Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
2 Samwiri 21

Dawudi Atangirira Abagibyoni

21 (A)Awo mu mirembe gya Dawudi ne waba enjala okumala emyaka esatu, Dawudi ne yeeyongera nnyo okunoonya Mukama. Mukama n’ayogera nti, “Ennyumba ya Sawulo ejjudde omusaayi, kubanga yatta Abagibyoni.”

(B)Kabaka n’akuŋŋaanya Abagibyoni[a] n’ayogera gye bali. (Abagibyoni tebaali Bayisirayiri naye baali bakaawonawo ab’oku baana b’Abamoli. Abayisirayiri baali babalayiridde obutabakola kabi, naye Sawulo olw’obuggya bwe yalina n’agezaako okubazikiriza ku lwa Isirayiri ne Yuda.) (C)Dawudi n’abuuza Abagibyoni nti, “Mbakolere ki? Nnaabatangirira ntya, mmwe okuwa Isirayiri, obusika bwa Mukama omukisa?” (D)Abagibyoni ne bamuddamu nti, “Kye twetaaga okuva eri Sawulo oba ennyumba ye, si kigambo kya ffeeza oba zaabu, so tetulina buyinza kutta muntu yenna mu Isirayiri.” Dawudi n’ababuuza nti, “Kiki kye mwagala mbakolere?” Ne baddamu kabaka nti, “Ku lw’omusajja eyatuyigganyanga n’ayagala okutuuzikiriza, ne tubulwako ne we tubeera mu Isirayiri, (E)tuwe musanvu ku batabani be tubatte tubaanike mu maaso ga Mukama e Gibea ekya Sawulo, omulonde wa Mukama.” Kabaka n’ayogera nti, “Ndibabawa.”

(F)Kabaka n’alekawo Mefibosesi mutabani wa Yonasaani, mutabani wa Sawulo. (G)Naye kabaka n’addira Alumoni ne Mefibosesi batabani ba Lizupa muwala wa Aya bombi be yazaalira Sawulo, ne batabani ba Mikali[b] muwala wa Sawulo be yazaalira Abuliyeri mutabani wa Baluzirayi Omumekolasi Sawulo be yalabiriranga bataano, n’abawaayo. (H)N’abawaayo eri Abagibyoni, ne babatta ne babaanika ku lusozi mu maaso ga Mukama. Bonna omusanvu ne battibwa mu nnaku ezaasooka ez’amakungula nga batandika amakungula ga sayiri.

10 (I)Lizupa muwala wa Aya n’addira ebibukutu, n’abyaliira ku lwazi, okuva ku ntandikwa ey’amakungula okutuusa enkuba lwe yatonnya okuva mu ggulu, n’ataganya nnyonyi za mu bbanga newaakubadde ensolo enkambwe okulya emirambo gyabwe emisana oba ekiro. 11 Dawudi bwe yategeezebwa, Lizupa omuzaana wa Sawulo, muwala wa Aya, kye yakola, 12 (J)n’agenda, n’aggya amagumba ga Sawulo n’aga mutabani we Yonasaani ku bantu ab’e Yabesugireyaadi, Abafirisuuti gye baagawanika, ku lunaku kwe battira Sawulo e Girubowa, abaali bagatutte mu bubba mu kifo ekigazi eky’abantu bonna e Besusani. 13 Dawudi n’aggyayo amagumba ga Sawulo n’aga mutabani we Yonasaani, n’agakuŋŋaanya n’amagumba g’abo abattibwa ne baanikibwa.

14 (K)Ne baziika amagumba ga Sawulo n’aga mutabani we Yonasaani mu ntaana ya Kiisi kitaawe wa Sawulo, e Zeera mu nsi ya Benyamini, ne bakola byonna kabaka bye yalagira. Oluvannyuma Katonda n’addamu okusaba kw’ensi.

Entalo n’Abafirisuuti

15 (L)Ne waba nate olutalo wakati w’Abafirisuuti n’Abayisirayiri. Dawudi n’aserengeta n’abasajja be okulwana n’Abafirisuuti, n’akoowa nnyo. 16 Awo Isubibenobu omu ku bazzukulu b’agasajja agawanvu yalina effumu ng’obuzito bw’omutwe gw’alyo kilo ssatu n’ekitundu ng’alina n’ekitala ekiggya, n’ayogera nti agenda okutta Dawudi. 17 (M)Naye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n’adduukirira Dawudi, n’alumba Omufirisuuti, n’amutta. Awo abasajja ba Dawudi ne bamulayirira nti, “Tokyatabaala naffe ettaala ya Isirayiri ereme okuzikira.”

