M’Cheyne Bible Reading Plan
Luusi mu Gguuliro lya Bowaazi
3 (A)Awo Nawomi nnyazaala wa Luusi n’amugamba nti, “Lwaki sikunoonyeza maka ag’okubeeramu, bakulabiririre eyo? 2 (B)Ewa Bowaazi gy’obadde n’abaweereza be abawala, ye muganda waffe. Kale, ekiro kya leero ajja kuba ng’awewa sayiri mu gguuliro. 3 (C)Kale naaba osaabe obuwoowo, era oyambale engoye zo ezisinga obulungi. Oluvannyuma oserengete mu gguuliro[a]; naye tomuganya kumanya nti wooli, okutuusa ng’amaze okulya n’okunywa. 4 Oluvannyuma ng’agalamiddeko wansi, weetegereze ekifo w’agalamidde, ogende obikkule ku bigere bye emirannamiro, naawe ogalamire awo; anaakubuulira eky’okukola.”
5 (D)Awo Luusi n’amugamba nti, “Nzija kukola nga bw’ondagidde.” 6 N’aserengeta mu gguuliro, n’akola byonna nga nnyazaala we bwe yamulagira.
7 (E)Awo Bowaazi bwe yamala okulya n’okunywa, era nga musanyufu, n’agenda n’agalamira ku mabbali g’entuumo ye ŋŋaano. Luusi naye n’asooba mpola mpola, n’abikkula ku bigere bye, n’agalamira awo kumpi naye. 8 Ekiro mu ttumbi, Bowaazi ne yeekanga, bwe yeekyusa n’alaba omukazi agalamidde kumpi n’ebigere bye.
9 (F)N’amubuuza nti, “Ggwe ani?” Luusi n’addamu nti, “Nze Luusi omuweereza wo. Mbikkaako ku lugoye lwo kubanga oli mununuzi wa kika[b].” 10 Bowaazi n’amuddamu nti, “Mukama Katonda akuwe omukisa muwala ggwe, olw’ekisa ekinene kyondaze okusinga eky’olubereberye, kubanga togenze wa bavubuka, abagagga oba abaavu. 11 (G)Kaakano, muwala ggwe, totya. Nzija kukukolera buli kintu kyonna ky’onoosaba. Abantu bange bonna ab’omu kibuga, bamanyi ng’oli mukazi mwegendereza. 12 (H)Kya mazima ddala ndi mununuzi wo, naye waliwo ansingako. 13 (I)Beera wano okutuusa obudde lwe bunaakya. Kale bw’anaayagala okukutwala, kinaaba kirungi; naye bw’anaaba nga tasiimye, Mukama Katonda nga bw’ali omulamu, nnaakutwala.”
14 (J)N’agalamira kumpi n’ebigere bye okutuusa enkeera, naye n’agolokoka nga tebunnalaba addeyo eka. Naye Bowaazi n’amukuutira nti, “Kireme okumanyibwa nti omukazi yazzeeko mu gguuliro.” 15 Era n’amugamba aleete omunagiro gw’ayambadde; n’agukwata, n’amugerera ebigero mukaaga ebya sayiri, n’abimutikka, oluvannyuma Luusi n’addayo mu kibuga.
16 Bwe yatuuka eri nnyazaala we, Nawomi n’amubuuza nti, “Byagenze bitya muwala wange?” N’amubuulira ebintu byonna Bowaazi bye yamukoledde, 17 era n’ayongerako nti, “Yampadde ebigero bino omukaaga ebya sayiri, n’aŋŋamba nti, ‘Toddayo wa nnyazaala wo ngalo nsa.’ ”
18 (K)Nawomi n’amugamba nti, “Gumiikiriza, muwala wange, olabe ebigambo gye binakkira, kubanga leero omusajja oyo tajja kuwummula okutuusa ensonga eyo lw’anagimala.”
