M’Cheyne Bible Reading Plan
Samusooni ne Derira
16 Samusooni n’alaga e Gaza n’alabayo omukazi malaaya, n’ayingira gy’ali. 2 (A)Awo abantu ab’e Gaza ne bategeezebwa nga Samusooni bw’ali mu kifo ekyo. Ne bamuzingiza ne bamuteegera ku wankaaki w’ekibuga ekiro kyonna. Ne basiriikirira ekiro kyonna nga bagamba nti, “Obudde bwe bunaaba nga bunaatera okukya tunaamutta.”
3 (B)Naye Samusooni ne yeebaka okutuusa ettumbi, n’agolokoka mu ttumbi, n’akwata enzigi ebbiri eza wankaaki w’ekibuga, n’emifuubeeto gyombi, n’abisimbula okuva mu bifo byabyo, n’agyawo n’ekisiba, n’abiteeka ku bibegaabega bye n’abitwala ku ntikko y’olusozi olutunuulidde Kebbulooni.
4 (C)Awo oluvannyuma lw’ebyo n’aganza omukazi mu kiwonvu ky’e Soleki, erinnya lye Derira. 5 (D)Abakulembeze b’Abafirisuuti[a] ne bagenda gy’ali ne bamugamba nti, “Musendesende olabe amaanyi ge amangi mwe gasibuka, tulyoke tusinziire okwo okumusobola, tumusibe tumujeeze. Naffe tulikuwa buli omu ku ffe, ebitundu bya ffeeza lukumi mu kikumi[b].”
6 Awo Derira n’agamba Samusooni nti, “Kaakano mbuulira amaanyi go amangi mwe gasibuka, era n’ekiyinza okukusiba okukujeeza.” 7 Samusooni n’amugamba nti, “Bwe bansiba enkolokolo embisi musanvu, ezitakaze, olwo nnaanafuwa ne mbeera ng’omuntu omulala yenna.”
8 Abakulembeze b’Abafirisuuti ne baleetera omukazi enkolokolo musanvu embisi ezitakaze, n’azimusibya. 9 (E)Waaliwo abasajja abaali beekwese mu kisenge omwo omukazi mwe yali. Awo omukazi n’akoowoola Samusooni ng’agamba nti, “Samusooni Abafirisuuti bakuguddeko.” N’akutula enkolokolo, ng’omuntu bwe yandikutudde omuguwa oguyise mu muliro. Bwe kityo ensibuko y’amaanyi ge n’etazuulibwa.
10 (F)Awo Derira n’agamba Samusooni nti, “Laba, onduulidde, era onnimbye. Kaakano mbuulira ekiyinza okukusiba.” 11 (G)N’amugamba nti, “Bwe bansibya emiguwa emiggya egitakozesebwangako, nnaanafuwa, ne mbeera ng’omuntu omulala yenna.” 12 Awo Derira n’addira emiguwa emiggya, n’amusiba, nga mu kisenge mulimu abasajja abeekwese. N’alyoka amukoowoola ng’agamba nti, “Samusooni, Abafirisuuti bakuguddeko.” N’agyekutulako ku mikono ng’ewuzi.
13 Awo Derira n’agamba Samusooni nti, “Okutuusa kaakano onduulidde era onnimbye. Mbuulira ekiyinza okukusiba.” N’amugamba nti, “Bw’onooluka emivumbo musanvu egiri ku mutwe gwange, n’engoye, n’obinyweza nzija kunafuwa, mbeere ng’omuntu omulala yenna.”
N’aluka emivumbo omusanvu egy’ali ku mutwe gwe, n’engoye, 14 (H)n’abinyweza n’olubambo. N’amukoowoola ng’agamba nti, “Samusooni Abafirisuuti bakuguddeko.” N’agolokoka okuva mu tulo, ne yeetakkuluza ku lubambo lw’omuti ogulukirwako n’engoye ezirukiddwa.
