Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
2 Bassekabaka 18

Keezeekiya Kabaka wa Yuda

18 (A)Mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwa Koseya mutabani wa Era kabaka wa Isirayiri, Keezeekiya mutabani wa Akazi kabaka wa Yuda, n’atandika okufuga. (B)Yali wa myaka amakumi abiri mu etaano, we yatandikira okufuga, n’afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi, n’erinnya lya nnyina ye yali Abi muwala wa Zekkaliya. (C)N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama nga jjajjaawe Dawudi bwe yakola. (D)N’aggyawo ebifo ebigulumivu n’amenyaamenya amayinja amoole, n’atema n’empagi eza Baasera. N’amenyaamenya omusota ogw’ekikomo Musa gwe yakola, kubanga ne mu biro ebyo Abayisirayiri baagwoterezangako obubaane.

(E)Keezeekiya yeesiga Mukama, Katonda wa Isirayiri, ne wataba n’omu eyamwenkana ku bakabaka bonna aba Yuda mu abo abaamusooka ne mu abo abamuddirira. (F)N’anywerera ku Mukama, n’ataleka kumugoberera, era n’akuuma n’amateeka Mukama ge yawa Musa. (G)Mukama n’abeera wamu naye, era n’abeera n’omukisa mu buli kye yakolanga. N’agyemera kabaka w’e Bwasuli, n’agaana okumuweereza. (H)N’awangula Abafirisuuti, mu buli kigo na buli kibuga ekyaliko bbugwe, okuva e Gaza n’okutuuka ku nsalo zaakyo.

(I)Mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Keezeekiya, ate nga gwe mwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwa Koseya mutabani wa Era, kabaka wa Isirayiri, Salumaneseri kabaka w’e Bwasuli n’alumba Samaliya n’akizingiza. 10 Bwe wayitawo emyaka esatu, mu mwaka ogw’omukaga ogw’obufuzi bwa Keezeekiya, ate nga gwe mwaka ogw’omwenda ogwa Koseya kabaka wa Isirayiri, Samaliya ne kiwambibwa. 11 (J)Kabaka w’e Bwasuli n’atwala Abayisirayiri e Bwasuli mu buwaŋŋanguse, n’abateeka mu Kala, ne mu Kaboli ku mugga gw’e Gozani ne mu bibuga by’Abameedi, 12 (K)kubanga tebagondera ddoboozi lya Mukama Katonda waabwe, naye baasobya endagaano ye, n’ebyo byonna Musa omuddu wa Katonda bye yalagira. Naye ne batabiwulirizza wadde okubigondera.

13 (L)Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ena ogw’obufuzi bwa kabaka Keezeekiya, Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’alumba ebibuga byonna ebyaliko bbugwe ebya Yuda, n’abiwamba. 14 (M)Awo Keezeekiya kabaka wa Yuda n’aweereza obubaka eri kabaka w’e Bwasuli e Lakisi ng’agamba nti, “Nnyonoonye mu maaso go; ddayo ondeke. Nnaakusasula byonna by’ononsalira.” Kabaka w’e Bwasuli n’awooza ku Keezeekiya kabaka wa Yuda ttani kkumi eza ffeeza ne ttani emu eya zaabu. 15 (N)Keezeekiya n’amuwa ffeeza yonna eyali mu yeekaalu ya Mukama n’eyo eyali mu mawanika ag’omu lubiri.

16 Mu kiseera ekyo Keezeekiya kabaka wa Yuda n’aggyako zaabu gwe yali atadde ku nzigi ne ku minyolo egya yeekaalu ya Mukama, n’amuwa kabaka w’e Bwasuli.