Bowaazi ne Luusi Bafumbiriganwa
4 (L)Awo Bowaazi n’ayambuka ku wankaaki w’ekibuga n’atuula awo. Mu kiseera kye kimu, muganda we oli gwe yayogerako ngali ne Luusi, yali ayitawo. Bowaazi n’amuyita namugamba nti, “Jjangu otuuleko wano munnange.” Naye n’akkiriza, n’agenda n’atuula we yali. 2 (M)Bowaazi n’ayita n’abasajja kkumi ku bakadde b’ekibuga ne bajja ne batuula awo. 3 N’alyoka agamba muganda we nti, “Nawomi, eyakomyewo okuva mu Mowaabu, atunda ekibanja ekyali ekya muganda waffe omugenzi Erimereki. 4 (N)Ndowoozezza nti nkutegeeze ku nsonga eyo, ekibanja ekyo okigulire mu maaso g’abakadde baffe. Bw’oba ng’oyagala okukinunula kinunule. Naye bw’oba nga toyagala, ntegeeza nkimanye. Tewali mulala alina buyinza kukinunula wabula ggwe, ate nga nze nkuddirira mu lunyiriri lwaffe.”
Omusajja n’addamu nti, “Nzija kukinunula.”
5 (O)Awo Bowaazi n’amugamba nti, “Olunaku lw’oligula ekibanja ekyo ku Nawomi, ne Luusi Omumowaabu, nnamwandu naye olimutwala, erinnya lye yafa n’olikuuma n’ebintu bye n’obirabirira.”
6 (P)Amangwago, omusajja n’addamu nti, “Nze sisobola kukinunula kubanga nnyinza okwonoona obusika bwange. Noolwekyo gwe kinunule.”
7 (Q)(Edda mu Isirayiri, empisa ey’okununula n’okuwaanyisa, yali nga bw’eti: omuntu omu yaggyangamu engatto[c] ye, n’agiwa munne. Eno ye yali ng’enkola entuufu mu Isirayiri).
8 Awo omusajja n’agamba nti, “Kyegulire.” Amangwago Bowaazi n’aggyamu engatto ye. 9 Bowaazi n’alangirira eri abakadde n’abantu bonna nti, “Olwa leero, nguze ku Nawomi ebintu byonna ebya Erimereki, n’ebya Kiriyoni n’ebya Maloni, era mmwe muli bajulirwa. 10 (R)Era ne Luusi Omumowaabu, nnamwandu wa Maloni, naye mututte okuba mukazi wange, okusobola okukuuma erinnya ly’omugenzi Erimereki n’ebintu bye, erinnya lye lireme okufiira awo ate n’okugibwa ne ligibwa mu bitabo bye byafaayo eby’ekibuga. Mmwe bajulirwa!”
11 (S)Awo abakadde n’abantu bonna abaali ku wankaaki ne boogera nti, “Tuli bajulirwa. Mukama Katonda amufaananye nga Laakeeri ne Leeya[d], abaazimbira awamu ennyumba ya Isirayiri. Naawe Bowaazi oyale mu Efulasi, era oyatiikirire mu Besirekemu, 12 (T)era n’ezzadde Mukama Katonda ly’anaakuwa mu mukazi oyo, libeere ng’ennyumba ya Pereezi[e], Tamali gwe yazaalira Yuda.”
13 (U)Awo Bowaazi n’awasa Luusi okuba mukazi we, n’ayingira gy’ali, n’aba olubuto, Mukama Katonda n’amusobozesa okuzaala omwana owoobulenzi. 14 (V)Abakyala ne bagamba Nawomi nti, “Mukama Katonda yeebazibwe, oyo atakulese nga tolina mununuzi olunaku lwa leero. Era erinnya ly’omwana lyatiikirire mu Isirayiri yonna! 15 (W)Kubanga muka mwana wo akwagala, alizza obuggya obulamu bwo n’akuwanirira mu bukadde bwo; era akusingira abaana omusanvu, be yandizadde.”
16 Awo Nawomi n’atwala omwana, n’amuwambaatira mu kifuba kye, n’amulabirira. 17 (X)Abakyala ab’oku muliraano ne bagamba nti, “Ewa Nawomi ezaaliddwayo omwana.” Ne bamutuuma erinnya Obedi, oyo ye kitaawe wa Yese, era jjajja wa Dawudi.
