M’Cheyne Bible Reading Plan
17 Awo Akisoferi n’agamba Abusaalomu nti, “Leka nnonde abasajja omutwalo gumu mu enkumi bbiri, ŋŋende mpondere Dawudi ekiro kino. 2 (A)Ndimulumba mu bukoowu bwe ne mu bunafu bwe ne mutiisatiisa, era n’abantu bonna abali naye balidduka. Ndikuba kabaka yekka ne mutta, 3 naye abantu abalala bonna ndibakomyawo gy’oli. Okufa kw’omusajja omu yekka gw’onoonya, kulikomyawo abantu bonna nga tebaliiko mutawaana.” 4 Ekigambo ekyo Abusaalomu n’abakadde bonna aba Isirayiri ne bakisiima.
5 (B)Naye Abusaalomu n’ayogera nti, “Mumpitire ne Kusaayi Omwaluki, tuwulire ky’anaayogera ku nsonga eyo.” 6 Kusaayi bwe yajja eri Abusaalomu, Abusaalomu n’amugamba nti, Akisoferi, amagezi g’atuwadde ge gano. Tukole nga Akisoferi bw’agambye? Oba nga si weewaawo, ggwe ogamba otya?
7 Kusaayi n’addamu Abusaalomu nti, “Ago amagezi Akisoferi g’abawadde si malungi ku mulundi guno. 8 (C)Omanyi kitaawo n’abasajja be nga basajja balwanyi era nga bakambwe ng’eddubu erinyagiddwako abaana baalyo. Ate n’ekirala, kitaawo mulwanyi mumanyirivu; tayinza kusula na baserikale. 9 (D)Ne mu kiseera kino, ayinza okuba nga yeekwese mu mpuku oba mu kifo ekirala. Bw’anaasooka okulumba abantu bo, buli anaakiwulira anaagamba nti, ‘Bangi ku bagoberezi ba Abusaalomu battiddwa.’ 10 (E)Olwo n’omuntu omuzira mu bazira, alina omutima oguli ng’omutima gw’empologoma, anaayongoberera ddala, kubanga Isirayiri yenna bamanyi kitaawo nga musajja mulwanyi, era n’abali naye basajja bazira.
11 (F)“Naye nze amagezi ge nkuwa ge gano: kuŋŋaanya gy’oli Isirayiri yenna okuva ku Ddaani okutuuka e Beeruseba, mu bungi bwabwe, ng’omusenyu ogw’oku nnyanja bwe guli obungi, ggwe mwene obakulembere mu lutalo. 12 Tulimulumba yonna gy’alisangibwa, ne tumugwako ng’omusulo bwe gugwa ku ttaka. Ye newaakubadde abasajja abali naye, tewaliba n’omu aliba omulamu. 13 (G)Bw’aliddukira mu kibuga, Isirayiri yenna, balireeta emiguwa, ne tukiwalulira mu mugga obutalekawo jjinja n’erimu.”
14 (H)Awo Abusaalomu n’abasajja bonna aba Isirayiri ne bakkiriziganya nti, “Ekiteeso Kusaayi Omwaluki ky’aleese kirungi okusinga ekya Akisoferi.” Mukama yasiima okulemesa ekiteeso ekirungi ekya Akisoferi alyoke azikirize Abusaalomu. 15 Naye Kusaayi n’ategeeza Zadooki ne Abiyasaali bakabona nti, “Akisoferi awadde Abusaalomu n’abakadde ba Isirayiri amagezi bwe gati ne bwe gati, naye nze mbawabudde okukola bwe bati ne bwe bati. 16 (I)Kaakano muweereze mangu obubaka mutegeeze Dawudi nti, ‘Ekiro kya leero tosula ku misomoko egy’omu ddungu; ssomoka, kabaka n’abantu bonna abali naye baleme okumalibwawo.’ ”
17 (J)Yonasaani ne Akimaazi baabeeranga ku Enerogeri. Baali balinda omuwala okujja okubategeeza byonna, n’oluvannyuma bagende babuulire kabaka Dawudi; baali beewala okulabibwa nga bayingira mu kibuga. 18 (K)Naye waaliwo omuvubuka eyabalaba, n’agenda n’abuulira Abusaalomu. Amangwago bombi ne baddukira mu nnyumba ey’omwami omu mu Bakulimu. Yalina oluzzi mu luggya lwe; ne bakka omwo. 19 (L)Omukyala we n’addira ekisaanikira n’asaanikira ku kamwa k’oluzzi, n’ayiwako eŋŋaano n’agisaasaanyizaako. Ne wataba n’omu eyakitegeera.
20 (M)Awo abasajja ba Abusaalomu bwe batuuka ew’omukyala ku nnyumba, ne bamubuuza nti, “Akimaazi ne Yonasaani bali ludda wa?” N’abaddamu nti, “Basomose akagga ak’amazzi.” Abasajja ne babanoonyako naye ne batalaba muntu yenna, ne baddayo e Yerusaalemi.
