaso ge agakwese,
era takyaddayo kubiraba.”
12 (I)Golokoka, Ayi Mukama, ozikirize omubi, Ayi Katonda;
abanaku tobeerabiranga.
13 Omuntu omubi ayinza atya okukunyooma, Ayi Katonda,
n’agamba mu mutima gwe nti
“Sigenda kwennyonnyolako?”
14 (J)Naye ggwe, Ayi Katonda, ennaku zaabwe n’okubonaabona kwabwe obiraba
era ojja kubikolako.
Ateesobola yeewaayo mu mikono gyo,
kubanga gwe mubeezi w’abatalina bakitaabwe.
15 (K)Malawo amaanyi g’omwonoonyi,
muyite abyogere ebyo
ebibadde bitajja kuzuulwa.
24 (A)Teweegombanga bakozi ba bibi
era tobeesemberezanga.
2 (B)Kubanga emitima gyabwe giteesa kukola bya butemu,
era akamwa kaabwe koogera ku kukola bya ffujjo.
3 (C)Amagezi ge gazimba ennyumba,
n’okutegeera kwe kugiggumiza.
4 (D)Olw’amagezi ebisenge by’ayo bijjula ebintu ebirungi,
eby’obugagga ebitalabikalabika eby’omuwendo omungi.
5 Omuntu ow’amagezi aba n’obuyinza,
n’omuntu alina okumanya yeeyongera amaanyi.
6 (E)Kubanga okulwana olutalo weetaaga okuluŋŋamizibwa,
n’okuluwangula, weetaaga abawi b’amagezi bangi.
7 Amagezi gasukkirira nnyo omusirusiru,
talina ky’asobola kwogera mu lukuŋŋaana olw’oku wankaaki.
8 Oyo asala enkwe ez’okukola ebibi,
aliyitibwa mukujjukujju.
9 Entegeka ez’obusirusiru muvaamu kwonoona,
abantu beetamwa omukudaazi.
10 (F)Bw’oyongobera mu kiseera eky’ebizibu,
olwo ng’olina amaanyi matono!
11 (G)Odduukiriranga n’owonya abo abatwalibwa okuttibwa,
n’abo abali ku njegoyego z’okuttibwa, obawonye okuttirwa obwemage.
12 (H)Bw’ogambanga nti, “Laba kino twali tetukimanyi,”
oyo akebera emitima aba talaba?
Oyo akuuma obulamu bwo takimanyi?
Talisasula buli muntu ng’omulimu gwe bwe guli?
13 Mwana wange olyanga omubisi gw’enjuki kubanga mulungi,
omubisi oguva mu bisenge byagwo guwoomerera.
14 (I)Era manya nti amagezi gawoomera emmeeme yo,
bw’onoogafuna onoobeera n’essuubi mu bulamu obw’omu maaso,
n’essuubi lyo teririkoma.
15 Toteeganga, ng’omunyazi bw’akola ku nnyumba y’omutuukirivu,
tonyaganga maka ge.
16 (J)Omuntu omutuukirivu ne bw’agwa emirundi omusanvu, addamu n’ayimuka,
naye abakozi b’ebibi basuulibwa mu mitawaana.
17 (K)Tosanyukanga ng’omulabe wo agudde,
bwe yeesittalanga omutima gwo gulemenga okujaguza.
18 Si kulwa nga Mukama akiraba ne kitamusanyusa,
n’amusunguwalira.
19 (L)Teweeraliikiriranga olw’abo abakola ebibi,
so abakozi b’ebibi tobakwatirwanga buggya.
20 (M)Kubanga omuntu omubi talina ssuubi mu maaso,
ettabaaza y’abakozi b’ebibi erizikizibwa.
21 (N)Mwana wange otyanga Mukama, ne kabaka,
era teweetabanga na bajeemu.
22 Kubanga obusungu bwabwe bulibuubuukira ku bajeemu
era ani amaanyi akabi akalibatuukako?
Ebigambo Eby’amagezi
23 (O)Bino nabyo era bigambo by’abalina amagezi.
Okwekubiira ng’osala emisango si kirungi.