18 (Y)Luno lwe lunyiriri lwa Pereezi:
Pereezi yali kitaawe wa Kezulooni,
19 (Z)Kezulooni yali kitaawe wa Laamu,
Laamu n’aba kitaawe wa Amminadaabu.
20 Amminadaabu yali kitaawe wa Nakusoni,
Nakusoni nga ye kitaawe wa Salumooni;
21 (AA)Salumooni yali kitaawe wa Bowaazi,
Bowaazi n’aba kitaawe wa Obedi;
22 Obedi yali kitaawe wa Yese,
Yese n’aba kitaawe wa Dawudi.
Pawulo mu Merita
28 (A)Awo bwe twamala okutuuka obulungi ku lukalu ne tulyoka tutegeera nti tuli ku kizinga Merita. 2 Bannansi b’oku kizinga baatulaga ekisa kingi ekitali kya bulijjo, ne bakuma omuliro ne twota, kubanga obudde bwali bwa butiti nga n’enkuba etandise okutonnya. 3 Pawulo yali akuŋŋaanyizza akaganda k’obuku, naye yali akassa ku muliro, omusota ogw’obutwa ennyo ne guva mu buku obwo ne gweripa ku mukono gwe. 4 (B)Bwe baalaba ekintu ekireebeeta ku mukono gwa Pawulo ne bagambagana nti, “Ddala oyo mutemu. Newaakubadde ng’ennyanja yagiwonye, naye era omusango gukyamulondoola teguumuganye kulama!” 5 (C)Naye Pawulo omusota n’agukunkumulira mu muliro n’atabaako kabi konna. 6 (D)Abantu ne balindirira balabe bw’atandika okuzimba oba okugwa eri afiirewo, naye bwe baalindiririra ebbanga eddene nga tebamulabako kamogo, ne baddamu okwerowooza, ne bagamba nti, “Oyo katonda!”
7 Waaliwo ennimiro okuliraana n’olubalama lw’ennyanja we twali, nga ya Pabuliyo eyali omukulu w’ekizinga ekyo. Awo n’atwaniriza mu maka ge n’atusembeza n’atulabirira okumala ennaku ssatu. 8 (E)Mu kiseera ekyo kitaawe yali mulwadde omusujja ng’alimu ekiddukano ky’omusaayi. Pawulo n’agenda gy’ali n’amusabira, n’amussaako emikono n’amuwonya! 9 Ekyo bwe kyabaawo, n’abalwadde abalala bonna ku kizinga abaalina endwadde ne bajja gy’ali ne bawonyezebwa. 10 Ne batuwa ebirabo bingi, era ekiseera kyaffe eky’okusaabala ku nnyanja bwe kyatuuka, ne batuleetera ebintu bingi ku kyombo bye twali twetaaga okukozesa mu lugendo lwaffe.
Pawulo Atuuka mu Ruumi
11 (F)Oluvannyuma lw’emyezi esatu ne tulyoka tusitula. Twagendera mu kyombo eky’e Alegezanderiya ekiyitibwa Abooluganda Abalongo. Kyali kyewogomye awo ku kizinga okumala obudde bwonna olw’obutiti. 12 Ne tusooka okugoba mu Sirakusi, ne tumalawo ennaku ssatu. 13 Bwe twava awo ne twetooloola ne tutuuka e Regio. Oluvannyuma lw’olunaku lumu ne tujjirwa empewo eva obukiikaddyo bwa bugwanjuba, olunaku olwaddirira ne tutuuka e Putiyooli. 14 (G)Wano twasangawo abooluganda, ne batusaba tubeere nabo ennaku musanvu. Bwe twava awo ne tutuuka e Ruumi. 15 (H)Abooluganda abaali eyo bwe baawulira ebyatutuukako, ne bajja okutusisinkana mu Katale ka Apiya ne ku Bisulo Ebisatu. Pawulo bwe yabalaba ne yeebaza Katonda era n’aguma omwoyo.