21 Abasajja bwe baagenda, abaali beekwese ne bava mu luzzi ne bagenda ne bategeeza kabaka Dawudi. Ne bamugamba nti, “Golokoka osomoke mangu omugga, kubanga Akisoferi ateeseteese bw’ati ne bw’ati.” 22 Awo Dawudi n’abantu bonna abaali naye ne bagolokoka ne basomoka Yoludaani; we bwakeerera nga tewali n’omu atasomose Yoludaani.
23 (N)Akisoferi bwe yalaba nga amagezi ge tegagobereddwa, ne yeebagala endogoyi ye, n’agenda ewuwe mu kyalo kye waabwe. N’ateekateeka ennyumba ye, n’oluvannyuma ne yeetuga. N’aziikibwa mu ntaana ya kitaawe.
24 (O)Dawudi n’agenda e Makanayimu, ne Abusaalomu n’abasajja bonna aba Isirayiri ne basomoka Yoludaani. 25 (P)Abusaalomu n’alonda Amasa okuba omuduumizi w’eggye mu kifo kya Yowaabu. Amasa yali mutabani wa Isira Omuyisimayiri eyawasa Abbigayiri muwala wa Nakasi muganda wa Zeruyiya nnyina Yowaabu. 26 Abayisirayiri ne Abusaalomu ne basiisira mu nsi ya Gireyaadi.
27 (Q)Dawudi bwe yatuuka e Makanayimu, Sobi mutabani wa Nakasi ow’e Labba eky’Abamoni, ne Makiri[a] mutabani wa Ammiyeri ow’e Lodebali, ne Baluzirayi Omugireyaadi ow’e Logerimu, 28 ne bamuleetera ebyokwebikka, n’ebibya, n’entamu, n’eŋŋaano, ne sayiri, n’obutta, n’eŋŋaano ensiike, n’ebijanjaalo, n’empindi, ne mpokya omusiike, 29 (R)n’omubisi gw’enjuki, n’omuzigo, n’endiga, ne bbongo, ne babiwa Dawudi n’abantu be okulya. Ne boogera nti, “Abantu enjala ebaluma, era bakooye, n’ennyonta ebalumidde mu ddungu.”
Pawulo awolereza omulimu gwe
10 (A)Kaakano nze kennyini, Pawulo, mbeegayirira mu buwombeefu n’obukkakkamu bwa Kristo bwe mba nabwo nga neetoowazizza nga ndi nammwe, naye bwe mba nga siri nammwe ne mba muvumu gye muli; 2 (B)mbegayirira wadde ssiriiwo, bwe ndijja nneme kwogeza maanyi nga bwe nkola eri abantu abamu abatulowooleza okuba nga tugoberera bya mubiri. 3 Newaakubadde nga tutambulira mu mubiri, tetulwana ng’ab’omubiri, 4 (C)kubanga ebyokulwanyisa byaffe eby’olutalo, si bya mubiri wabula bya maanyi mu Katonda olw’okuwangula ebigo, n’olw’okuwangula endowooza, 5 (D)na buli kintu ekigulumivu ekyekuluntaza okusinga amagezi ga Katonda, era nga tujeemulula buli kirowoozo, kigondere Kristo, 6 (E)era nga tweteeseteese okuwalana eggwanga ku bujeemu bwonna, bwe munaagonderanga ddala.
7 (F)Mutunuulira ebintu nga bwe birabika kungulu. Omuntu yenna bw’alowooza munda mu ye okuba owa Kristo, ekyo akirowooza ku ye yekka, nti nga naffe tuli ba Kristo nga ye. 8 (G)Kubanga ne bwe ndisukkirira okwenyumiriza olw’obuyinza bwe tulina, Mukama bwe yatuwa olw’okubazimba so si lwa kubassa wansi, sirikwatibwa nsonyi, 9 nneme kufaanana ng’abatiisa mu bbaluwa zange. 10 (H)Kubanga agamba nti, “Ebbaluwa ze ddala nzito era z’amaanyi, naye okubaawo kwe mu mubiri kunafu, n’okwogera kwe kunyoomebwa.” 11 Alowooza bw’atyo ategeere nga bye twogerako mu bbaluwa nga tetuli nammwe, era bye tukola nga tuli nammwe.