Sennakeribu Atiisatiisa Yerusaalemi

17 (O)Kabaka w’e Bwasuli n’atuma Talutani, omuduumizi we ow’oku ntikko, Labusalisi, omukulu wa bakungu, ne Labusake omuduumizi we alwanira ku ttale n’eggye eddene, okuva e Lakisi okugenda ewa kabaka Keezeekiya e Yerusaalemi. Ne batuuka e Yerusaalemi, ne bakoma awali olusalosalo olw’ekidiba eky’engulu[a] ekiri ku kkubo ery’Ennimiro ey’Omwozi w’Engoye. 18 (P)Awo ne bayita kabaka, naye Eriyakimu mutabani wa Kirukiya eyali ssabakaaki, Sebuna omuwandiisi ne Yowa mutabani wa Asafu omujjukiza ne bagenda gye bali.

19 Awo Labusake n’abagamba nti, “Mutegeeze Keezeekiya nti,

“ ‘Bw’ati bw’ayogera kabaka omukulu, kabaka w’e Bwasuli nti, Kiki kye weesiga? 20 Olowooza nti ebigambo obugambo, kakoddyo akalaga amaanyi n’obuvumu mu kulwana? Ani gwe weesiga, n’okujeema n’onjeemera? 21 (Q)Laba nno, weesize Misiri, olumuli olwo olwatifu, oluyinza okufumita omukono gw’omuntu ne lumuleetako ekiwundu. Bw’atyo bw’ali Falaawo, ye kabaka w’e Misiri eri abo bonna abamwesiga. 22 Ate era bw’oŋŋamba nti, “Twesize Mukama Katonda waffe,” oyo si y’omu Keezeekiya gwe yaggyirawo ebifo ebigulumivu n’ebyoto, ng’agamba Yuda ne Yerusaalemi nti, “Munaasinzizanga mu maaso g’ekyoto kino mu Yerusaalemi”?

23 “ ‘Kale nno, jjangu oteese ne mukama wange kabaka w’e Bwasuli, nange n’akuwa embalaasi enkumi bbiri bw’onooba ng’olina abeebagazi. 24 (R)Onooyinza otya okuwangula omu ku baserikale ba mukama wange asembayo, bw’onooba nga weesiga amagaali n’abeebagala embalaasi ab’e Misiri? 25 (S)Olowooza nti nnyinza okujja okutabaala ekifo kino n’okukizikiriza awatali kigambo kya Mukama? Mukama yennyini yaŋŋambye nyambuke nzikirize ensi eno.’ ”

26 (T)Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya, Sebuna ne Yowa ne bagamba Labusake nti, “Tukwegayiridde yogera eri abaddu bo mu lulimi Olusuuli, kubanga tulutegeera. Toyogera naffe mu lulimi olw’Abayudaaya ng’abantu bonna abali ku bbugwe bawuliriza.”

27 Naye Labusake n’abaddamu nti, “Mulowooza nti mukama wange yantuma eri mukama wammwe n’eri mmwe okwogera ebigambo bino, so si eri abasajja abatudde ku bbugwe, abali mu kabi nammwe kubanga okufaanana nga mmwe bagenda kulya empitambi yaabwe n’okunywa omusulo gwabwe?”

28 Awo Labusake n’ayimirira n’akoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka mu lulimi olw’Abayudaaya nti, “Muwulire ekigambo kya kabaka omukulu, kabaka w’e Bwasuli! 29 (U)Bw’ati bw’ayogera kabaka nti, ‘Keezeekiya tabalimbanga, kubanga taliyinza kubalokola mu mukono gwange. 30 Temuganya Keezeekiya kubasendasenda mwesige Mukama ng’agamba nti, Mukama alibalokola, era n’ekibuga kino tekiriweebwayo mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli.’

31 (V)“Temuwuliriza Keezeekiya. Bw’ati bw’ayogera kabaka w’e Bwasuli nti, ‘Mutabagane nange mujje gye ndi, buli omu ku mmwe anywe okuva mu muzabbibu ggwe, buli muntu ku mutiini gwe, na buli muntu anywe amazzi ag’omu kidiba kye ye;[b] 32 (W)okutuusa lwe ndijja ne mbatwala mu nsi efaanana ensi yammwe, ensi ey’eŋŋaano n’omwenge omusu, ensi ey’emigaati n’ennimiro ez’emizabbibu, ensi ey’amafuta aga zeyituuni n’omubisi gw’enjuki, mube balamu muleme okufa.’