Pawulo Abuulira mu Ruumi nga bw’akuumibwa
16 (I)Bwe twatuuka mu Ruumi Pawulo n’akkirizibwa okubeera yekka, kyokka ng’abeera n’omuserikale amukuuma. 17 (J)Awo nga wayiseewo ennaku ssatu, Pawulo n’ayita abakulembeze b’Abayudaaya. Bwe baakuŋŋaana n’ayogera nabo nti, “Abasajja baganda bange, Abayudaaya bankwatira bwereere mu Yerusaalemi, ne bampaayo mu Baruumi, so nga sirina ky’ensobezza ku bantu, wadde ku mpisa z’abajjajjaffe wadde obulombolombo. 18 (K)Abaruumi ne bampozesa, era ne baagala okunta, kubanga tebaalabawo musango gwe nzizizza gunsaanyiza kufa. 19 (L)Naye Abayudaaya bwe baagaana okukkiriza ensala eyo, ne mpalirizibwa okujulira ewa Kayisaali, newaakubadde nga saaliko kye mpawaabira bantu ba ggwanga lyange. 20 (M)Noolwekyo mbayise wano tumanyagane era twogeraganye. Olw’essuubi lya Isirayiri, kyenvudde nsibibwa n’olujegere luno.”
21 (N)Ne bamuddamu nti, “Tetufunanga ku bbaluwa ziva mu Buyudaaya nga zikwogerako, wadde baganda baffe okubaako bye batutegeeza ku ggwe nga bibi. 22 (O)Kyokka twagala okuwulira ebirowoozo byo ku kibiina ekyo, kubanga tumanyi nti buli wamu teriiyo gw’owulira ng’akyogerako bulungi.”
23 (P)Awo ne bategeka olunaku, era ku olwo abantu ne bajja bangi, mu kifo we yasulanga. N’abannyonnyola ng’ajulira obwakabaka bwa Katonda, n’abategeeza ku Yesu, nga byonna abyesigamya ku mateeka ga Musa ne ku bannabbi. Yatandika ku nkya n’amala akawungeezi. 24 (Q)Abamu ne bakkiriza bye yayogera, naye abalala ne batakkiriza. 25 Awo nga balemeddwa okukkiriziganya, Pawulo n’abasiibuza ebigambo bino nti, “Mwoyo Mutukuvu yali mutuufu bwe yayogera eri bajjajjammwe ng’ayita mu nnabbi Isaaya nti,
26 “ ‘Genda eri abantu bano obagambe nti,
Okuwulira muliwulira, naye temulitegeera
n’okulaba muliraba naye temulyetegereza.
27 (R)Kubanga omutima gw’abantu bano gugubye.
N’amatu gaabwe gazibikidde,
n’amaaso gaabwe gazibiridde.
Si kulwa nga balaba n’amaaso gaabwe,
ne bawulira n’amatu gaabwe,
ne bategeera n’emitima gyabwe,
ne bakyuka okudda gye ndi, ne mbawonya.’
28 (S)“Noolwekyo mumanye nti obulokozi obuva eri Katonda buweereddwa Abaamawanga era bajja kubuwuliriza.”
29 Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, Abayudaaya ne bagenda nga bawakana nnyo bokka na bokka.
30 Awo Pawulo n’amala emyaka ebiri miramba ng’asula mu nnyumba ye gye yeepangisiza, era n’ayanirizanga buli eyajjanga okumulaba. 31 (T)N’abuuliranga obwakabaka bwa Katonda, era n’ayigirizanga ebigambo bya Mukama waffe Yesu Kristo mu lwatu nga tewali amuziyiza.