18 (N)Bwe waayitawo ebbanga ne wabaawo olutalo olulala n’Abafirisuuti e Gobu. Sibbekayi[c] Omukusasi n’atta Safu omu ku bazzukulu b’agasajja gali agawanvu. 19 (O)Ne wabaawo nate olutalo olulala n’Abafirisuuti e Gobu, Erukanani[d] mutabani wa Yayiri Omubesirekemu n’atta muganda wa Goliyaasi Omugitti eyalina olunyago lw’effumu olwali ng’omuti ogulukirwako engoye.

20 Ne waba olutalo olulala e Gaasi, ne wabaayo omusajja omuwanvu ennyo eyalina engalo mukaaga ku buli mukono n’ebigere mukaaga ku buli kigere, byonna awamu abiri mu bina. Era naye yali muzzukulu w’agasajja gali agawanvu ennyo. 21 (P)Bwe yasoomooza Isirayiri, Yonasaani mutabani wa Simeeya, muganda wa Dawudi, n’amutta.

22 Abo abana baali bazzukulu b’agasajja gali agawanvu ennyo mu Gaasi, era bonna ne bagwa mu mukono gwa Dawudi ne basajja be.

Abaggalatiya 1

(A)Nze Pawulo omutume, ataatumibwa bantu wadde omuntu, wabula eyatumibwa Yesu Kristo ne Katonda Kitaffe, eyamuzuukiza mu bafu, (B)awamu n’abooluganda bonna abali nange tuwandiikira ekkanisa ez’e Ggalatiya, (C)nga tugamba nti ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe n’eri Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga nammwe; (D)Kristo oyo eyeewaayo ku lw’ebibi byaffe, alyoke atununule mu mulembe guno omubi ng’okwagala kwa Katonda, era Kitaffe bwe kuli, (E)aweebwe ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina.

Tewali Njiri Ndala

(F)Naye mbeewuunya kubanga mukyuka mangu okuva ku oyo, eyabayita olw’ekisa kya Kristo, naye ne mukyuka mangu okugoberera Enjiri endala. (G)Kubanga tewali njiri ndala, wabula mwawubisibwa abaagala okunyoola n’okukyusa Enjiri ya Kristo. (H)Omuntu yenna, ne bwe tuba ffe, wadde malayika ava mu ggulu, bw’abuuliranga Enjiri okuggyako gye twababuulira, akolimirwenga. (I)Nga bwe twasooka okwogera, bwe ntyo nziramu okukyogera nti, omuntu yenna bw’ababuulira Enjiri eteri eyo ggye mwakkiriza akolimirwenga.

10 (J)Kale kaakano nkolerera kumatiza bantu oba kusiimibwa Katonda? Oba ngezaako kusanyusa bantu? Singa nnali nkyagezaako okusanyusa abantu, sandibadde muddu wa Kristo. 11 (K)Kubanga abooluganda, mbategeeza nti, Enjiri gye nababuulira teyeesigamizibwa ku muntu, 12 (L)era nange saagiweebwa muntu wadde okusomesebwa omuntu wabula Yesu Kristo ye yagimbikkulira. 13 (M)Mumanyi nga bwe nnali nfaanana nga nkyagoberera eddiini y’Ekiyudaaya, nga bwe nayigganyanga ennyo Ekkanisa ya Katonda okugizikiza, 14 (N)era nga nnali omu ku bannaddiini abaakulaakulana mu ggwanga lyange, ne nsukkuluma ku Bayudaaya bannange be nakula nabo, era nagezaako nnyo nga bwe nasobola okugoberera empisa zonna ez’edda ez’amateeka g’eddiini yange. 15 (O)Naye Katonda bwe yasiima, eyanjawula okuva mu lubuto lwa mmange, n’ampita olw’ekisa kye, 16 (P)n’ambikkulira Omwana we ndyoke ŋŋende eri Abaamawanga mbabuulire Enjiri era sseebuuza ku muntu n’omu, 17 newaakubadde okwambuka e Yerusaalemi okwebuuza ku batume, naye nagenda mu Buwalabu era oluvannyuma ne nkomawo e Damasiko.

18 (Q)Awo bwe waayitawo emyaka esatu ne ŋŋenda e Yerusaalemi okulaba Keefa ne mmala naye ennaku kkumi na ttaano. 19 (R)Naye ssaalaba mutume mulala wabula Yakobo muganda wa Mukama waffe. 20 (S)Noolwekyo bye mbawandiikira, si bya bulimba mu maaso ga Katonda.