“Temuwuliriza Keezeekiya kubanga abawabya bw’agamba nti, ‘Mukama alibalokola.’ 33 (X)Waliwo katonda n’omu owa baamawanga eyali alokodde ensi ye mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli? 34 (Y)Bali ludda wa bakatonda b’e Kamasi n’ab’e Alupadi? Bali ludda wa bakatonda b’e Sefavayimu, ab’e Kena n’ab’e Yiva? Baali balokodde Samaliya mu mukono gwange? 35 (Z)Ani ku bakatonda abo bonna ab’ensi ezo eyali alokodde ensi ye mu mukono gwange, mulyoke mulowooze nti Mukama alirokola Yerusaalemi mu mukono gwange?”

36 Naye abantu ne basirika ne bataddamu kigambo na kimu, kubanga kabaka yali alagidde nti, “Temumuddamu.”

37 (AA)Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya, eyali ssabakaaki, ne Sebuna omuwandiisi ne Yowa mutabani wa Asafu omujjukiza ne bagenda eri Keezeekiya nga bayuzizza engoye zaabwe, ne bamutegeeza ebigambo Labusake bye yali ayogedde.

Firemooni

(A)Pawulo, omusibe wa Kristo Yesu, n’owooluganda Timoseewo, tuwandiikira ggwe Firemooni, mukozi munnaffe omwagalwa, (B)ne Apofiya mwannyinaffe, ne Alukipo mulwanyi munnaffe, n’Ekkanisa yonna ekuŋŋaanira mu nnyumba yo.

Ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga nammwe.

Okusaba n’okwebaza

(C)Bulijjo bwe mba nga nkusabira neebaza Katonda, (D)kubanga buli kiseera mpulira nga bw’olina okwagala n’okukkiriza eri Mukama waffe Yesu n’eri abatukuvu bonna. Nsaba nti nga bw’ogenda otegeeza abantu okukkiriza kwo, nabo kubanyweze mu bulamu bwabwe, nga bategeerera ddala ebirungi byonna ebiri mu ffe ku bwa Kristo. (E)Nsanyuka nnyo era ne nziramu amaanyi olw’okwagala kwo, kubanga emitima gy’abatukuvu giziddwa buggya ku lulwo owooluganda.

Pawulo yeegayiririra Onesimo

Noolwekyo newaakubadde era, nga nnina obuvumu mu Kristo, nga nandisobodde okukulagira okukola ekyo ky’osaanira okukola, (F)naye okwagala kwange gy’oli kumpaliriza okukusaba obusabi, nze, Pawulo, kaakano akaddiye, era ali mu kkomera olwa Kristo Yesu; 10 (G)nkwegayirira ku bikwata ku mwana wange Onesimo gwe nayamba okukkiriza Mukama waffe nga ndi mu njegere, mu busibe, 11 Onesimo oyo, gye buvuddeko ataali wa mugaso gy’oli, naye kaakano nga wa mugaso nnyo gye tuli ffembi, 12 gwe naaweereza gy’oli nga n’omutima gwange gujjirako, 13 oyo gwe nandyagadde okwesigaliza, ampeereze nga ndi mu busibe olw’enjiri, mu kifo kyo mwe wandibadde onnyambira, 14 (H)naye ne saagala kukikola nga tonzikirizza. Saagala okole eky’ekisa olwokubanga oteekwa, wabula kikole lwa kweyagalira. 15 Kiyinzika okuba nga Onesimo yakwawukanako okumala akaseera, oluvannyuma alyoke abeere naawe ebbanga lyonna, 16 (I)nga takyali muddu buddu, naye ng’asingako awo, ng’afuuse owooluganda omwagalwa ennyo, na ddala gye ndi. Kaakano ajja kubeera wa mugaso nnyo gy’oli mu mubiri ne mu Mukama waffe.