Yeremiya Asuulibwa mu Kinnya
38 (A)Awo Sefatiya mutabani wa Mattani ne Gedaliya mutabani wa Pasukuli ne Yukali mutabani wa Malukiya ne bawulira ebigambo Yeremiya bye yali agamba abantu bonna nti, 2 (B)“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Buli muntu anaasigala mu kibuga kino ajja kufa ekitala, enjala oba kawumpuli, naye buli afuluma n’agenda eri Abakaludaaya ajja kuba mulamu.’ 3 (C)Era bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Ekyamazima ekibuga kino kya kuweebwayo eri eggye lya kabaka w’e Babulooni; anaakiwamba.’ ”
4 (D)Awo abakungu ne bagamba kabaka nti, “Omusajja ono asaana kuttibwa. Amalamu abaserikale abasigadde mu kibuga amaanyi, era n’abantu bonna, olw’ebintu by’abagamba. Omuntu ono tanoonya bulungi bw’abantu naye kuzikirizibwa kwabwe.”
5 Kabaka Zeddekiya n’addamu nti, “Ali mu mikono gyammwe, siyinza kubawakanya.”
6 (E)Awo ne batwala Yeremiya ne bamuteeka mu kinnya kya Malukiya mutabani wa kabaka ekyali mu luggya lw’abakuumi. Yeremiya ne baamussaayo n’emiguwa mu kinnya. Tekyalimu mazzi wabula ebitosi, era omwo Yeremiya mwe yabbika.
7 (F)Naye Ebedumeleki Omuwesiyopya omu ku balaawe b’omu lubiri lwa kabaka bwe yawulira nga batadde Yeremiya mu kinnya, nga ne kabaka atudde ku mulyango gwa Benyamini, 8 Ebedumeleki n’ava mu lubiri n’agenda eri kabaka n’amugamba nti, 9 (G)“Mukama wange kabaka, abantu bano bakoze bubi mu byonna bye bakoze nnabbi Yeremiya okumusuula mu kinnya, gy’anafiira enjala nga tekyali mugaati gwonna mu kibuga.”
10 Awo kabaka n’alagira Ebedumeleki Omuwesiyopya nti, “Twala abasajja amakumi asatu okuva wano musitule nnabbi Yeremiya okuva mu kinnya nga tannafa.”
11 Awo Ebedumeleki n’atwala abasajja ne bagenda mu kisenge wansi w’etterekero ly’ensimbi mu lubiri. Nakwata ebigoye ebimu ebikadde n’engoye enziinaziina n’abissa awamu n’emiguwa eri Yeremiya mu kinnya. 12 Ebedumeleki Omuwesiyopya n’agamba Yeremiya nti, “Teeka ebigoye bino ebikadde wansi w’enkwawa zo okunyweza emiguwa wansi w’emikono gyo.” Yeremiya n’akola bw’atyo. 13 (H)Ne bamusikayo n’emiguwa ne bamuggya mu kinnya. Yeremiya n’asigala mu luggya lw’abakuumi.
Zeddekiya Addamu Okubuuza Yeremiya
14 (I)Kabaka Zeddekiya n’atumya nnabbi Yeremiya bamuleete ku mulyango ogwokusatu ogwa yeekaalu ya Mukama. Kabaka n’agamba Yeremiya nti, “Nnina kye ŋŋenda okukubuuza. Tobaako ky’onkweka.”
15 Yeremiya n’agamba Zeddekiya nti, “Bwe nnaakuddamu tonzite? Ne bwe nnaakuwa amagezi tojja kumpuliriza.”
16 (J)Naye kabaka Zeddekiya n’alayira ekirayiro mu kyama eri Yeremiya nti, “Nga Katonda bw’ali omulamu, eyatuwa omukka gwe tussa, sijja kukutta wadde okukuwaayo eri abo abanoonya okukutta.”
17 (K)Awo Yeremiya n’agamba Zeddekiya nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Singa weewaayo eri abakungu ba kabaka w’e Babulooni, ojja kukuumibwa bulungi tootuukibweko kabi konna, n’ekibuga kino tekijja kwokebwa; ggwe n’ab’omu maka go munaabeera balamu. 18 (L)Naye bw’oteweeyo eri abakungu ba kabaka w’e Babulooni, ekibuga kino kijja kuweebwayo eri Abakaludaaya bakyokye; nawe wennyini tojja kubawona.’ ”
19 (M)Kabaka Zeddekiya n’agamba Yeremiya nti, “Ntya Abayudaaya abaddukidde mu Babulooni, kubanga Abakaludaaya bayinza okumpaayo gye bali ne bambonyaabonya.”
