M’Cheyne Bible Reading Plan
Mikaaya Ayogera Ebyobunnabbi Akabu
18 (A)Yekosafaati yali mugagga nnyo era nga wa kitiibwa kinene nnyo, ate nga mukoddomi wa Akabu. 2 Bwe waayitawo emyaka, n’aserengeta okugenda okulaba ku Akabu e Samaliya. Akabu n’amuteekerateekera ekijjulo eky’amaanyi n’amuttira endiga nnyingi n’ente nnyingi, ye n’abantu be yagenda nabo, era n’amusendasenda okulumba Lamosugireyaadi. 3 Akabu kabaka wa Isirayiri n’abuuza Yekosafaati kabaka wa Yuda nti, “Onoogenda nange okulumba Lamosugireyaadi?” Yekosafaati n’addamu nti, “Ky’oli kye ndi, era n’abantu bo be bantu bange, tujja kukwegattako mu lutalo.” 4 Naye Yekosafaati n’alabula kabaka wa Isirayiri nti, “Sooka weebuuze ku Mukama.”
5 Awo kabaka wa Isirayiri n’akuŋŋaanya bannabbi bonna awamu; baali abasajja ebikumi bina, n’ababuuza nti, “Tugende tulumbe Lamosugireyaadi nantiki tulekeyo?” Ne bamuddamu nti, “Tugende, kubanga Mukama anaakigabula mu mukono gwa kabaka.” 6 Naye Yekosafaati n’abuuza nti, “Tewaliwo wano nnabbi wa Mukama gwe tuyinza okwebuuzaako?”
7 Awo kabaka wa Isirayiri n’addamu Yekosafaati nti, “Waliyo omusajja omulala gwe tuyinza okwebuuzaako ku Mukama, ye Mikaaya mutabani wa Imula, naye namukyawa kubanga tandagulako birungi, wabula ebibi ebyereere.” Yekosafaati n’ayogera nti, “Kabaka teyandiyogedde bw’atyo.” 8 Kabaka wa Isirayiri n’alyoka alagira omu ku bakungu be nti, “Kima Mikaaya mutabani wa Imula ku bwangu.”
9 Awo kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne batuula ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka mu gguuliro ku mulyango gwa wankaaki w’e Samaliya, nga bambadde ebyambalo byabwe, nga ne bannabbi bonna balagulira mu maaso gaabwe. 10 Zeddekiya mutabani wa Kenaana yali yeeweesereza amayembe ag’ekyuma, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Abasuuli balitomerwa na gano okutuusa lwe balimalibwawo.’ ”
11 (B)Era ne bannabbi abalala bonna baalagulanga kye kimu nti, “Yambuka olumbe Lamosugireyaadi onoowangula kubanga Mukama anaakiwaayo mu mukono gwa kabaka.”
12 Awo omubaka eyali agenze okuyita Mikaaya, n’amugamba nti, “Laba, ebigambo ebya bannabbi bali abalala byogera kyekimu, kale naawe ba bumu nabo.”
13 (C)Naye Mikaaya n’ayogera nti, “Nga Mukama bw’ali omulamu Katonda ky’anaŋŋamba ekyo kye nnaayogera.”
14 Awo bwe yatuuka ewa kabaka, kabaka n’amubuuza nti, “Mikaaya tulumbe Lamosugireyaadi, oba tulekeyo?” N’amuddamu nti, “Mugende mukirumbe, munaakiwangula, kubanga banaaweebwayo mu mukono gwo.”
15 Naye kabaka n’amugamba nti, “Nnaakulayizanga emirundi emeka, obutannimbanga wabula okuntegeezanga amazima mu linnya lya Mukama?”
16 (D)Awo Mikaaya n’addamu nti, “Nalaba Isirayiri yenna, nga basaasaanye ku nsozi ng’endiga ezitalina musumba, Mukama n’ayogera nti, ‘Abantu bano tebalina abakulembera, buli omu addeyo ewaabwe mirembe.’ ”
17 Kabaka wa Isirayiri n’agamba Yekosafaati nti, “Sakugambye nti talina kirungi ky’andagulako, okuggyako ebibi?”
18 (E)Mikaaya n’ayongerako na bino nti, “Noolwekyo muwulire ekigambo kya Mukama: Nalaba Mukama ng’atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka n’eggye lyonna ery’omu ggulu nga liyimiridde okumwetooloola ku mukono gwe ogwa kkono. 19 Awo Mukama n’abuuza nti, ‘Ani anasendasenda Akabu kabaka wa Isirayiri okulumba Lamosugireyaadi n’oluvannyuma afiire eyo?’