15 (I)Awo Derira n’amugamba nti, “Oyinza otya okugamba nti onjagala, ate ng’omutima gwo teguli nange? Gino emirundi esatu onduulidde, n’otontegeeza amaanyi go amangi mwe gasibuka.” 16 Bw’atyo omukazi n’amusendasendanga n’ebigambo bye ennaku zonna ng’amubuuza okutuusa lwe yamwetamwa.
17 (J)Awo Samusooni n’amubuulira ebyali ku mutima gwe byonna. N’amugamba nti, “Simwebwangako nviiri, kubanga ndi muwonge eri Katonda okuva mu lubuto lwa mmange. Bwe mwebwako enviiri, olwo amaanyi gange gananvaako, ne nnafuwa, ne mbeera ng’omuntu omulala yenna.”
18 (K)Awo Derira bwe yalaba ng’amutegeezezza byonna ebyali ku mutima gwe, n’atumira abakulembeze b’Abafirisuuti ng’agamba nti, “Mukomeewo omulundi guno gwokka, kubanga yantegeezezza ebiri mu mutima gwe byonna.” Awo Abafirisuuti ne bakomawo nga baleese ezaabu. 19 (L)N’amwebasa ku maviivi ge, n’ayita omusajja n’amumwa emivumbo omusanvu egyali ku mutwe gwe, n’atandika okujeeza, amaanyi ge ne gamuvaako. 20 (M)N’amukoowoola ng’agamba nti, “Samusooni, Abafirisuuti bakuguddeko.” N’agolokoka okuva mu tulo ng’agamba nti, “Nzija kwetakkuluza ŋŋende nga bulijjo.” Naye teyamanya nga Mukama Katonda amulese.
21 (N)Awo Abafirisuuti ne bakwata Samusooni, ne bamuggyamu amaaso, ne bamuserengesa e Gaza nga musibe mu njegere ez’ekikomo, ne bamuteeka mu kkomera mu nnyumba omuseerebwa obuwunga. 22 Kyokka bwe yamala okumwebwa, enviiri ze ne zitandika okumera.
23 (O)Awo abakulembeze b’Abafirisuuti ne bakuŋŋaana okuwaayo ssaddaaka eri lubaale waabwe Dagoni[c], nga bwe basanyuka. Ne boogera nti, “Lubaale waffe agabudde Samusooni omulabe waffe mu mukono gwaffe.” 24 (P)Abantu bwe baalaba Samusooni, ne batendereza lubaale waabwe nga bwe boogera nti,
“Lubaale waffe agabudde omulabe waffe
mu mukono gwaffe,
oyo eyazikiriza ensi yaffe,
n’atta bangi ku ffe.”
25 (Q)Awo bwe baasanyuka ennyo, ne bawowoggana nga bwe bagamba nti, “Mutuyitire Samusooni atusanyuseemu.”
Ne baleeta Samusooni abasanyuseemu, nga bamuggya mu kkomera. Ne bamuyimiriza wakati w’empagi. 26 Awo Samusooni n’agamba omuweereza eyali amukutte ku mukono nti, “Leka nkwate ku mpagi eziwaniridde essabo, nsobole okuzeesigama.” 27 (R)Mu ssabo mwalimu ekibiina kinene eky’abasajja n’abakazi nga mulimu n’abakulembeze bonna ab’Abafirisuuti. Ne waggulu ku kasolya kwaliko abantu ng’enkumi ssatu abaali batunuulira Samusooni ng’abasanyusaamu. 28 (S)Awo Samusooni n’asaba eri Mukama ng’agamba nti, “Mukama Katonda onzijukire kaakano, ompe amaanyi. Omulundi guno gwokka, ayi Katonda mpalane eggwanga ku Bafirisuuti olw’amaaso gange abiri.” 29 Samusooni n’akwata empagi zombi ezaali wakati mu ssabo we yali ayimiridde, n’azeesigamako, omukono gwe ogwa ddyo nga guli ku mpagi emu, n’omukono ogwa kkono nga guli ku ndala. 30 Samusooni n’ayogera nti, “Leka nfiire wamu n’Abafirisuuti.” N’asindika n’amaanyi ge gonna, essabo ne ligwa ku bakulembeze, n’abantu bonna abaalimu naye, era n’atta bangi mu kufa kwe okusinga ne be yatta nga mulamu.