20 (N)Yeremiya n’amuddamu nti, “Tebaakuweeyo. Ggwe gondera Mukama Katonda ng’okola kye nkugamba. Olwo binaakugendera bulungi, nawe tojja kuttibwa. 21 Naye bwonoogaana okwewaayo, kino Mukama kyandaze: 22 (O)Abakazi bonna abasigadde mu lubiri lwa kabaka wa Yuda bajja kuleetebwa eri abakungu ba kabaka w’e Babulooni, bakugambe nti,
“ ‘Mikwano gyo gye weesiga
baakubuzaabuza ne bakuwangula.
Kaakano otubidde mu ttosi.
Mikwano gyo gikudduseeko.’
23 (P)“Bakazi bo n’abaana bo bonna balireetebwa eri Abakaludaaya. Ggwe kennyini tojja kubasumattuka ojja kukwatibwa kabaka w’e Babulooni; n’ekibuga kino kijja kwokebwa.”
24 Awo Zeddekiya n’agamba Yeremiya nti, “Tobuulirako muntu n’omu ku bye twogedde, bw’onookikola ojja kufa. 25 Abakungu bwe banaawulira nti wayogeddeko nange ne bajja ne bakubuuza nti, ‘Tubuulire kye wagambye kabaka ne kabaka kye yakuzeemu, totukweka kintu kyonna sikulwa nga tukutta,’ 26 (Q)bagambe nti, ‘Mbadde neegayirira kabaka aleme kunzizaayo eri mu nnyumba ya Yonasaani okufiira eyo.’ ”
27 Abakungu bonna ne bajja eri Yeremiya okumubuuza, n’abaddamu byonna nga kabaka bye yamulagira okwogera. Ne bataddayo ku mubuuza kintu kyonna, kubanga tewaali n’omu eyali awulidde bye yali ayogedde ne kabaka.
28 (R)Yeremiya n’asigala mu luggya lw’abakuumi okutuusa olunaku Yerusaalemi lwe kyawambibwa.
Okugwa kwa Yerusaalemi
Yerusaalemi bwe kiti bwe kyawambibwa:
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
11 (A)Mu Mukama mwe neekweka;
ate muyinza mutya okuŋŋamba nti,
“Ddukira ku nsozi ng’ebinyonyi?
2 (B)Kubanga laba ababi baleega emitego gyabwe
egy’obusaale,
balase abalina omutima
omulongoofu.
3 (C)Emisingi nga gizikirizibwa,
omutuukirivu ayinza kukola ki?”
4 (D)Mukama ali mu Yeekaalu ye entukuvu;
Mukama atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka eri mu ggulu.
Amaaso ge gatunuulira
era geetegereza abaana b’abantu.
5 (E)Mukama akebera abatuukirivu
naye omutima gwe gukyawa ababi,
n’abakola eby’obukambwe.
6 (F)Ababi alibayiwako
amanda ag’omuliro;
n’empewo ezibambula gwe guliba omugabo gwabwe.
7 (G)Kubanga Mukama mutuukirivu
era ayagala eby’obutuukirivu;
abo abalongoofu be balimulaba.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
12 (H)Tuyambe, Ayi Mukama, kubanga tewakyali n’omu amanyi Katonda;
abantu abeesigwa bonna baweddewo.
2 (I)Buli muntu alimba munne;
akamwa kaabwe akawaana koogera bya bulimba.
3 (J)Mukama, osirise akamwa k’abo bonna abeewaanawaana,
na buli lulimi olwenyumiriza;
4 nga boogera nti, “Tujja kuwangula n’olulimi lwaffe, era tufune byonna bye twetaaga n’akamwa kaffe,
kubanga ani alitukuba ku mukono.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.