“Omu ku bo n’ateesa kino, n’omulala kiri. 20 Ku nkomerero, omwoyo ogumu ne gusembera, ne guyimirira mu maaso ga Mukama ne gwogera nti, ‘Nze nzija kumusendasenda.’
“Mukama n’agubuuza nti, ‘Ekyo onookikola otya?’
21 (F)“Ne guddamu nti, ‘Nzija kugenda, mbeere omwoyo omulimba mu kamwa ka buli nnabbi we.’
“Mukama n’agugamba nti, ‘Ggwe onoosobola okumusendasenda, era genda okole bw’otyo.’
22 (G)“Kale nno Mukama atadde omwoyo ogw’obulimba mu kamwa ka bannabbi bo, era Mukama akwogeddeko kabi keereere.”
23 (H)Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana n’asembera okumpi ne Mikaaya we yali n’amukuba oluyi mu maaso, n’amubuuza nti, “Omwoyo wa Mukama yampiseeko wa okwogera naawe?”
24 Mikaaya n’amuddamu nti, “Laba, ekyo olikimanya ku lunaku lw’oligenda okwekweka mu kisenge eky’omunda.”
25 Awo kabaka wa Isirayiri n’alagira nti, “Mukwate Mikaaya mumuzzeeyo ewa Amoni ew’omukulu w’ekibuga n’ewa Yowaasi omulangira, 26 (I)mwogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera kabaka nti, Omuntu ono mumuteeke mu kkomera, temumuwa kintu kyonna wabula omugaati omutono n’amazzi amatono, okutuusa lwe ndikomawo mirembe.’ ”
27 Awo Mikaaya n’alangirira nti, “Bw’olikomawo mirembe, Mukama nga tayogeredde mu nze,” ate n’ayongerako na kino nti, “Mmwe mwenna, mwekuume ebigambo byange.”
Akabu Afiira e Lamosugireyaadi
28 Awo kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne bambuka e Lamosugireyaadi. 29 (J)Kabaka wa Isirayiri n’agamba Yekosafaati nti, “Nze nzija kugenda mu lutalo nga nneefudde ng’omuntu omulala, naye ggwe yambala ebyambalo byo.” Awo kabaka wa Isirayiri ne yeefuula ng’omuntu omulala, ne bagenda mu lutalo.
30 Naye kabaka w’e Busuuli yali alagidde abaduumizi ab’amagaali ge nti, “Temulwanagananga na muntu yenna, oba wa kitiibwa oba si wa kitiibwa, okuggyako kabaka wa Isirayiri.” 31 (K)Awo abaduumizi ab’amagaali bwe balaba Yekosafaati, ne boogera nti, “Oyo ye kabaka wa Isirayiri.” Ne bakyuka ne bamulumba, naye Yekosafaati n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka, Mukama n’amubeera, era Katonda n’abaziyiza, n’okubaggyawo n’abaggyawo. 32 Abaduumizi ab’amagaali bwe baakizuula nti si ye kabaka wa Isirayiri, ne balekeraawo okumugoba.
33 Naye omu ku basajja n’amala ganaanuula omutego gwe, n’alasa kabaka wa Isirayiri mu kifo ekimu ebyambalo bye eby’olutalo we byegattira. Kabaka n’agamba omugoba w’eggaali lye nti, “Kyusa onzigye mu lutalo kubanga nfumitiddwa.” 34 (L)Olutalo ne lukanya olunaku lwonna, kyokka kabaka wa Isirayiri ne yeewaliriza okusigala mu gaali lye ng’atunuulidde Abasuuli okutuusa akawungeezi, era enjuba bwe yali ng’egwa n’afa.