17 (J)Obanga ddala ndi munno, mwanirize mu ngeri y’emu nga bwe wandinnyanirizza singa nze mbadde nzize. 18 Obanga waliwo ekintu ekibi kye yakukola, oba ekintu ky’omubanja, kimbalirweko. 19 Kino nkiwandiika mu mukono gwange nze, Pawulo, nti ndikusasula. Sijja kukugamba nti olina ebbanja lyange. 20 (K)Munnange owooluganda, nkolera ekikolwa kino ekiraga okwagala, omutima gwange guddemu amaanyi mu Kristo. 21 (L)Nkuwandiikidde ebbaluwa eno nga neesigira ddala nga kye nkusaba ojja kukikola n’okusingawo! 22 (M)Nninayo n’ekirala kye nkusaba; nkusaba ontegekere we ndisula, kubanga nnina essuubi, nga Katonda okusaba kwammwe ajja kukuddamu anzikirize nkomewo gye muli.

Okusiibula

23 (N)Epafula, musibe munnange olw’okubuulira Enjiri ya Kristo Yesu, abalamusizza.

24 (O)Ne bakozi bannange bano: Makko, ne Alisutaluuko, ne Dema, ne Lukka nabo babalamusizza.

25 (P)Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga n’omwoyo gwammwe.

Koseya 11

Okwagala kwa Katonda eri Isirayiri

11 (A)“Isirayiri bwe yali omwana omuto, namwagala,
    era namuyita okuva mu Misiri.
(B)Naye buli lwe nayongeranga okuyita Isirayiri,
    nabo gye beeyongeranga okusemberayo
ne bawaayo ssaddaaka eri Babaali,
    ne bootereza ebifaananyi ebyole obubaane.
(C)Nze nayigiriza Efulayimu okutambula,
    nga mbakwata ku mukono;
naye tebategeera
    nga nze nabawonya.
(D)Nabakulembera n’emiguwa egy’okusaasira okw’obuntu,
    n’ebisiba eby’okwagala.
Naggya ekikoligo mu bulago bwabwe
    ne neetoowaza ne mbaliisa.

(E)“Tebaliddayo mu nsi ya Misiri,
    era Obwasuli tebulibafuga
    kubanga baagaana okwenenya?
(F)Ekitala kirimyansiza mu bibuga byabwe
    ne kizikiriza ebisiba ebya wankaaki waabwe,
    ne kikomya enteekateeka zaabwe.
(G)Abantu bange bamaliridde okunvaako.
    Ne bwe banaakoowoola oyo Ali Waggulu Ennyo,
    taabagulumize.

(H)“Nnyinza ntya okukuleka ggwe Efulayimu?
    Nnyinza ntya okukuwaayo ggwe Isirayiri?
Nnyinza ntya okukufuula nga Aduma?
    Nnyinza ntya okukukola nga Zeboyimu?
Omutima gwange gwekyusiza munda yange,
    Mpulira nkukwatiddwa ekisa kingi.
(I)Siikole ng’obusungu bwange obungi bwe buli,
    so siridda kuzikiriza Efulayimu;
kubanga siri muntu wabula ndi Katonda,
    Omutukuvu wakati mu mmwe:
    sirijja na busungu.
10 (J)Baligoberera Mukama;
    era aliwuluguma ng’empologoma.
Bw’aliwuluguma,
    abaana be balijja nga bakankana okuva ebugwanjuba.
11 (K)Balijja nga bakankana
    ng’ebinyonyi ebiva e Misiri,
    era ng’enjiibwa eziva mu Bwasuli.
Ndibafuula abatuuze mu maka gaabwe,”
    bw’ayogera Mukama.

Ekibi kya Isirayiri

12 (L)Efulayimu aneebunguluzza obulimba,
    n’ennyumba ya Isirayiri eneebunguluzza obukuusa,
ne Yuda ajeemedde Katonda,
    ajeemedde omwesigwa Omutukuvu.

Zabbuli 132-134

Oluyimba nga balinnya amadaala.