21 Bwe navaayo ne ndaga mu bitundu eby’e Siriya n’eby’e Kirukiya. 22 Era ekkanisa za Kristo mu Buyudaaya zaali tezinnategeera bwe nfaanana. 23 (T)Naye nga bamanyi nti, “Eyatuyigganyanga, kaakano abuulira okukkiriza kwe yagezaako okuzikiriza.” 24 (U)Era ne bagulumiza Katonda ku lwange.

Ezeekyeri 28

Obunnabbi ku Kabaka w’e Ttuulo

28 Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, (A)“Omwana w’omuntu, gamba omufuzi w’e Ttuulo nti,

“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
    Kubanga olina amalala mu mutima gwo kyova oyogera nti,
‘Ndi katonda,
    era ntuula ku ntebe ey’obwakabaka eya Katonda wakati mu nnyanja,’
songa oli muntu buntu, so si katonda,
    newaakubadde ng’olowooza nga oli mugezi nga katonda.
(B)Oli mugezi okusinga Danyeri?
    Tewali kyama kikukwekeddwa?
(C)Mu magezi go ne mu kutegeera kwo
    weefunidde eby’obugagga,
n’okuŋŋaanya ezaabu n’effeeza
    n’obitereka mu mawanika go.
(D)Olw’obukujjukujju bwo mu by’obusuubuzi
    oyongedde okugaggawala,
era n’omutima gwo
    gwenyumiririza mu byobugagga bwo.”

Mukama Katonda kyava ayogera nti,

“Kubanga olowooza ng’oli mugezi,
    ng’oli mugezi nga katonda,
(E)kyendiva nkuleetera bannaggwanga ne bakulumba,
    ab’omu mawanga agasinga obukambwe,
ne basowola ebitala byabwe eri obulungi n’amagezi go,
    ne boonoona okumasamasa kwo.
(F)Balikusuula mu bunnya
    n’ofiira eyo okufa okubi
    wakati mu gayanja.
Olyogera nate nti, ‘Ndi katonda,’
    mu maaso gaabo abakutta?
Oliba muntu buntu so si katonda
    mu mikono gy’abo abakutta.
10 (G)Olifa okufa okw’abatali bakomole, mu mikono gya bannaggwanga,
    nze nkyogedde, bw’ayogera Mukama Katonda.”

11 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, 12 (H)“Omwana w’omuntu kungubagira kabaka w’e Ttuulo, omutegeeze nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Ggwe wali ekyokulabirako ekituukiridde ng’ojjudde amagezi
    era nga watuukirira mu bulungi.
13 (I)Wali mu Adeni,
    ennimiro ya Katonda;
buli jjinja ery’omuwendo nga likubikako,
    sadio, topazi, alimasi, berulo,
    onuku, yasipero, safiro,
    ejjinja erya nnawandagala.
Okuteekebwateekebwa kwo n’ebikunyweza byakolebwa mu zaabu.
    Era ku lunaku lwe watondebwa, byategekebwa.
14 (J)Wali kerubi omukuumi eyafukibwako amafuta,
    nakwawula lwa nsonga eyo.
Wabeeranga ku lusozi olutukuvu olwa Katonda,
    n’otambulira wakati mu mayinja ag’omuliro.
15 Tewaliiko kya kunenyezebwa kyonna
    okuva ku lunaku lwe watondebwa,
    okutuusa obutali butuukirivu bwe bwalabika mu ggwe.
16 (K)Mu bikolwa byo ebingi,
    wajjula empisa embi,
    era n’okola ebibi.
Kyennava nkugoba ku lusozi lwa Katonda,
    mu buswavu obungi ne nkugoba ggwe kerubi eyakuumanga
    okuva mu mayinja ag’omuliro.
17 (L)Omutima gwo gwalina amalala
    olw’obulungi bwo,
ne weelimbalimba
    olw’ekitiibwa kyo.
Kyennava nkukanyuga ku nsi ne nkufuula
    eky’okusekererwa mu maaso ga bakabaka.
18 (M)Olw’ebibi byo ebingi n’olw’obukumpanya bwo
    oyonoonye ebifo byo ebitukuvu.
Kyenava nziggya omuliro mu ggwe
    ne gukusaanyaawo,
ne nkufuula evvu ku nsi
    wakati mu abo bonna abaakulabanga.
19 (N)Amawanga gonna agaakumanya
    gaatya nnyo;
otuuse ku nkomerero embi,
    so tolibeerawo nate ennaku zonna.’ ”