12 (I)Ffe tetwaŋŋanga kwebalira wadde okwegeraageranya n’abamu ku abo abeetendereza, naye bo bwe beepimamu bokka na bokka, ne beegeraageranya bokka na bokka tebaba na kutegeera. 13 (J)Naye ffe tetujja kwenyumiriza kusukka ku kigera kyaffe, naye tujja kwenyumiriza ng’ekigera ekyo ekyatuweebwa Katonda bwe kiri, ne tusobola n’okubatuukako mmwe. 14 (K)Kubanga tetukununkiriza kusinga kigera kye tulina, kubanga nammwe twabatuusaako Enjiri ya Kristo, 15 (L)nga tetwenyumiriza kusinga omulimu abalala gwe baakola, naye nga tulina essuubi nti ng’okukkiriza kwammwe bwe kugenda kweyongera, n’omulimu gwaffe gugenda gweyongera, 16 (M)era nga tubuulira Enjiri ne mu bitundu ebibali ewala, naye so si mu kitundu eky’omulala omwakolebwa edda omulimu waleme okubaawo eyeenyumiriza. 17 (N)Naye eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu Mukama waffe; 18 (O)kubanga eyeetenda yekka, oyo si ye asiimibwa, wabula oyo Mukama gw’atenda.
Entamu Efumba
24 (A)Awo olwatuuka mu mwaka ogw’omwenda, mu mwezi ogw’ekkumi ku lunaku olw’ekkumi, ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 2 (B)“Omwana w’omuntu wandiika ennaku z’omwezi eza leero, kubanga kabaka w’e Babulooni azingizza Yerusaalemi olwa leero. 3 (C)Gerera ennyumba eyo enjeemu olugero obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“ ‘Muteeke entamu ku kyoto,
musseemu amazzi.
4 Mugiteekemu ebifi eby’ennyama,
ebifi byonna ebirungi, ekisambi n’omukono.
Mugijjuze n’amagumba agasinga obulungi,
5 (D)mulonde endiga esinga obulungi okuva mu kisibo,
Oteeke ebisiki wansi w’entamu,
mweseze ebigirimu,
era ofumbe n’amagumba agalimu.
6 (E)“ ‘Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“ ‘Zikusanze ggwe ekibuga ekiyiwa omusaayi,
ggwe entamu eriko enziro,
eteereddwamu ebintu ebitaaveemu.
Gyamu ekifi kimu kimu
awatali kukuba kalulu.
7 (F)“ ‘Omusaayi gwe yayiwa guli wakati mu ye,
yaguyiwa ku lwazi olwereere;
teyaguyiwa wansi
enfuufu ereme okugubikka.
8 Okusiikula ekiruyi kyange nsobole okuwalana eggwanga
n’ateeka omusaayi gwe ku lwazi olwereere,
guleme okubikkibwako.
9 “ ‘Mukama Katonda kyava ayogera nti,
“ ‘Zikusanze ggwe ekibuga ekiyiwa omusaayi!
Nange ndituuma enku nnyingi ddala.
10 Mutuume ebisiki,
mukume omuliro,
ennyama mugifumbe bulungi,
mugiteekemu ebirungo,
n’amagumba gasiriire.
11 (G)Oluvannyuma muddire entamu enkalu mugiteeke ku masiga,
okutuusa lw’eneeyokya ennyo n’ekikomo mwe yakolebwa ne kyengerera,
ebitali birongoofu ebigirimu ne bisaanuuka,
n’ebyateekebbwamu ne byokebwa.
12 Okufuba kwonna kubadde kwa bwereere,
kubanga ebyateekebbwamu ebingi tebiggiddwamu,
n’omuliro nagwo tegubyokeza.
13 (H)“ ‘Kaakano mu kwonoona kwo wagwenyuka, kubanga nagezaako okukutukuza ggwe, naye ne kitasoboka kukutukuza, era tolitukuzibwa okutuusa ekiruyi kyange bwe kirikkakkana.
14 (I)“ ‘Nze Mukama njogedde. Ekiseera kituuse okubaako ne kye nkola. Siritunula butunuzi so sirisaasira newaakubadde okwejjusa. Ndikusalira omusango nga nsinziira ku neeyisaayo ne ku bikolwa byo, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”
Mukazi wa Ezeekyeri Afa
15 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 16 (J)“Omwana w’omuntu, luliba lumu oliba oli awo ne nkuggyako ekyo amaaso go kye gasinga okwegomba, naye tokungubaganga newaakubadde okukuba ebiwoobe newaakubadde okukaaba. 17 (K)Osindanga mu kasirise naye tokungubagiranga mufu. Ekiremba ku mutwe gwo okinywezanga, era osigalanga oyambadde engatto zo; tobikkanga wansi w’amaaso go wadde okulya emmere ey’omulumbe.”
18 Awo ne njogera eri abantu ku makya, akawungeezi mukazi wange n’afa. Enkeera ne nkola nga bwe nalagiddwa.
19 (L)Abantu ne bambuuza nti, “Bino bitegeeza ki?”
