Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
2 Samwiri 24

Dawudi Abala Eggye

24 (A)Awo Mukama n’asunguwalira Isirayiri nate, n’aleetera Dawudi okubabala. Dawudi n’alagira nti, “Genda obale Isirayiri ne Yuda.”

(B)Kabaka n’alagira Yowaabu n’abaduumizi ab’eggye nti, “Mugende mu bika byonna ebya Isirayiri okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba mubale abantu, ntegeere omuwendo gwabwe.”

(C)Naye Yowaabu n’addamu kabaka nti, “Mukama Katonda wo ayongere ku bantu bo emirundi kikumi n’okusingawo, nga mukama wange kabaka akyali mulamu. Naye kiki ekikukoza ekintu bwe kityo mukama wange kabaka?”

Naye ekigambo kya kabaka ne kisinga amaanyi ebigambo bya Yowaabu n’abaduumizi b’eggye, era ne bava mu maaso ga kabaka ne batanula okubala abantu ba Isirayiri.

(D)Oluvannyuma olw’okusomoka Yoludaani, ne basiisira okumpi ne Aloweri ku luuyi olw’obukiikaddyo olw’ekibuga mu kiwonvu, ne bayitira mu Gaadi okutuuka e Yazeri. (E)Ne bagenda e Gireyaadi ne mu kitundu kya Tatimukodusi, ne batuuka e Ddaani-Yaani ne beebungulula ne baggukira e Sidoni. (F)Ne bagenda ku kigo eky’e Ttuulo ne mu bibuga byonna eby’Abakiivi[a] n’eby’Abakanani, ne bakomekkereza omulimu gwabwe e Beeruseba mu bukiikaddyo obwa Yuda.

Awo oluvannyuma olw’okuyitaayita mu nsi yonna omulimu nga bagukoledde emyezi mwenda n’ennaku amakumi abiri, ne baddayo e Yerusaalemi. (G)Yowaabu n’awaayo omuwendo gw’abantu bonna eri kabaka. Mu Isirayiri mwaweramu abasajja abalwanyi emitwalo kinaana, ne mu Yuda ne muweramu abasajja abalwanyi emitwalo amakumi ataano. 10 (H)Naye Dawudi n’akeŋŋeentererwa emmeeme olw’ekikolwa ekyo eky’okubala abantu. N’agamba Mukama nti, “Nnyonoonye nnyo olw’ekyo kye nkoze. Kaakano, Ayi Mukama Katonda nziggyako omusango guno omuddu wo gw’azizza, kubanga nkoze eky’obusirusiru.”

11 (I)Awo mu kiro ekigambo kya Mukama Katonda ne kijjira nnabbi Gaadi, omulabi wa Dawudi nti, 12 “Genda otegeeze Dawudi nti, ‘Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda nti: ku bino ebisatu londawo ekimu kye nnaakukola.’ ”

13 (J)Gaadi n’agenda eri Dawudi n’amugamba nti, “Ndireeta enjala mu nsi okumala emyaka musanvu? Oba, ndikuddusa mu maaso g’abalabe bo okumala emyezi esatu, nga bakugoba? Oba, walibaawo ennaku ssatu eza kawumpuli mu nsi yo? Kirowoozeeko, ontegeeze ky’onoosalawo, nzizeeyo obubaka eri oyo antumye.”

14 (K)Awo Dawudi n’agamba Gaadi nti, “Nsobeddwa nnyo; wakiri tugwe mu mukono gwa Mukama Katonda, kubanga okusaasira kwe kungi; okusinga okugwa mu mikono gy’abantu.”

15 (L)Awo Mukama Katonda n’aweereza kawumpuli ku Isirayiri okuva ku makya okwo okumala ekiseera Mukama kye yateekateeka, abantu emitwalo musanvu ne bafa okuva mu bitundu ebya Ddaani okutuuka e Beeruseba. 16 (M)Malayika bwe yagolola omukono gwe eri Yerusaalemi okukizikiriza, Mukama ne yejjusa olw’ekikolwa ekyo, n’agamba malayika eyabonereza abantu nti, “Kinaamala, toyoongera nate.” Olwo malayika wa Mukama Katonda yali atuuse ku gguuliro lya Alawuna Omuyebusi.

17 (N)Awo Dawudi bwe yalaba malayika wa Mukama Katonda eyabonereza abantu, n’ayogera nti, “Nze nnyonoonye era nze nkoze eby’ekyejo, naye endiga zino, tezirina kye zikoze. Nkwegayiridde, omukono gwo ka gubonereze nze n’ennyumba ya kitange.”