31 (T)Awo baganda be n’ennyumba yonna eya kitaawe ne bagenda ne baggyayo omulambo gwe, ne bagutwala ewaabwe, ne bamuziika mu ntaana ya kitaawe Manowa eyali wakati w’e Zola ne Esutaoli. Yali akulembedde Isirayiri okumala emyaka amakumi abiri.
Okuyita mu Makedoniya ne mu Buyonaani
20 (A)Awo akasasamalo bwe kakkakkana, Pawulo n’atumya abayigirizwa, ne bakuŋŋaana, n’ababuulira ekigambo kya Katonda ng’abasiibula n’okubagumya, n’alyoka asitula n’alaga mu Makedoniya. 2 N’agenda ng’ayitaayita mu bitundu ebyo ng’ayogera n’abantu ebigambo bingi eby’okubagumya n’okubanyiikiza mu kukkiriza kwabwe. Oluvannyuma n’atuuka mu Buyonaani, 3 (B)n’amalamu emyezi esatu. Bwe yali ateekateeka okusaabala ku nnyanja okulaga mu Siriya, n’avumbula olukwe Abayudaaya lwe baali basaze okumutta, kyeyava asalawo okuddayo mu Makedoniya gy’aba ayita. 4 (C)Abaamuwerekerako mu lugendo olwo okutuuka mu Asiya, be bano: Sopateri Omuberoya mutabani wa Puulo, ne Alisutaluuko ne Sekundo Abasessaloniika, ne Gaayo Omuderube, ne Timoseewo, n’Abasiya, Tukiko ne Tulofiimo. 5 (D)Oluvannyuma bano bonna ne batukulembera ne batulinda e Tulowa. 6 (E)Ne tusaabala ku nnyanja okuva e Firipi nga tumaze embaga ey’Emigaati Egitazimbulukuswa, ne tumala ku nnyanja ennaku ttaano, bannaffe ne tubatuukako mu Tulowa ne tumalawo ennaku musanvu.
Pawulo Azuukiza Yutuko mu Tulowa
7 (F)Awo olumu ku nnaku za ssabbiiti, bwe twali tukuŋŋaanye okumenya omugaati, Pawulo n’abaako bye yali abayigiriza. Naye olwokubanga enkeera yali asitula, n’ayogerera ebbanga ddene nnyo, n’atuusa mu ttumbi ng’akyayogera! 8 (G)Mu kisenge ekya waggulu mwe twali tukuŋŋaanidde mwalimu ettaala nnyingi nga zaaka. 9 Waaliwo omuvubuka erinnya lye Yutuko, eyali atudde mu ddirisa, otulo ne tumukwata. Pawulo bwe yalwawo ng’akyayogera, omuvubuka ne yeebakira ddala, okutuusa lwe yasimattuka mu ddirisa ku mwaliiro ogwokusatu n’agwa ebweru n’afiirawo. 10 (H)Pawulo n’akka wansi n’amusitula n’amuwambaatira mu mikono gye. N’agamba nti, “Temweraliikirira, mulamu!” 11 (I)Awo bonna ne baddayo waggulu ne bamenya omugaati ne balya. Pawulo ne yeyongera okwogera okutuusiza ddala obudde okukya, n’alyoka asitula n’agenda. 12 Ne baddamu amaanyi, n’omuvubuka ne bamutwala eka nga mulamu.