20 Awo ne mbaddamu nti, “Ekigambo kya Mukama kyanzijira n’aŋŋamba nti, 21 (M)Tegeeza ennyumba ya Isirayiri nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, nnaatera okwonoona awatukuvu wange, ekigo kye mwegulumiririzangamu, amaaso gammwe kye geegombanga, n’emitima gyammwe kye gyayagalanga, ne batabani bammwe ne bawala bammwe abaasigala emabega, balifa n’ekitala. 22 (N)Mulikola nga nze bwe nkoze, so temulibikka wansi w’amaaso gammwe newaakubadde okulya emmere ey’omulumbe. 23 (O)Mulisigala nga mwesibye ebiremba ku mitwe gyammwe, era mulisigala nga mwambadde engatto zammwe. Temulikuba biwoobe newaakubadde okukaaba naye muliyongobera olw’ebibi byammwe, buli muntu n’asindira munne ennaku. 24 (P)Era Ezeekyeri aliba kabonero gye muli, era mulikola nga bw’akoze. Ebyo bwe biribaawo, mulimanya nga nze Mukama Katonda.’
25 (Q)“Ate ggwe, omwana w’omuntu, olunaku lwe ndibaggyako ekigo kyabwe, n’essanyu lyabwe n’ekitiibwa kyabwe, n’okwegomba okw’amaaso gaabwe, n’okwegomba okw’emitima gyabwe, ne batabani baabwe ne bawala baabwe, 26 (R)ku lunaku olwo aliba awonyeewo y’alikuwa amawulire. 27 (S)Mu kiseera ekyo olyasamya akamwa ko, era olyogera eri kaawonawo so toliddayo kusirika. Era oliba kabonero gye bali, bamanye nga nze Mukama.”
Zabbuli ya Sulemaani.
72 Ayi Katonda, kabaka omuwe okuba omwenkanya,
ne mutabani we omuwe obutuukirivu,
2 (A)alyoke alamulenga abantu bo mu butuukirivu,
n’abaavu abalamulenga mu mazima.
3 Ensozi zireeterenga abantu bo okukulaakulana
n’obusozi bubaleetere obutuukirivu.
4 (B)Anaalwaniriranga abaavu,
n’atereeza abaana b’abo abeetaaga,
n’omujoozi n’amusaanyaawo.
5 Abantu bakutyenga ng’enjuba n’omwezi gye bikoma
okwaka mu mirembe gyonna.
6 (C)Abeere ng’enkuba bw’etonnya ku muddo ogusaliddwa,
afaanane ng’oluwandaggirize olufukirira ensi.
7 (D)Obutuukirivu bweyongere nnyo mu mulembe gwe,
n’okufuga kwe kujjule emirembe okutuusa omwezi lwe gulikoma okwaka!
8 (E)Afugenga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja,[a]
n’okuva ku mugga Fulaati[b] okutuuka ku nkomerero z’ensi!
9 Ebika eby’omu malungu bimugonderenga,
n’abalabe be bamujeemulukukire beekulukuunye ne mu nfuufu.
10 (F)Bakabaka b’e Talusiisi[c] n’ab’oku bizinga eby’ewala
bamuwenga omusolo;
bakabaka b’e Syeba n’ab’e Seeba[d]
bamutonerenga ebirabo.
11 Bakabaka bonna banaavuunamanga mu maaso ge;
amawanga gonna ganaamuweerezanga.
12 Kubanga anaawonyanga eyeetaaga bw’anaamukoowoolanga,
n’omwavu ne kateeyamba ataliiko mwasirizi.
13 Anaasaasiranga omunafu n’omwavu;
n’awonya obulamu bwa kateeyamba.
14 (G)Anaabanunulanga mu mikono gy’omujoozi n’abawonya obukambwe bwe;
kubanga obulamu bwabwe bwa muwendo mungi gy’ali.
15 (H)Awangaale!
Aleeterwe zaabu okuva e Syeba.
Abantu bamwegayiririrenga
era bamusabirenga emikisa buli lunaku.
16 (I)Eŋŋaano ebale nnyingi nnyo mu nsi,
ebikke n’entikko z’ensozi.
Ebibala byayo byale ng’eby’e Lebanooni;
n’abantu baale mu bibuga ng’omuddo ogw’oku ttale.
17 (J)Erinnya lye libeerengawo ennaku zonna,
n’okwatiikirira kwe kube kwa nkalakkalira ng’enjuba.
Amawanga gonna ganaaweebwanga omukisa ku lu lw’erinnya lye,
era abantu bonna bamuyitenga aweereddwa omukisa.
18 (K)Mukama Katonda agulumizibwe, Katonda wa Isirayiri,
oyo yekka akola ebyewuunyisa.
19 (L)Erinnya lye ekkulu ligulumizibwenga emirembe n’emirembe!
Ensi yonna ejjule ekitiibwa kye.
Amiina era Amiina!
20 Okusaba kwa Dawudi mutabani wa Yese kukomye awo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.