144,000 bateekebwako Obubonero obw’Envumbo
7 (A)Oluvannyuma lw’ebyo, ne ndaba bamalayika bana nga bayimiridde ku njuyi ennya ez’ensi, nga bakutte empewo ennya ez’ensi zireme okukunta, waleme kubaawo mpewo ekunta ku nsi, wadde ku nnyanja wadde ku muti gwonna. 2 Ne ndaba malayika omulala ng’ava ebuvanjuba ng’akutte akabonero k’envumbo aka Katonda omulamu, n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba bamalayika abana abaali baweereddwa obuyinza okwonoona ensi n’ennyanja nti, 3 (B)“Temukola kintu kyonna, ekinaayonoona ensi, n’ennyanja oba emiti, okutuusa nga tumaze okuteeka akabonero k’envumbo ka Katonda akakulu ku byenyi by’abaweereza ba Katonda waffe.” 4 (C)Awo ne mpulira omuwendo gw’abo abaateekebwako akabonero k’envumbo nga baali emitwalo kkumi n’ena mu enkumi nnya (144,000) okuva mu bika ekkumi n’ebibiri ebya Isirayiri.
5 Ab’omu kika kya Yuda omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
ab’omu kika kya Lewubeeni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
ab’omu kika kya Gaadi omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
6 ab’omu kika kya Aseri omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
ab’omu kika kya Nafutaali omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
ab’omu kika kya Manaase omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
7 ab’omu kika kya Simyoni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
ab’omu kika kya Leevi omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
ab’omu kika kya Isakaali omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
8 ab’omu kika kya Zebbulooni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
ab’omu kika kya Yusufu omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
ab’omu kika kya Benyamini omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000). Abo be baateekebwako akabonero k’envumbo.
Ekibiina ky’Abantu Obutabalika nga bambadde Ebyambalo Ebyeru
9 (D)Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba, era laba, ekibiina ky’abantu ekinene ennyo nga tebasoboka na kubalika, nga bava mu buli nsi na buli kika, na buli ggwanga na buli lulimi, nga bayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka ne mu maaso g’Omwana gw’Endiga nga bambadde ebyambalo ebyeru nga balina n’enkindu mu ngalo zaabwe. 10 (E)Ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nga bagamba nti,
“Obulokozi bwa Katonda waffe
atudde ku ntebe ey’obwakabaka
era bwa Mwana gw’Endiga.”
11 (F)Awo bamalayika bonna ne bayimirira nga beetoolodde entebe ey’obwakabaka n’abakadde era n’ebiramu ebina, ne bavuunama mu maaso g’entebe ey’obwakabaka ng’ebyenyi byabwe biri wansi ne basinza Katonda. 12 (G)Ne bayimba nti,
“Amiina!
Okutenderezebwa, n’ekitiibwa, n’amagezi,
n’okwebazibwa, n’ettendo,
n’obuyinza, n’amaanyi,
bibe eri Katonda waffe emirembe n’emirembe.
Amiina!”
13 Awo omu ku bakadde n’ambuuza nti, “Bano abambadde ebyambalo ebyeru obamanyi, era omanyi gye bava?”
14 (H)Ne nziramu nti. “Mukama wange, gw’omanyi.”
N’aŋŋamba nti, “Bano be baayita mu kubonaabona okunene, ne bayoza ebyambalo byabwe ne babitukuza mu musaayi gw’Omwana gw’Endiga. 15 (I)Kyebavudde
“babeera wano mu maaso g’entebe ey’obwakabaka eya Katonda
nga bamusinza emisana n’ekiro mu Yeekaalu ye.
Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka,
anaaberanga nabo ng’abalabirira.
16 (J)Tebaliddayo kulumwa njala
wadde ennyonta,
newaakubadde omusana okubookya
wadde ekyokya ekirala kyonna;
17 (K)kubanga Omwana gw’Endiga ayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka,
y’anaabeeranga omusumba waabwe
era y’anaabakulemberanga okubatwala eri ensulo ez’amazzi ag’obulamu.
Era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.”
Okwolesebwa kwa Nnabbi Ku Kabona Asinga Obukulu
3 (A)Awo n’anjolesa Yoswa, kabona asinga obukulu, ng’ayimiridde mu maaso ga malayika wa Mukama, ne Setaani ng’ayimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo okumulumiriza. 2 (B)Mukama n’agamba Setaani nti, “Mukama akunenye ggwe Setaani, weewaawo Mukama eyeerondedde Yerusaalemi akunenye! Omusajja ono si kisiki ekyaka ekigibbwa mu muliro?” 3 Awo Yoswa yali ayimiridde mu maaso ga malayika ng’ayambadde ebyambalo ebijjudde ekko. 4 (C)Malayika n’agamba abaali bayimiridde mu maaso ge nti, “Mumwambulemu ebyambalo bye ebijjudde ekko.”