13 Awo Pawulo ne tumukulembera ne tusaabala ku nnyanja okulaga mu Aso, Pawulo nga bwe yali ateeseteese, kubanga ye yali ateeseteese kuyita ku lukalu. 14 Bwe yatusisinkana mu Aso, ne tutuuka e Mituleene. 15 (J)Bwe twava eyo ne tuwunguka olunaku olwaddirira ne tutuuka mu kifo ekyolekedde Kiyo. Ne ku lunaku olwaddirira ne tusala ne tudda e Samo, ne ku lunaku olwaddirira ne tutuuka e Mireeto. 16 (K)Pawulo yali asazeewo obutayimirira mu Efeso nga yeewala okumala ekiseera ekinene mu Asiya, kubanga yali yeeyuna nti ssinga asobola, atuuke mu Yerusaalemi ng’olunaku lwa Pentekoote terunnatuuka.
17 (L)Bwe yatuuka e Mireeto, n’atumira abakadde b’Ekkanisa ya Efeso bajje bamulabe. 18 (M)Awo bwe baatuuka Pawulo n’agamba nti, “Mumanyi bulungi ng’okuva ku lunaku lwe natuukirako mu Asiya n’okutuusa leero, 19 (N)nkoze omulimu gwa Mukama mmuweereza n’obuwombeefu n’amaziga n’okugezesebwa ebyantukako olw’enkwe z’Abayudaaya. 20 (O)Naye saalekayo kubabuulira bituufu eby’okubayamba, bwe twabanga tukuŋŋaanye oba bwe najjanga mu maka gammwe, 21 (P)nga ntegeeza Abayudaaya n’Abayonaani okwenenya badde eri Katonda, n’okuba n’okukkiriza mu Mukama waffe Yesu.
22 (Q)“Ne kaakano laba nsibiddwa Mwoyo Mutukuvu, ŋŋenda e Yerusaalemi nga simanyi binaantukako nga ndi eyo. 23 (R)Wabula Mwoyo Mutukuvu antegeeza nti okusibibwa n’okubonyaabonyezebwa binnindiridde mu buli kibuga. 24 (S)Naye obulamu bwange sibutwala kuba nga kya muwendo gye ndi, ndyoke ntuukirize omulimu gwange, n’obuweereza bwe nnaweebwa Mukama waffe Yesu, okutegeezanga Enjiri ey’ekisa kya Katonda.
25 (T)“Ne kaakano mmanyi nga temukyaddayo kundaba nate, mwenna be natambulamu nga mbuulira obwakabaka. 26 (U)Noolwekyo mbategeeza leero nti sirina kyenvunaanwa olw’omusaayi gwa bonna, 27 (V)kubanga sirina na kimu kye nalekayo nga mbabuulira okwagala kwa Katonda. 28 (W)Mwekumenga era mukuumenga n’ekisibo kyonna Mwoyo Mutukuvu mwe yabateeka okuba abalabirizi okulabiriranga Ekkanisa ya Katonda gye yeegulira n’omusaayi gwe. 29 (X)Mmanyi nga bwe ndigenda, emisege emikambwe giribayingiramu, era tegirisaasira kisibo. 30 (Y)Ne mu mmwe bennyini mulivaamu abasajja aboogera ebintu ebikyamu, okwefunira abayigirizwa abanaabagobereranga. 31 (Z)Noolwekyo mwekuume. Mujjukire nga bwe nababuulirira nga nkaaba amaziga okumala emyaka esatu, emisana n’ekiro, ne mundeeta n’amaziga.
32 (AA)“Kaakano mbasigira Katonda n’ekigambo eky’ekisa kye ebiyinza okubazimba n’okubawa omugabo mu abo bonna abaatukuzibwa. 33 (AB)Siyaayaaniranga ffeeza newaakubadde zaabu wadde engoye eby’omuntu n’omu. 34 (AC)Mmwe bennyini mumanyi nti neetuusizaako ebyetaago byange n’eby’abo bendi nabo. 35 Mbalaze mu buli kintu nga mu kukola n’amaanyi, kibagwanira okuyamba abanafu, ate n’okujjukira ebigambo bya Mukama waffe Yesu bye yayogera nti, ‘Okugaba kwa mukisa okusinga okuweebwa.’ ”
36 (AD)Awo Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, n’afukamira n’asaba nabo bonna. 37 (AE)Buli omu n’akaaba nnyo amaziga, ne bamugwa mu kifuba okumusiibula, 38 (AF)nga banakuwavu, naye okusinga byonna olw’ekigambo kye yayogera nti, Tebakyaddayo kumulaba. Ne bamuwerekerako ne bamutuusa ku kyombo.
