Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
2 Ebyomumirembe 33

Manase Kabaka wa Yuda

33 (A)Manase yalya obwakabaka nga wa myaka kkumi n’ebiri, n’afugira emyaka amakumi ataano mu etaano mu Yerusaalemi. (B)N’akola ebitaali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama, ng’agoberera ebikolwa eby’ekivve eby’amawanga Mukama ge yagoba mu maaso g’Abayisirayiri. (C)N’addaabiriza ebifo ebigulumivu kitaawe Keezeekiya bye yali amenyeemenye, n’azimbira ne Baali ebyoto, n’akola ne Baasera, n’asinza era n’aweereza n’eggye lyonna ery’oku ggulu. (D)N’azimba ebyoto mu yeekaalu ya Mukama, Mukama gye yayogerako nti, “Mu Yerusaalemi erinnya lyange mwe linaabeeranga emirembe gyonna.” (E)N’azimba ebyoto eby’okusinzizangako eggye lyonna ery’oku ggulu, mu mpya zombi eza yeekaalu ya Mukama. (F)N’awaayo abaana be ng’ekiweebwayo, n’abookera mu kiwonvu ekya mutabani wa Kinomu, n’akola eby’obufumu, n’alagulira mu bire, n’akola eby’obulogo, n’agendanga n’eri abaliko emizimu ne ddayimooni. N’akola ebitaali bya butuukirivu bingi mu maaso ga Mukama, n’asunguwaza nnyo Mukama.

(G)N’addira ekifaananyi ekyole kye yakola, n’akiteeka mu yeekaalu ya Katonda, Katonda gye yayogerako eri Dawudi ne Sulemaani mutabani we nti, “Mu yeekaalu eno ne mu Yerusaalemi muno, bye nalonda mu bika byonna ebya Isirayiri, mwe munaabeeranga Erinnya lyange emirembe gyonna. (H)Sijjululenga nate kigere kya Isirayiri okuva mu nsi gye nawa bajjajjammwe, bwe baneekuumanga okukola bye mbalagidde, nga bagoberera amateeka gonna, n’ebiragiro, n’obulombolombo bye nnawa Musa.” (I)Naye Manase n’asendasenda Yuda n’abantu b’e Yerusaalemi okukola ebitaali bya butuukirivu okusinga amawanga Mukama ge yazikiririza mu maaso g’Abayisirayiri.

10 Mukama n’ayogera ne Manase n’abantu be, kyokka ne batassaayo mwoyo. 11 (J)Mukama kyeyava abasindikira abaduumizi b’eggye lya kabaka w’e Bwasuli, ne basiba Manase mu njegere ne mu masamba, ne bateeka eddobo mu nnyindo ye, ne bamutwala e Babulooni nga musibe. 12 (K)Ng’ali eyo mu nnaku ye, ne yeegayirira Mukama Katonda we, ne yeetoowaza nnyo mu maaso ga Katonda wa bajjajjaabe. 13 N’amusaba, Mukama n’awulira okwegayirira kwe, n’amukomyawo e Yerusaalemi n’eri obwakabaka bwe. Awo Manase n’ategeera nga Mukama ye Katonda.

14 (L)Oluvannyuma lw’ebyo n’addaabiriza bbugwe ow’ebweru ow’ekibuga kya Dawudi, ku luuyi olw’ebugwanjuba olwa Gikoni, mu kiwonvu, okutuuka awayingirirwa mu Mulyango ogw’Ebyennyanja, n’okwetooloola olusozi lwa Oferi, n’okumuzimba n’amuzimba ng’asingako bbugwe eyaliwo obuwanvu. N’ateeka n’abaduumizi b’eggye mu bibuga byonna ebiriko bbugwe mu Yuda. 15 (M)N’aggyamu bakatonda abamawanga n’ekifaananyi ekyole mu yeekaalu ya Mukama, n’ebyoto byonna bye yazimba ku kasozi ka yeekaalu ne mu Yerusaalemi, n’abisuula ebweru w’ekibuga. 16 (N)N’addaabiriza ekyoto kya Mukama, n’aweerayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe n’ez’okwebaza, n’alagira Yuda okuweerezanga Mukama Katonda wa Isirayiri. 17 Wabula abantu bo, ne beeyongera okuweerangayo ssaddaaka ku bifo ebigulumivu, nga baziwaayo eri Mukama Katonda waabwe.