Dawudi Azimbira Mukama Ekyoto

18 Ku lunaku olwo Gaadi n’agenda eri Dawudi n’amugamba nti, “Yambuka ozimbire Mukama Katonda ekyoto ku gguuliro[b] lya Alawuna Omuyebusi.” 19 Awo Dawudi n’agondera ebiragiro bya Mukama Katonda bye yayisa mu Gaadi, n’ayambuka ku gguuliro. 20 Alawuna n’alengera kabaka n’abasajja be nga bajja gy’ali, n’afuluma n’avuunama mu maaso ga kabaka, ne yeeyala wansi.

21 (O)Alawuna n’abuuza nti, “Kiki ekireese mukama wange kabaka eri omuddu we?” Dawudi n’addamu nti, “Nzize okugula egguuliro lyo, nzimbire Mukama ekyoto, kawumpuli aleke okubuna mu bantu.”

22 (P)Alawuna n’agamba Dawudi nti, “Mukama wange kabaka atwale kyonna ky’anaasiima akiweeyo. Ente ziizo ez’ekiweebwayo ekyokebwa, n’ebintu ebiwuula n’ebikoligo by’ente byonna mbiwaddeyo okuba enku. 23 (Q)Ebyo byonna, Alawuna abiwaddeyo eri kabaka.” Alawuna n’ayongerako nti, “Olabe ekisa mu maaso ga Mukama Katonda wo.”

24 (R)Naye kabaka n’agamba Alawuna nti, “Nedda, nzija kulisasulira[c]. Sijja kuwaayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda wange, nga sisasulidde muwendo.”

Awo Dawudi n’asasulira egguuliro n’ente, omuwendo ogw’enkana effeeza, gulaamu lukaaga. 25 (S)Dawudi n’azimbira Mukama ekyoto n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe. Olwo Mukama Katonda n’ayanukula okusaba kwe ku lw’ensi, kawumpuli n’ava ku Isirayiri.

Abaggalatiya 4

Naye ŋŋamba nti omusika bw’aba ng’akyali mwana muto, tayawulwa na muddu, newaakubadde nga ye mukama wa byonna. Afugibwa abasigire n’abawanika okutuusa lw’akula n’atuuka ku kigero kitaawe, kye yategeka. (A)Era naffe bwe tutyo bwe twali tukyali bato, twafugibwanga obulombolombo obw’ensi. (B)Naye ekiseera bwe kyatuuka, Katonda n’atuma Omwana we (C)eyazaalibwa omukazi ng’afugibwa amateeka, tulyoke tufuuke abaana. (D)Era kubanga tuli baana, Katonda yatuma Omwoyo w’Omwana we okubeera mu mitima gyaffe, era kaakano tuyinza okwogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Aba, Kitaffe.” (E)Kale kaakano tokyali muddu, wabula oli mwana; era nga bw’oli omwana oli musika ku bwa Katonda.

Pawulo Alowooza ku Baggalatiya

(F)Mmwe bwe mwali temunnamanya Katonda mwabanga baddu ba bitali Katonda. (G)Naye kaakano mutegedde Katonda era naye abategedde, kale muyinza mutya okukyuka, ne mugoberera obulombolombo obunafu obutalina maanyi ne mwagala okufuuka abaddu baabwo? 10 (H)Mukwata ennaku, n’emyezi, n’ebiro, n’emyaka; 11 (I)neeraliikirira si kulwa ng’omulimu omunene gwe nakola mu mmwe gwali gwa bwereere.

12 Abooluganda, mbeegayirira mubeere nga nze, kubanga nange ndi nga mmwe. Temulina kabi ke mwankola; 13 (J)era mumanyi nga mu bunafu obw’omubiri, mmwe be nasooka okubuulira Enjiri. 14 Naye newaakubadde nga mwandinnyomye olw’obulwadde bwange, temwangobaganya, wabula mwansembeza nga malayika wa Katonda, nga Yesu Kristo. 15 Kale essanyu lyammwe lyadda wa? Kubanga ndi mujulirwa wammwe nti, mwali musobola okuggyamu amaaso gammwe ne mugampa okunnyamba singa kyali kyetaagisa. 16 (K)Kale kaakano nfuuse omulabe wammwe olw’okubategeeza amazima?

17 Abo abalabika ng’abaabassaako ennyo omwoyo tebabaagaliza birungi, okuggyako okwagala okubaggalira ebweru, mulyoke mudde ku luuyi lwabwe. 18 (L)Naye kirungi okunyiikiranga okukola ebirungi bulijjo, naye si lwe mbeera nammwe lwokka. 19 (M)Baana bange be nnumirwa nate ng’alumwa okuzaala, okutuusa Kristo lw’alibumbibwa mu mmwe, 20 nandyagadde okubeera nammwe kaakano, n’okukyusa eddoboozi lyange kubanga ndi mweraliikirivu ku lwammwe.