N’agamba Yoswa nti, “Laba nkuggyeeko ekibi kyo, era nnaakwambaza ebyambalo eby’omuwendo.”
5 (D)Ne njogera nti, “Mumusibe ekiremba ekitukula ku mutwe gwe.” Awo ne bamusiba ekiremba ekitukula ku mutwe, ne bamwambaza n’engoye, nga malayika wa Mukama ayimiridde awo.
6 Malayika wa Mukama n’akuutira nnyo Yoswa ng’ayogera nti, 7 (E)“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Bw’onootambuliranga mu makubo gange, era noonywezanga bye nkukuutira, kale, onoofuganga ennyumba yange era onoolamulanga mu mbuga zange, era ndikuwa ekifo obeere mu abo abayimiridde wano.
8 (F)“ ‘Kale wulira, Yoswa kabona asinga obukulu, ggwe ne banno abatuula mu maaso go, abantu kw’otegeerera eby’omu maaso, laba ndireeta omuweereza wange, ye Ttabi. 9 (G)Kubanga laba, ku jjinja lye ntadde mu maaso ga Yoswa, ku jjinja erimu eririna amaaso omusanvu, laba nditeekako ebiwandiiko,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye. ‘Mu lunaku lumu ndiggyawo ekibi ky’ensi eno.
10 (H)“ ‘Ku lunaku luli, buli omu ku mmwe, aliyita muliraanwa we okutuulako wansi w’omuzabbibu gwe ne wansi w’omutiini gwe,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.”
Yesu Aliisa Abantu Enkumi Ettaano
6 Oluvannyuma lw’ebyo, Yesu n’asomoka ennyanja ey’e Ggaliraaya, era eyitibwa ey’e Tiberiya. 2 (A)Ekibiina ky’abantu kinene ne bamugoberera, kubanga baalaba ebyamagero bye yakola ng’awonya abalwadde. 3 (B)Awo Yesu n’alinnya ku lusozi n’atuula wansi n’abayigirizwa be. 4 (C)Embaga y’Abayudaaya eyitibwa Okuyitako yali eri kumpi okutuuka.
5 (D)Yesu bwe yayimusa amaaso n’alaba ekibiina ky’abantu ekinene, nga bajja gy’ali, n’agamba Firipo nti, “Tunaagula wa emmere okuliisa abantu abo bonna?” 6 Yayogera atyo kugezesa Firipo, kubanga Yesu yali amanyi ky’agenda okukola.
7 Firipo n’amuddamu nti, “Emmere egula eddinaali ebikumi ebibiri teesobole na kubabuna, buli omu okulyako akatono.”
8 (E)Awo omu ku bayigirizwa be, Andereya muganda wa Simooni Peetero, n’amugamba nti, 9 (F)“Wano waliwo omulenzi alina emigaati etaano egya sayiri, n’ebyennyanja bibiri. Naye bino binaagasa ki abantu abangi bwe bati?”
10 Yesu n’abagamba nti, “Mutuuze abantu.” Waaliwo omuddo mungi mu kifo ekyo. Awo abantu ne batuula, ne baba abasajja ng’enkumi ttaano. 11 (G)Awo Yesu n’atoola emigaati ne yeebaza Katonda, n’agabula abantu abatudde. N’ebyennyanja n’akola bw’atyo. Bonna ne balya ne bakkuta.
12 Oluvannyuma Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Kale mukuŋŋaanye obutundutundu obusigaddewo tuleme kufiirwa.” 13 Ne babukuŋŋaanya, ne bajjuza ebisero kkumi na bibiri eby’obutundutundu obwava mu migaati etaano egya sayiri, obwasigalawo nga bamaze okulya.
14 (H)Abantu bwe baalaba ekyamagero Yesu kye yakola ne bagamba nti, “Ddala ono ye Nnabbi oli alindirirwa okujja mu nsi!” 15 (I)Yesu bwe yategeera nti bategeka okumukwata bamufuule kabaka waabwe n’addayo yekka ku lusozi.