18 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Manase, ng’omwo mwe muli okusaba kwe eri Mukama n’ebigambo abalabi bye baamutegeezanga mu linnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri, byawandiikibwa mu bitabo eby’omu mirembe gya bassekabaka ba Isirayiri. 19 (O)Okusaba kwe, n’okusaasira kwa Katonda gy’ali, n’ebibi bye, n’obutali bwesigwa bwe, n’ebifo ebigulumivu bye yazimba, ne Baasera, n’ebifaananyi ebyole bye yassaawo nga taneetoowaza, byonna byawandiikibwa mu bitabo eby’omu mirembe gy’abalabi. 20 (P)Manase ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu lubiri lwe, Amoni mutabani we n’amusikira.

Amoni kabaka wa Yuda

21 (Q)Amoni yali wa myaka amakumi abiri mu ebiri we yaliira obwakabaka. 22 N’akola ebitaali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama, nga Manase kitaawe bwe yakola. 23 (R)Naye obutafaanana nga kitaawe Manase, Amoni n’ayongera ekibi ku kibi, n’ateetoowaza mu maaso ga Mukama.

24 Abakungu ba Amoni ne bamusalira olukwe ne bamuttira mu lubiri lwe. 25 (S)Naye Abantu ab’omu nsi ne batta abo bonna abasala olukwe okutta kabaka Amoni; ne bafuula Yosiya mutabani we okuba kabaka mu kifo kye.

Okubikkulirwa 19

Aleruuya

19 (A)Oluvannyuma lw’ebyo ne mpulira oluyoogaano lw’abantu abangi mu ggulu nga bagamba nti,

“Aleruuya!
Obulokozi n’ekitiibwa n’amaanyi bya Katonda waffe.
    (B)Kubanga ensala ye ey’emisango ya mazima era ya butuukirivu.
Yabonereza malaaya omukulu
    eyayonoona ensi n’obwenzi bwe.
Era yawoolera eggwanga ku mwenzi oyo olw’omusaayi gw’abaweereza be.”

(C)Ate ne boogera ogwokubiri mu ddoboozi ery’omwanguka nti,

“Aleruuya!
Omukka ogw’okwokebwa kwe n’omuliro, gunyooka emirembe n’emirembe!”

(D)Awo ebiramu ebina n’abakadde amakumi abiri mu abana ne basinza Katonda eyali atudde ku ntebe ey’obwakabaka, nga bagamba nti,

“Amiina. Aleruuya.”

(E)Awo eddoboozi ne liva mu ntebe ey’obwakabaka nga ligamba nti:

“Mumutendereze Katonda waffe,
    mmwe abaddu be mwenna
abamutya
    abeekitiibwa n’abatali baakitiibwa.”

(F)Ate ne mpulira oluyoogaano lw’abantu abangi olwawulikika ng’amayengo ag’ennyanja ennene, oba ng’eddoboozi ery’okubwatuka, ne boogera nti,

“Aleruuya,
    kubanga Mukama Katonda waffe Ayinzabyonna y’afuga.
(G)Ka tusanyuke, tujaguze,
    era tumugulumize,
kubanga ekiseera kituuse eky’embaga ey’obugole ey’Omwana gw’Endiga,
    era n’omugole we yeeteeseteese.
(H)Omugole n’ayambazibwa olugoye olwa linena omulungi ennyo,
    olunekaaneka era olusingayo okutukula.”

(Linena omulungi ennyo by’ebikolwa eby’obutuukirivu eby’abatukuvu.)

(I)Malayika n’aŋŋamba nti, “Wandiika nti balina omukisa abo abayitiddwa ku kijjulo ky’embaga ey’obugole ey’Omwana gw’Endiga.” N’ayongerako na kino nti, “Katonda yennyini ye yakyogera.”

10 (J)Ne ndyoka ngwa wansi ku bigere bye okumusinza naye ye n’aŋŋamba nti, “Tokikola! Kubanga nange ndi muddu wa Katonda nga ggwe era ng’abooluganda abalala abanywerera ku ebyo Yesu bye yatumanyisa! Ssinza Katonda. Okutegeeza kwa Yesu gwe mwoyo gw’obunnabbi.”

Eyeebagadde Embalaasi Enjeru

11 (K)Ne ndaba eggulu nga libikkuse era laba embalaasi enjeru ng’agyebagadde ayitibwa Omwesigwa era Ow’amazima, asala omusango mu butuukirivu era mulwanyi wa kitalo mu ntalo. 12 (L)Amaaso ge gaali ng’olulimi lw’omuliro ogwaka, era nga yeetikkidde engule nnyingi ku mutwe gwe, ng’alina erinnya eriwandiikiddwa, kyokka ye yekka nga y’alimanyi. 13 (M)Yali ayambadde ekyambalo ekyali kinnyikiddwa mu musaayi era ng’erinnya lye ye Kigambo wa Katonda. 14 (N)Ab’eggye ery’omu ggulu abaali bambadde engoye eza linena omulungi ennyo enjeru, nabo ne bamugoberera nga beebagadde embalaasi enjeru. 15 (O)Mu kamwa ke mwavaamu ekitala eky’obwogi eky’okutemesa amawanga. “Alibafuga n’omuggo ogw’ekyuma.” Alirinnya ku ssogolero ly’omwenge ogw’obusungu bwe, kye kiruyi kya Katonda Ayinzabyonna. 16 (P)Ku kyambalo kye ne ku kisambi kye kwali kuwandiikiddwako nti:

“Kabaka wa Bakabaka era Mukama wa bakama.”

