M’Cheyne Bible Reading Plan
Samwiri Afuka ku Sawulo Amafuta
9 (A)Waaliwo omusajja Omubenyamini eyali omututumufu erinnya lye Kiisi, mutabani wa Abiyeeri, mutabani wa Zeroli, mutabani wa Bekolaasi, mutabani wa Afiya, Omubenyamini. 2 (B)Yalina mutabani we erinnya lye Sawulo, nga mulenzi alabika bulungi, era nga tewali amwenkana obulungi mu bantu ba Isirayiri, nga muwanvu okusinga abantu bonna.
3 Endogoyi za Kiisi, kitaawe wa Sawulo zaali zibuze. Kiisi n’agamba mutabani we Sawulo nti, “Twala omu ku baweereza, mugende munoonye endogoyi.” 4 (C)Ne bayitira mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu ne mu nsi ya Salisa, naye ne bataziraba. Ne bayita ne mu nsi ya Saalimu naye ne bataziraba. Ne bayita ne mu nsi ye Benyamini, naye ne zibabula.
5 (D)Awo bwe baatuuka mu nsi ya Zufu, Sawulo n’agamba omuweereza eyali naye nti, “Jjangu tuddeyo, sikuba nga kitange ava ku b’endogoyi, n’atandika okweraliikirira ffe.” 6 (E)Naye omuweereza n’amuddamu nti, “Laba, mu kibuga muno mulimu omusajja wa Katonda, era assibwamu nnyo ekitiibwa, na buli ky’ayogera kituukirira. Tugendeyo, oboolyawo anaayinza okututegeeza ekkubo lye tuba tukwata.” 7 (F)Sawulo n’agamba omuweereza we nti, “Naye bwe tugendayo, omusajja tunaamutwalira ki? Emmere eweddemu mu nsawo zaffe, ate tewali na kirabo kya kutwalira musajja wa Katonda. Tulinawo ki?”
8 Omuweereza n’addamu Sawulo nti, “Laba, wano nninawo gulaamu ssatu eza ffeeza, era ze nzija okuwa omusajja wa Katonda atutegeeze ekkubo lye tuba tukwata.” 9 (G)(Edda mu Isirayiri, omuntu bwe yagendanga okwebuuza ku Katonda, yayogeranga nti, “Jjangu tugende ew’omulabi;” kubanga ayitibwa nnabbi mu nnaku zino, edda ye yayitibwanga omulabi).
10 Sawulo n’amuddamu nti, “Oteesezza bulungi, jjangu tugende.” Ne basitula okugenda mu kibuga omusajja wa Katonda gye yali. 11 (H)Awo bwe baali nga balinnyalinnya akasozi okugenda mu kibuga ne basisinkana abawala abaali bagenda okusena amazzi, ne bababuuza nti, “Omulabi gy’ali?” 12 (I)Ne babaddamu nti, “Gy’ali. Ali mu maaso awo. Mwanguweeko, yaakatuuka kati mu kibuga, kubanga leero abantu balina ssaddaaka ey’okuweerayo mu kifo ekigulumivu. 13 Bwe munaaba nga mwakayingira mu kibuga, mujja kumusisinkana nga tannayambuka kuliira[a] mu kifo ekigulumivu. Abantu tebajja kulya nga tannatuuka, kubanga alina okusabira ssaddaaka omukisa n’oluvannyuma abayitiddwa balyoke balye. Kaakano mwanguwe mugende, mujja kumusisinkana.”
14 Awo ne bayambuka okugenda mu kibuga. Bwe baali bakiyingira ne balaba Samwiri ng’ajja gye bali, ng’ayolekedde ekifo ekigulumivu. 15 Kyokka bwe waali wakyabulayo olunaku lumu Sawulo ajje, Mukama yali abikkulidde Samwiri ekigambo ng’agamba nti, 16 (J)“Enkya ku ssaawa nga zino nzija kukusindikira omusajja okuva mu nsi ya Benyamini. Mufukeeko amafuta okuba omukulembeze w’abantu bange, Isirayiri; oyo y’alirokola abantu bange okuva mu mukono gw’Abafirisuuti. Ntunuulidde abantu bange; okukaaba kwabwe kutuuse gye ndi.”