Obunnabbi eri Sidoni

20 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, 21 (O)“Omwana w’omuntu kyuka otunuulire Sidoni, obawe obunnabbi, 22 (P)oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Nkulinako ensonga, ggwe Sidoni,
    era ndyegulumiza mu ggwe.
Balimanya nga nze Mukama
    bwe ndimubonereza,
    ne neeraga mu ye okuba omutukuvu.
23 (Q)Ndiweereza kawumpuli ku ye, era ndikulukusa
    omusaayi mu nguudo ze.
Abafu baligwa wakati mu ye,
    ekitala kimulumbe enjuuyi zonna.
Olwo balimanya nga nze Mukama.

24 (R)“ ‘Tewalibaawo nate eri ennyumba ya Isirayiri omweramannyo ogufumita newaakubadde eriggwa eribafumita okuva mu baliraanwa abalina ettima. Era balimanya nga nze Katonda Ayinzabyonna.

25 (S)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Bwe ndikuŋŋaanya abantu ba Isirayiri okubaggya mu mawanga gye baasaasaanyizibwa, nditukuzibwa mu bo mu maaso g’amawanga, era balituula mu nsi eyaabwe gye nawa omuddu wange Yakobo. 26 (T)Balituula omwo mirembe, era balizimba amayumba ne basimba n’ennimiro ez’emizabbibu. Bwe ndibonereza baliraanwa baabwe bonna abaabayisa obubi, bo baliba batudde mirembe. Olwo balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe.’ ”

Zabbuli 77

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Asafu.

77 (A)Nnaakaabirira Katonda ambeere,
    ddala nnaakaabirira Katonda nga musaba ampulire.
(B)Bwe nnali mu nnaku, nanoonya Mukama,
    ekiro kyonna ne ngolola emikono gyange obutakoowa;
    emmeeme yange neegaana okusanyusibwa.

(C)Nakujjukiranga, Ayi Katonda ne nsinda,
    ne nfumiitiriza emmeeme yange n’ezirika.
Tewaŋŋanya kwebaka; natawaanyizibwa nnyo ne sisobola kwogera.
(D)Ne ndowooza ku biseera eby’edda,
    ne nzijukira emyaka egyayita.
Najjukiranga ennyimba zange ekiro,
    ne nfumiitiriza nga bwe neebuuza mu mutima gwange nti:

(E)“Mukama anaatusuuliranga ddala ennaku zonna
    naataddayo kutulaga kisa kye?
(F)Okwagala kwe okutaggwaawo kukomedde ddala?
    Kye yasuubiza kibulidde ddala emirembe n’emirembe?
(G)Katonda yeerabidde ekisa kye?
    Asunguwalidde ddala ne yeggyako n’okusaasira kwe?”

10 (H)Awo ne ndowooza nti, “Ebyo bye mmanyi
    eby’emyaka emingi eby’omukono ogwa ddyo ogw’oyo Ali Waggulu Ennyo.”
11 (I)Nnajjukiranga ebikolwa bya Mukama,
    weewaawo, nnajjukiranga ebyamagero byo eby’edda.
12 Nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo byonna eby’amaanyi;
    nnaalowoozanga ku byamagero byo byonna.
13 (J)Ekkubo lyo, Ayi Katonda, liri mu watukuvu.
    Tewali katonda yenkana Katonda waffe.
14 Ggwe Katonda akola eby’amagero;
    era amaanyi go ogalaga mu mawanga.
15 (K)Wanunula abantu bo n’omukono gwo,
    abazzukulu ba Yakobo ne Yusufu.

16 (L)Amazzi gaakulaba, Ayi Katonda;
    amazzi bwe gaakulaba ne gatya,
    n’obuziba ne bukankanira ddala.
17 (M)Ebire byayiwa amazzi
    ne bivaamu n’okubwatuka,
    era n’obusaale bwo ne bubuna.
18 (N)Eddoboozi lyo ery’okubwatuka lyawulirwa mu kikuŋŋunta
    okumyansa kwo ne kumulisa ensi.
    Ensi n’ekankana n’enyeenyezebwa.
19 (O)Ekkubo lyo lyali mu nnyanja;
    wayita mu mazzi amangi,
    naye ebigere mwe walinnya tebyalabika.

20 (P)Wakulembera abantu bo ng’ekisibo,
    nga bali mu mikono gya Musa ne Alooni.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.