17 (Q)Awo ne ndaba malayika omu ng’ayimiridde mu njuba ng’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba ebinyonyi nti, “Mujje mukuŋŋaane ku kijjulo kya Katonda omukulu, 18 (R)mulye ennyama y’emirambo gya bakabaka, abakulu b’amaggye n’abasajja ab’amaanyi, n’egy’embalaasi n’egy’abo abazeebagala, era n’egy’abantu bonna abaddu n’ab’eddembe, abeekitiibwa n’abatali baakitiibwa.”

19 (S)Awo ne ndyoka ndaba ekisolo n’abafuzi ab’omu nsi n’amaggye gaabwe nga bakuŋŋaanye balwanyise oyo eyali yeebagadde embalaasi, awamu n’eggye lye. 20 (T)Ekisolo ne kiwambibwa awamu ne nnabbi ow’obulimba eyakolanga ebyamagero ng’ekisolo kiraba; bye yakola ng’alimbalimba abo abakkiriza akabonero k’ekisolo era abasinza ekifaananyi kyakyo. Awo ekisolo ne nnabbi ow’obulimba ne basuulibwa nga balamu, mu nnyanja ey’omuliro eyaka ne salufa. 21 (U)Abaasigalawo ne battibwa n’obwogi bw’ekitala ekyava mu kamwa k’oyo eyeebagadde embalaasi. Ennyonyi zonna ez’omu bbanga ne zirya ne zekkutira emirambo gyabwe.

Malaki 1

(A)Buno bwe bubaka Mukama bwe yawa Malaki abutuuse eri abaana ba Isirayiri.

Okwagala kwa Mukama eri Isirayiri

(B)“Nabaagala,” bw’ayogera Mukama.

“Naye mmwe ne mumbuuza nti, ‘Watwagala otya?’ 

“Esawu teyali muganda wa Yakobo?” bw’ayogera Mukama: “naye nze Yakobo gwe nayagala. (C)Esawu namukyawa ne nfuula ensi ye ey’ensozi okuba amatongo, obusika bwe ne mbuwa ebibe eby’omu ddungu.”

(D)Singa Edomu, ekika ekyava mu Esawu kigamba nti, “Wadde tukubiddwa wansi naye tulidda ne tuzimba ebyagwa.”

Mukama ow’Eggye ayogera nti, “Bo balizimba, naye nze ndibimenya; era abantu banaabayitanga, ensi embi, era nti abantu Mukama be yanyiigira ennaku zonna. (E)Era amaaso gammwe galiraba ne mwogera nti, ‘Mukama agulumizibwe okusukka ensalo ya Isirayiri.’

Ekibi kya Bakabona

(F)“Omwana assaamu kitaawe ekitiibwa, n’omuddu atya mukama we. Kale obanga ddala ndi kitammwe, ekitiibwa kye munzisaamu kiri ludda wa? Era obanga ndi mukama wammwe, lwaki temuntya?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

Mukama ow’Eggye bw’abagamba mmwe nti, “Mmwe bakabona munyooma erinnya lyange.

“Ne mubuuza nti, ‘Twayonoona tutya?’ 

(G)“Muwaayo ku kyoto kyange emmere eyonoonese.

“Kyokka ne mwebuuza nti, ‘Twakwonoona tutya?’ 