17 (K)Awo Samwiri olwalengera Sawulo, Mukama n’amugamba nti, “Omusajja gwe nakutegeezezzaako wuuyo. Oyo y’ajja okufuga abantu bange.” 18 Sawulo n’asemberera Samwiri mu mulyango, n’amubuuza nti, “Ssebo oyinza okundagirira ennyumba y’omulabi w’eri?” 19 Samwiri n’amuddamu nti, “Nze mulabi, nkulemberaamu nga twambuka mu kifo ekigulumivu, kubanga leero onooliira wamu nange, enkya ku makya nzija kukuleka ogende era nzija kukubuulira ebyo byonna ebiri ku mutima gwo. 20 (L)Naye ebifa ku ndogoyi zo ezimaze ennaku essatu nga zibuze, tobyeraliikirira, kubanga zaazuuliddwa. Okwegomba kwa Isirayiri yonna kunaaba kw’ani, bwe kutaabe ku ggwe n’ennyumba ya kitaawo yonna?” 21 (M)Sawulo n’addamu nti, “Nze ndi Mubenyamini, era nva mu kika ekisingirayo ddala obutono, ate nga n’ennyumba yaffe y’esingira ddala okuba eya wansi mu nnyumba zonna ez’ekika kya Benyamini. Lwaki oyogera nange ebigambo ebifaanana ng’ebyo?” 22 Awo Samwiri n’atwala Sawulo n’omuweereza we mu kisenge ekinene, n’abatuuza mu bifo eby’oku mwanjo mu maaso g’abo bonna abaayitibwa abaali bawera ng’amakumi asatu.
23 Samwiri n’agamba omufumbi nti, “Leeta ekifi ky’ennyama, kye nakuteresezza, kye nakugambye oteeke wabbali.”
24 (N)Awo omufumbi n’addira ekisambi, n’ebyakiriko n’akiteeka mu maaso ga Sawulo. Samwiri n’ayogera nti, “Laba kino kye kyakuterekeddwa. Kirye kubanga kyakuterekeddwa okutuusa ekiseera kino olw’omukolo guno, okuva ku kiseera kiri, bwe nagamba nti, ‘Nnina abagenyi abayite.’ ” Awo Sawulo n’aliira wamu ne Samwiri ku lunaku olwo. 25 (O)Bwe baava mu kifo ekigulumivu ne baserengeta mu kibuga, Samwiri n’atwala Sawulo waggulu ku nnyumba ye ne banyumyamu. 26 Awo enkeera Samwiri n’agolokoka mu makya n’akoowoola Sawulo nti, “Golokoka nkusibule odde ku lugendo lwo.” Sawulo ne yeteekateeka, ye ne Samwiri ne baserengeta okugenda mu kibuga. 27 Bwe baali baserengeta nga banaatera okutuuka ekibuga we kikoma, Samwiri n’agamba Sawulo nti, “Gamba omuweereza wo ayitewo, atukulemberemu, gwe osigaleko wano, nkutegeeze obubaka obuva eri Katonda.”
Ekyokulabirako ekiva mu Bufumbo
7 (A)Temumanyi abooluganda, kubanga njogera eri abamanyi amateeka, ng’amateeka gafuga oyo yekka akyali omulamu? 2 (B)Ka mbawe ekyokulabirako: mu mateeka omukazi omufumbo, asigala nga wa bba, bba bw’aba ng’akyali mulamu. Naye bba bw’afa, omukazi oyo ng’asumuluddwa mu tteeka eribagatta. 3 Noolwekyo omukazi oyo bwe yeegatta n’omusajja omulala, bba ng’akyali mulamu, omukazi oyo anaayitibwanga mwenzi. Naye bba bw’afanga, olwo omukazi omufumbo anaabanga asumuluddwa mu tteeka, era taabenga mwenzi bw’anaafumbirwanga omusajja omulala.
4 (C)Nammwe baganda bange mwafa eri amateeka, muli ba mubiri gwa Kristo. Mwegatta ku Kristo eyazuukizibwa okuva mu bafu, tulyoke tubale ebibala ebisanyusa Katonda. 5 (D)Kubanga bwe twali tukyafugibwa omubiri, okwegomba kw’ebibi kwakoleranga mu bitundu byaffe eby’omubiri olw’amateeka, era enkomerero kwali kufa. 6 (E)Naye kaakano tetukyafugibwa mateeka. Tuli bafu eri ebyo ebyali bitusibye, era tebitulinaako buyinza. Noolwekyo tuyinza okuweereza Katonda mu ngeri empya eya Mwoyo Mutukuvu, so si mu nkola enkadde ey’amateeka.