Yesu Atambulira ku Mazzi
16 Obudde bwe bwawungeera abayigirizwa ba Yesu ne baserengeta ku nnyanja 17 ne basaabala mu lyato ne boolekera Kaperunawumu. N’obudde bwali buzibye nga ne Yesu tannaba kutuuka gye bali. 18 Awo omuyaga ne gukunta mungi, ennyanja n’esiikuuka. 19 (J)Bwe baavugako kilomita nga ttaano oba mukaaga, ne balaba Yesu ng’atambulira ku mazzi, ng’asemberera eryato, ne batya. 20 (K)Yesu n’abagamba nti, “Ye Nze, temutya!” 21 Ne baagala okumuyingiza mu lyato, amangwago eryato ne ligoba ku ttale gye baali bagenda.
Abantu Banoonya Yesu
22 (L)Ku lunaku olwaddirira, ekibiina ky’abantu abaasigala emitala w’eri, ne balabawo eryato limu lyokka, ne bamanya ng’abayigirizwa be baawunguka bokka mu lyato. 23 (M)Kyokka amaato ne gava e Tiberiya ne gagoba awo kumpi n’ekifo abantu we baaliira emigaati Yesu gye yabawa ng’amaze okwebaza. 24 Awo abantu bwe baalaba nga Yesu taliiwo wadde abayigirizwa be, ne bakwata amaato ne bawunguka ne batuuka e Kaperunawumu nga banoonya Yesu.
25 (N)Bwe baamulaba emitala w’ennyanja ne bamubuuza nti, “Labbi, watuuse ddi wano?”
26 (O)Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti munnoonya si lwa kubanga mwalaba obubonero, naye lwa kubanga mwalya emigaati ne mukkuta. 27 (P)Temukolerera mmere eggwaawo, wabula munoonye emmere ebeerera era etuusa mu bulamu obutaggwaawo, Omwana w’Omuntu gy’alibawa, kubanga Kitaawe w’Omwana amussizaako akabonero.”
28 Awo ne bamubuuza nti, “Tukole ki okutuukiriza ekyo Katonda ky’ayagala?”
29 (Q)Yesu n’abaddamu nti, “Katonda ky’ayagala mukole kwe kukkiriza oyo gwe yatuma.”
30 (R)Ne bamugamba nti, “Kale kabonero ki ggwe k’okola, tulabe tukukkirize? Onookola kabonero ki? 31 (S)Bajjajjaffe baalya emmaanu mu ddungu nga bwe kyawandiikibwa nti, ‘Yabawa emmere okuva mu ggulu balye.’ ”
32 Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti Musa si ye yabawa emmere eva mu ggulu, wabula Kitange ye yabawa emmere ey’amazima eva mu ggulu. 33 (T)Emmere ya Katonda ye eva mu ggulu, era ye awa ensi obulamu.”
34 (U)Ne bamugamba nti, “Mukama waffe, tuwenga emmere eyo buli lunaku.”
35 (V)Yesu n’abaddamu nti, “Nze mmere ey’obulamu. Ajja gye ndi enjala teriddayo kumuluma, era abo abanzikiriza tebaliddayo kulumwa nnyonta. 36 Naye nabagamba nti mundabye naye era ne mutanzikiriza. 37 (W)Buli muntu Kitange gw’ampa alijja gye ndi, era buli ajja gye ndi sirimugobera bweru. 38 (X)Kubanga ekyanzigya mu ggulu kwe kukola ekyo Katonda eyantuma ky’ayagala, so si Nze bye njagala ku bwange. 39 (Y)Eyantuma ky’ayagala kye kino: Ku abo be yampa nneme kubulwako n’omu wabula bonna mbazuukize ku lunaku olw’enkomerero. 40 (Z)Kubanga Kitange ky’ayagala kye kino nti buli alaba Omwana we n’amukkiriza afuna obulamu obutaggwaawo ku lunaku olw’enkomerero.”