“Kubanga olujjuliro lwange mulufuula ekitagasa. (H)Bwe muwaayo ensolo enzibe z’amaaso okuba ssaddaaka, muba temukoze kibi? Ate bwe muwaayo eziwenyera oba endwadde, ekyo si kibi? Kale nno mugezeeko okuzitonera omufuzi wammwe, anaabasanyukira? Ye anaafaayo okukutunulako?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

(I)“Kale nno mbasaba mwegayirire Katonda, atukwatirwe ekisa, kubanga ebyo ffe twabyereetera. Nga muleese ebiweebwayo ebifaanana bityo, waliwo n’omu gw’ayinza okukkiriza?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

10 (J)“Kale waakiri singa omu ku bakabona aggalawo enzigi muleme okukuma omuliro ku kyoto kyange ogw’obwereere! Sibasanyukira n’akatono,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “so sikkirize kiweebwayo kyonna ekiva mu mikono gyammwe. 11 (K)Kubanga okuva enjuba gy’eva okutuusa gy’egwa erinnya lyange kkulu mu baamawanga; obubaane buweerwayo mu buli kifo eri erinnya lyange, nga kuliko n’ekiweebwayo ekirongoofu, kubanga erinnya lyange kkulu mu baamawanga,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

12 (L)“Naye mmwe bakabona muvumisa erinnya lyange mu baamawanga buli lukya nga mugamba nti kya Mukama okuwaayo emmere etesaana n’ebiweebwayo ku kyoto kyange. 13 (M)Era mwogera nti, ‘Nga tulabye;’ ne mugiwunyako ne mwetamwa, era ne mwesooza,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

“Bwe muleeta ekinyage, n’ekiwenyera, n’ekirwadde, ebyo bye biweebwayo bye mulina okuleeta, mbikkirize?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. 14 (N)“Buli mulimba yenna akolimirwe, oyo alina ennume mu kisibo kye eyeeyama okugiwaayo nga ssaddaaka eri Mukama naye n’awaayo ekintu ekiriko obulema: kubanga ndi Kabaka mukulu,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “n’erinnya lyange lya ntiisa mu baamawanga.”

Yokaana 18

Yesu Akwatibwa

18 (A)Awo Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’afuluma n’abayigirizwa be, ne balaga emitala w’akagga Kidulooni. Mu kifo ekyo mwalimu ennimiro y’emizeeyituuni, Yesu n’abayigirizwa be ne bayingira omwo.

(B)Yuda, eyamulyamu olukwe, ekifo ekyo yali akimanyi, kubanga Yesu yagendangayo emirundi mingi ng’ali n’abayigirizwa be. (C)Awo Yuda n’ajja mu kifo ekyo ng’ali n’ekibinja ky’abaserikale, n’abaweereza ba Bakabona abakulu n’ab’Abafalisaayo. Bajja nga balina ettaala n’emimuli n’ebyokulwanyisa.

(D)Yesu bwe yamanya byonna ebyali bigenda okumubaako, n’avaayo n’ababuuza nti, “Munoonya ani?” Ne baddamu nti, “Tunoonya Yesu Omunnazaaleesi.” Yesu n’abaddamu nti, “Ye Nze,” Yuda, eyamulyamu olukwe, yali ayimiridde nabo. Yesu bwe yabagamba nti, “Ye Nze” ne badda emabega ne bagwa wansi. (E)Yesu n’ababuuza omulundi ogwokubiri nti, “Munoonya ani?” Ne baddamu nti, “Yesu Omunnazaaleesi.” Yesu n’abaddamu nti, “Mbabuulidde nti, Ye Nze. Kale obanga munoonya Nze, bano mubaleke bagende.” (F)Yakola kino, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire ekigamba nti, “Abo be wampa saabuzaako n’omu.”

10 Awo Simooni Peetero, eyalina ekitala, n’akisowolayo, n’atema omuddu wa Kabona Asinga Obukulu n’amusalako okutu okwa ddyo. Erinnya ly’omuddu oyo nga ye Maluko. 11 (G)Yesu n’alagira Peetero nti, “Zza ekitala mu kiraato kyakyo. Ekikompe Kitange ky’ampadde, siikinywe?”

12 (H)Awo ekibinja ky’abaserikale n’omuduumizi waabwe n’abaweereza b’Abayudaaya, ne bakwata Yesu ne bamusiba. 13 (I)Ne bamutwala ewa Ana, eyali mukoddomi wa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu mu mwaka ogwo.[a] 14 (J)Kayaafa oyo, y’oli eyawa Abayudaaya amagezi nti, “Kirungi omuntu omu afiirire bonna.”

Peetero Yeegaana Yesu Omulundi Ogusooka

15 (K)Simooni Peetero n’omuyigirizwa omulala eyali amanyiddwa Kabona Asinga Obukulu, ne bagoberera Yesu. Omuyigirizwa oyo eyali amanyiddwa n’agoberera Yesu mu luggya lwa Kabona Asinga Obukulu, 16 nga Peetero ye ayimiridde wabweru ku mulyango; omuyigirizwa oyo omulala bwe yayogera n’omuggazi w’oluggi n’ayingiza Peetero.

17 (L)Omuwala omuggazi n’abuuza Peetero nti, “Naawe oli omu ku bayigirizwa b’omuntu oyo?”