Okulwanagana n’Ekibi
7 (F)Kale tunaayogera ki? Amateeka kye kibi? Kikafuuwe. Singa tewaali mateeka, sanditegedde kibi. N’okwegomba kw’omubiri sandikutegeeredde ddala singa amateeka tegaagamba nti, “Teweegombanga.” 8 (G)Ekibi kyeyambisa etteeka lino, ne kindeetera okwegomba okwa buli ngeri. Noolwekyo awatali mateeka, ekibi kiba kifu. 9 Edda nali mulamu awatali mateeka, naye etteeka bwe lyajja, ekibi ne kiramuka, n’okufa ne nfa. 10 (H)Era ne nkizuula ng’etteeka eryali liteekwa okumpa obulamu, lye lyandetera okufa. 11 (I)Ekibi kyeyambisa ekiragiro ekyo ne kinnimba, era ne kinzita. 12 (J)Noolwekyo amateeka matukuvu, era n’ekiragiro kitukuvu, kiruŋŋamya era kirungi.
13 Kale ekirungi gye ndi, ate kye kyafuuka okufa? Nedda. Ekibi kye kyakozesa ekiragiro ekirungi kiryoke kinzite. Noolwekyo tulaba ekibi bwe kiri, ekibi ddala.
14 (K)Tumanyi ng’amateeka mwoyo, naye nze omuntu obuntu, natundibwa ng’omuddu nfugibwe ekibi. 15 (L)Kubanga kye nkola sikimanyi. Kye njagala si kye nkola, naye kye nkyawa kye nkola. 16 (M)Newaakubadde nga nkola kye mmanyi nga kikyamu, nzikiriza ng’amateeka malungi. 17 (N)Noolwekyo si nze nkola ebintu ebyo ebibi, wabula ekibi ekiri mu nze. 18 (O)Mmanyi nga mu nze, temuli kalungi n’akamu. Ne bwe njagala okukola ekirungi, tewali kirungi kye nkola. 19 (P)Ekirungi kye njagala okukola si kye nkola, naye ekibi kye saagala kye nkola. 20 (Q)Naye obanga kye saagala kye nkola, si nze mba nkikola, wabula ekibi ekibeera mu nze.
21 (R)Noolwekyo nzudde mu mateeka nga bwe njagala okukola ebirungi, ekibi kimbeera kumpi. 22 (S)Mu nze mu muntu ow’omunda njagala nnyo okugondera amateeka ga Katonda. 23 (T)Naye mu mubiri gwange gwonna, ndaba amateeka ag’enjawulo nga gawakana n’etteeka lya Katonda amagezi gange ge limanyi. Ekyo kinfuula omusibe w’amateeka ag’ekibi, ekikolera mu mubiri gwange. 24 (U)Nga ndi muntu munaku! Ani alindokola mu mubiri guno ogugenda okufa? 25 Kyokka Katonda yeebazibwe mu Yesu Kristo Mukama waffe.
Nze kennyini mu birowoozo byange, ndi muddu w’amateeka ga Katonda era gwe mpeereza, newaakubadde ng’okwegomba kwange okw’omubiri, mpeereza etteeka ly’ekibi.
Obubaka Obukwata ku Misiri
46 (A)Kino kye kigambo kya Mukama Katonda ekyajjira nnabbi Yeremiya ekikwata ku mawanga:
2 (B)Ebikwata ku Misiri:
Buno bwe bubaka obukwata ku ggye lya Falaawo Neko kabaka w’e Misiri, eryawangulwa e Kalukemisi, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni lye yakuba mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda ku Mugga Fulaati.
3 (C)“Mutegeke engabo zammwe,
ennene n’entono mukumbe okugenda mu lutalo!
4 (D)Mutegeke embalaasi
muzeebagale!
Muyimirire mu bifo byammwe
n’esseppeewo zammwe!
Muzigule amafumu,
mwambale ebizibaawo eby’ebyuma!
5 (E)Kiki kye ndaba?
Batidde,
badda ennyuma,
abalwanyi baabwe bawanguddwa.
Badduka mu bwangu
awatali kutunula mabega,
era waliwo okufa ku buli luuyi,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
6 (F)“Abawenyusi b’embiro tebasobola kuwona
n’ab’amaanyi tebasobola kwewonya.
Beesittala
ne bagwa mu bukiikakkono obw’Omugga Fulaati.
7 (G)“Ani oyo ayimuka ng’omugga Kiyira,
ng’emigga egy’amazzi agabimba?
8 Misiri eyimuka nga Kiyira,
ng’emigga egy’amazzi agabimba.