Ebbaluwa eri Abawaŋŋanguse
29 (A)Bino bye byali mu bbaluwa nnabbi Yeremiya gye yaweereza okuva mu Yerusaalemi eri abakadde abaali bakyasigaddewo mu bawaŋŋanguse n’eri bakabona, ne bannabbi n’abantu bonna Nebukadduneeza be yali atutte mu buwaŋŋanguse mu Babulooni okuva mu Yerusaalemi. 2 (B)Kino kyaliwo nga kabaka Yekoyakini n’abakungu be ne Namasole we n’abakulembeze ba Yuda ne Yerusaalemi, n’abafundi n’abaweesi bonna baggyiddwa mu Yerusaalemi. 3 Ebbaluwa yagiwa Erasa mutabani wa Safani ne Bemaliya mutabani wa Kirukiya, ne Zeddekiya kabaka wa Yuda be yatuma eri kabaka Nebukadduneeza mu Babulooni. Yali egamba bw’eti nti,
4 (C)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, ng’agamba abo bonna be natwala mu buwaŋŋanguse okuva mu Yerusaalemi okugenda mu Babulooni nti, 5 (D)“Mwezimbire amayumba mutuule omwo; mulime ennimiro mulye ebibala byamu. 6 Muwase muzaale abaana aboobulenzi n’aboobuwala; muwasize batabani bammwe abakazi, ne bawala bammwe mubafumbize, nabo bazaale abaana abalenzi n’abawala. Mweyongere obungi eyo, temukendeera. 7 (E)Era munoonye emirembe n’okukulaakulana kw’ekibuga gye mbatutte mu buwaŋŋanguse. Musabenga Mukama, ekibuga mukisabire kubanga bwe kikulaakulana nammwe mujja kukulaakulana.” 8 (F)Ddala kino Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri ky’agamba nti, “Temukkiriza bannabbi n’abalaguzi abali mu mmwe kubalimbalimba. Temussaayo mwoyo ku birooto byabwe bye babalootolola. 9 (G)Babategeeza obunnabbi bwa bulimba mu linnya lyange. Sibatumanga,” bw’ayogera Mukama.
10 (H)Ddala ddala bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Emyaka nsanvu nga giweddeko e Babulooni, ndijja gye muli ntuukirize ekisuubizo kyange eky’ekisa mbakomyewo mu kifo kino. 11 (I)Kubanga mmanyi enteekateeka ze nnina gye muli, enteekateeka ez’okubakulaakulanya so si okubakolako akabi, enteekateeka ez’okubawa essuubi era n’obulamu obw’omu maaso,” bw’ayogera Mukama. 12 (J)“Awo mulimpita ne mujja ne munsaba, nange ne mbawulira,” bw’ayogera Mukama. 13 (K)“Mulinnoonya ne mundaba bwe mulinnoonya n’omutima gwammwe gwonna. 14 (L)Mulinzuula era ndibakomyawo okubaggya mu buwaŋŋanguse. Ndibakuŋŋaanya mu mawanga gonna n’ebifo byonna, gye nabagobera, era ndibakomyawo mu kifo mwe nabaggya okubatwala mu buwaŋŋanguse,” bw’ayogera Mukama.