Yesu y’Emmere ey’Obulamu
41 Awo Abayudaaya ne batandika okwemulugunyiza Yesu, kubanga yabagamba nti, “Nze mmere eyava mu ggulu.” 42 (AA)Ne bagamba nti, “Ono si ye Yesu omwana wa Yusufu? Kitaawe ne nnyina tubamanyi. Kale ayinza atya okugamba nti, ‘Nava mu ggulu?’ ”
43 Yesu n’abagamba nti, “Temwemulugunya. 44 (AB)Tewali ayinza kujja gye ndi wabula nga Kitange eyantuma amuyise, era Nze ndimuzuukiza ku lunaku olw’enkomerero. 45 (AC)Kubanga kyawandiikibwa mu bannabbi nti, ‘Bonna baliyigirizibwa Katonda.’ Era buli gw’ayigiriza n’ategeera amazima ajja gye ndi. 46 (AD)Si kuba nti waliwo eyali alabye ku Kitange, wabula oyo eyava eri Katonda, ye yalaba Kitaawe. 47 Ddala ddala mbagamba nti, Akkiriza aba n’obulamu obutaggwaawo! 48 (AE)Nze mmere ey’obulamu. 49 (AF)Bajjajjammwe baalya emaanu mu ddungu ne bafa. 50 (AG)Eno y’emmere eyava mu ggulu, buli agiryako aleme okufa. 51 (AH)Nze mmere ennamu eyava mu ggulu omuntu bw’alya ku mmere eno aliba mulamu emirembe n’emirembe. Emmere gye ndigaba okuleetera ensi obulamu, gwe mubiri gwange.”
52 (AI)Awo Abayudaaya ne batandika okuwakana bokka na bokka nga bagamba nti, “Ono ayinza atya okutuwa omubiri gwe okugulya?”
53 (AJ)Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti bwe mutalya mubiri gwa Mwana wa Muntu, ne munywa n’omusaayi gwe, temuyinza kuba na bulamu mu mmwe. 54 (AK)Buli alya omubiri gwange n’anywa n’omusaayi gwange, ng’afunye obulamu obutaggwaawo era ndimuzuukiza ku lunaku olw’enkomerero. 55 Kubanga omubiri gwange kye kyokulya ddala n’omusaayi gwange kye kyokunywa ddala. 56 (AL)Oyo alya ku mubiri gwange era n’anywa omusaayi gwange abeera mu nze, era nange mbeera mu ye. 57 (AM)Nga Kitange eyantuma bw’ali omulamu, nange bwe ndi omulamu ku bwa Kitange, noolwekyo oyo alya ku nze naye aliba mulamu ku bwange. 58 (AN)Eno ye mmere eva mu ggulu. Teri ng’eyo bajjajjammwe gye baalya ne bafa. Alya emmere eno anaabanga mulamu emirembe n’emirembe.” 59 Ebyo Yesu yabyogera ng’ayigiriza mu kkuŋŋaaniro e Kaperunawumu.
Abayigirizwa Abamu Baleka Yesu
60 (AO)Abayigirizwa ba Yesu bangi bwe baabiwulira ne bagamba nti, “Ekigambo ekyo kizibu okutegeera. Ani asobola okutunnyonnyola ky’agamba?” 61 (AP)Awo Yesu bwe yategeera nga n’abayigirizwa be bakyemulugunyako, n’abagamba nti, “Ekyo kibeesittaza? 62 (AQ)Kale mulirowooza ki bwe muliraba Omwana w’Omuntu ng’addayo gye yava? 63 (AR)Mwoyo Mutukuvu y’awa obulamu. Omubiri teguliiko kye gugasa. Ebigambo bye njogedde gye muli gwe mwoyo era bwe bulamu. 64 (AS)Naye era abamu ku mmwe temukkiriza.” Kubanga okuva ku lubereberye Yesu yategeera abatamukkiriza era n’oyo agenda okumulyamu olukwe. 65 (AT)Awo n’agamba nti, “Kyennava ŋŋamba nti tewali ayinza kujja gye ndi bw’atakiweebwa Kitange.”
66 (AU)Okuva olwo bangi ku bayigirizwa be ne bamuvaako ne bataddayo kuyita naye.
67 (AV)Awo Yesu n’akyukira abayigirizwa be ekkumi n’ababiri n’ababuuza nti, “Nammwe mwagala kugenda?”
68 (AW)Simooni Peetero n’amuddamu nti, “Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Ggwe wekka gw’olina ebigambo by’obulamu obutaggwaawo. 69 (AX)Ffe tubikkiriza era tumanyi nti oli Mutukuvu wa Katonda.”
70 (AY)Awo Yesu kwe kubagamba nti, “Mmwe ekkumi n’ababiri si nze nabalonda? Naye omu ku mmwe Setaani!” 71 Yesu yayogera ku Yuda, mutabani wa Simooni Isukalyoti, kubanga ye yali agenda okumulyamu olukwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.