Agali ne Saala

21 Mumbulire, mmwe abaagala okufugibwa amateeka, lwaki temuwulira mateeka? 22 (N)Kubanga kyawandiikibwa nti Ibulayimu yazaala abaana babiri aboobulenzi, omu yamuzaala mu mukazi omuddu, n’omulala n’amuzaala mu mukazi ow’eddembe. 23 (O)Omwana ow’omukazi omuddu yazaalibwa nga wa mubiri, naye omwana ow’omukazi ow’eddembe yazaalibwa lwa kusuubiza.

24 Ebyo biri nga bya lugero; kubanga ezo ndagaano bbiri. Emu yava ku Lusozi Sinaayi, ye yazaala abaana ab’obuddu, ye yava mu Agali. 25 Agali lwe Lusozi Sinaayi oluli mu Buwalabu, era afaananyirizibwa ne Yerusaalemi eya kaakano kubanga ye ne bazzukulu be bali mu buddu. 26 (P)Naye Yerusaalemi eky’omu ggulu ye mukazi ow’eddembe, era ye nnyaffe. 27 (Q)Kubanga kyawandiikibwa nti,

“Sanyuka
    ggwe omugumba atazaala.
Leekaanira waggulu mu ddoboozi ery’omwanguka
    newaakubadde nga tozaalanga ku mwana.
Kubanga ndikuwa abaana bangi,
    abaana abangi okusinga omukazi alina omusajja b’alina.”

28 Naye mmwe abooluganda muli baana abaasuubizibwa, nga Isaaka bwe yali. 29 (R)Naye mu biro biri ng’eyazaalibwa omubiri bwe yayigganya oyo eyazaalibwa Omwoyo, ne kaakano bwe kiri. 30 (S)Naye Ebyawandiikibwa bigamba bitya? Bigamba nti, “Goba omukazi omuddu n’omwana we, kubanga omwana w’omukazi omuddu talisikira wamu n’omwana w’omukazi ow’eddembe.” 31 Noolwekyo abooluganda tetuli baana ba mukazi omuddu naye tuli baana ab’omukazi ow’eddembe.

Ezeekyeri 31

Olugero olw’Omuvule gwa Lebanooni

31 (A)Mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu, mu mwezi ogwokusatu ku lunaku olw’olubereberye, ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, tegeeza Falaawo, ye kabaka w’e Misiri n’olufulube lw’abantu be nti,

“ ‘Ani ayinza okwegeraageranya naawe mu kitiibwa?
(B)Tunuulira Obwasuli, ogwali omuvule mu Lebanooni,
    nga gulina amatabi amalungi agaasiikirizanga ekibira;
ogwali omuwanvu ennyo,
    nga guyitamu ne mu kasolya ak’ekibira.
Amazzi gaaguliisanga,
    n’enzizi ezikka wansi ennyo ne ziguwanvuya,
n’emigga gyagyo
    ne gigwetooloola wonna,
ne giweerezanga n’amatabi gaagyo
    eri emiti gyonna egy’omu ttale.
(C)Kyegwava gukula ne guwanvuwa
    okusinga emiti gyonna egy’omu kibira,
n’amatabi gaagwo amanene
    ne geeyongera obunene,
n’amatabi gaagwo amatono ne gawanvuwa
    ne gasaasaana olw’obungi bw’amazzi.
(D)Ebinyonyi byonna eby’omu bbanga
    ne bizimba ebisu byazo mu matabi gaagwo amanene,
n’ensolo enkambwe ez’oku ttale
    ne zizaaliranga wansi w’amatabi gaagwo,
n’amawanga gonna amakulu
    ne gabeeranga wansi w’ekisiikirize kyagwo.
Gwali gwa kitalo mu bulungi bwagwo,
    n’amatabi gaagwo amanene,
kubanga emirandira gyagwo
    gyasima awali amazzi amangi.
(E)Emivule egyali mu nnimiro ya Katonda
    tegyayinza kuguvuganya,
newaakubadde emiberoosi okwenkana
    n’amatabi gaagwo amanene;
n’emyalamooni nga tegifaanana
    matabi gaagwo amatono,
so nga tewali muti mu nnimiro ya Katonda
    ogugwenkana mu bulungi.
(F)Nagulungiya n’amatabi amangi,
    emiti gyonna egy’omu Adeni
egyali mu nnimiro ya Katonda
    ne gigukwatirwa obuggya.