15 Muyinza okugamba nti, “Mukama atuyimusirizza bannabbi mu Babulooni.” 16 Naye kino Mukama ky’agamba ku kabaka atuula ku ntebe ya Dawudi n’abantu bonna abaasigala mu kibuga kino, n’abantu ab’ensi yammwe abataagenda nammwe mu buwaŋŋanguse. 17 (M)Bw’ati bwayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Ndisindika ekitala, n’enjala ne kawumpuli okubalumba era mbafuule ng’emitiini emibi ennyo egitayinza kuliika olw’obubi bwagyo. 18 (N)Ndibagoberera n’ekitala, n’enjala ne kawumpuli ne mbafuula ekyenyinyalwa eri obwakabaka bwonna obw’ensi era ekikolimo n’ekikangabwa, n’eky’okusekererwa n’okuvumwa eri amawanga gonna gye ndibagobera. 19 (O)Kubanga tebaawuliriza bigambo byange,” bwayogera Mukama, “ebigambo bye nabatumira emirundi emingi mu baweereza bange bannabbi. Era nammwe abawaŋŋanguse temuwulirizza,” bw’ayogera Mukama.
20 (P)Noolwekyo, muwulirize ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna abali mu buwaŋŋanguse be nagoba mu Yerusaalemi okugenda mu Babulooni. 21 (Q)Kino Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, ky’ayogera ku Akabu mutabani wa Kolaya ne Zeddekiya mutabani wa Maaseya, abaawa obunnabbi mu linnya lyange nti, “Ndibawaayo eri Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, abatte nga mulaba. 22 (R)Olw’abasajja abo, abali mu buwaŋŋanguse bonna abaava mu Yuda abali mu Babulooni balikozesa ekikolimo kino nti, ‘Mukama akukole nga bwe yakola Zeddekiya ne Akabu, kabaka w’e Babulooni be yayokya mu muliro.’ 23 (S)Kubanga bakoze eby’ekivve mu Isirayiri; bakoze obwenzi ne baka baliraanwa baabwe era ne boogera eby’obulimba mu linnya lyange, bye sibagambanga kwogera. Nkimanyi era ndi mujulirwa ku ekyo,” bw’ayogera Mukama.
Obubaka eri Semaaya
24 Semaaya Omunekeramu mugambe nti, 25 (T)“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Waweereza ebbaluwa mu mannya go eri abantu bonna mu Yerusaalemi, eri Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona ne bakabona bonna. Wagamba Zeffaniya nti, 26 (U)‘Mukama yakuteekawo okuba kabona mu kifo kya Yekoyaada okutwala obuvunaanyizibwa ku nnyumba ya Mukama; oteekwa okuteeka omulalu yenna eyefuula nga nnabbi mu nvuba ne mu masamba. 27 Noolwekyo lwaki tokangavudde Yeremiya ow’e Yanasosi, eyefuula nnabbi wakati mu mmwe? 28 (V)Atuweerezza obubaka buno mu Babulooni ng’agamba nti, Obuwaŋŋanguse bwammwe bujja kubeera bwa bbanga ddene. Noolwekyo mwezimbire amayumba mutereere mu nsi, mulime ennimiro mulye ebibala byamu.’ ”
29 Wabula Zeffaniya kabona nasomera nnabbi Yeremiya ebbaluwa eno. 30 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti, 31 (W)“Muweereze obubaka buno eri abawaŋŋanguse nti, ‘Kino Mukama ky’agamba ku Semaaya Omunekeramu. Kubanga Semaaya yakuwa obunnabbi, wadde nga ssamutuma, era akutuusizza ku kwesiga eby’obulimba, 32 (X)kino Mukama ky’agamba nti, Ddala ddala ndibonereza Semaaya Omunekeramu n’abantu b’omu nju ye. Tewaliba n’omu alisigalawo ku bantu be, wadde aliraba ebirungi bye ndikolera abantu bange, kubanga ayigirizza abantu okunjeemera, bw’ayogera Mukama.’ ”
Yesu Atwalibwa eri Piraato
15 (A)Amangwago mu makya olukiiko lwa bakabona abakulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya, n’abannyonnyozi b’amateeka lwe Lukiiko Olukulu lwonna, ne bakuŋŋaana ne basiba Yesu, ne bamuweereza ewa Piraato.