Peetero n’addamu nti, “Nedda.”

18 (M)Obudde bwali bwa mpewo, abaddu n’abaweereza baali bakumye omuliro nga boota, ne Peetero naye ng’ayimiridde nabo ng’ayota omuliro.

Kabona Asinga Obukulu Abuuza Yesu Ebibuuzo

19 Awo Ana eyaliko Kabona Asinga Obukulu n’abuuza Yesu ebifa ku bayigirizwa be ne ku kuyigiriza kwe.

20 (N)Yesu n’amuddamu nti, “Nayogeranga lwatu eri ensi, bulijjo n’ayigirizanga mu makuŋŋaaniro ne mu Yeekaalu, Abayudaaya bonna mwe bakuŋŋaanira, soogeranga kintu na kimu mu kyama. 21 Lwaki obuuza Nze? Buuza abo abaawuliranga bye njogera. Bamanyi bye nnaayogera.”

22 (O)Yesu bwe yayogera ekyo omu ku baweereza eyali ayimiridde awo n’amukuba oluyi n’amugamba nti, “Oddamu otyo Kabona Asinga Obukulu?”

23 (P)Yesu n’amuddamu nti, “Obanga njogedde bubi kinnumirize ekibi, naye obanga kirungi, kale onkubira ki?” 24 (Q)Awo Ana n’aweereza Yesu nga musibe eri Kayaafa Kabona Asinga Obukulu.

Peetero Yeeyongera Okwegaana Yesu

25 (R)Mu kiseera ekyo Simooni Peetero yali ayimiridde ng’ayota omuliro. Ne bamubuuza nti, “Naawe oli omu ku bayigirizwa ba Yesu?”

N’abaddamu nti, “Nedda.”

26 (S)Awo omu ku baddu ba Kabona Asinga Obukulu, muganda w’oyo Peetero gwe yasalako okutu, n’amubuuza nti, “Saakulabye naye mu nnimiro?” 27 (T)Peetero n’addamu okwegaana. Amangwago enkoko n’ekookolima.

Yesu mu maaso ga Piraato

28 (U)Awo Abayudaaya ne baggya Yesu ewa Kayaafa ne bamutwala mu lubiri lwa gavana Omuruumi. Obudde bwali bwakakya, ne batayingira mu lubiri baleme okusobya omukolo ogw’okwetukuza, si kulwa nga basubwa okulya Embaga y’Okuyitako. 29 Awo Piraato n’afuluma ebweru gye baali n’ababuuza nti, “Musango ki gwe muvunaana omuntu ono?”

30 Ne bamuddamu nti, “Singa yali tazizza musango tetwandimuleese gy’oli.”

31 Piraato kyeyava abagamba nti, “Kale mmwe mumutwale mumusalire omusango okusinziira mu mateeka gammwe.”

Ne bamuddamu nti, “Ffe tetukkiriza kutta muntu yenna.”

32 (V)Kino ne kituukiriza ebyo Yesu bye yayogera ku nfa gye yali agenda okufaamu.

33 (W)Awo Piraato n’addayo mu lubiri n’ayita Yesu. N’amubuuza nti, “Ggwe Kabaka w’Abayudaaya?”

34 Yesu n’addamu nti, “Ekyo okyogedde ku bubwo oba balala be bakubuulidde ebinfaako?”

35 Piraato n’amubuuza nti, “Nze ndi Muyudaaya? Abantu bo ne Kabona Asinga Obukulu be bakundeetedde. Okoze ki?”

36 (X)Yesu n’addamu nti, “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno. Singa bubadde bwa mu nsi eno abaweereza bange bandirwanye ne siweebwayo mu Bayudaaya. Naye obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno.”

37 (Y)Piraato n’amubuuza nti, “Kwe kugamba oli kabaka?”

Yesu n’amuddamu nti, “Okyogedde nti ndi kabaka. Ekyo kye nnazaalirwa era kye kyandeeta mu nsi, ntegeeze amazima. Era abo bonna abaagala amazima bawulira eddoboozi lyange.”

38 (Z)Piraato n’amubuuza nti, “Amazima kye ki?” Piraato bwe yamala okwogera bw’atyo n’afuluma ebweru eri Abayudaaya n’abagamba nti, “Omuntu ono talina musango. 39 Naye ku buli mbaga ejjuukirirwako Okuyitako mulina empisa, onkusaba mbateere omusibe omu. Kale mwagala mbateere Kabaka w’Abayudaaya?”

40 (AA)Bonna kyebaava baleekaanira waggulu nga bagamba nti, “Nedda, si oyo, wabula tuteere Balaba.” Balaba oyo yali munyazi.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.