Agamba nti, ‘Ndisituka ne mbuutikira ensi yonna.
Ndizikiriza ebibuga n’abantu baabyo.’
9 (H)Mulumbe, mmwe embalaasi!
Muzidduse n’amaanyi, mmwe abalwanyi b’oku mbalaasi!
Mukumbe mmwe abalwanyi,
abasajja b’e Kuusi ne Puuti[a] abeettika engabo,
abasajja b’e Luudi abakozesa obusaale.
10 (I)Naye olunaku olwo lwa Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye,
olunaku olw’okuwalanirako eggwanga, olw’okusalira abalabe omusango.
Ekitala kijja kulya nga kimaliddwa,
okutuusa nga kyemazeeko ennyonta y’omusaayi.
Kubanga Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye,
alibawaayo babeere ng’ekiweebwayo mu nsi ey’obukiikakkono ku Mugga Fulaati.
11 (J)“Genda e Gireyaadi ofune eddagala ery’okusaaba,
ggwe Omuwala Embeerera owa Misiri.
Naye mwongerera bwereere obujjanjabi;
temujja kuwonyezebwa.
12 (K)Amawanga gajja kuwulira obuswavu bwammwe;
emiranga gyammwe gijja kujjuza ensi.
Omulwanyi omu alitomera omulala
bombi ne bagwa.”
13 (L)Buno bwe bubaka Mukama Katonda bwe yayogera eri nnabbi Yeremiya ku bikwata ku kujja kwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni okulumba Misiri:
14 (M)“Langirira kino mu Misiri, era okyogere e Migudooli;
kirangirire e Tapaneese ne Noofu nti,
‘Muyimirire mu bifo byammwe mwetegeke
kubanga ekitala kirya abo ababeetoolodde.’
15 (N)Lwaki abalwanyi bo bagudde wansi?
Tebasobola kuyimirira, kubanga Mukama Katonda ajja kubasindika wansi.
16 (O)Balyesittala emirundi egiwera;
baligwiragana.
Bagambe nti, ‘Yimuka, tuddeyo
eri abantu baffe era n’ensi zaffe,
tuve awali ekitala ky’oyo atunyigiriza.’
17 (P)Eyo gye baliwowogganira nti,
‘Falaawo kabaka w’e Misiri mulekaanyi bulekaanyi
afiiriddwa omukisa gwe.’
18 (Q)“Nga bwe ndi omulamu,” bw’ayogera oyo Kabaka
ayitibwa Mukama Katonda ow’Eggye,
“Waliwo alijja ali nga Taboli wakati mu nsozi,
nga Kulumeeri ku nnyanja.
19 (R)Musibe engugu zammwe muwaŋŋanguke,
mmwe abali mu Misiri
kubanga Noofu kirifuuka matongo,
ekiryaawo omutali bantu.
20 (S)“Misiri nte nduusi nnungi nnyo,
naye kawawa avudde mu bukiikakkono azze okumulumba.
21 (T)N’abajaasi be abapangise
bagezze ng’ennyana.
Nabo bajja kukyuka badduke,
tebaasobole kuyimirirawo,
kubanga olunaku olw’ekikangabwa lubajjira,
ekiseera kyabwe eky’okubonerezebwa kisembedde.
22 Misiri alikaaba ng’omusota ogudduka,
omulabe alimulumba mu maanyi,
amujjire n’embazzi,
ng’abatemi b’emiti.
23 (U)Balitema ekibira kye,” bw’ayogera Mukama Katonda,
“newaakubadde nga kikutte nnyo.
Bangi n’okusinga enzige,
tebasobola kubalika.
24 (V)Muwala wa Misiri aliswazibwa,
aweebweyo mu mukono gw’abo abava mu bukiikakkono.”
25 (W)Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, agamba nti, “Nnaatera okuleeta ekibonerezo ku Amoni katonda w’e Tebeesi, ne ku Falaawo, ne ku Misiri, ne ku bakatonda be, ne ku bakabaka be, ne ku abo abeesiga Falaawo. 26 (X)Ndibawaayo eri abo abaagala okubatta, eri Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’abakungu be. Wabula oluvannyuma, Misiri eribeeramu abantu nga bwe yali edda,” bw’ayogera Mukama Katonda.
27 (Y)“Totya, ggwe Yakobo omuweereza wange;
toggwaamu maanyi, ggwe Isirayiri.