10 (G)“ ‘Mukama Katonda kyava ayogera bw’ati nti; Kubanga gwegulumiza, ne gwewanika waggulu okuyita mu kasolya ak’ekibira, ate ne guba n’amalala olw’obuwanvu bwagwo, 11 (H)kyendiva nguwaayo mu mukono gw’omufuzi ow’amawanga agukole ng’obutali butuukirivu bwagwo bwe buli, era ngugobye. 12 (I)Era bannaggwanga abasingirayo ddala obukambwe baagutema ne bagusuula. Amatabi gaagwo amanene gaagwa ku nsozi ne mu biwonvu byonna, n’amatabi gaagwo amatono ne gagwa nga gamenyese mu biwonvu byonna eby’ensi. N’amawanga gonna ag’oku nsi gaava wansi w’ekisiikirize kyagwo, ne gagulekawo. 13 (J)Ebinyonyi byonna eby’omu bbanga ne bituula ku matabi agaagwa, era n’ensolo enkambwe ez’oku ttale zonna ne zibeera mu matabi gaagwo. 14 (K)Kyewaliva walema okubaawo emiti okumpi n’amazzi egirikula ne giwanvuwa ne gyegulumiza n’okutuuka okuyita mu kasolya k’ekibira. Era tewalibaawo miti mirala egyafukirirwa obulungi egiriwanvuwa okutuuka awo, kubanga gyonna giweereddwayo eri okufa, okugenda emagombe, mu bantu abaabulijjo, n’abo abakka mu bunnya.

15 “ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ku lunaku lwe gwaleetebwa wansi emagombe, enzizi zaagukaabira, era naziyiza n’emigga gyagwo, n’amazzi gaagwo amangi okukulukuta. Ku lulwe nayambaza Lebanooni obuyinike, n’emiti gyonna egy’oku ttale ne gikala. 16 (L)Naleetera amawanga okukankana olw’eddoboozi ery’okugwa kwagwo bwe naguserengesa emagombe n’abo abaserengeta wansi mu bunnya. Olwo emiti gyonna egya Adeni, egy’amaanyi era egisingayo obulungi egya Lebanooni emiti gyonna egyali gifukiriddwa obulungi amazzi, ne gizzibwamu amaanyi wansi mu nsi. 17 (M)Abo bonna ababeera mu kisiikirize kyagwo, n’amawanga agassanga ekimu nabo, bakirira nabo emagombe ne beegatta ku abo abattibwa n’ekitala.

18 (N)“ ‘Muti ki mu gy’omu Adeni ogw’enkana naawe mu bukulu mu kitiibwa kyo? Era naye, olisuulibwa wamu n’emiti egy’omu Adeni n’oserengeta emagombe, n’ogalamira eyo wamu n’abatali bakomole, n’abo abattibwa n’ekitala.

“ ‘Ono ye Falaawo n’ekibinja kye kyonna, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”

Zabbuli 79

Zabbuli ya Asafu.

79 (A)Ayi Katonda omugabo gwo gulumbiddwa amawanga;
    boonoonye yeekaalu yo entukuvu ne Yerusaalemi kizikiriziddwa,
    ne kifuuka entuumo.
(B)Emirambo gy’abaweereza bo bagifudde
    mmere ya nnyonyi ez’omu bbanga,
    n’emibiri gy’abatukuvu bo giweereddwa ensolo ez’omu nsiko.
(C)Omusaayi gwabwe ne guyiibwa ng’amazzi
    okwetooloola Yerusaalemi,
    so nga abafudde tewali muntu abaziika.
(D)Baliraanwa baffe batuyisaamu amaaso,
    era tufuuse ekisekererwa eri abo abatwetoolodde.

(E)Ayi Mukama olitusunguwalira kutuusa ddi, nnaku zonna?
    Obuggya bwo bunaabuubuukanga ng’omuliro?
(F)Obusungu bwo bubuubuukire ku mawanga
    agatakumanyi,
ne ku bwakabaka
    obutakoowoola linnya lyo.
Kubanga bazikirizza Yakobo,
    ne basaanyaawo ensi ye.

(G)Totubalira kibi kya bajjajjaffe;
    tukusaba oyanguwe okutusaasira
    kubanga tuli mu bwetaavu bungi nnyo.
(H)Tuyambe olw’ekitiibwa ky’erinnya lyo,
    Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe;
otuwonye era otutangiririre olw’ebibi byaffe
    olw’erinnya lyo.
10 (I)Lwaki abamawanga babuuza nti,
    “Katonda waabwe ali ludda wa?”

Kkiriza okuwalana eggwanga olw’omusaayi gw’abaweereza bo ogwayiyibwa,
    kumanyibwe mu mawanga gonna nga naffe tulaba.
11 Wuliriza okusinda kw’omusibe;
    okozese omukono gwo ogw’amaanyi
    owonye abo abasaliddwa ogw’okufa.
12 (J)Ayi Mukama, baliraanwa baffe abakuduulira,
    bawalane emirundi musanvu.
13 (K)Kale nno, ffe abantu bo era endiga ez’omu ddundiro lyo,
    tulyoke tukutenderezenga emirembe gyonna;
    buli mulembe gulyoke gukutenderezenga emirembe gyonna.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.