24 (P)Kale oyo agamba azizza omusango nti, “Toliiko ky’ovunaanibwa,”
abantu banaamukolimiranga, n’amawanga ganaamwetamwanga.
25 Naye abo abasalira omusobya omusango ne gumusinga banaabanga n’essanyu,
n’omukisa omulungi gulibatuukako.
26 Eky’okuddamu eky’amazima,
kiri ng’okunywegerwa.
27 Malirizanga omulimu gwo ogw’ebweru,
oteeketeeke ennimiro zo,
n’oluvannyuma olyoke weezimbire ennyumba yo.
28 (Q)Towanga bujulizi bwa bulimba ku muliraanwa wo,
so akamwa ko tekalimbanga.
29 (R)Toyogeranga nti, “Omuntu oyo ndimukola nga bw’ankoze,
era ndimusasuza nga bw’ampisizza.”
30 (S)Nayita ku nnimiro ey’omugayaavu,
ne mpita ne ku nnimiro y’emizabbibu ey’oyo atalina kutegeera.
31 Kale laba, ng’ennimiro eyo ebunye amaggwa,
wansi wonna nga wabikkiddwa omuddo,
n’olukomera lwayo olw’amayinja nga lugudde.
32 Ne neekaliriza ne ntegeera
ne nfuna ekyokuyiga mu bye nalaba.
33 (T)Otulo otutonotono, n’okusumagira akatono,
n’okufunya emikono okuwummulako,
34 (U)obwavu bulikutuukako ng’omutemu,
era n’obwetaavu ng’omutemu.
3 (A)Oluvannyuma nga tetukyayinza kugumiikiriza ne tusalawo okusigala ffekka mu Asene. 2 Ne tutuma Timoseewo, muganda waffe era muweereza munnaffe mu mulimu gwa Katonda, mu Njiri ya Kristo, abagumye era abanyweze mu kukkiriza kwammwe, 3 (B)waleme okubaawo n’omu aterebuka olw’okuyigganyizibwa kwe mwalimu. Mmwe mwennyini mumanyi nti ekyo kye twayitirwa. 4 (C)Kubanga ne bwe twali tukyali nammwe twabategeeza nti tuli baakuyigganyizibwa era bwe kyali bwe kityo era mukimanyi. 5 (D)Ssaayinza kwongera kugumiikiriza kyennava ntuma Timoseewo ajje alabe obanga okukkiriza kwammwe kukyali kunywevu, si kulwa nga mukemebwa omukemi, ne tuba nga twateganira bwereere.
Lipoota ya Timoseewo ezzaamu amaanyi
6 (E)Naye kaakano Timoseewo bw’akomyewo ng’ava gye muli atuleetedde amawulire amalungi ag’okukkiriza kwammwe n’okwagala kwammwe, era nga mutujjukira bulungi bulijjo, nga mwesunga okutulabako nga naffe bwe twesunga okubalabako. 7 Noolwekyo abaagalwa, newaakubadde nga tuli mu buzibu ne mu kubonaabona, okukkiriza kwammwe kutuzaamu amaanyi. 8 (F)Kubanga bwe muba abanywevu mu Mukama waffe, naffe tuba balamu. 9 (G)Kale Katonda tumwebaze tutya olw’essanyu eritujjudde ku lwammwe olw’essanyu lye tulina ku lwammwe mu maaso ga Katonda waffe? 10 (H)Katonda tumwegayirira nnyo nnyini emisana n’ekiro, atukkirize okubalabako tujjuulirize ebyo ebikyabulako mu kukkiriza kwammwe.
11 Katonda Kitaffe yennyini ne Mukama waffe Yesu aluŋŋamye ekkubo lyaffe okujja gye muli. 12 (I)Mukama waffe aboongereko okwagala kwammwe, mwagalanenga mwekka na mwekka era mwagalenga nnyo abantu bonna, nga naffe bwe tubaagala, 13 (J)alyoke anyweze emitima gyammwe nga temuliiko kya kunenyezebwa mu butukuvu mu maaso ga Katonda Kitaffe, Mukama waffe Yesu Kristo bw’alikomawo n’abatukuvu be bonna.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.