2 (B)Piraato n’abuuza Yesu nti, “Ggwe Kabaka w’Abayudaaya?”
Yesu n’amuddamu nti, “Oyogedde.”
3 Awo bakabona abakulu ne bamulumiriza ebintu bingi. 4 Naye Piraato n’addamu n’amubuuza nti, “Lwaki toliiko ky’oddamu? Laba bakulumiriza ebintu bingi.”
5 (C)Naye Yesu n’asirika busirisi, era Piraato n’amwewuunya nnyo.
6 Ku buli mbaga, Piraato yabateeranga omusibe omu gwe baabanga bamusabye. 7 Omu ku basibe mu kiseera ekyo yali ayitibwa Balaba, eyali asibiddwa ne bajeemu banne olw’okutta abantu nga bakola obwegugungo. 8 Awo Piraato n’agenda eri ekibiina n’ababuuza nga bwe yateranga okukola.
9 (D)N’ababuuza nti, “Mwandyagadde mbasumululire kabaka w’Abayudaaya?” 10 Kubanga yamanya nga bakabona abakulu bamuwaddeyo lwa buggya. 11 (E)Naye bakabona abakulu ne bafukuutirira ekibiina babateere Balaba sso ssi Yesu.
12 Naye Piraato n’addamu n’ababuuza nti, “Omuntu ono gwe muyita kabaka w’Abayudaaya mwandyagadde mmukole ntya?”
13 Ne bawowoggana nti, “Mukomerere!”
14 Piraato n’ababuuza nti, “Lwaki? Azziza musango ki?” Naye bo ne beeyongera bweyongezi okuleekaana nti, “Mukomerere.”
15 (F)Awo Piraato okusanyusa ekibiina, n’abasumululira Balaba. N’awaayo Yesu akomererwe ng’amaze okumukuba.
Abaserikale baduulira Yesu
16 (G)Awo Abaserikale ne batwala Yesu mu luggya lw’olubiri, oluyitibwa Pulayitoliyo, ne bayita bannaabwe bonna abakuuma olubiri, ne bakuŋŋaana. 17 Ne bamwambaza ekyambalo ekya ffulungu, ne bakola engule mu maggwa ne bagissa ku mutwe gwe. 18 (H)Ne balyoka bamulamusa nga bwe bagamba nti, “Mirembe! Kabaka w’Abayudaaya!” 19 Ne bamukuba omuggo ku mutwe, ne bamuwandulira amalusu, ne bamufukaamirira nga bwe bamuvuunamira. 20 (I)Bwe baamala okumuduulira, ne bamwambulamu ekyambalo ekya ffulungu ne bamwambaza engoye ze, ne bamutwala okumukomerera.
Yesu akomererwa ku musaalaba
21 (J)Bwe baali bagenda ne basanga omusajja erinnya lye Simooni ow’e Kuleene,[a] kitaawe wa Alegezanda ne Luufo eyali ava mu kyalo, ne bamuwaliriza yeetikke omusaalaba gwa Yesu. 22 Awo ne batwala Yesu ne bamutuusa mu kifo ekiyitibwa Gologoosa, amakulu gaakyo nti Ekifo ky’Ekiwanga. 23 (K)Ne baddira wayini atabuddwamu envumbo ne bamuwa anyweko, naye n’amugaana.[b] 24 (L)Awo ne bamukomerera ku musaalaba.
Ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu. 25 Baamukomerera ku ssaawa ssatu ez’enkya. 26 (M)Ne batimba ekipande waggulu w’omutwe gwa Yesu, okwawandiikibwa nti,
“Kabaka w’Abayudaaya.”