Ddala ddala ndikununula okuva mu kifo eky’ewala,
n’ezzadde lyo ndinunule okuva mu nsi ey’obuwaŋŋanguse bwalyo.
Yakobo aliddamu okufuna emirembe n’atebenkera,
era tewali alimutiisa.
28 (Z)Totya, ggwe Yakobo omuddu wange,
kubanga ndi naawe,” bw’ayogera Mukama.
“Wadde nga nazikiririza ddala amawanga gonna
gye nabasaasaanyiza,
naye mmwe siribazikiririza ddala.
Ndibabonereza naye mu bwenkanya;
siribaleka nga temubonerezebbwa.”
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
22 (A)Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?
Lwaki ogaana okunnyamba
wadde okuwuliriza okwaziirana kwange?
2 (B)Ayi Katonda wange, emisana nkukoowoola, naye tonnyanukula;
n’ekiro bwe ntyo, naye siweerako.
3 (C)Songa ggwe Mutukuvu atudde ku Ntebe,
era ettendo lya Isirayiri yonna.
4 Bajjajjaffe baakwesiganga;
baakwesiga naawe n’obawonya.
5 (D)Baakukoowoolanga n’obalokola;
era baakwesiganga ne batajulirira.
6 (E)Naye nze ndi lusiriŋŋanyi, siri muntu;
abantu bampisaamu amaaso, n’abalala bannyooma.
7 (F)Bonna abandaba banduulira,
era banvuma nga bwe banyeenyeza omutwe nga bagamba nti,
8 (G)“Yeesiga Mukama;
kale amuwonye.
Obanga Mukama amwagala,
kale nno amulokole!”
9 (H)Naye ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange,
era wampa okukwesiga
ne mu buto bwange bwonna nga nkyayonka.
10 (I)Olwazaalibwa ne nteekebwa mu mikono gyo;
olwava mu lubuto lwa mmange n’obeera Katonda wange.
11 (J)Tobeera wala nange,
kubanga emitawaana ginsemberedde,
ate nga tewali mulala n’omu asobola kunnyamba.
12 (K)Zisseddume nnyingi zinneetoolodde,
zisseddume enkambwe ez’e Basani[a] zinzingizizza.
13 (L)Banjasamiza akamwa kaabwe
ng’empologoma bw’ewuluguma ng’etaagulataagula omuyiggo gwayo.
14 (M)Ngiyiddwa ng’amazzi,
n’amagumba gange gasowose mu nnyingo zaago.
Omutima gwange guli ng’obubaane,
era gusaanuukidde mu mubiri gwange.
15 (N)Amaanyi gampweddemu, gakaze ng’oluggyo;
n’olulimi lwange lukutte waggulu mu kibuno kyange.
Ondese awo mu nfuufu ng’omufu.
16 (O)Abantu ababi banneetoolodde;
banneebunguludde ng’embwa ennyingi;
banfumise ne bawummula ebibatu byange n’ebigere byange.
17 (P)Amagumba gansowose nnyinza n’okugabala.
Abalabe bange bantunuulira nga bannyoomoola.
18 (Q)Bagabana engoye zange;
era ekyambalo kyange bakikubira akalulu.
19 (R)Naye ggwe, Ayi Mukama, tobeera wala nange.
Ggwe, Amaanyi gange, yanguwa okunnyamba!
20 (S)Omponye okuttibwa n’ekitala;
obulamu bwange obw’omuwendo butaase mu maanyi g’embwa!
21 Nzigya mu kamwa k’empologoma,
omponye amayembe g’embogo enkambwe.
22 (T)Nnaategezanga ku linnya lyo mu booluganda;
nnaakutenderezanga mu kibiina ky’abantu.
23 (U)Mmwe abatya Mukama, mumutenderezenga.
Abaana ba Yakobo mwenna mumugulumizenga;
era mumussengamu ekitiibwa nga mumutya, mmwe abaana ba Isirayiri mwenna.
24 (V)Kubanga tanyooma kwaziirana
kw’abo abali mu nnaku,
era tabeekweka,
wabula abaanukula bwe bamukoowoola.
25 (W)Mu ggwe mwe muva ettendo lyange mu kibiina ekinene, ne nkutendereza olw’ebyo by’onkoledde.
Obweyamo bwange nnaabutuukirizanga mu maaso gaabo abakutya.
26 (X)Abaavu banaalyanga ne bakkuta,
abo abanoonya Mukama banaamutenderezanga.
Emitima gyabwe ginaajaguzanga emirembe gyonna.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.