132 Ayi Mukama jjukira Dawudi
    n’okubonaabona kwe yagumiikiriza kwonna.

(A)Nga bwe yalayirira Mukama,
    ne yeeyama eri Katonda Ayinzabyonna, Katonda wa Yakobo,
ng’agamba nti, “Siriyingira mu nnyumba yange,
    wadde okulinnya ku kitanda kyange.
Sirikkiriza tulo kunkwata
    newaakubadde okuzibiriza amaaso gange,
(B)okutuusa lwe ndimala okufunira Mukama ekifo;
    ekifo eky’okubeeramu ekya Katonda Ayinzabyonna, Katonda wa Yakobo.”

(C)Laba, twakiwulirako mu Efulasa,
    ne tukizuula mu nnimiro ya Jaali.
(D)Kale tugende mu kifo kye mw’abeera,
    tumusinzirize awali entebe y’ebigere bye.
(E)Golokoka, Ayi Mukama, ogende mu kifo kyo mw’owummulira;
    ggwe n’Essanduuko yo ey’Endagaano, eraga obuyinza bwo.
(F)Bakabona bo bambazibwe obutuukirivu,
    n’abatukuvu bo bayimbe n’essanyu.

10 Ku lulwe Dawudi omuddu wo,
    tomugaana oyo gwe wafukako amafuta.

11 (G)Mukama Katonda yalayirira Dawudi
    ekirayiro ekitaliggwaawo, era talikivaako.
Kubanga yamugamba nti, “Omu ku batabani bo
    gwe ndituuza ku ntebe yo ey’obwakabaka.
12 (H)Batabani bo bwe banaakuumanga Endagaano yange
    n’ebiragiro byange bye nnaabayigirizanga,
ne batabani baabwe nabo banaatuulanga
    ku ntebe yo ey’obwakabaka emirembe gyonna.”

13 (I)Kubanga Mukama yalonda Sayuuni,
    nga kye yasiima okutuulangamu, n’agamba nti:
14 (J)“Kino kye kifo mwe nnaawummuliranga emirembe gyonna;
    omwo mwe nnaatuulanga nga ndi ku ntebe ey’obwakabaka kubanga nkisiimye.
15 (K)Nnaakiwanga omukisa ne nkiwa n’ebirungi,
    era n’abaavu baamu nnaabakkusanga ebyokulya.
16 (L)Bakabona baakyo, obulokozi bunaabanga kyambalo kyabwe;
    n’abatukuvu baakyo banaayimbanga ennyimba ez’essanyu n’essanyu.

17 (M)“Eyo gye ndyaliza batabani ba Dawudi obuyinza;
    ne muteekerawo ettabaaza olw’oyo gwe nayiwako amafuta.
18 (N)Abalabe be ndibajjuza ensonyi,
    naye ye ndimwambaza engule ey’ekitiibwa ekingi.”

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.

133 (O)Laba bwe kiri ekirungi era nga kisanyusa,
    abooluganda okubeera awamu nga batabaganye.

(P)Kiri ng’amafuta ag’omuwendo omungi agafukibwa ku mutwe gwa Alooni
    ne gakulukutira mu kirevu;
gakulukutira mu kirevu kya Alooni,
    ne gakka ku kitogi ky’ebyambalo bye.
(Q)Kiri ng’omusulo gw’oku lusozi Kerumooni,
    ogugwa ne ku nsozi za Sayuuni;
kubanga eyo Mukama gy’agabira omukisa
    n’obulamu emirembe gyonna.

Oluyimba nga balinnya amadaala.

134 (R)Mulabe, mutendereze Mukama, mmwe mwenna abaddu ba Mukama,
    abaweereza ekiro mu nnyumba ya Mukama.
(S)Mugolole emikono gyammwe mu kifo ekitukuvu,
    mutendereze Mukama.

(T)Mukama eyakola eggulu n’ensi
    akuwe omukisa ng’asinziira mu Sayuuni.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.