27 Waaliwo abanyazi babiri abaakomererwa awamu naye, omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo, n’omulala ku kkono. 28 Bwe kityo Ekyawandiikibwa ne kituukirira ekigamba nti, “Yabalirwa wamu n’abamenyi b’amateeka.” 29 (N)Awo abaali bayitawo, ne bakoteka ku mitwe gyabwe nga bamuduulira, nga bwe bagamba nti, “Mumulaba! Wagamba okumenya Yeekaalu n’okugizimbira ennaku ssatu, 30 weerokole, okke wansi okuva ku musaalaba.”
31 (O)Bakabona abakulu n’abawandiisi nabo baali bayimiridde awo nga baduulira Yesu, nga bagamba nti, “Yalokola balala, naye ye tasobola kwerokola! 32 (P)Ggwe! Kristo, Kabaka wa Isirayiri! Kale kka ove ku musaalaba naffe tunaakukkiriza!” N’abanyazi ababiri abaakomererwa naye, nabo ne bamuvuma.
Okufa kwa Yesu
33 (Q)Okuva ku ssaawa mukaaga ez’omu ttuntu okutuukira ddala ku ssaawa mwenda ez’olweggulo, ekizikiza ne kikwata ensi yonna. 34 (R)Awo Yesu n’akoowoola n’eddoboozi eddene nti, “Eroi, Eroi, lama, sabakusaani?” Amakulu nti, “Katonda wange, Katonda wange, Lwaki onjabulidde?”
35 Abamu ku bantu abaali bayimiridde awo bwe baamuwulira ne bagamba nti, “Ayita Eriya.”
36 (S)Awo ne wabaawo eyadduka n’addira ekyangwe n’akijjuza wayini omukaatuufu, n’akisonseka ku luti, n’akiwanika eri Yesu anyweko, nga bw’agamba nti, “Mumuleke, ka tulabe obanga Eriya anajja n’amuwannulayo!”
37 (T)Awo Yesu n’akoowoola n’eddoboozi ddene, n’awaayo obulamu bwe.
38 (U)Eggigi[c] ery’omu Yeekaalu ne liyulikamu wabiri okuviira ddala waggulu okutuuka wansi. 39 (V)Omuserikale Omuruumi eyakuliranga ekibinja ky’abaserikale ekikumi eyali ayimiridde okwolekera omusaalaba gwa Yesu, bwe yalaba enfa gye yafaamu, n’agamba nti, “Ddala ddala, omusajja ono abadde Mwana wa Katonda!”
40 (W)Waaliwo abakazi abaali bayimiridde awo nga beesuddeko akabanga nga balengera, okwali Maliyamu Magudaleene, ne Saalome ne Maliyamu nnyina Yakobo omuto ne Yose. 41 (X)Abo baayitanga naye mu Ggaliraaya era nga bamuweereza, n’abalala bangi abajja naye e Yerusaalemi.
Okuziikibwa kwa Yesu
42 (Y)Awo bwe bwawungeera, kubanga lunaku lwa kuteekateeka, olunaku olukulembera Ssabbiiti, 43 (Z)Yusufu ow’e Alimasaya, nga mukungu mu Lukiiko Olukulu olw’Abayudaaya, naye eyali alindirira obwakabaka bwa Katonda, n’aba muvumu n’agenda eri Piraato okusabayo omulambo gwa Yesu. 44 Piraato ne yeewuunya nnyo okuba nti Yesu yafudde dda. N’atumya omuserikale Omuruumi eyali akulembera banne ekikumi, n’amubuuza obanga Yesu yafudde dda. 45 (AA)Bwe yakikakasa okuva eri omuserikale, Piraato n’awa Yusufu omulambo. 46 (AB)Awo Yusufu n’agula olugoye olwa linena, n’amuggya ku musaalaba, n’amuzinga mu lugoye olwa linena, n’amuteeka mu ntaana eyali etemeddwa mu lwazi, n’ayiringisa ejjinja n’aggalawo omulyango gw’entaana. 47 (AC)Maliyamu Magudaleene ne Maliyamu nnyina Yose baaliwo era baalaba Yesu we yateekebwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.